Old/New Testament
Ekibi Kyawukanya Isirayiri ku Katonda
50 (A)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“Ebbaluwa egoba nnyammwe, kwe namugobera eri ludda wa?
Oba nabatunda eri ani?
Mwatundibwa lwa bikolwa byammwe ebibi;
olw’obutali butuukirivu bwammwe nnyammwe kyeyava agobwa.
2 (B)Lwaki bwe najja tewaali muntu n’omu?
Bwe nakoowoola lwaki tewaali muntu n’omu annyanukula?
Omukono gwange gwali mumpi nnyo okukununula?
Mbuliddwa amaanyi agakununula?
Laba nnyinza okwogera obwogezi ennyanja n’ekalira,
emigga ne ngifuula eddungu,
ebyennyanja byamu ne bifa ennyonta,
ne bivunda olw’okubulwa amazzi.
3 (C)Nyambaza eggulu,
n’ekizikiza ne nkiwa ebibukutu okulibikka.”
4 (D)Mukama Ayinzabyonna ampadde olulimi
oluyigirizibbwa, mmanye ebigambo ebigumya abo abakooye.
Anzukusa buli nkya,
buli nkya anzukusa okuwulira by’anjigiriza.
5 (E)Mukama Ayinzabyonna azibudde okutu kwange
ne siba mujeemu.
Sizzeeyo mabega.
6 (F)N’awaayo omugongo gwange eri abankuba,
n’amatama gange eri abo abankunyuulako ekirevu.
Saakweka maaso gange eri abo abansekerera
n’eri abo abanfujjira amalusu.
7 (G)Kubanga Mukama Ayinzabyonna anyamba
kyennaava siswazibwa.
Noolwekyo kyenvudde n’egumya
era mmanyi nti siriswazibwa.
8 (H)Kubanga oyo ampolereza ali kumpi.
Ani alinnumiriza omusango?
Twolekagane obwenyi.
Ani annumiriza?
Ajje annumbe.
9 (I)Mukama Ayinzabyonna y’anyamba.
Ani alinsalira omusango?
Bonna balikaddiwa bayulike ng’ekyambalo;
ennyenje ziribalya.
10 (J)Ani ku mmwe atya Mukama,
agondera ekigambo ky’omuweereza we?
Oyo atambulira mu kizikiza,
atalina kitangaala
yeesige erinnya lya Mukama
era yeesigame ku Katonda we.
11 (K)Naye mmwe mwenna abakoleeza omuliro,
ne mwekoleereza ettaala z’omuliro,
mutambulire mu kitangaala ky’omuliro gwammwe,
ne mu kitangaala kye ttaala ze mukoleezeza.
Naye kino kye munaafuna okuva mu mukono gwange;
muligalamira mu nnaku.
Okukubirizibwa Okwesiga Katonda
51 (L)“Mumpulirize,
mmwe abanoonya obutuukirivu, mmwe abanoonya Mukama:
Mutunuulire olwazi lwe mwatemebwako,
n’obunnya bw’ekirombe gye mwasimibwa.
2 (M)Mulowooze ku Ibulayimu jjajjammwe
ne Saala eyabazaala.
Kubanga we namuyitira yali bw’omu
ne mmuwa omukisa ne mmwaza.
3 (N)Kubanga ddala Mukama alikubagiza Sayuuni;
akwatirwe ekisa ebifo byakyo byonna ebyazika
era afuule olukoola lwe lwonna okuba Adeni,
n’eddungu libeere ng’ennimiro ya Mukama;
Essanyu n’okujaguza biryoke bibeere omwo,
okwebaza n’amaloboozi ag’okuyimba.
4 (O)“Mumpulirize, mmwe abantu bange;
era muntegere okutu mmwe ensi yange.
Kubanga etteeka lifuluma okuva gye ndi,
obwenkanya bwange bubeere omusana eri amawanga.
5 (P)Obutuukirivu bwange
busembera mangu nnyo,
obulokozi bwange buli mu kkubo.
Era omukono gwange gujja kuleeta obwenkanya eri amawanga.
