Old/New Testament
Abemikwano
6 (A)Muganzi wo alaze wa,
ggwe akira abakyala bonna obulungi?
Muganzi wo yakutte lya wa
tumukunoonyezeeko?
Omwagalwa
2 (B)Muganzi wange aserengese mu nnimiro ye,
mu misiri egy’ebirime ebyakaloosa,
okulabirira ennimiro ye
n’okunoga amalanga.
3 (C)Muganzi wange, wange, nange ndi wuwe;
anoonyeza mu malanga.
Owoomukwano
4 (D)Oli mubalagavu nga Tiruza,[a]
omwagalwa wange, omulungi nga Yerusaalemi,
era ow’ekitiibwa ng’eggye eririna ebendera.
5 (E)Tontunuulira nnyo
kubanga amaaso go gantawanya.
Enviiri zo ziri ng’ekisibo eky’embuzi,
eziserengeta okuva e Gireyaadi.
6 (F)Amannyo go gali ng’ekisibo eky’endiga
eziva okunaazibwa;
buli emu nnongo eri n’ennongo ginnaayo,
so tewali eri yokka.
7 (G)Obwenyi bwo bw’obisse mu lugoye,
buli ng’ebitundu by’amakomamawanga.
8 (H)Ne bwe walibeerawo bakabaka abakazi nkaaga,
n’abazaana kinaana,
n’abawala embeerera abatamanyiddwa muwendo,
9 (I)ejjiba lyange, owange ataliiko bbala, ow’enjawulo,
mwana muwala eyazaalibwa yekka, ayagalibwa ennyo nnyina
okusinga abalala, y’ansingira mu bonna.
Abawala baamulaba ne bamuyita wa mukisa;
bakabaka abakazi n’abazaana baamutenda.
Abemikwano
10 Ani ono alabika ng’emmambya,
omulungi ng’omwezi, atangalijja ng’enjuba,
alina ekitiibwa ng’eky’emunnyeenye?
Owoomukwano
11 (J)Naserengeta mu nnimiro ey’emiti egy’ensigo okwetegereza
okumulisa okw’ebimera eby’omu kiwonvu,
okulaba omuzabbibu obanga gwamulisa,
n’okulaba emikomamawanga oba nga gyamera.
12 Bwe nnali nkyali awo
emmeeme yange n’egenda eri amagaali ag’obwakabaka ag’omu bantu bange.
Abemikwano
13 (K)Komawo, Komawo, ggwe Omusulamu;
komawo, komawo tukutunuleko.
Owoomukwano
Lwaki mutunuulira Omusulamu
ng’abali ku mazina ga Makanayimu?
7 (L)Ebigere byo nga birabika bulungi mu ngatto,
ggwe omumbejja!
Amagulu go gali ng’amayinja ag’omuwendo,
omulimu gw’omuweesi omukalabakalaba.
2 Ekkundi lyo kibya kyekulungirivu,
ekitaggwaamu nvinnyo entabule obulungi.
Ekiwato kyo ntuumu ya ŋŋaano
eyeetooloddwa amalanga.
3 (M)Amabeere go gali ng’abaana b’empeewo,
abalongo.
4 (N)Ensingo yo eri ng’omunaala ogw’amasanga.
Amaaso go gali ng’ebidiba eby’omu Kesuboni
ebiri ku mulyango ogw’e Basulabbimu.
Ennyindo yo eri ng’omulongooti ogw’e Lebanooni
ogwolekera Ddamasiko.
5 (O)Omutwe gwo gukuwoomera ng’olusozi Kalumeeri,
n’enviiri zo ziranga emiguwa egy’effulungu;
Kabaka asendebwasendebwa ebintu byakwo.
6 (P)Ng’olabika bulungi, ng’osanyusa
ggwe omwagalwa n’obulungi bwo.
7 (Q)Oli muwanvu ng’olukindu,
n’amabeere go gali ng’ebirimba eby’ebibala byakwo.
8 (R)Nayogera nti, “Ndirinnya olukindu,
era ndikwata ebibala byalwo.”
Amabeere go gabeere ng’ebirimba eby’oku muzabbibu,
n’akawoowo ak’omu kamwa ko ng’ebibala eby’omucungwa
9 (S)n’akamwa ko nga nvinnyo esinga obulungi.
Omwagalwa
Ne wayini amirwe bulungi muganzi wange,
ng’akulukuta mpola mpola ku mimwa gy’abo abeebase.
