Revised Common Lectionary (Complementary)
25 (A)Ggwe, Ayi Mukama, gwe Katonda wange;
ndikugulumiza ne ntendereza erinnya lyo,
kubanga okoze ebintu eby’ettendo,
ebintu bye wateekateeka edda,
mu bwesigwa bwo.
2 (B)Ekibuga okifudde ntuumu ya bisasiro,
ekibuga ekiriko ekigo okifudde matongo,
ekibuga omwaddukiranga bannaggwanga tekikyali kibuga,
tekirizimbibwa nate.
3 (C)Abantu ab’amaanyi kyebaliva bakussaamu ekitiibwa
n’ebibuga eby’amawanga ag’entiisa birikutya.
4 (D)Ddala obadde kiddukiro eri abaavu,
ekiddukiro eri oyo eyeetaaga,
ekiddukiro ng’eriyo embuyaga
n’ekisiikirize awali ebbugumu.
Omukka gw’ab’entiisa
guli ng’embuyaga ekuntira ku kisenge
5 (E)era ng’ebbugumu ery’omu ddungu.
Osirisa oluyoogaano lw’abannaggwanga,
era ng’ekisiikirize eky’ekire bwe kikendeeza ebbugumu,
n’oluyimba lw’abakambwe bwe lusirisibwa.
6 (F)Ku lusozi luno Mukama Katonda ow’Eggye aliteekerateekerako
abantu bonna ekijjulo eky’emmere ennungi,
n’embaga eya wayini omuka
n’ennyama esingayo obulungi, ne wayini asinga obulungi.
7 (G)Ku lusozi luno alizikiriza
ekibikka ekyetoolodde abantu bonna,
n’eggigi eribikka amawanga gonna,
8 (H)era alimalirawo ddala okufa.
Mukama Katonda alisangula amaziga
mu maaso gonna,
era aliggyawo okuswazibwa kw’abantu be
mu nsi yonna.
Mukama ayogedde.
9 (I)Mu biro ebyo balyogera nti,
“Eky’amazima oyo ye Katonda waffe;
twamwesiga n’atulokola.
Ono ye Mukama Katonda twamwesiga;
tusanyukire mu bulokozi bwe, era tumujagulizeemu.”
Zabbuli ya Dawudi.
23 (A)Mukama ye Musumba wange, seetaagenga.
2 (B)Angalamiza ne mpummulira mu ddundiro ly’omuddo omuto.
Antwala awali amazzi amateefu.
3 (C)Akomyawo emmeeme yange.
Annuŋŋamya okukola eby’obutuukirivu
olw’erinnya lye.
4 (D)Newaakubadde nga ntambulira mu kiwonvu eky’ekisiikirize eky’olumbe, siritya kabi konna;
kubanga ggwe oli nange.
Oluga lwo n’omuggo gwo
bye binsanyusa.
Okuyigiriza
4 (A)Kale, baganda bange abaagalwa, era be nnumirirwa omwoyo, mmwe ssanyu lyange era mmwe ngule yange; noolwekyo abaagalwa, muyimirire mu Mukama waffe.
2 (B)Ewudiya ne Sintuke mbeegayirira mukkiriziganye mu Mukama waffe. 3 Era ggwe mukozi munnange, nkusaba oyambenga abakazi abo, kubanga baakolera wamu nange omulimu gw’okubunyisa Enjiri. Abo awamu ne Kerementi, era ne bakozi bannange abalala, amannya gaabwe gawandiikiddwa mu kitabo ky’obulamu.
4 (C)Musanyukirenga mu Mukama waffe bulijjo. Nziramu okubagamba nti musanyukenga. 5 (D)Era mubeere n’okuzibiikiriza eri abantu bonna. Mukama waffe, ali kumpi. 6 (E)Temweraliikiriranga kintu na kimu, wabula mu buli kintu mu kusabanga ne mu kwegayiriranga awamu n’okwebazanga, mutegeezenga Katonda bye mwetaaga. 7 (F)N’emirembe gya Katonda, egisukkiridde okutegeera kwammwe ginaabakuumanga amagezi gammwe n’emitima gyammwe mu Kristo Yesu.
8 Eky’enkomerero, abooluganda, mulowoozenga ku buli kya mazima, na buli ekisiimibwa na buli kya butuukirivu, na buli kirongoofu, na buli kyagalibwa, na buli kyogerwako obulungi, era bwe wabangawo ekirungi oba bwe wabangawo ettendo, ebyo mubirowoozengako. 9 (G)Ebyo bye mwayiga, n’ebyo bye mwafuna ne muwulira, ebyo mubirowoozengako.
Olugero olw’Embaga ey’Obugole
22 Yesu n’addamu n’ayogera nabo mu ngero ng’agamba nti, 2 (A)“Obwakabaka obw’omu ggulu bufaanana nga, kabaka eyategekera omwana we embaga ey’obugole. 3 (B)N’atuma abaddu be okuyita abaayitibwa ku mbaga, ne batayagala kujja.
4 (C)“Kabaka n’abatumira abaddu abalala babategeeze nti, ‘Mutegeeze abayite nti nteeseteese, ekijjulo, zisseddume zange n’ente ensavuwazze zittiddwa, era buli kimu kitegekeddwa. Mujje ku mbaga.’
5 “Naye ne batassaayo mwoyo, omu n’alaga mu nnimiro ye, omulala n’alaga mu bya busuubuzi bye. 6 Abalala ne babakwata ne bababonyaabonya ne babatta. 7 (D)Awo Kabaka n’asunguwala, n’ayungula ekibinja ky’abaserikale n’azikiriza abatemu abo, n’ayokya ekibuga kyabwe.
8 “Awo kabaka n’agamba abaddu be nti, ‘Ekijjulo ky’embaga kiteekeddwateekeddwa, naye abaayitibwa ne batasaanira. 9 (E)Noolwekyo mugende mu nguudo z’omu kibuga muyite abantu bonna be munaasangayo bajje ku mbaga.’ 10 (F)Abaddu bwe baagenda mu nguudo, ne bakuŋŋaanya buli gwe baasanga, ababi n’abalungi, ekisenge ky’embaga ne kijjula abagenyi.
11 “Kabaka bwe yayingira okulaba abaali batudde ku mmeeza, n’alaba omusajja eyali tayambadde kyambalo kya mbaga. 12 (G)Kabaka n’amubuuza nti, ‘Munnange, oyingidde otya wano nga toyambadde kyambalo kya mbaga?’ Omusajja nga talina ky’addamu.
13 (H)“Awo kabaka n’alagira basajja be nti, ‘Mumusibe emikono n’amagulu mumukasuke ebweru mu kizikiza ekikutte be zigizigi, eri okukaaba n’okuluma obujiji.’
14 (I)“Abayitibwa bangi, naye abalondemu batono.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.