Old/New Testament
1 (A)Oluyimba lwa Sulemaani olusinga ennyimba zonna.
Omwagalwa
2 (B)Leka annywegere n’emimwa gye
kubanga okwagala kwo kusinga envinnyo,
3 (C)n’amafuta go gawunya akaloosa akalungi;
erinnya lyo liri ng’amafuta agattululwa,
era abawala kyebava bakwagala.
4 (D)Baako ne gy’ontwala, yanguwa!
Kabaka ansembezezza kumpi nnyo antutte mu bisenge bye.
Abemikwano
Tunaasanyuka ne tukujagulizaamu;
era tunaatendereza okwagala kwo okusinga envinnyo.
Omwagalwa
Nga batuufu okukwegomba!
5 (E)Ndi muddugavu, ndi mulungi,
Mmwe abawala ba Yerusaalemi
muli ng’eweema ez’e Kedali,[a]
era ng’entimbe za Sulemaani.
6 (F)Temuntunuulira kubanga ndi muddugavu,
olw’okuba omusana gunjokezza.
Batabani ba mmange baansunguwalira;
ne bandagira okukuuma ennimiro ez’emizabbibu.
Ennimiro yange ngigayaaliridde.
7 (G)Ntegeeza ggwe gwe njagala, gy’oliisiza ekisibo kyo,
ne gy’owumuliza endiga zo mu ssaawa ez’omu ttuntu.
Lwaki mbeera ng’omukazi eyeebisse amaaso
nga nninaanye ebisibo eby’abanywanyi bo?
Abemikwano
8 (H)Bw’oba nga tomanyi, ggwe omukyala asinga bonna obulungi,
goberera ekkubo endiga lye zikutte,
ogende oliisize embuzi zo ento,
okumpi n’eweema z’abasumba.
Owoomukwano
9 (I)Omwagalwa wange,
nkugeraageranya n’embalaasi esika amagaali ga Falaawo.
10 (J)Amatama go galabika bulungi ng’oyambadde ebikomo eby’oku matu,
n’ensingo yo nerabika bulungi ng’erimu eby’omu bulago eby’omuwendo.
11 Tunaakukolera eby’oku matu ebya zaabu,
nga birina amapeesa aga ffeeza.
Omwagalwa
12 (K)Kabaka bwe yali ng’atudde ku mmeeza ye,
akawoowo kange ne kamuwunyira bulungi.
13 Muganzi wange ali ng’ensawo eya kaloosa aka mooli[b] gye ndi,
ng’awummulidde mu kifuba kyange.
14 (L)Muganzi wange ali ng’ekiganda eky’ebimuli ebya kofera[c]
ebivudde mu nnimiro ez’emizabbibu ez’e Engedi.[d]
Owoomukwano
15 (M)Laba, oli mubalagavu, omwagalwa wange
oli mubalagavu olabika bulungi.
Amaaso go mayiba.
Omwagalwa
16 Olabika bulungi muganzi wange,
era onsanyusa.
Ekitanda kyaffe kya muddo muto.
Owoomukwano
17 (N)Emikiikiro gy’ennyumba yaffe mivule,
n’enzooba zaffe nkanaga.
2 (O)Ndi kimuli kya looza ekya Saloni,[e]
eddanga ery’omu biwonvu.
Owoomukwano
2 Ng’eddanga mu maggwa,
gwe njagala ennyo bw’ali bw’atyo mu baweereza abakazi.
Omwagalwa
3 (P)Ng’omucungwa mu miti egy’omu kibira,
aŋŋanza bw’ali bw’atyo mu bavubuka.
Neesiima okutuula mu kisiikirize kye,
n’ekibala kye kimpomera.
4 (Q)Yantwala ku kijjulo,
n’okwagala kwe ne ku mmaamira.
5 (R)Munzizeemu amaanyi n’ezabbibu enkalu,
mumbuddeebudde n’emicungwa
kubanga okwagala kunzirisizza.
6 (S)Omukono gwe ogwa kkono guli wansi wa mutwe gwange,
n’omukono gwe ogwa ddyo gumpambatira.
7 (T)Mmwe abawala ba Yerusaalemi, mbakuutira,
ng’empeewo n’enjaza ez’omu ttale,
temusisimula newaakubadde okuzuukusa okwagala
okutuusa nga kweyagalidde.
