Old/New Testament
Omugezi n’Omusirusiru
10 (A)Nga ensowera enfu bwe zoonoona akaloosa akawunya obulungi,
bwe katyo akasobyo akatono bwe koonoona amagezi n’ekitiibwa.
2 Omutima gw’omuntu ow’amagezi gumukozesa ekituufu,
naye ogw’omusirusiru gumutwala kukola bitasaana.
3 (B)Ne bw’aba ng’atambula,
amanyibwa nga talina magezi,
era buli amulaba agamba nti musirusiru.
4 (C)Mukama wo bw’akunyiigiranga,
tomulaganga busungu;
okuddamu n’eggonjebwa kukyusa ekiruyi.
5 Ekibi ekirala kye nalaba,
kye kikwata ku nsobi y’omufuzi:
6 (D)nalaba ng’abasirusiru baweebwa ebifo ebisava,
naye ng’abagagga bo baweebwa ebyo ebya wansi.
7 (E)Ate nalaba ng’abaddu beebagala embalaasi,
songa abalangira batambuza bigere ng’abaddu.
8 (F)Asima ekinnya alikigwamu,
n’oyo amenya ekisenge omusota gulimubojja.
9 (G)Oyo ayasa amayinja gamulumya,
n’oyo ayasa enku zimulumya.
10 Embazzi bwe tebaako bwogi,
n’etewagalwa,
agitemya ateekwa okufuba ennyo,
naye obumanyirivu bwe buwangula.
11 (H)Omusota bwe guluma nga tegunnakola bya bufuusa,
omufuusa talina kyafunamu.
12 (I)Ebigambo ebiva mu kamwa k’omuntu ow’amagezi bya muwendo nnyo eri abo ababiwulira,
naye akamwa k’omusirusiru kamusuula mu ntata.
13 Entandikwa y’ebigambo bye nga temuli nsa,
ne ku nkomerero yaabyo biba mususa.
14 (J)Omusirusiru asavuwaza ebigambo.
Tewali amanyi birijja,
kale ani asobola okumubuulira ebiribaawo oluvannyuma lwe?
15 Omusirusiru aterebuka mangu olw’ekitamugendedde bulungi,
n’abulwa n’ekkubo erimutwala mu kibuga.
16 (K)Zikusanze gw’ensi kabaka bw’aba nga yali muddu,
nga n’abalangira bakeera kwetamiirira!
17 (L)Olina omukisa gw’ensi kabaka wo bw’aba nga wa lulyo lulangira,
ate nga n’abalangira bo bamanyi ekiseera eky’okuliiramu,
olw’okufuna amaanyi so si lwa kutamiira.
18 (M)Obugayaavu buleetera akasolya k’ennyumba okutonnya,
n’emikono egitayagala kukola gireetera ennyumba okutonnya.
19 (N)Ekijjulo kikolebwa lwa kusanyuka,
ne wayini yeeyagaza obulamu,
naye ensimbi y’esobola byonna.
20 (O)Tokolimira kabaka mu mutima gwo
newaakubadde okukolimira omugagga mu kisenge kyo,
kubanga ennyonyi ey’omu bbanga eyinza okwetikka ebigambo byo
nga biwandiikiddwa ku biwaawaatiro byayo n’ebibatuusaako.
Bw’ogaba Katonda Akuddizaawo
11 (P)Siganga emmere yo ng’enkuba etonnya,
kubanga ebbanga lyayo bwe lirituuka olikungula.
2 Gabiranga musanvu weewaawo munaana,
kubanga mu biseera eby’oluvannyuma oyinza okubeera mu kwetaaga.
3 Ebire bwe bijjula amazzi,
bitonnyesa enkuba ku nsi;
n’omuti bwe gugwa nga gwolekedde obukiikaddyo oba obukiikakkono,
mu kifo mwe gugwa mwe gulibeera.
4 Oyo alabirira embuyaga talisiga;
n’oyo atunuulira ebire talikungula.
