Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Complementary)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with thematically matched Old and New Testament readings.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 96:1-9

96 (A)Muyimbire Mukama oluyimba oluggya;
    muyimbire Mukama mmwe ensi yonna.
(B)Muyimbire Mukama; mutendereze erinnya lye,
    mulangirire obulokozi bwe buli lukya.
Mutende ekitiibwa kye mu mawanga gonna,
    eby’amagero bye mubimanyise abantu bonna.

(C)Kubanga Mukama mukulu era asaanira nnyo okutenderezebwa;
    asaana okutiibwa okusinga bakatonda bonna.
(D)Kubanga bakatonda bonna abakolebwa abantu bifaananyi bufaananyi;
    naye Mukama ye yakola eggulu.
(E)Ekitiibwa n’obukulu bimwetooloola;
    amaanyi n’obulungi biri mu nnyumba ye entukuvu.

(F)Mugulumize Mukama mmwe ebika eby’amawanga byonna;
    mutende ekitiibwa kya Mukama awamu n’amaanyi ge.
(G)Mugulumize Mukama mu ngeri esaanira erinnya lye;
    muleete ekiweebwayo mujje mu mbuga ze.
(H)Musinze Mukama mu kitiibwa eky’obutuukirivu bwe.
    Ensi yonna esinze Mukama n’okukankana.

Zabbuli 96:10-13

10 (A)Mutegeeze amawanga gonna nti Mukama y’afuga.
    Ensi nnywevu, tewali asobola kuginyeenyaako;
    Mukama aliramula abantu mu bwenkanya.

11 (B)Kale eggulu lisanyuke n’ensi ejaguze;
    ennyanja eyire ne byonna ebigirimu.
12     (C)Ennimiro n’ebirime ebizirimu bijaguze;
n’emiti gyonna egy’omu kibira nagyo gimutendereze n’ennyimba ez’essanyu.
13     (D)Kubanga Mukama ajja;
    ajja okusalira ensi omusango.
Mukama aliramula ensi mu butuukirivu,
    n’abantu bonna abalamule mu mazima.

Balam 17:1-6

Mikka n’Ebifaananyi bye Ebyole

17 (A)Waaliwo omusajja eyabeeranga mu nsi ey’ensozi Efulayimu, erinnya lye Mikka. (B)N’agamba nnyina nti, “Ebitundu bya ffeeza olukumi mu ekikumi[a] ebyakubulako, n’okukolima n’okolima, nga mpulira, laba, effeeza eyo nze njirina. Nze nagitwala.”

Awo nnyina n’amugamba nti, “Mwana wange, Mukama Katonda akuwe omukisa.”

(C)Awo bwe yakomyawo ebitundu bya ffeeza ebyo olukumi mu ekikumi, eri nnyina, nnyina n’amugamba nti, “Mpaayo effeeza eno eri Mukama Katonda, okuva mu mukono gwange ku lw’omwana wange, ekolebwemu ekifaananyi ekyole n’ekifaananyi ekisaanuuse, era ndimuzza gy’oli.”

(D)Awo bwe yazza effeeza, nnyina n’addira ebitundu ebikumi bibiri ebya ffeeza[b], n’abiwa omuweesi wa ffeeza, n’abikolamu ekifaananyi ekyole n’ekifaananyi ekisaanuuse. Ne biteekebwa mu nnyumba ya Mikka.

(E)Omusajja oyo Mikka yalina essabo. N’akola efodi, n’ebifaananyi ebyole n’ayawula omu ku batabani be okuba kabona we. (F)Mu biro ebyo tewaaliwo kabaka mu Isirayiri, era buli muntu yakolanga nga bw’alaba.

3 Yokaana 9-12

Diyotuleefe ne Demeteriyo

Nawandiikira Ekkanisa ku nsonga eyo, kyokka Diyotuleefe, olw’okwagala okwefuula omukulembeze tatwagala. 10 (A)Bwe ndijja ndibategeeza ebimu ku bintu by’akola, n’ebintu by’atwogerako ebitali birungi, era n’olulimi oluvuma lw’akozesa. Takoma ku kugaana kwaniriza abooluganda abatambuze kyokka, naye n’okulagira alagira abantu abalala nabo, baleme okubaaniriza era abo ababaaniriza agezaako okubagoba mu Kkanisa.

11 (B)Mukwano gwange, togobereranga kyakulabirako ekibi wabula eby’obutuukirivu. Gobereranga ebyo byokka by’olaba nga bya butuukirivu. Kirungi ojjukirenga nti abo abakola eby’obutuukirivu baba bakakasiza ddala nga bwe bali abaana ba Katonda; naye abakola ebitali bya butuukirivu balaga nga bwe bali ewala ne Katonda. 12 (C)Naye buli omu ayogera bya mazima ku Demeteriyo. Nange mwogerako bya mazima byereere. Naye omanyi nga nze njogera mazima.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.