8 (U)Wuliriza omwagalwa wange,
Laba, ajja
ng’abuukirabuukira ku nsozi,
ng’azinira ku busozi.
9 (V)Omwagalwa wange ali ng’empeewo oba ennangaazi ento.
Laba ayimiridde emabega w’olukomera lwaffe,
Alingiza mu madirisa,
alabikira mu mulimu ogulukibwa ogw’omu ddirisa.
10 Omwagalwa wange yaŋŋamba nti,
“Golokoka, Owoomukwano,
omulungi wange, ojje tugende,
11 kubanga laba ttoggo aweddeko,
n’enkuba eweddeyo.
12 Ebimuli bimulisizza,
n’ebiro eby’okuyimba bituuse,
era n’okukaaba kw’amayiba
kuwulirwa mu nsi.
13 (W)Omutiini[f] gubala ettiini zaagwo,
n’emizabbibu gimulisizza ne gibunya akawoowo kaagyo.
Golokoka Owoomukwano,
omulungi wange ojje tugende.”
Owoomukwano
14 (X)Ggwe ejjiba lyange, eribeera mu njatika ez’omu njazi,
mu bwekwekero obw’amayinja,
ndaga amaaso go,
ka mpulire eddoboozi lyo,
kubanga eddoboozi lyo ddungi nnyo,
n’amaaso go gasanyusa.
15 (Y)Tukwatire ebibe,
obube obutono,
obwonoona ennimiro ez’emizabbibu,
kubanga ennimiro zaffe ez’emizabbibu zimulisizza.
Omwagalwa
16 (Z)Muganzi wange, wange nzekka, era nange ndi wuwe;
aliisiza ekisibo kye mu malanga,
17 (AA)okutuusa obudde nga bukedde
n’ebisiikirize nga biddukidde ddala;
okyuke omwagalwa wange obe ng’empeewo
oba ennangaazi ento ku busozi obw’e Beseri.
3 (AB)Ekiro kyonna nga ndi ku kitanda kyange,
nalindirira emmeeme yange gw’eyagala,
ne munoonya naye saamulaba.
2 Nnaagolokoka ne ntambulatambulako mu kibuga,
mu nguudo ne mu bifo ebigazi;
nanoonya emmeeme yange gw’eyagala,
ne nnindirira naye saamulaba.
3 (AC)Abakuumi b’ekibuga
abaali balawuna mu kibuga, ne bansisinkana, ne mbabuuza nti,
“Mundabidde ku oyo emmeeme yange gw’eyagala?”
4 (AD)Twali twakayisiŋŋanya,
ne ndaba oyo emmeeme yange gw’eyagala.
Ne munnywegera ne simuganya kugenda,
okutuusa lwe namuleeta mu nnyumba ya mmange,
ne mutwala mu kisenge ky’oyo eyanzaala.
5 (AE)Mbakuutira mmwe abawala ba Yerusaalemi,
ng’empeewo n’enjaza ez’oku ttale,
temusisimula newaakubadde okuzuukusa okwagala
okutuusa nga kwesiimidde.
6 (AF)Ani oyo ajja ng’ava mu ddungu,
afaanana ng’empagi ey’omukka,
asaabye ebyakaloosa ebya mooli n’omugavu,
okuva mu byakaloosa byonna eby’omusuubuzi?
7 (AG)Laba, kye kigaali kya Sulemaani,
ekiwerekeddwako abasajja ab’amaanyi nga nkaaga,
abalwanyi abazira abasingayo mu Isirayiri,
8 (AH)bonna balina ebitala,
era bamanyirivu mu kulwana;
buli omu n’ekitala kye mu kiwato kye,
nga beetegekedde entiisa ey’ekiro.
9 Kabaka Sulemaani yeekolera ekigaali
eky’emiti egy’omu Lebanooni.
10 Empagi zaakyo yazisiigako ffeeza,
ne wansi waakyo nga wa zaabu,
n’entebe yaamu ng’eriko olugoye lwa ffulungu;
ne munda nga mwaliire bulungi n’okwagala,
okw’abawala ba Yerusaalemi.
11 (AI)Mufulume, mmwe abawala ba Sayuuni,
mulabe ku Kabaka Sulemaani ng’ayambadde engule,
engule nnyina gye yamutikkira
ku lunaku olw’embaga ye,
ku lunaku omutima gwe kwe gwasanyukira.