Ebizinga birinnindirira era birindirire n’essuubi omukono gwange okubirokola.
6 (Q)Muyimuse amaaso gammwe eri eggulu,
mutunuulire ensi wansi!
Kubanga eggulu lirivaawo ng’omukka
n’ensi ekaddiwe ng’ekyambalo.
Abagituulamu balifa ng’ensowera.
Naye obulokozi bwange bunaabeereranga emirembe gyonna,
so n’obutuukirivu bwange tebujjulukukenga.
7 (R)“Mumpulirize,
mmwe abamanyi obutuukirivu,
eggwanga eririna amateeka gange
mu mitima gyammwe.
Temutya kuvumibwa bantu
wadde okukeŋŋentererwa olw’okuyomba kwabwe.
8 (S)Kubanga ennyenje ziribalya nga bwe zirya ebyambalo.
N’obuwuka bubalye ng’obulya ebyoya by’endiga.
Naye obutuukirivu bwange bunaabeereranga ennaku zonna.
Obulokozi bwange bunywere emirembe gyonna.”
9 (T)Zuukuka,
zuukuka oyimuke otuyambe Ayi Mukama Katonda.
Kozesa amaanyi go otuyambe.
Gakozese nga edda.
Si ggwe wuuyo eyatemaatemamu Lakabu obufiififi?
Si ye ggwe eyafumita ogusota?
10 (U)Si ggwe wuuyo eyakaliza ennyanja,
amazzi ag’obuziba obuwanvu ennyo
ne gafuuka ekkubo
abantu be wanunula bayitewo?
11 (V)N’abo Mukama be wawonya
balikomawo
ne bajja mu Sayuuni nga bayimba.
Essanyu ery’emirembe n’emirembe liriba nga ngule ku mitwe gyabwe.
Balisanyuka ne bajaguza; ennaku n’okusinda bibadduke.
Mukama Alinunula Abantu be
12 (W)“Nze, nze mwene, nze nzuuno abawa amaanyi.
Mmwe baani abatya omuntu alifa,
n’omwana w’omuntu ali ng’omuddo,
13 (X)ne weerabira Mukama Omutonzi wo
eyabamba eggulu,
n’ateekawo n’emisingi gy’ensi,
ebbanga lyonna ne mubeera mu kutya
obusungu bw’abo abakunyigiriza,
oyo eyemalidde mu kuzikiriza?
Kubanga kale buliruddawa obulabe bw’oyo abanyigiriza?
14 (Y)Abo be bawamba ne basibibwa banaatera okuteebwa,
tebalifiira mu bunnya,
era tebalibulwa mmere gye balya.
15 (Z)Kubanga nze Mukama Katonda wo,
asiikuula amayengo g’ennyanja ne gawuluguma:
Mukama ow’Eggye lye linnya lye.
16 (AA)Ntadde ebigambo byange mu kamwa ko,
era nkubisse mu kisiikirize ky’omukono gwange.
Nze nakola eggulu ne nteekawo emisingi gy’ensi;
era nze wuuyo agamba Sayuuni nti,
‘Muli bantu bange!’ ”
Ekikopo ky’Obusungu bwa Mukama
17 (AB)Zuukuka, zuukuka, oyimirire ggwe Yerusaalemi
eyanywa okuva eri Mukama ekikompe eky’obusungu bwe,
eyanywa n’omaliramu ddala
ekibya ekitagaza.
18 (AC)Ku baana aboobulenzi bonna be yazaala
tewali n’omu wa kumukulembera.
Ku baana bonna aboobulenzi be yakuza
tewali n’omu wa kumukwata ku mukono.
19 (AD)Ebintu bino ebibiri bikuguddeko
ani anaakunakuwalirako?
Okuzika n’okuzikirira, enjala, n’ekitala,
ani anaakubeesabeesa?
20 (AE)Batabani bo bazirise,
bagudde ku buli nsonda y’oluguudo
ng’engabi egudde mu kitimba.
Babuutikiddwa ekiruyi kya Mukama,
n’okunenyezebwa kwa Katonda wo.
