Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Old/New Testament

Each day includes a passage from both the Old Testament and New Testament.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Engero 25-26

Engero Endala Eza Sulemaani

25 (A)Zino nazo ngero za Sulemaani abasajja ba Keezeekiya kabaka wa Yuda ze baakoppolola.

(B)Okukisa ensonga kitiibwa kya Katonda,
    naye okunoonyereza ensonga kitiibwa kya bakabaka.

Ng’eggulu bwe lyewanise waggulu ennyo n’ensi bw’ekka ennyo wansi,
    bwe gityo n’emitima gya bakabaka bwe gitategeerekeka.

Effeeza giggyeemu ebisejja,
    olyoke ofune omuweesi ky’anaakozesa.
(C)Ggyawo abakozi b’ebibi mu maaso ga kabaka,
    entebe ye ey’obwakabaka eryoke enywezebwe mu butuukirivu.

Teweekuzanga mu maaso ga kabaka,
    wadde okwewa ekifo mu bantu ab’ekitiibwa.
(D)Kubanga okukugamba nti, “Jjangu wano mu maaso,”
    kisingako okukuswaza mu maaso g’ow’ekitiibwa.

(E)Amaaso go bye galabye
    tobyanguyirizanga kubireeta mu mbuga,
kubanga oluvannyuma onookola otya
    munno bw’anaakuswaza?

Bw’owozanga ne muliraanwa wo,
    tobikkulanga kyama kya muntu mulala,
10 akiwulira aleme okukuswaza;
    n’onyoomebwa ebbanga lyonna.

11 (F)Ekigambo ekyogere nga bwe kisaanidde,
    kiba kya muwendo nnyo nga zaabu gwe batonye mu bintu bye bakoze mu ffeeza.

12 (G)Ng’empeta ey’omu kutu eya zaabu, oba akakomo aka zaabu ennungi,
    bw’atyo omuntu ow’amagezi anenya, bw’abeera eri okutu okuwuliriza.

13 (H)Ng’obunnyogovu bw’omuzira bwe bubeera mu biseera eby’okukunguliramu,
    bw’atyo bw’abeera omubaka omwesigwa eri abo abamutuma,
    aweweeza emmeeme ya bakama be.

14 Ng’ebire n’empewo omutali nkuba,
    omuntu asuubiza ebirabo by’atagaba bw’abeera.

Muliraanwa n’Omulabe

15 (I)Okugumiikiriza okungi kuyinza okukkirizisa omufuzi,
    n’olulimi olw’eggonjebwa lumenya eggumba.

16 (J)Bw’ozuula omubisi gw’enjuki, lyako ogwo gwokka ogukumala,
    si kulwa ng’ogukkuta nnyo n’ogusesema.
17 Tokyalanga lunye ewa muliraanwa wo,
    si kulwa ng’akwetamwa n’akukyawa.

18 (K)Omuntu awa obujulizi obw’obulimba ku muliraanwa we,
    ali ng’embuukuuli, oba ekitala, oba akasaale akoogi.

19 Okwesiga omuntu ateesigika,
    kiri ng’oli alina erinnyo eddwadde oba ekigere ekirema.

20 Ng’omuntu eyeeyambula engoye mu kiseera eky’obutiti,
    era ng’omwenge omukaatuufu bwe guteekebwako oluvu,
    bw’atyo bw’abeera ayimbira oyo ali mu buyinike.

21 Omulabe wo bw’aba alumwa enjala, muwe emmere alye,
    bw’aba alumwa ennyonta muwe amazzi anywe.
22 (L)Kubanga oliba otuuma amanda g’omuliro ku mutwe gwe,
    era Mukama alikuwa empeera.

23 Ng’empewo ey’obukiikakkono bwereeta enkuba,
    n’olulimi oluyomba bwe luleetera omuntu obusungu.

24 (M)Okusulanga mu kasonda waggulu ku nnyumba,
    kisinga okubeera n’omukazi omuyombi mu nnyumba.