Pawulo Ayanirizibwa Abatume
2 (A)Bwe waayitawo emyaka kkumi n’ena ne nzirayo ne Balunabba ne Tito e Yerusaalemi. 2 (B)Nagendayo olw’okubikulirwa kwe nafuna, ne mbanjulira Enjiri gye mbuulira Abaamawanga. Nayogera n’abakulembeze b’Ekkanisa mu kyama balyoke bategeere bye njigiriza, si kulwa nga nteganira bwereere, ne bakkiriza nti bituufu. 3 (C)Tito gwe nnali naye ne batamuwaliriza kukomolebwa, newaakubadde nga yali munnaggwanga. 4 (D)Naye olw’abooluganda ab’obulimba abaayingizibwa mu kyama okuketta eddembe lye tulina mu Kristo Yesu, balyoke batufuule abaddu, 5 (E)abo tetwabawuliriza essaawa n’emu, amazima g’enjiri galyoke geeyongerenga mu mmwe.
6 (F)Naye abo abaabalibwa ng’okuba ekintu eky’omuwendo, abataaliko bwe baali gye ndi kubanga Katonda tasosola mu bantu, nze gye ndi tebalina kye bannyongerako, 7 (G)naye mu ngeri endala bwe baalaba nga nateresebwa Enjiri ey’abatali bakomole, nga Peetero bwe yateresebwa ey’abakomole, 8 (H)oyo eyakolera mu Peetero olw’obutume bw’abakomole, ye yakolera ne mu nze ku lw’Abaamawanga. 9 (I)Yakobo ne Keefa[a] ne Yokaana abaalabikanga ng’empagi bwe baalaba ekisa ekya mpeebwa, ne batukwata mu ngalo eza ddyo nze ne Balunabba nga bassa kimu naffe nti ffe tubeere mu Bamawanga, naye bo babeere mu b’abakomole. 10 (J)Kye baatusaba kyokka tujjukirenga abaavu, ate ng’ekyo kye nnali nesunga okukola.
Pawulo Anenya Peetero
11 (K)Naye Peetero ate era nga ye Keefa, bwe yajja mu Antiyokiya ne mmunenya mu lwatu kubanga yali mukyamu. 12 (L)Kubanga abaava eri Yakobo bwe baali tebannajja, yalyanga n’Abamawanga, naye bwe bajja n’atandika okubeeyawulako ng’atya abakomole. 13 (M)Abayudaaya abalala bonna ne bamwegattako mu bukuusa, ekyo ne kireetera ne Balunabba okusendebwasendebwa obukuusa bwabwe.
14 (N)Naye bwe nalaba nga tebatambula bulungi ng’amazima g’enjiri bwe gali, ne ŋŋamba Keefa mu maaso gaabwe bonna nti, “Obanga ggwe Omuyudaaya ogoberera empisa z’Abamawanga ezitali za Kiyudaaya, owaliriza otya Abaamawanga okugobereranga empisa z’Ekiyudaaya?”
15 Ffe mu buzaaliranwa tuli Bayudaaya so si Bamawanga aboonoonyi. 16 (O)Kyokka tukimanyi bulungi nti omuntu taweebwa butuukirivu lwa kugondera mateeka, wabula abufuna lwa kukkiriza Yesu Kristo, era naffe kyetwava tukkiriza Yesu Kristo tulyoke tuweebwe obutuukirivu olw’okumukkiriza so si lwa kugondera mateeka. Kubanga tewali n’omu aliweebwa obutuukirivu olw’ebikolwa eby’amateeka.
17 (P)Naye oba nga bwe twanoonya okuweebwa obutuukirivu mu Kristo twasangibwa okuba aboonoonyi, kitegeeza nti Kristo muweereza wa kibi? Kikafuuwe. 18 Kubanga bwe nzimba nate bye nazikiriza, nneeraga nzekka okuba omwonoonyi. 19 (Q)Kubanga olw’amateeka nnafa eri mateeka, ndyoke mbeere omulamu mu Katonda. Nakomererwa wamu ne Kristo; 20 (R)kyokka ndi mulamu, si ku bwange, wabula ku bwa Kristo abeera mu nze; era obulamu bwe nnina kaakano mu mubiri, mbulina lwa kukkiriza Omwana wa Katonda, eyanjagala ne yeewaayo yekka ku lwange. 21 (S)Ssidibya kisa kya Katonda; naye oba nga obutuukirivu buva mu mateeka, nga Kristo yafiira bwereere.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.