Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Old/New Testament

Each day includes a passage from both the Old Testament and New Testament.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Isaaya 11-13

Ettabi Eririva ku Yese

11 (A)Ensibuka erimera ng’eva ku kikonge kya Yese,
    ne ku mirandira kulivaako omuti, ne ku muti kulivaako Ettabi eriribala ekibala.
(B)Mwoyo wa Mukama alibeera ku ye,
    Mwoyo ow’amagezi n’okutegeera
    ne Mwoyo w’okusala ensonga, n’ow’amaanyi
    ne Mwoyo w’okumanya era n’okutya Mukama Katonda.
(C)Era n’essanyu lye liribeera mu kutya Mukama Katonda.

Taasalenga misango ng’asinziira ku maaso ge gokka nga bwe galaba,
    oba okusalawo ng’asinziira ku byawulira n’amatu ge byokka,
(D)naye anaasaliranga abaavu emisango mu bwenkanya,
    era asalire mu bwenkanya abo abawombeefu ab’omu nsi;
era alikuba ensi n’omuggo ogw’omu kamwa ke,
    era alitta omukozi w’ebibi n’omukka ogw’omu kamwa ke.
(E)Obutuukirivu, bwe buliba olukoba lwe yeesibya,
    n’obwesigwa, bw’alyesiba mu kiwato kye.

(F)Omusege gulisulanga wamu n’omwana gw’endiga,
    n’engo egalamire wamu n’omwana gw’embuzi;
era ennyana n’empologoma n’ennyana eya ssava binaagalamiranga wamu;
    era omwana omuto yalizirabirira.
Ente n’eddubu biririira wamu,
    abaana baazo banaagalamiranga wamu.
    Empologoma erirya omuddo ng’ente.
N’omwana ayonka alizannyira ku kinnya ky’enswera,
    n’omwana omuto aliteeka omukono gwe mu kinnya ky’essalambwa.
(G)Tewalibeera kukolaganako bulabe
    wadde okuttiŋŋana ku lusozi lwange olutukuvu.
Kubanga ensi eribeera ejjudde okumanya Mukama Katonda,
    ng’amazzi bwe gajjuza ennyanja.

10 (H)Awo ku lunaku luli, muzzukulu wa Yese aliyimirira ng’ebendera eri amawanga. Oyo amawanga gwe ganaanoonyanga, n’ekifo kye eky’okuwummuliramu, kiribeera kya kitiibwa. 11 (I)Era ku lunaku olwo Mukama aligolola omukono gwe omulundi ogwokubiri[a] okununula abasigalawo ku bantu be, okubaggya mu Bwasuli ne mu Misiri ne mu Pasuloosi ne mu Kuusi ne mu Eramu ne mu Sinaali ne mu Kamasi ne mu bizinga eby’omu nnyanja.

12 (J)Era aliwanikira amawanga bbendera, akuŋŋaanye abawaŋŋanguse ba Isirayiri;
    aleete wamu abantu ba Yuda abaali basaasaanye mu nsonda ennya ez’ensi.
13 (K)Olwo obuggya bwa Efulayimu bulyoke buggweewo,
    n’abo abateganya Yuda balizikirizibwa.
Efulayimu talikwatirwa Yuda buggya
    wadde Yuda okubeera omulabe wa Efulayimu.
14 (L)Bombi awamu balirumba ne bamalawo Abafirisuuti mu busozi bw’ebugwanjuba;
    era bombiriri balinyaga abantu b’omu buvanjuba.
Baligolola omukono gwabwe ku Edomu ne Mowaabu;
    n’abaana ba Amoni balibagondera.
15 (M)Era Mukama Katonda alikaliza
    omukutu gw’ennyanja y’Abamisiri;
era aliwujira omukono gwe ku mugga Fulaati
    ne guleetawo omuyaga ogukaza,
agwawulemu ebitundu musanvu
    abantu bye banaasomokanga ku bigere.
16 (N)Era abo abalisigalawo ku bantu be balibeera n’ekkubo ery’okuyitamu ery’eggwanga
    eryasigala ku Bwasuli
nga bwe kyali eri Isirayiri ku lunaku
    lwe baaviirako mu Misiri.

Okwebaza Mukama olw’Obulokozi bwe

12 (O)Ku lunaku olwo oligamba nti,
    “Nnaakwebazanga ayi Mukama Katonda;
newaakubadde nga wansunguwalira,
    obusungu bwo bwaggwaawo era onzizizzaamu amaanyi.
(P)Laba Katonda bwe bulokozi bwange;
    nzija kumwesiga era siritya;
kubanga Mukama Katonda ge maanyi gange era lwe luyimba lwange,
    era afuuse obulokozi bwange.”
(Q)Munaasenanga n’essanyu amazzi
    okuva mu nzizi ez’obulokozi.

(R)Era ku lunaku olwo mulyogera nti,

“Mwebaze Mukama Katonda, mukoowoole erinnya lye,
    mubuulire ebikolwa bye mu mawanga,
    mwogere nti erinnya lye ligulumizibwe.
(S)Mumuyimbire Mukama Katonda ettendo kubanga akoze eby’ettendo;
    muleke kino kimanyibwe mu mawanga gonna.
(T)Leekaana n’eddoboozi ery’omwanguka oyimbe n’essanyu ggwe omuntu w’omu Sayuuni,
    kubanga Omutukuvu wa Isirayiri ali wakati mu ggwe mukulu.”

