Old/New Testament
Yerusaalemi ne Yuda Bisalirwa Omusango
3 (A)Laba kaakano, Mukama,
Mukama Katonda ow’Eggye,
aggya ku Yerusaalemi ne ku Yuda
ekibeesiguza ne kwe banyweredde,
ekibeesiguza kyonna k’ebeere mmere, ka gabe mazzi.
2 (B)Omusajja ow’amaanyi, n’omusajja omulwanyi omuzira,
omulamuzi, ne nnabbi,
n’omulaguzi, n’omukadde.
3 Omuduumizi akulira ekibinja ky’amakumi ataano,
n’omuwi w’amagezi, omulogo, omufuusa omugezigezi.
4 “Era ndifuula abalenzi obulenzi okuba abafuzi baabwe,
n’abaana obwana balibafuga.”
5 (C)Era abantu balijooga bannaabwe,
buli muntu anyigirize munne, ne muliraanwa anyigirize muliraanwa we.
Abato baliyisa mu bakulu amaaso
n’oyo omuntu ataliiko bw’ali ajooge omuntu ow’ekitiibwa.
6 Ekiseera kirituuka
omusajja agambe muganda we nti,
“Ggwe alina ku ngoye ba omukulembeze waffe,
n’ebizibu bino ggwe oba obyetikka!”
7 (D)Naye ku olwo lwennyini aliddamu nti,
“Si nze n’aba ow’okubawonya,
mu nnyumba yange temuli mmere, wadde ebyambalo.
Temumpa kukulembera bantu!”
8 (E)Kubanga Yerusaalemi kizikiridde
ne Yuda agudde!
Kubanga ebigambo byabwe byonna n’ebikolwa biwakanya Mukama Katonda,
bityoboola ekitiibwa kye.
9 (F)Engeri gye batunulamu eragira ddala nga bwe balina omusango,
era boolesa ekibi kyabwe nga Sodomu[a]
awatali kukweka n’akatono.
Zibasanze!
Kubanga bo bennyini be beereeteedde okuzikirira.
10 (G)Gamba abatuukirivu nti bo tebaabeeko mutawaana,
kubanga baakuwoomerwa ebibala by’ebikolwa byabwe.
11 (H)Zisanze abakozi b’ebivve! Banaatuuka mu kuzikirira!
Balisasulibwa emikono gyabwe kye gikoze.
12 (I)Abantu bange banyigirizibwa abaana abato,
abakazi kaakano be babafuga.
Woowe! Abantu bange bakyamizibwa abakulembeze baabwe
era babatabulatabula okubaggya mu kkubo ettuufu.
13 (J)Mukama Katonda ali mu kifo kye mu mbuga,
ayimiridde okusalira abantu be omusango.
14 (K)Mukama Katonda asala omusango
gw’abakadde n’abakulembeze b’abantu be.
“Mmwe mwayonoona ennimiro yange ey’emizabbibu.
Ebyanyagibwa ku baavu biri mu nnyumba zammwe.
15 (L)Lwaki mulinnyirira abantu bange,
lwaki mutulugunya abaavu?” bw’ayogera Mukama Katonda Ayinzabyonna.
16 (M)Mukama Katonda agamba nti,
“Abakazi b’omu Sayuuni[b] beemanyi,
era batambula balalambazza ensingo
nga batunuza bukaba.
Batambula basiira
nga bavuza obukomo bw’oku magulu gaabwe.
17 Mukama kyaliva aleeta amabwa ku mitwe gy’abakazi ba Sayuuni,
ne gifuuka gya biwalaata.”
18 (N)Olunaku lujja Mukama lwaliggya ku bakazi b’omu Yerusaalemi ebintu byonna ebibaleetera amalala, ebikomo by’oku magulu, ebitambaala ebibikka ku mitwe, n’obukuufiira, 19 ebyokumatu, ebyambalwa mu bulago, n’obutimba bw’omu maaso, 20 (O)ebyokumitwe, ebyokumikono, ebyomukiwato, 21 empeta ez’oku ngalo n’ez’omu nnyindo, 22 engoye ennungi, n’eminagiro, n’amaganduula, n’obusawo, 23 n’endabirwamu, n’engoye ez’obutimba, n’eza linena, n’ebitambaala eby’oku mitwe ebinaanikiddwa n’amayinja ag’omuwendo, n’engoye ezibabikka.
24 (P)Mu kifo ky’akaloosa walibaawo kuwunya kivundu,
awandibadde enkoba ennungi wabeewo biguwa,
n’awaali enviiri ennongoose obulungi wabeewo kiwalaata,
mu kifo ky’engoye babeere mu nziina,
n’awaali obulungi waddewo obulambe.
25 (Q)Abasajja bo balittibwa kitala,
abalwanyi bo abazira bagwire mu lutalo.
