Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Complementary)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with thematically matched Old and New Testament readings.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 96:1-9

96 (A)Muyimbire Mukama oluyimba oluggya;
    muyimbire Mukama mmwe ensi yonna.
(B)Muyimbire Mukama; mutendereze erinnya lye,
    mulangirire obulokozi bwe buli lukya.
Mutende ekitiibwa kye mu mawanga gonna,
    eby’amagero bye mubimanyise abantu bonna.

(C)Kubanga Mukama mukulu era asaanira nnyo okutenderezebwa;
    asaana okutiibwa okusinga bakatonda bonna.
(D)Kubanga bakatonda bonna abakolebwa abantu bifaananyi bufaananyi;
    naye Mukama ye yakola eggulu.
(E)Ekitiibwa n’obukulu bimwetooloola;
    amaanyi n’obulungi biri mu nnyumba ye entukuvu.

(F)Mugulumize Mukama mmwe ebika eby’amawanga byonna;
    mutende ekitiibwa kya Mukama awamu n’amaanyi ge.
(G)Mugulumize Mukama mu ngeri esaanira erinnya lye;
    muleete ekiweebwayo mujje mu mbuga ze.
(H)Musinze Mukama mu kitiibwa eky’obutuukirivu bwe.
    Ensi yonna esinze Mukama n’okukankana.

Zabbuli 96:10-13

10 (A)Mutegeeze amawanga gonna nti Mukama y’afuga.
    Ensi nnywevu, tewali asobola kuginyeenyaako;
    Mukama aliramula abantu mu bwenkanya.

11 (B)Kale eggulu lisanyuke n’ensi ejaguze;
    ennyanja eyire ne byonna ebigirimu.
12     (C)Ennimiro n’ebirime ebizirimu bijaguze;
n’emiti gyonna egy’omu kibira nagyo gimutendereze n’ennyimba ez’essanyu.
13     (D)Kubanga Mukama ajja;
    ajja okusalira ensi omusango.
Mukama aliramula ensi mu butuukirivu,
    n’abantu bonna abalamule mu mazima.

Ekyamateeka Olwokubiri 17:14-20

Eby’Obwakabaka

14 (A)Bw’olimala okuyingira mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa, n’ogirya, n’obeera omwo, oliyinza okugamba nti, “Leka neeteekerewo kabaka ananfuganga okufaanana ng’amawanga amalala gonna aganneebunguludde;” 15 (B)Weegenderezanga n’ossaawo kabaka oyo Mukama Katonda wo gw’anaakulonderanga. Kikugwanira okumuggyanga mu bantu bo bennyini. Tokkirizibwenga kwessizangawo kabaka omunnaggwanga anaabanga tavudde mu baganda bo bennyini, okukufuganga. 16 (C)Kabaka oyo tateekwa kwefuniranga mbalaasi nnyingi, wadde okutumanga abantu mu Misiri bamufunirengayo embalaasi endala okwongeranga ku z’alina obungi; kubanga Mukama yagamba nti, “Temuddangayo kukwata kkubo eryo,” 17 (D)Tawasanga bakazi bangi kubanga bagenda kumukyamyanga. So tekimugwanira kwetuumangako zaabu n’effeeza ennyingi ennyo.

18 (E)Bw’anaamalanga okutebenkera ku ntebe ey’obwakabaka bwe, anaakoppololeranga amateeka gano mu kitabo ng’agaggyanga ku ga bakabona, Abaleevi. 19 (F)Ekitabo ekyo anaabeeranga nakyo bulijjo, era anaakisomanga ennaku zonna ez’obulamu bwe, alyokenga ayige okutyanga Mukama Katonda we, ng’agobereranga n’obwegendereza ebigambo byonna ebiri mu mateeka gano, ne mu biragiro, 20 (G)nga teyeekulumbaza kusukkirira ku bannansi banne, era nga takyama kuva ku mateeka gano okulaga ku mukono ogwa ddyo oba ku gwa kkono. Bw’anaakolanga bw’atyo, ye, n’ezzadde lye banaafuganga mu bwakabaka bwe, mu Isirayiri, okumala ennaku nnyingi.

1 Peetero 5:1-5

Katonda Talemererwa

(A)Noolwekyo mbulirira abakadde abali mu mmwe nze mukadde munnammwe, omujulirwa w’okubonaabona kwa Kristo, era agabanira awamu ekitiibwa ekigenda okubikkulirwa. (B)Mulundenga ekisibo kya Katonda ekiri mu mmwe, mukiriisenga nga mukirabirira n’okwagala so si na kwemulugunya, nga mukolerera amagoba ag’obukuusa wabula olw’okujjumbira Katonda. (C)Be mukulembera temubakambuwaliranga wabula mubakulemberenga nga mubalaga ekyokulabirako ekirungi. (D)Era Omusumba Omukulu bw’alikomawo, muliweebwa engule ey’ekitiibwa ekitaliggwaawo.

(E)Mmwe abavubuka, mugonderenga abakulu. Muweerezeganenga mwekka na mwekka n’obuwombeefu kubanga

“Katonda akyawa ab’amalala
    naye abawombeefu abawa omukisa.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.