Obunnabbi Obukwata ku Kugwa kwa Babulooni

13 Obubaka bwa Babulooni Isaaya mutabani wa Amozi bwe yalaba.

(U)Muwanike bbendera ku lusozi olutaliiko bantu,
    mubakaabirire
    mubawenye bayingire mu miryango gy’abakungu.
(V)Nze Mukama ndagidde abatukuvu bange
    mpise abalwanyi bange ab’amaanyi,
    babonereze abo abeeyisaawo abeemanyi.

(W)Muwulirize oluyoogaano lw’ekibiina ku nsozi,
    nga luwulikika ng’olw’ogubiina ogunene!
Wuliriza, oluyoogaano lw’obwakabaka,
    olw’amawanga ag’ekuŋŋaanyizza awamu!
Mukama Katonda ow’Eggye ateekateeka
    eggye lye okulwana.
(X)Bava wala mu nsi ezeewala ennya
    okuva ku nkomerero y’eggulu.
Mu busungu bwe Mukama Katonda aleese ebyokulwanyisa
    eby’okuzikiriza ensi yonna.

(Y)Mukungubage, kubanga olunaku lwa Mukama luli kumpi,
    lulijja ng’okuzikirira okuva eri Mukama Katonda bwe kuba!
(Z)Emikono gyonna kyegiriva giggwaamu amaanyi,
    na buli mutima gwa muntu gulisaanuuka;
(AA)era bakeŋŋentererwe n’okubalagala kulibakwata, balyoke balumwe ng’omukazi alumwa okuzaala.
    Balitunulaganako nga bawuniikiridde amaaso gaabwe nga gatangaalirira.

Laba olunaku lwa Mukama lujja,
    olunaku olubi ennyo olw’ekiruyi n’obusungu obubuubuuka
okufuula ensi amatongo,
    n’okuzikiriza abakozi b’ebibi okubamalamu.
10 (AB)Kubanga emmunyeenye ez’omu ggulu n’ebibiina byazo
    tebiryaka;
enjuba nayo teryaka nga bw’ekola bulijjo,
    n’omwezi nagwo tegulyaka.
11 (AC)Ndibonereza ensi olw’okwonoona kw’ayo,
    n’abakozi b’ebibi olw’ebyonoono byabwe.
Era ndimalawo okweyisa kw’ab’amalala
    era nzikakkanya okwenyumiriza kw’abo abakambwe.
12 (AD)Abantu ndibafuula abebbula
    okusinga zaabu ennongoose eya ofiri.
13 (AE)Noolwekyo ndikankanya eggulu,
    era n’ensi ngiyuuguumye okuva mu kifo kyayo,
olw’obusungu bwa Mukama Katonda ow’Eggye,
    ku lunaku lw’obusungu bwe obungi.

14 (AF)Era ng’empeewo eyiggibwa,
    ng’endiga eteriiko agirunda,
buli muntu aliddukira eri abantu be
    buli muntu aliddukira mu nsi y’ewaabwe.
15 (AG)Buli anaalabwangako ng’ekitala kimuyitamu,
    buli gwe banaakwatangako ng’attibwa n’ekitala.
16 (AH)N’abaana baabwe abawere banabetenterwanga mu maaso gaabwe nga balaba;
    ennyumba zaabwe zinyagibwe, n’abakazi baabwe bakwatibwe olw’empaka.

17 (AI)Laba, ndibayimbulira Abameedi,
    abatafa ku ffeeza
    era abateeguya zaabu.
18 Emitego gyabwe girikuba abavubuka
    era tebaliba na kisa eri abawere.
    Amaaso gaabwe tegalisaasira baana bato.
19 (AJ)Ne Babulooni, ekitiibwa eky’obwakabaka,
    obulungi obw’okwemanya kw’Abakaludaaya,
kiriba nga Sodomu ne Ggomola
    Katonda bye yawamba.
20 (AK)Tekiriddamu kusulwamu ennaku zonna,
    so tekiribeerwamu emirembe n’emirembe,
so teri Muwalabu alisimbayo weema ye,
    teri musumba aligalamizaayo ggana lye kuwummulirayo.
21 (AL)Naye ensolo enkambwe ez’omu ddungu ze zinaagalamirangayo;
    ennyumba zijjule ebintu ebiwoowoola;
bammaaya banaabeeranga eyo,
    n’ebikulekule bibuukire eyo.
22 (AM)N’empisi zinaakaabiranga mu bigulumu by’ebigo byabwe,
    ebibe bikaabire mu mbiri zaabwe ezitemagana.
Ekiseera kyakyo kinaatera okutuuka,
    ennaku ze teziryongerwako.

