Isaaya 41:28
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
28 (A)Naye tewali n’omu mu bakatonda bammwe eyabategeeza kino.
Tewali n’omu awa bigambo biruŋŋamya,
tewali n’omu addamu bwe mbuuza.
Okubala 11:23
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
23 (A)Mukama n’agamba Musa nti, “Omukono gwa Mukama Katonda guyimpawadde? Kaakano ojja kulaba obanga ekigambo kyange kye nkugambye kinaatuukirira oba tekiituukirire.”
Read full chapter
Isaaya 59:1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Ekibi, Okwatula Ebibi, n’Okusonyiyibwa
59 (A)Mulabe, omukono gwa Mukama teguyimpawadde n’okuyinza ne gutayinza kulokola,
era si muzibe wa matu nti tawulira.
Olubereberye 18:14
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
14 (A)Waliwo ekirema Mukama? Omwaka ogujja, mu kiseera kyennyini, ndikomawo gy’oli, ne Saala alizaala omwana owoobulenzi.”
Read full chapter
Okuva 14:22
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
22 (A)Abaana ba Isirayiri ne bayita wakati mu nnyanja nga batambulira ku ttaka ekkalu, ng’amazzi gakoze ekisenge ku ludda lwabwe olwa ddyo n’olwa kkono.
Read full chapter
Yoswa 3:16
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
16 (A)Amangwago amazzi agaali gakulukuta ne gayimirira ne geetuuma eri ewala okuliraana ekibuga Adamu ku ludda lwa Zaresaani. N’ago agaali gaserengeta okweyiwa mu Araba Ennyanja ey’Omunnyo ne gasalikako, abantu ne basomokera Yoludaani ku ttaka ekkalu, mu maaso ga Yeriko.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.