21 (AF)Noolwekyo wulira kino ggwe, atamidde naye si lwa mwenge.
22 (AG)Bw’atyo bw’ayogera Mukama Ayinzabyonna,
Katonda wo alwanirira abantu be.
“Laba mbaggyeeko ekikompe kye nabawa
olw’ekiruyi kye nalina, ekyabatagaza.
Temuliddayo
kukinywa nate.
23 (AH)Ndikiteeka mu mikono gy’abo abaababonyaabonya abaabagamba nti,
‘Mugwe wansi mwegolole tubatambulireko.’
Emigongo gyammwe gibe ng’ettaka,
ng’oluguudo olw’okulinnyirira.”
Katonda Alizzaawo Yerusaalemi
52 (AI)Zuukuka, zuukuka,
oyambale amaanyi go, ggwe Sayuuni.
Ggwe Yerusaalemi ekibuga ekitukuvu,
teekako ebyambalo byo ebitemagana.
Kubanga okuva leero mu miryango gyo
temukyayingira mu atali mukomole n’atali mulongoofu.
2 (AJ)Weekunkumuleko enfuufu,
yimuka otuule ku ntebe ey’obwakabaka ggwe Yerusaalemi.
Weesumulule enjegere mu bulago bwo,
ggwe Omuwala wa Sayuuni eyanyagibwa.
3 (AK)Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“Mwatundibwa bwereere
era mujja kununulibwa awatali kusasula nsimbi.”
4 (AL)Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama Ayinzabyonna nti,
“Omulundi ogwasooka abantu bange baagenda e Misiri okusengayo,
oluvannyuma, Omwasuli n’abajooga.
5 (AM)“Kaakano kiki ate kye ndaba wano?
“Kubanga abantu bange baatwalirwa bwereere
era abo ababafuga babasekerera,”
bw’ayogera Mukama.
“Erinnya lyange
livvoolebwa olunaku lwonna.
6 (AN)Mu biseera ebijja abantu bange balimmanya.
Olunaku lujja lwe balitegeera nga nze nakyogera.
Weewaawo, Nze.”
7 (AO)Nga birungi ku nsozi ebigere by’oyo aleeta amawulire amalungi,
alangirira emirembe,
aleeta ebigambo ebirungi,
alangirira obulokozi,
agamba Sayuuni nti, “Katonda wo afuga.”
8 (AP)Wuliriza!
Amaloboozi g’abakuumi bo gawulikika, gayimusiddwa.
Bonna awamu bajaguza olw’essanyu.
Kubanga okudda kwa Mukama mu Sayuuni balikulaba n’amaaso gaabwe.
9 (AQ)Mubaguke okuyimba ennyimba ez’essanyu mwenna,
mmwe ebifo bya Yerusaalemi ebyazika.
Kubanga Mukama asanyusizza abantu be,
anunudde Yerusaalemi.
10 (AR)Mukama aliraga omukono gwe omutukuvu eri amawanga gonna,
bagulabe.
Enkomerero z’ensi zonna
ziriraba obulokozi bwa Katonda waffe.
11 (AS)Mugende, mugende muveewo awo.
Temukwata ku kintu kyonna kitali kirongoofu.
Mukifulumemu mubeere balongoofu
mmwe abasitula ebyombo bya Mukama.
12 (AT)Naye temulivaamu nga mwanguyiriza
so temuligenda nga mudduka;
kubanga Mukama alibakulembera abasookeyo;
Katonda wa Isirayiri y’alibakuuma.
Okubonaabona n’Ekitiibwa ky’Omuweereza wa Mukama
13 (AU)Laba, omuweereza wange by’akola alibikozesa magezi,
aliyimusibwa asitulibwe, era assibwemu nnyo ekitiibwa.
14 Ng’abaamulaba ne bennyamira bwe baali abangi,
endabika ye ng’eyonoonese nnyo nga takyafaananika,
era ng’eyonoonese evudde ku y’abantu,
15 (AV)bw’atyo bw’anawuniikiriza amawanga mangi;
bakabaka balibunira ku lulwe;
kubanga ekyo ekitababulirwanga balikiraba,
era ekyo kye batawulirangako, balikitegeera.
