Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Old/New Testament

Each day includes a passage from both the Old Testament and New Testament.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Isaaya 20-22

Obunnabbi Obukwata ku Misiri ne Kuusi

20 (A)Mu mwaka Talutani omuduumizi w’oku ntikko mwe yajjira mu Asudodi ng’atumiddwa Salugoni kabaka we Bwasuli n’alwana ne Asudodi n’akiwamba; (B)mu kiseera ekyo Mukama Katonda n’ayogera ne Isaaya mutabani wa Amozi nti, “Genda osumulule ebibukutu mu kiwato kyo era oyambulemu engatto mu bigere byo.” N’akola bw’atyo n’atambula engatto ng’aziggyemu.

(C)Mukama Katonda n’ayogera nti, “Ng’omuddu wange Isaaya bwe yatambula obwereere emyaka esatu nga tayambadde ngoye wadde engatto okuba akabonero n’ekyewuunyo ku Misiri ne ku Kuusi; (D)bw’atyo kabaka w’e Bwasuli bw’aliwambira ddala Abamisiri, aliwaŋŋangusa Abakuusi, abato n’abakulu nga bali bwereere nga tebalina na ngatto, amakugunyu gaabwe nga tegabikiddwako, Misiri ekwatibwe ensonyi. (E)Era balitya bakwatibwe ensonyi olwa Kuusi essuubi lyabwe, n’olwa Misiri ekitiibwa kyabwe. (F)Ku olwo abantu abatuula ku lubalama lw’ennyanja baligamba nti, ‘Mulabe ekigudde ku bantu be tubadde twesiga okutukuuma, gye twadda tuwonyezebwe nga tudduka kabaka w’e Bwasuli! Kaakano ffe tunaawonyezebwa tutya?’ ”

Obunnabbi Obukwata ku Babulooni

21 (G)Obunnabbi obukwata ku Ddungu eririraanye ennyanja:

Ng’embuyaga bwe zikunta nga ziyita mu nsi ey’obukiikaddyo,
    bw’atyo alumba bw’ava mu ddungu
    eririraanye ensi etiisa.

(H)Nfunye okwolesebwa okw’entiisa:
    alyamu olukwe akola omulimu gwe, n’omunyazi anyaga.
Eramu, lumba! Obumeedi zingiza!
    Ndikomya okusinda kwonna kwe yaleeta.

(I)Omubiri gwange kyeguvudde gulumwa,
    n’obulumi bunkwata, ng’omukazi alumwa okuzaala;
nnyiize olw’ebyo bye mpulira,
    bye ndaba bimazeemu amaanyi.
Omutima gwange gutya,
    Entiisa endetera okukankana;
Akasendabazaana ke nnali njayaanira,
    kanfukidde ekikankano.

(J)Bateekateeka olujjuliro,
    bayalirira ebiwempe,
    ne balya, ne banywa!
Mugolokoke mmwe abakulembeze,
    musiige engabo amafuta.

Kino Mukama ky’aŋŋamba nti,

“Genda ofune omukuumi
    akuleetere amawulire ku ebyo by’alaba.
(K)Bw’alaba amagaali
    n’ebibinja by’embalaasi,
n’abeebagazi ku ndogoyi
    oba abeebagazi ku ŋŋamira
yeekuume,
    era yeegendereze.”

(L)Awo omukuumi n’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka ng’agamba nti,

“Mukama wange, buli lunaku nnyimirira ku munaala,
    buli kiro mbeera ku mulimu gwange.
(M)Laba omusajja wuuno ajjira mu ggaali,
    ng’alina n’ekibinja ky’embalaasi.
Era ayanukula bw’ati nti,
    ‘Babulooni kigudde, weewaawo kigudde.
Ebifaananyi bya bakatonda baakyo byonna
    bibetenteddwa wansi ku ttaka.’ ”

10 (N)Abantu bange, abasesebbuddwa ku gguuliro,
    mbategeeza kyempulidde okuva eri Mukama Katonda ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri.

Obunnabbi obukwata ku Edomu

11 (O)Obunnabbi obukwata ku Duuma:

Waliwo ankowoola okuva mu Seyiri ng’ayogera nti,
    “Omukuumi, bunaakya ddi?
    Omukuumi, bunaakya ddi?”
12 Omukuumi ayanukula bw’ati nti,
    “Bulikya, era buliziba.
Bw’obaako ne ky’obuuza kibuuze
    okomewo nate.”

Obunnabbi obukwata ku Buwalabu

13 (P)Obunnabbi obukwata ku Buwalabu:

Mmwe Abadedeni abatambulira mu bibinja,
    abasiisira mu bisaka bya Buwalabu,
14     (Q)muleetere abalumwa ennyonta amazzi; mmwe ababeera mu Teema, muleetere abanoonyi b’obubudamu emmere.
15 (R)Badduka ekitala,
    badduka ekitala ekisowole,
badduka omutego ogunaanuddwa,
    badduka n’akabi k’entalo.