25 (N)Ng’amazzi amannyogovu bwe gaba eri emmeeme erumwa ennyonta,
    bwe gatyo bwe gaba amawulire amalungi agava mu nsi ey’ewala.

26 Ng’oluzzi olusiikuuse, oba ensulo eyonoonese,
    bw’atyo bw’abeera omutuukirivu eyeewaayo eri omukozi w’ebibi.

27 (O)Si kirungi kulya mubisi gwa njuki mungi,
    bwe kityo si kirungi omuntu okwenoonyeza ekitiibwa.

28 Omuntu ateefuga
    ali ng’ekibuga ekimenyeemenye ne kirekebwa nga tekirina bbugwe.

Omusirusiru n’Obusirusiru bwe

26 (P)Ng’omuzira bwe gutasaana mu biseera bya kusiga oba enkuba mu makungula,
    n’ekitiibwa bwe kitasaanira musirusiru.

(Q)Ng’enkazaluggya ewabye, ng’akataayi akabuukabuuka,
    ekikolimo ekitasaanidde tekibaako kye kikola.

(R)Embooko ya mbalaasi, n’olukoba lwa ndogoyi,
    n’omuggo gusaanira migongo gya basirusirusiru.

(S)Toyanukulanga musirusiru ng’obusirusiru bwe, bwe buli,
    oleme kubeera nga ye.

(T)Omusirusiru omuddangamu ng’obusirusiru bwe, bwe buli,
    si kulwa nga yeerowooza nti mugezi.

(U)Omuntu atuma omusirusiru,
    aba ng’eyeetemyeko ebigere n’anywa obusungu.

(V)Ng’amagulu g’omulema bwe galengejja obulengezzi,
    bwe lutyo n’olugero bwe lubeera mu kamwa k’omusirusiru.

(W)Ng’atadde ejjinja mu nvuumuulo bw’aba,
    n’oyo awa omusirusiru ekitiibwa bw’atyo bw’abeera.

(X)Ng’eriggwa bwe lifumita mu mukono gw’omutamiivu,
    bwe lutyo n’olugero bwe lubeera mu kamwa k’abasirusiru.

10 Ng’omulasi w’akasaale, amala galasa buli gw’asanze,
    bw’abeera bw’atyo apangisa omusirusiru oba omuyise yenna gw’asanze.

11 (Y)Ng’embwa bw’eddira ebisesemye by’ayo,
    bw’atyo bw’abeera omusirusiru adda mu nsobi ze.

12 (Z)Olaba omuntu omugezi mu maaso ge ye?
    Omusirusiru alina essuubi okumusinga.

13 (AA)Omugayaavu agamba nti, “Mu kkubo eriyo empologoma,
    empologoma enkambwe eyita mu luguudo!”

14 (AB)Ng’oluggi bwe lukyukira ku ppata zaalwo,
    bw’atyo omugayaavu bw’akyukira ku kitanda kye.

15 (AC)Omugayaavu akoza n’engalo ze mu kibya,
    naye olw’obunafu bwe n’atasobola kuzizza mu kamwa.

16 Omugayaavu alowooza nti mugezi,
    okusinga abantu omusanvu abaddamu ebibuuzo mu butuufu.

17 Ng’asika embwa amatu,
    omuyise bw’abeera eyeeyingiza mu luyombo olutali lulwe.

18 Ng’omulalu akasuka
    emmuli ez’omuliro oba obusaale obutta,
19 bw’abeera omuntu alimba munne,
    n’agamba nti, “Mbadde nsaaga busaazi.”

20 (AD)Enku bwe zibula omuliro guzikira,
    awatali lugambo ennyombo ziggwaawo.

21 (AE)Ng’amanda ku gannaago agaliko omuliro, oba enku ku muliro,
    bw’abeera omusajja omuyombi mu kuwakula entalo.

22 (AF)Ebigambo by’omuntu ageya biri ng’emmere ewoomerera,
    bigenda mu bitundu by’omubiri eby’ewala.