26 (R)N’enzigi za Sayuuni zirikaaba ne zikungubaga
era ekibuga kyennyini kiriba ng’omukazi alekeddwa obwereere ng’atudde mu ttaka.
4 (S)Ekiseera ekyo bwe kirituuka abakazi musanvu balyekwata omusajja omu nga boogera nti,
Tuyitibwenga erinnya lyo,
otuggyeko ekivume.
Tunenoonyezanga emmere yaffe era twenoonyeze n’ebyokwambala.
Yerusaalemi Kizzibwa Obuggya
2 (T)Ku lunaku luli ettabi lya Mukama Katonda liriba ddungi era lya kitiibwa, era n’ebibala by’ensi biryeyagaza nnyo Abayisirayiri abaasigalawo. 3 (U)Era buli alisigala mu Sayuuni na buli alisigala mu Yerusaalemi aliyitibwa mutukuvu, buli muntu alibalirwa mu balamu mu Yerusaalemi. 4 (V)Mukama aliggyawo obutali butuukirivu bw’abakazi ba Sayuuni, era n’omwoyo ogusala ensonga n’omwoyo ogwokya, alisangulawo amatondo g’omusaayi mu Yerusaalemi. 5 (W)Olwo Mukama Katonda atondewo ekire mu budde obw’emisana, n’omukka n’okumasaamasa ng’omuliro ogwaka ekiro ku kifo kyonna eky’olusozi Sayuuni ne ku bantu bonna abakuŋŋaaniddeko; kubanga ku byonna era wonna kunaaba kubikkiddwako ekitiibwa kya Katonda. 6 (X)Era kiribeera ekibikka n’ekisiikirize ekiziyiza ebbugumu ly’emisana, era ekiddukiro omwewogomebwa kibuyaga n’enkuba.
6 (A)Abooluganda omuntu bw’abanga alina ekibi ky’akoze, mmwe ab’omwoyo mumuluŋŋamyenga mu buwombeefu nga mwegendereza si kulwa nga nammwe mugwa mu kukemebwa. 2 (B)Muyambaganenga, bwe mutyo bwe munaatuukirizanga etteeka lya Kristo. 3 (C)Kubanga omuntu yenna bwe yeerowooza okuba owa waggulu so nga si bw’ali, yeerimbarimba. 4 Naye buli muntu yeekebere akakase omulimu ggwe, yenyumirize ye yekka so si mu muntu omulala. 5 Kubanga buli muntu aneetikkanga obuvunaanyizibwa bwe. 6 (D)Oyo ayigirizibwa ekigambo kya Katonda, agabanirenga wamu n’amuyigiriza ku birungi byonna by’alina.
7 (E)Temubuzibwabuzibwanga, Katonda tasekererwa, kubanga omuntu ky’asiga era ky’alikungula. 8 (F)Kubanga oyo asiga eri omubiri gwe, alikungula ebiggwaawo. Naye oyo asiga eri omwoyo, alikungula obulamu obutaggwaawo. 9 (G)Kale tulemenga okuterebuka mu kukola obulungi, kubanga oluvannyuma tulikungula emikisa, bwe tutaggwaamu maanyi. 10 (H)Noolwekyo, buli lwe kinaabanga kisobose tukolerenga abantu bonna ebirungi, na ddala ab’omu nnyumba ey’okukkiriza.
Si kukomola wabula abantu abaggya
11 (I)Mulabe, bwe nnabawandiikira n’omukono gwange mu nnukuta ennene! 12 (J)Abo abanoonya okweraga mu mubiri be babawaliriza okukomolebwa mu mubiri, balemenga okuyigganyizibwanga olw’omusaalaba gwa Kristo, balyoke beenyumirize olw’omubiri gwammwe. 13 (K)Kubanga n’abo bennyini abakomolebwa tebakwata mateeka, naye baagala mukomolebwe balyoke beenyumirize olw’omubiri gwammwe. 14 Naye nze sigenda kwenyumiririza mu kintu kyonna okuggyako omusaalaba gwa Mukama waffe Yesu Kristo, kubanga olw’omusaalaba ogwo, nkomereddwa eri ensi, n’ensi ekomereddwa eri nze. 15 (L)Kubanga okukomolebwa oba obutakomolebwa si kintu, wabula ekikulu kye kitonde ekiggya. 16 N’abo bonna abanaatambuliranga mu tteeka eryo, emirembe gibeerenga ku bo, n’okusaasirwa, ne ku Isirayiri ya Katonda.
17 (M)Okuva kaakano tewabanga muntu n’omu anteganya, kubanga nnina enkovu za Yesu ku mubiri gwange.
18 (N)Abooluganda, ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga nammwe n’omwoyo gwammwe. Amiina.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.