5 (Q)Nga bw’otosobola kutegeera kkubo mpewo,
oba omubiri nga bwe guzimbibwa ku mwana ali mu lubuto;
bw’otyo bw’otosobola kutegeera Katonda
Omutonzi wa byonna by’akola.
6 (R)Ku makya siga ensigo zo,
n’akawungeezi toddiriza mukono gwo;
kubanga tomanyi eziryala,
zino oba ziri,
oba zombi ziriba nnungi.
7 (S)Ekitangaala kirungi,
era okulaba ku musana kisanyusa.
8 (T)Kale omuntu bw’awangaala emyaka emingi,
agisanyukirengamu gyonna,
naye ajjukirenga nti waliwo ennaku ez’ekizikiza
nnyingi ezijja.
Ebyo byonna ebijja butaliimu.
9 (U)Omuvubuka sanyukiranga mu buvubuka bwo,
n’omutima gwo gusanyukenga mu nnaku ez’obuvubuka bwo;
tambulira mu makubo g’omutima gwo
ne mu kulaba kw’amaaso go.
Naye manya nga mu byonna,
Katonda agenda kukusalira omusango.
10 (V)Noolwekyo ggyawo okweraliikirira mu mutima
era weggyeko emitawaana mu ggwe,
kubanga obuvubuka n’amaanyi gaabwe butaliimu.
Ennaku ze Tumala ku Nsi
12 (W)Jjukiranga omutonzi wo mu nnaku ez’obuvubuka bwo,
ng’ennaku embi tezinnakutuukako
n’emyaka nga teginnasembera,
mw’olyogerera nti, “Sizisanyukira”;
2 ng’enjuba n’obutangaavu,
omwezi n’emmunyeenye nga tebinnafuuka kizikiza;
nga n’ebire biweddemu enkuba;
3 abakuumi b’enju mwe balikankanira,
n’abasajja ab’amaanyi mwe bakutamizibwa,
nga n’abo abasa baleseeyo okusa, kubanga batono,
n’abo abalingiza mu butuli nga tebakyalaba;
4 (X)nga n’enzigi ez’olekedde enguudo zigaddwawo,
n’eddoboozi ly’okusa nga livumbedde;
ng’abasajja bagolokoka olw’eddoboozi ly’ennyonyi,
naye nga ennyimba zaabwe zivumbedde;
5 (Y)nga batya buli kiwanvu
n’akabi akali mu nguudo,
ng’omubira gumulisizza,
ng’enseenene yeewalula era nga tewakyali alimu keetaaga kino oba kiri.
Omuntu n’agenda mu nnyumba ye gy’alimala ekiseera ekiwanvu
n’abakungubazi ne babuna enguudo.
6 Jjukira omutonzi wo ng’omuguwa gwa ffeeza tegunnakutuka
oba ebbakuli eya zaabu nga tennayatika,
ng’ensuwa tennayatikira ku luzzi
obanga ne nnamuziga tennamenyekera ku luzzi,
7 (Z)ng’enfuufu edda mu ttaka mwe yava,
n’omwoyo ne gudda eri Katonda eyaguwa omuntu.
8 (AA)Obutaliimu! Obutaliimu! Omubuulizi bw’agamba,
“Buli kintu butaliimu.”
Ebikomererayo
9 (AB)Omubuulizi teyali mugezi kyokka, wabula yayigiriza n’abantu eby’amagezi. Yalowooza n’anoonyereza n’ayiiyaayo engero nnyingi. 10 (AC)Omubuulizi yanoonyereza n’afuna ebigambo ebituufu byennyini, ne bye yawandiika byali byesimbu era nga bya mazima.
11 (AD)Ebigambo by’abantu abagezi biri ng’emiwunda, engero zino ezakuŋŋaanyizibwa omusumba omu ziri ng’emisumaali egyakomererwa ne ginywezebwa ennyo. 12 (AE)Mwana wange weekuume ekintu kyonna ekyongerwako.