5 (A)Naye ku bikwata ku by’entuuko n’ebiro, abooluganda, ssetaaga kwongera kubawandiikira. 2 (B)Kubanga mmwe mwennyini mumanyi bulungi nti olunaku lwa Mukama waffe lulijja ng’omubbi bw’ajja ekiro. 3 Abantu balirowooza mu mitima gyabwe nti, “Tulina emirembe era tulina obukuumi,” amangwango okuzikirira ne kulyoka kubajjira, ng’okulumwa bwe kujjira omukazi agenda okuzaala omwana; ne batawona n’akatono.
4 (C)Naye mmwe, abooluganda abaagalwa temuli mu kizikiza ku nsonga zino, era temugenda kwekanga lunaku olwo ng’abayingiriddwa omubbi; 5 Kubanga mmwe mwenna muli baana ba musana era baana ba butangaavu. Tetuli ba kiro yadde ab’ekizikiza. 6 (D)Noolwekyo tuleme kwebaka ng’abalala naye tutunulenga okwegomba kuleme okutufuga. 7 (E)Kubanga abeebaka beebaka kiro, n’abatamiira batamiira kiro. 8 (F)Naye ffe, kubanga tuli ba musana, tulemenga okutamiira. Twambale okukkiriza n’okwagala ng’ekyomu kifuba, era tube n’essuubi ery’obulokozi nga ye nkufiira yaffe. 9 (G)Kubanga ffe Katonda teyatulondera kufukibwako kiruyi kya busungu, wabula okutulokola ng’ayita mu Mukama waffe Yesu Kristo, 10 (H)eyatufiirira ka tube nga tuli balamu oba nga tufudde, tulyoke tubeere balamu wamu naye. 11 Kale mugumyaganenga era muzimbaganenga nga bwe mubadde mukola.
Ebiragiro Ebisembayo
12 (I)Kaakano tubeegayirira abooluganda, mumanye abafuba okukola emirimu mu mmwe era ababakulembera mu Mukama waffe era abababuulirira, 13 (J)mubassengamu nnyo ekitiibwa mu kwagala olw’omulimu gwabwe. Mubenga bantu ba mirembe. 14 (K)Tubakuutira abooluganda, mubuulirirenga abagayaavu, mugumyenga abo abalimu okutya, muyambenga abatalina maanyi, mubenga bagumiikiriza eri abantu bonna. 15 (L)Mulabenga nga mu mmwe temuli muntu asasula ekibi olw’ekibi, naye bulijjo mukolenga obulungi buli muntu ne munne, era n’eri abantu bonna. 16 (M)Musanyukenga ennaku zonna.
Musabenga
17 Musabenga obutayosa. 18 Mwebazenga olwa buli kintu kyonna, kubanga ekyo Katonda ky’abaagaliza mmwe abali mu Kristo Yesu. 19 (N)Temuzikizanga Mwoyo Mutukuvu, 20 (O)era temunyoomanga abo aboogera eby’obunnabbi, 21 (P)naye mwekenneenyenga ebintu byonna, kale bwe bibanga ebirungi mubinywezenga. 22 Mwewalenga buli ngeri ya kibi.
23 (Q)Katonda ow’emirembe abatukulize ddala, era omwoyo gwammwe gwonna, n’emmeeme yammwe n’omubiri gwammwe, bikuumibwenga nga tebiriiko kya kunenyezebwa okutuusa ku lunaku olw’okujja kwa Mukama waffe Yesu Kristo. 24 (R)Oyo eyabayita mwesigwa era alikituukiriza.
25 (S)Abooluganda, naffe, mutusabirenga.
26 Mulamuse abooluganda bonna mu kulamusa okutukuvu.
27 Mbalagira mu linnya lya Mukama waffe ebbaluwa eno mugisomere abooluganda bonna.
28 Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga nammwe.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.