10 (T)Ndi wa muganzi wange,
era naye anjagala nnyo.
11 Jjangu, muganzi wange tugende ebweru w’ekibuga,
tusuleko mu byalo.
12 (U)Tukeere tugende mu nnimiro z’emizabbibu,
tulabe obanga emizabbibu gimulisizza,
obanga n’ebimuli byagwo byanjuluzza,
obanga n’emikomamawanga gimulisizza,
era eyo gye nnaakulagira okwagala kwange.
13 (V)Amadudayimu[b] gawunya akawoowo,
ne ku miryango gyaffe waliwo ebibala ebisinga obulungi,
Ebyakanogebwa awamu n’ebikadde,
bye nkuterekedde muganzi wange.
8 Singa wali muganda wange eyakuzibwa mmange
era eyayonka amabeere ga mmange,
nandikusanze ebweru
nandikunywegedde
ne wataba n’omu annyooma.
2 (W)Nandikukulembedde
ne nkuleeta mu nnyumba ya mmange,
oyo eyangigiriza.
Nandikuwadde wayini okunywa ng’alimu ebyakaloosa,
omubisi ogw’amakomamawanga gange.
3 (X)Omukono gwe ogwa kkono guli wansi wa mutwe gwange
n’omukono gwe ogwa ddyo gumpambaatira.
4 (Y)Mmwe abawala ba Yerusaalemi mbakuutira,
temusiikuula newaakubadde okuzuukusa okwagala
okutuusa ng’ekiseera ekituufu kituuse.
Abemikwano
5 (Z)Ani oyo gwe tulengera ng’ava mu ddungu
nga yeesigamye muganzi we?
Omwagalwa
Nakuzuukusa ng’oli wansi w’omuti ogw’omucungwa.
Eyo maama wo gye yafunira olubuto era eyo
maama wo gye yakuzaalira mu bulumi obungi.
6 (AA)Nteeka ng’akabonero ku mutima gwo,
era ng’akabonero ku mukono gwo,
kubanga okwagala kwa maanyi ng’okufa,
obuggya bwakwo buli ng’obusungu obw’emagombe.
Kwaka ng’ennimi ez’omuliro,
omuliro ogwaka n’amaanyi ennyo.
7 (AB)Amazzi amangi tegamalaawo nnyonta ya kwagala
n’emigga tegiyinza kukumalawo.
Singa omuntu awaayo
obugagga bwe bwonna obw’ennyumba ye okufuna okwagala,
asekererwa nnyo.
Abemikwano
8 Tulina muto waffe
atannamera mabeere,
naye tulikola tutya
bw’alituuka okwogerezebwa?
9 Singa abadde bbugwe
twandimuzimbyeko eminaala egya ffeeza,
singa abadde luggi
twandimuggalidde na mivule.
Omwagalwa
10 Ndi bbugwe
era n’amabeere gange gali ng’ekitikkiro,
noolwekyo mu maaso ge,
mmufuukidde aleeta emirembe.
11 (AC)Sulemaani yalina ennimiro y’emizabbibu e Baaluka Kamooni,
n’agisigira abalimi.
Buli omu ku bo yamusalira
ebitundu bya ffeeza lukumi.
12 (AD)Ennimiro yange ey’emizabbibu, yange,
ebitundu olukumi bibyo ggwe Sulemaani,
ebitundu ebikumi bibiri by’abo abalabirira ennimiro.
Owoomukwano
13 Ggwe abeera mu nnimiro
ne mikwano gyo nga weebali,
ka mpulire eddoboozi lyo.
Omwagalwa
14 (AE)Yanguwa okuvaayo eyo,
odduke mangu ng’empeewo
oba ng’ennangaazi ento,
oddukire ku nsozi ezijjudde ebyakaloosa.
4 Naye ŋŋamba nti omusika bw’aba ng’akyali mwana muto, tayawulwa na muddu, newaakubadde nga ye mukama wa byonna. 2 Afugibwa abasigire n’abawanika okutuusa lw’akula n’atuuka ku kigero kitaawe, kye yategeka. 3 (A)Era naffe bwe tutyo bwe twali tukyali bato, twafugibwanga obulombolombo obw’ensi. 4 (B)Naye ekiseera bwe kyatuuka, Katonda n’atuma Omwana we 5 (C)eyazaalibwa omukazi ng’afugibwa amateeka, tulyoke tufuuke abaana. 6 (D)Era kubanga tuli baana, Katonda yatuma Omwoyo w’Omwana we okubeera mu mitima gyaffe, era kaakano tuyinza okwogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Aba, Kitaffe.” 7 (E)Kale kaakano tokyali muddu, wabula oli mwana; era nga bw’oli omwana oli musika ku bwa Katonda.