Okuwandiika ebitabo ebingi tekukoma, n’okuyiga okungi kukooya omubiri.
1 (A)Nze Pawulo omutume, ataatumibwa bantu wadde omuntu, wabula eyatumibwa Yesu Kristo ne Katonda Kitaffe, eyamuzuukiza mu bafu, 2 (B)awamu n’abooluganda bonna abali nange tuwandiikira ekkanisa ez’e Ggalatiya, 3 (C)nga tugamba nti ekisa n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe n’eri Mukama waffe Yesu Kristo bibeerenga nammwe; 4 (D)Kristo oyo eyeewaayo ku lw’ebibi byaffe, alyoke atununule mu mulembe guno omubi ng’okwagala kwa Katonda, era Kitaffe bwe kuli, 5 (E)aweebwe ekitiibwa emirembe n’emirembe. Amiina.
Tewali Njiri Ndala
6 (F)Naye mbeewuunya kubanga mukyuka mangu okuva ku oyo, eyabayita olw’ekisa kya Kristo, naye ne mukyuka mangu okugoberera Enjiri endala. 7 (G)Kubanga tewali njiri ndala, wabula mwawubisibwa abaagala okunyoola n’okukyusa Enjiri ya Kristo. 8 (H)Omuntu yenna, ne bwe tuba ffe, wadde malayika ava mu ggulu, bw’abuuliranga Enjiri okuggyako gye twababuulira, akolimirwenga. 9 (I)Nga bwe twasooka okwogera, bwe ntyo nziramu okukyogera nti, omuntu yenna bw’ababuulira Enjiri eteri eyo ggye mwakkiriza akolimirwenga.
10 (J)Kale kaakano nkolerera kumatiza bantu oba kusiimibwa Katonda? Oba ngezaako kusanyusa bantu? Singa nnali nkyagezaako okusanyusa abantu, sandibadde muddu wa Kristo. 11 (K)Kubanga abooluganda, mbategeeza nti, Enjiri gye nababuulira teyeesigamizibwa ku muntu, 12 (L)era nange saagiweebwa muntu wadde okusomesebwa omuntu wabula Yesu Kristo ye yagimbikkulira. 13 (M)Mumanyi nga bwe nnali nfaanana nga nkyagoberera eddiini y’Ekiyudaaya, nga bwe nayigganyanga ennyo Ekkanisa ya Katonda okugizikiza, 14 (N)era nga nnali omu ku bannaddiini abaakulaakulana mu ggwanga lyange, ne nsukkuluma ku Bayudaaya bannange be nakula nabo, era nagezaako nnyo nga bwe nasobola okugoberera empisa zonna ez’edda ez’amateeka g’eddiini yange. 15 (O)Naye Katonda bwe yasiima, eyanjawula okuva mu lubuto lwa mmange, n’ampita olw’ekisa kye, 16 (P)n’ambikkulira Omwana we ndyoke ŋŋende eri Abaamawanga mbabuulire Enjiri era sseebuuza ku muntu n’omu, 17 newaakubadde okwambuka e Yerusaalemi okwebuuza ku batume, naye nagenda mu Buwalabu era oluvannyuma ne nkomawo e Damasiko.
18 (Q)Awo bwe waayitawo emyaka esatu ne ŋŋenda e Yerusaalemi okulaba Keefa ne mmala naye ennaku kkumi na ttaano. 19 (R)Naye ssaalaba mutume mulala wabula Yakobo muganda wa Mukama waffe. 20 (S)Noolwekyo bye mbawandiikira, si bya bulimba mu maaso ga Katonda.
21 Bwe navaayo ne ndaga mu bitundu eby’e Siriya n’eby’e Kirukiya. 22 Era ekkanisa za Kristo mu Buyudaaya zaali tezinnategeera bwe nfaanana. 23 (T)Naye nga bamanyi nti, “Eyatuyigganyanga, kaakano abuulira okukkiriza kwe yagezaako okuzikiriza.” 24 (U)Era ne bagulumiza Katonda ku lwange.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.