16 (S)Bw’ati Mukama bw’aŋŋamba nti, “Mu mwaka gumu, ng’endagaano gye bakolera omukozi bw’eba, ekitiibwa kyonna ekya Kedali kirikoma. 17 (T)Ku b’obusaale abaliwona, ne ku basajja abalwanyi abazira ab’e Kedali, walisigalawo batono.” Mukama Katonda wa Isirayiri ayogedde.

Obunnabbi Obufa ku Yerusaalemi

22 (U)Obunnabbi obukwata ku Kiwonvu ky’Okwolesebwa:

Kiki ekikutawanya kaakano,
    n’okulinnya n’olinnya waggulu ku busolya,
(V)ggwe ekibuga ekijjudde oluyoogaano,
    ggwe ekibuga eky’amasanyu era eky’ebinyumu?
Abantu bo abattibwa,
    tebaafa kitala newaakubadde okufiira mu lutalo.
Abakulembeze bo bonna baddukidde wamu;
    bawambiddwa awatali kulwana.
Bonna baakwatibwa ne batwalibwa wamu nga basibe,
    kubanga badduka.
(W)Kyenava njogera nti, “Munveeko,
    mundeke nkaabire ddala nnyo.
Temugezaako kunsaasira
    olw’okuzikirizibwa kw’omuwala w’abantu bange.”

(X)Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye alina olunaku
    olw’akatabanguko,
    olw’okulinyirirwa n’entiisa mu Kiwonvu ky’Okwolesebwa;
olunaku olw’okumenya bbugwe,
    n’okukaabirira ensozi.
(Y)Eramu ayambalidde omufuko gw’obusaale,
    n’atwala n’abavuzi b’amagaali ge n’embalaasi,
    Kiri[a] asabuukulula engabo.
(Z)Ebiwonvu byo ebisinga obulungi bijjudde amagaali,
    n’abeebagala embalaasi bassibbwa ku wankaaki.

(AA)Okwerinda kwa Yuda kuggyiddwawo.
    Ku lunaku olwo watunuulira
    ebyokulwanyisa eby’omu Lubiri olw’Ekibira.
(AB)Walaba amabanga agaali mu kwerinda
    kw’Ekibuga kya Dawudi,
wakuŋŋaanya amazzi
    mu Kidiba eky’Emmanga.
10 Wabala ebizimbe mu Yerusaalemi
    n’omenya amayumba okusobola okunyweza bbugwe.
11 (AC)Wasima ekidiba omuterekebwa amazzi wakati w’ebisenge ebibiri,
    n’okuŋŋaanya ag’ekidiba ekikadde,
naye tewatunuulira Oyo eyakisima,
    wadde okussaamu ekitiibwa Oyo eyakiteekateeka mu biro eby’edda.

12 (AD)Ku lunaku olwo Mukama Katonda ow’Eggye
    yalangirira okukaaba n’okukuba ebiwoobe,
n’okwemwako enviiri
    n’okwambala ebibukutu.
13 (AE)Naye laba, ssanyu na kujaguza,
    okubaaga ente n’okutta endiga,
    okulya ennyama n’okunywa envinnyo.
Mwogere nti, “Leka tulye, era tunywe
    kubanga enkya tunaafa.”

14 (AF)Mukama ow’Eggye akimbikulidde n’aŋŋamba nti, “Ekibi kino tekirisonyiyibwa wadde okuggyibwawo okutuusa lw’olifa,” bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye.

15 (AG)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti,

“Genda eri omuwanika oyo,
    eri Sabuna avunaanyizibwa olubiri omugambe nti,
16 (AH)Okola ki wano era ani yakuwadde olukusa
    okwetemera entaana wano,
n’otema n’amaanyi entaana yo waggulu mu lwazi,
    ne weerongoosereza eyo ekifo eky’okuwummuliramu?

17 “Weegendereze Mukama Katonda anaatera okukuvumbagira,
    akuggyewo ggwe omusajja ow’amaanyi.
18 (AI)Alikuzingazingako,
    n’akukanyuga mu nsi engazi, nga bwe yandikanyuze omupiira ogusambwa.
Eyo gy’olifiira,
    era eyo amagaali go ag’ekitiibwa gye galisigala,
    ggwe ensonyi ez’ennyumba ya Mukama wo.
19 Ndikuggya ku ntebe yo,
    era oliggyibwa mu kifo kyo.

20 (AJ)“Mu biro ebyo nditumya omuweereza wange Eriyakimu mutabani wa Kirukiya. 21 Ndimwambaza ekyambalo kyo, ne munyweza n’olukoba lwo, ne mukwasa obuyinza bwo. Aliba kitaawe w’abo ababeera mu Yerusaalemi, n’eri ennyumba ya Yuda. 22 (AK)Ndimukwasa ekisumuluzo ky’ennyumba ya Dawudi; bw’aliggulawo tewaliba aggalawo, bw’aliggalawo tewaliba aggulawo. 23 (AL)Ndimunyweza mu kifo ng’enkondo ennene, era aliba ntebe ya kitiibwa eri ennyumba ya kitaawe. 24 Ekitiibwa ky’ennyumba ye kiribeera ku nnyumba ye, ne ku zadde lye ne ku nda ye yonna, ne ku bintu bye ebinywerwamu, okuva ku bibya okutuuka ku nsumbi.”

