Revised Common Lectionary (Complementary)
Ya Dawudi. Bwe yeefuula okuba omugu w’eddalu mu maaso ga Abimereki, oluvannyuma eyamugoba, era naye n’amuviira.
34 (A)Nnaagulumizanga Mukama buli kiseera,
akamwa kange kanaamutenderezanga bulijjo.
2 (B)Omwoyo gwange guneenyumiririzanga mu Mukama;
ababonyaabonyezebwa bawulire bajaguzenga.
3 (C)Kale tutendereze Mukama,
ffenna tugulumizenga erinnya lye.
4 (D)Nanoonya Mukama, n’annyanukula;
n’ammalamu okutya kwonna.
5 (E)Abamwesiga banajjulanga essanyu,
era tebaaswalenga.
6 Omunaku ono yakoowoola Mukama n’amwanukula,
n’amumalako ebyali bimuteganya byonna.
7 (F)Malayika wa Mukama yeebungulula abo abatya Mukama,
n’abawonya.
8 (G)Mulegeeko mulabe nga Mukama bw’ali omulungi!
Balina omukisa abaddukira gy’ali.
9 (H)Musseemu Mukama ekitiibwa mmwe abatukuvu be,
kubanga abamutya tebaajulenga.
10 (I)Empologoma zirumwa enjala ne ziggwaamu amaanyi;
naye abo abanoonya Mukama, ebirungi tebiibaggwengako.
11 (J)Mujje wano baana bange, mumpulirize;
mbayigirize okutya Mukama.
12 (K)Oyagala okuwangaala mu bulamu obulungi,
okuba mu ssanyu emyaka emingi?
13 (L)Olulimi lwo lukuumenga luleme okwogera ebitasaana,
n’akamwa ko kaleme okwogera eby’obulimba.
14 (M)Lekeraawo okukola ebibi, okolenga ebirungi;
noonya emirembe era ogigobererenga.
15 (N)Amaaso ga Mukama gatunuulira abo abatuukirivu,
n’amatu ge gawulira okukaaba kwabwe.
16 (O)Mukama amaliridde okumalawo abakola ebibi,
okubasaanyizaawo ddala n’obutaddayo kujjukirwa ku nsi.
17 (P)Abatuukirivu bakoowoola Mukama n’abawulira
n’abawonya mu byonna ebiba bibateganya.
18 (Q)Mukama abeera kumpi n’abalina emitima egimenyese, era alokola abo abalina emyoyo egyennyise.
7 Awo Musa n’akomawo, n’ayita abakulembeze b’abantu n’abategeeza ebigambo ebyo byonna Mukama bye yamulagira. 8 (A)Abantu bonna ne baddiramu wamu nti, “Ebyo byonna Mukama by’agambye, tujja kubikola.” Musa n’ategeeza Mukama ng’abantu bwe baayogera. 9 (B)Mukama n’agamba Musa nti, “Nzija kujja gy’oli mu kire ekikutte, abantu bawulire nga njogera naawe, bakukkirizenga era bakwesigenga ennaku zonna.” Musa n’ategeeza Mukama abantu bye baayogera.
Okutukuza Abantu
10 (C)Mukama n’agamba Musa nti, “Genda eri abantu, obatukuze leero n’enkya. Bagambe booze engoye zaabwe, 11 (D)ku lunaku olwokusatu babeere beetegefu, kubanga ku lunaku olwo Mukama alikka ku lusozi Sinaayi ng’Abayisirayiri bonna balaba. 12 Abayisirayiri bakugire n’olukomera okwetooloola olusozi, obagambe nti, ‘Mwekuume muleme okwambuka ku lusozi oba okulukwatako we lutandikira. Anaalukwatako ajja kuttibwa. 13 (E)Tajja kukwatibwako, wabula ajja kukubirwa ddala amayinja oba kufumitibwa. Omuntu tajja kulama, n’ebisolo tewaabeewo kirama.’ Akagombe bwe kanaamala okuvugira akabanga, olwo abantu ne balyoka bajja awali olusozi.[a]”
14 Awo Musa n’ava ku lusozi n’aserengeta eri abantu, n’abatukuza ne bayoza engoye zaabwe. 15 N’abagamba nti, “Mwetegekere olunaku olwokusatu, ne bakyala bammwe temubasemberera.”
Musa Asisinkana Katonda ku Lusozi Sinaayi
16 (F)Awo ku lunaku olwokusatu ku nkya ne waba okubwatuka n’okumyansa, n’ekire ekikutte ku lusozi, n’eddoboozi ly’akagombe ery’omwanguka ennyo; abantu bonna abaali mu lusiisira n’okukankana ne bakankana. 17 Musa n’aggya abantu mu lusiisira n’abaleeta basisinkane Katonda; ne bayimirira wansi w’olusozi. 18 (G)Olusozi Sinaayi ne lubikkibwa omukka; kubanga Mukama yalukkako mu muliro. Omukka ne gunyooka nga gwambuka ng’oguva mu kyoto, n’olusozi lwonna ne lukankana nnyo. 19 (H)Eddoboozi ly’akagombe bwe lyeyongera okuvuga n’omwanguka ogw’amaanyi, Musa n’ayogera, ne Katonda n’amwanukula n’eddoboozi ery’okubwatuka.
20 Awo Mukama n’akka ku ntikko y’Olusozi Sinaayi. Mukama n’ayita Musa agende ku ntikko y’olusozi; Musa n’alinnya.
Okugumiikiriza
17 (A)Naye mmwe, abaagalwa, mujjukire abatume ba Mukama waffe Yesu Kristo ebigambo bye baayogera edda 18 (B)bwe baabagamba nti, “Mu nnaku ez’oluvannyuma walijjawo abantu abalibasekerera, nga beegomba nga bwe baagala, nga batambulira mu bitasiimibwa Katonda.” 19 (C)Abo be bo abaleeta enjawukana, ab’omubiri obubiri era abatalina Mwoyo Mutukuvu.
20 (D)Naye mmwe, abaagalwa, musaana okuzimba obulamu bwammwe nga bweyongera okuba obw’amaanyi, nga mubuzimbira ku musingi ogw’okukkiriza kwammwe okutukuvu, era nga musaba mu Mwoyo Mutukuvu, 21 (E)nga mwekuumira mu kwagala kwa Katonda, nga mwesunga okusaasira kwa Mukama waffe Yesu Kristo olw’obulamu obutaggwaawo.
22 Mubeerenga ba kisa eri abo ababuusabuusa mu kukkiriza, 23 (F)n’abalala mufubenga okubawonya nga mubakwakkula mu nnimi z’omuliro, n’abalala mubatuuse eri Mukama nga muyita mu kubalaga ekisa ng’aboonoonyi, wabula mukyawe ekyambalo, ekijjudde amabala agakiteekeddwako omubiri gwabwe.
Okusaba okw’Okutendereza
24 (G)Katonda asobola okubawanirira muleme okuva mu kkubo lye, era n’okubatuusa mu maaso ge ag’ekitiibwa nga temuliiko kamogo era nga mujjudde essanyu; 25 (H)Katonda oyo omu yekka atulokola okuyita mu Yesu Kristo Mukama waffe, agulumizibwe era atenderezebwenga olw’amaanyi ge n’obuyinza bwe, okuva ku mirembe gyonna egyayita, ne kaakano era ne mu mirembe egitaliggwaawo! Amiina.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.