Abaefeso 4

Okuba ab’omubiri ogumu

(A)Ng’omusibe wa Mukama waffe, mbakuutira mubeere n’empisa ezisaanira obulamu bwe mwayitirwa okutambuliramu. Mubeerenga bakkakkamu, abawombeefu era abagumiikiriza, nga mugumiikirizagana mu kwagala. (B)Munyiikirenga okukuuma obumu obw’Omwoyo mu kwegatta awamu okw’emirembe. (C)Omubiri nga bwe guli ogumu, n’Omwoyo omu, n’essuubi liri limu ery’okuyitibwa kwammwe. Mukama waffe ali omu, n’okukkiriza kumu n’okubatizibwa kumu. Katonda ali omu, era ye Kitaawe wa bonna, afuga byonna, akolera mu byonna era abeera mu byonna.

(D)Buli omu ku ffe yaweebwa ekisa ng’okugera kwa Kristo bwe kuli. (E)Ebyawandiikibwa kyebiva bigamba nti,

“Bwe yalinnya mu ggulu,
    n’atwala omunyago,
    n’awa abantu ebirabo.”

Okugamba nti “yalinnya,” kitegeeza ki? Kitegeeza nti yasooka kukka mu bitundu ebya wansi w’ensi. 10 Oyo Kristo eyakka, ye wuuyo ddala eyalinnya ewala ennyo, n’ayisa waggulu w’eggulu lyonna, alyoke ajjule obwengula bw’ensi yonna. 11 (F)Era y’omu oyo eyawa abamu okuba abatume, n’abalala okuba bannabbi, n’abalala okuba ababuulizi b’enjiri, n’abalala okuba abasumba, n’abalala okuba abayigiriza. 12 (G)Ekyo yakikola olw’okutendeka abantu ba Katonda olw’omulimu ogw’obuweereza, okuzimba omubiri gwa Kristo. 13 (H)Ekyo kijja kutwongera okugenda mu maaso, okutuusa ffenna lwe tulibeera n’okukkiriza kumu, n’okumanyira ddala Omwana wa Katonda nga tukulidde ddala mu mwoyo okutuuka ku kigera eky’okubeera nga Kristo bw’ali.

14 (I)Tuteekwa okulekeraawo okweyisa ng’abaana abato, nga tuyuuguumizibwa amayengo nga tutwalibwa buli muyaga ogw’okuyigiriza okw’abantu abakuusa, mu nkwe olw’okugoberera enteekateeka ey’obulimba. 15 (J)Tube ba mazima mu kwagala, tulyoke tukulire mu Kristo mu byonna, nga tweyongera okuba nga ye, Omutwe gw’Ekkanisa. 16 (K)Mu ye omubiri gwonna mwe gugattirwa obulungi awamu, ne guyungibwa mu buli nnyingo, nga gukola ng’ekigera kya buli kitundu bwe kuli, nga gukula era nga gwezimba mu kwagala.

Obulamu obuggya mu Kristo

17 (L)Ng’omugoberezi wa Mukama waffe, mbalagira okulekeraawo okutambula ng’abatamanyi Katonda bwe batambulira mu birowoozo byabwe eby’obusirusiru. 18 (M)Amagezi gaabwe gajjudde ekizikiza. Tebalina mugabo mu by’obulamu bwa Katonda, kubanga bajjudde obutamanya era emitima gyabwe mikakanyavu. 19 (N)Tebakyalina nsonyi, beemalidde mu bya buwemu, na mululu gwa kukola bya bugwenyufu ebya buli ngeri.

20 Kyokka mmwe si bwe mwayigirizibwa ku bya Kristo. 21 Obanga ddala mwamuwulira, era ne muyigirizibwa mu ye ng’amazima bwe gali mu Yesu, 22 (O)kale mwambulemu obulamu obw’omuntu ow’edda, avunda olw’okwegomba okw’obulimba. 23 (P)Mufuuke baggya olw’Omwoyo afuga ebirowoozo byammwe, 24 (Q)era mwambale omuntu omuggya, eyatondebwa mu kifaananyi kya Katonda mu butuukirivu ne mu kutukuzibwa okw’amazima.

25 (R)Mulekeraawo okulimba, mwogerenga amazima buli muntu ne munne, kubanga tuli bitundu bya mubiri gumu. 26 “Bwe musunguwalanga mwekuume muleme kwonoona.” Temuzibyanga budde nga mukyasunguwadde. 27 Temuwanga Setaani bbanga. 28 (S)Abadde omubbi alekeraawo okubba, wabula anyiikirenga okukola eby’omugaso ng’akola n’emikono gye, alyoke afune ky’agabirako n’abo abeetaaga.

29 Mwekuume mulemenga okwogera ebigambo ebitasaana, wabula mwogerenga ebyo byokka ebizimba nga buli muntu bwe yeetaaga, biryoke bigase abo ababiwulira. 30 (T)Era temunakuwazanga Mwoyo Mutukuvu wa Katonda, eyabateekako akabonero akalaga nga mwanunulibwa. 31 Okunyiiga, n’obusungu, n’obukambwe, n’okukaayana, n’okuvuma, na buli kibi kyonna, biremenga kubeera mu mmwe. 32 (U)Mubenga ba kisa, buli omu alumirwenga munne, era musonyiwaganenga, nga Katonda bwe yabasonyiwa mu Kristo.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.