25 (AM)Bw’ati bw’ayogera Katonda ow’Eggye nti, “Ku lunaku olwo, enkondo ennene eyakomererwa mu kifo n’enywera erisalibwa, n’eneguka, n’egwa, n’omugugu gw’ekutte gulisarwako.” Mukama ayogedde.

Abaefeso 6

Abazadde n’abaana baabwe

(A)Abaana, muwulirenga bazadde bammwe mu Mukama waffe, kubanga bwe mukola mutyo, mukola kituufu. “Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa,” eryo lye tteeka erisooka eririmu okusuubiza nti: (B)Bw’onoobanga obulungi, era n’owangaala ku nsi. (C)Nammwe abazadde, temunyigirizanga baana bammwe, wabula mubakuze nga mubagunjula era nga mubayigiriza ebya Mukama waffe.

Abaddu ne bakama baabwe

(D)Abaddu, muwulirenga bakama bammwe ab’omu mubiri nga mubatya era nga mubawa ekitiibwa ng’omutima gwammwe mumalirivu, nga bwe mwamalirira mu Kristo. Ekyo temukikola lwa kulabibwa, abantu balyoke babasiime, wabula mukolenga ng’abaddu ba Kristo nga mukola n’omutima gwammwe gwonna, nga Katonda bw’ayagala. (E)Muweerezenga n’omutima omulungi ng’abakolera Mukama waffe so si ng’abakolera abantu, (F)nga mumanyi ng’ekirungi kyonna omuntu ky’akola, oba muddu oba wa ddembe, Mukama alimusasula empeera ennungi. (G)Era nammwe bakama b’abaddu, muyisenga bulungi abaddu bammwe nga temubatiisatiisa, nga mumanyi nti Mukama waabwe, ye Mukama wammwe, ali mu ggulu era ye tasosola mu bantu.

Ebyokulwanyisa bya Katonda

10 (H)Eky’enkomerero, mubenga n’amaanyi mu Mukama waffe ne mu buyinza obw’amaanyi ge. 11 (I)Mwambale ebyokulwanyisa byonna ebya Katonda, mulyoke musobole okwolekera enkwe za Setaani. 12 (J)Kubanga tetumeggana na mubiri wadde musaayi, wabula tulwanyisa abafuzi, n’ab’obuyinza, n’amaanyi ag’ensi ag’ekizikiza, n’emyoyo emibi egy’omu bifo ebya waggulu. 13 Noolwekyo mwambalenga ebyokulwanyisa byonna ebya Katonda, mulyoke musobole okwaŋŋanga omulabe ku lunaku olw’akabi, era bwe mulimala okukola byonna, mulyoke musigale nga muli banywevu. 14 (K)Muyimirire nga muli banywevu, ng’amazima lwe lukoba lwammwe lwe mwesibye mu kiwato kyammwe, ate ng’obutuukirivu kye ky’omu kifuba, 15 (L)nga mwambadde n’engatto mu bigere byammwe nga mugenda okubuulira Enjiri ey’emirembe. 16 (M)Era ku ebyo byonna okukkiriza kwammwe kubeerenga engabo eneebasobozesanga okuzikiza obusaale bwonna obw’omuliro obulasibwa omubi. 17 (N)Obulokozi bubafuukire enkuufiira gye mwambadde, n’ekigambo kya Katonda kibabeerere ekitala eky’Omwoyo, 18 (O)nga musabiririranga mu ssaala zonna nga mwegayiririranga mu mwoyo buli kiseera. Mwekuumenga nga mugumiikirizanga, era nga mwegayiririranga abatukuvu, be bantu bonna aba Katonda.

19 (P)Era nange munsabirenga bwe nnaabanga njogera mpeebwe eby’okwogera, era mbyogerenga n’obuvumu nga ntegeeza abantu ekyama ky’Enjiri. 20 Ndi mubaka wa Njiri ali mu njegere. Munsabire ndyoke ngibuulire abantu n’obuvumu nga bwe kinsaanira.

21 (Q)Tukiko, owooluganda omwagalwa era omuweereza omwesigwa mu Mukama waffe, alibategeeza byonna mulyoke mutegeere ebinfaako ne bye nkola. 22 (R)Mmutumye gye muli, mulyoke mumanye nga bwe tuli era abagumye emitima gyammwe.

23 (S)Emirembe n’okwagala awamu n’okukkiriza ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo, bibeerenga n’abooluganda.

24 Ekisa kya Katonda kibeerenga n’abo bonna abaagala Mukama waffe Yesu Kristo n’okwagala okutaggwaawo.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.