Pawulo Alowooza ku Baggalatiya
8 (F)Mmwe bwe mwali temunnamanya Katonda mwabanga baddu ba bitali Katonda. 9 (G)Naye kaakano mutegedde Katonda era naye abategedde, kale muyinza mutya okukyuka, ne mugoberera obulombolombo obunafu obutalina maanyi ne mwagala okufuuka abaddu baabwo? 10 (H)Mukwata ennaku, n’emyezi, n’ebiro, n’emyaka; 11 (I)neeraliikirira si kulwa ng’omulimu omunene gwe nakola mu mmwe gwali gwa bwereere.
12 Abooluganda, mbeegayirira mubeere nga nze, kubanga nange ndi nga mmwe. Temulina kabi ke mwankola; 13 (J)era mumanyi nga mu bunafu obw’omubiri, mmwe be nasooka okubuulira Enjiri. 14 Naye newaakubadde nga mwandinnyomye olw’obulwadde bwange, temwangobaganya, wabula mwansembeza nga malayika wa Katonda, nga Yesu Kristo. 15 Kale essanyu lyammwe lyadda wa? Kubanga ndi mujulirwa wammwe nti, mwali musobola okuggyamu amaaso gammwe ne mugampa okunnyamba singa kyali kyetaagisa. 16 (K)Kale kaakano nfuuse omulabe wammwe olw’okubategeeza amazima?
17 Abo abalabika ng’abaabassaako ennyo omwoyo tebabaagaliza birungi, okuggyako okwagala okubaggalira ebweru, mulyoke mudde ku luuyi lwabwe. 18 (L)Naye kirungi okunyiikiranga okukola ebirungi bulijjo, naye si lwe mbeera nammwe lwokka. 19 (M)Baana bange be nnumirwa nate ng’alumwa okuzaala, okutuusa Kristo lw’alibumbibwa mu mmwe, 20 nandyagadde okubeera nammwe kaakano, n’okukyusa eddoboozi lyange kubanga ndi mweraliikirivu ku lwammwe.
Agali ne Saala
21 Mumbulire, mmwe abaagala okufugibwa amateeka, lwaki temuwulira mateeka? 22 (N)Kubanga kyawandiikibwa nti Ibulayimu yazaala abaana babiri aboobulenzi, omu yamuzaala mu mukazi omuddu, n’omulala n’amuzaala mu mukazi ow’eddembe. 23 (O)Omwana ow’omukazi omuddu yazaalibwa nga wa mubiri, naye omwana ow’omukazi ow’eddembe yazaalibwa lwa kusuubiza.
24 Ebyo biri nga bya lugero; kubanga ezo ndagaano bbiri. Emu yava ku Lusozi Sinaayi, ye yazaala abaana ab’obuddu, ye yava mu Agali. 25 Agali lwe Lusozi Sinaayi oluli mu Buwalabu, era afaananyirizibwa ne Yerusaalemi eya kaakano kubanga ye ne bazzukulu be bali mu buddu. 26 (P)Naye Yerusaalemi eky’omu ggulu ye mukazi ow’eddembe, era ye nnyaffe. 27 (Q)Kubanga kyawandiikibwa nti,
“Sanyuka
ggwe omugumba atazaala.
Leekaanira waggulu mu ddoboozi ery’omwanguka
newaakubadde nga tozaalanga ku mwana.
Kubanga ndikuwa abaana bangi,
abaana abangi okusinga omukazi alina omusajja b’alina.”
28 Naye mmwe abooluganda muli baana abaasuubizibwa, nga Isaaka bwe yali. 29 (R)Naye mu biro biri ng’eyazaalibwa omubiri bwe yayigganya oyo eyazaalibwa Omwoyo, ne kaakano bwe kiri. 30 (S)Naye Ebyawandiikibwa bigamba bitya? Bigamba nti, “Goba omukazi omuddu n’omwana we, kubanga omwana w’omukazi omuddu talisikira wamu n’omwana w’omukazi ow’eddembe.” 31 Noolwekyo abooluganda tetuli baana ba mukazi omuddu naye tuli baana ab’omukazi ow’eddembe.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.