23 Ng’ekintu eky’ebbumba ekibikkiddwako amasengere,
    bwe gibeera emimwa eminyiikivu egisibuka ku mutima omubi.

24 (AG)Omuntu ow’enkwe alimbalimba n’emimwa gye
    naye ng’aterese obulimba mu mutima gwe.
25 (AH)Wadde nga by’ayogera bisanyusa, tomukkiririzaamu
    kubanga eby’emizizo musanvu bijjuza mu mutima gwe.
26 Enkwe ze ziyinza okubikkibwa mu kubuzaabuuza,
    naye obutali butuukirivu bwe buliggyibwayo mu lukuŋŋaana.

27 (AI)Buli asima ekinnya y’alikigwamu,
    n’oyo aliyiringisa ejjinja gwe liriddira.

28 (AJ)Olulimi olulimba lukyawa abo be lufumita,
    n’akamwa akawaanawaana kaleeta okuzikirira.

2 Abakkolinso 9

Okuyamba Bakristaayo bannaabwe

(A)Mmanyi bulungi nga tekinneetaagisa kubawandiikira ku nsonga y’okuweereza abatukuvu; (B)kubanga mmanyi nga bwe mwagala ennyo okuyamba, ne mikwano gyaffe wano mu Makedoniya nabategeezaako nga nnenyumiriza ku lwammwe nti ab’omu Akaya babadde beetegefu okuviira ddala mu mwaka ogwayita, era obumalirivu bwammwe bwakubiriza bangi. (C)Nabatumira abooluganda okwenyumiriza kwaffe ku lwammwe kuleme kuba kwa bwereere mu nsonga eyo, mube beetegefu nga bwe nagamba. (D)Si kulwa ng’ab’e Makedoniya bajja nange ne babasanga nga temwetegese, ne tuswala, ne bwe tutaboogerako nti ye mmwe, mu kubeesiga mmwe. (E)Kyenvudde ndowooza nga kiŋŋwanidde okubagumya abooluganda, bano babasookeyo, bateeketeeke ekirabo kye mwasuubiza, ekirabo ekyo kitegekebwe kibeere omukisa so si ekintu eky’okuwalirizibwa.

(F)Naye mujjukire nti, “Asiga ekitono alikungula kitono, naye asiga ekinene alikungula kinene.” (G)Buli omu akola nga bw’asazeewo mu mutima gwe, si lwa nnaku, newaakubadde olw’okuwalirizibwa, kubanga Katonda ayagala oyo agaba n’essanyu. (H)Katonda ayinza okwaza ekisa kyonna gye muli, bulijjo mubeerenga n’ebibamala byonna mu buli kintu nga musukkirira mu mulimu gwonna omulungi, (I)nga bwe kyawandiikibwa nti,

“Yasaasaanya, yagabira abaavu.
    Obutuukirivu bwe bubeerera emirembe gyonna.”

10 (J)Kubanga oyo awa omulimi ensigo okusiga, ate n’amuwa n’emmere ey’okulya, anaayazanga ensigo yammwe era n’agyongerako, era anaayongeranga ebibala eby’obutuukirivu. 11 (K)Anaabagaggawazanga mu buli kintu, ekyebazisa Katonda mu ffe.

12 (L)Kubanga omulimu gw’obuweereza buno tegukoma ku kuyamba batukuvu abali mu kwetaaga kyokka, kusukkirira mu kwebaza okungi eri Katonda. 13 (M)Olw’obukakafu obuvudde mu buweereza obwo, Katonda agulumizibwa olw’okugonda okw’okwatula kwammwe eri Enjiri ya Kristo, ne mu kugaba kwe mwalaga mu bye mwabawa, n’eri abantu bonna, 14 era n’okubasabira kwe babasabira kubanga babaagala nnyo olw’ekisa kya Katonda eky’ekitalo kye mulina; 15 (N)Katonda yeebazibwe olw’ekirabo ekitayogerekeka.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.