Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Old/New Testament

Each day includes a passage from both the Old Testament and New Testament.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 146-147

146 (A)Tendereza Mukama!

Tendereza Mukama ggwe emmeeme yange!

(B)Nnaatenderezanga Mukama ennaku zonna ez’obulamu bwange;
    nnaayimbanga okutendereza Katonda wange nga nkyali mulamu.
(C)Teweesiganga bafuzi,
    wadde abantu obuntu omutali buyambi.
(D)Kubanga bafa ne bakka emagombe;
    ne ku lunaku olwo lwennyini, byonna bye baba bateeseteese ne bifa.
(E)Yeesiimye oyo ayambibwa Katonda wa Yakobo;
    ng’essuubi lye liri mu Mukama Katonda we,
(F)eyakola eggulu n’ensi
    n’ennyanja ne byonna ebirimu,
    era omwesigwa emirembe gyonna.
(G)Atereeza ensonga z’abajoogebwa mu bwenkanya,
    n’abalumwa enjala abawa ebyokulya.
Mukama asumulula abasibe.
    (H)Mukama azibula amaaso ga bamuzibe,
era awanirira abazitoowereddwa.
    Mukama ayagala abatuukirivu.
(I)Mukama alabirira bannamawanga,
    era ayamba bamulekwa ne bannamwandu;
    naye ekkubo ly’abakola ebibi alifaafaaganya.

10 (J)Mukama anaafuganga emirembe gyonna,
    Katonda wo, Ayi Sayuuni, anaabanga Katonda wa buli mulembe.

Mutendereze Mukama!
147 (K)Mutendereze Mukama!

Kubanga kirungi okutenderezanga Katonda waffe;
    kubanga ajjudde ekisa, n’oluyimba olw’okumutenderezanga lumusaanira.

(L)Mukama azimba Yerusaalemi;
    era akuŋŋaanya Abayisirayiri abaali mu buwaŋŋanguse.
Azzaamu amaanyi abo abalina emitima egimenyese,
    era ajjanjaba ebiwundu byabwe.
(M)Mukama ategeka omuwendo gw’emmunyeenye;
    era buli emu n’agituuma erinnya.
(N)Mukama waffe mukulu era wa kitiibwa; amaanyi g’obuyinza bwe tegatendeka,
    n’okutegeera kwe tekuliiko kkomo.
(O)Mukama awanirira abawombeefu,
    naye abakola ebibi abasuulira ddala wansi.

(P)Muyimbire Mukama ennyimba ez’okumwebaza;
    mumukubire entongooli ezivuga obulungi.

(Q)Mukama abikka eggulu n’ebire,
    ensi agitonnyeseza enkuba,
    n’ameza omuddo ne gukula ku nsozi.
(R)Ente aziwa emmere, ne bannamuŋŋoona abato abakaaba abaliisa.

10 (S)Essanyu lya Mukama teriri mu maanyi ga mbalaasi,
    wadde mu magulu g’omuntu,
11 wabula Mukama asanyukira abo abamussaamu ekitiibwa,
    era abalina essuubi mu kwagala kwe okutaggwaawo.

12 Tendereza Mukama ggwe Yerusaalemi,
    tendereza Katonda wo ggwe Sayuuni,
13 kubanga ebisiba enzigi zo, ye abinyweza,
    n’abantu bo abasulamu n’abawa omukisa.
14 (T)Aleeta emirembe ku nsalo zo;
    n’akukkusa eŋŋaano esinga obulungi.

15 (U)Aweereza ekiragiro kye ku nsi;
    ekigambo kye ne kibuna mangu.
16 (V)Ayaliira omuzira ku ttaka ne gutukula ng’ebyoya by’endiga enjeru,
    n’omusulo ogukutte n’agusaasaanya ng’evvu.
17 Omuzira agukanyuga ng’obuyinjayinja;
    bw’aleeta obutiti ani ayinza okubusobola?
18 (W)Mukama aweereza ekigambo kye, omuzira ne gusaanuuka;
    n’akunsa empewo, amazzi ne gakulukuta.
19 (X)Yategeeza Yakobo ekigambo kye;
    Isirayiri n’amanya amateeka ga Mukama n’ebiragiro bye.
20 (Y)Tewali ggwanga na limu lye yali akolaganye nalyo bw’atyo;
    amawanga amalala tegamanyi mateeka ge.

Mutendereze Mukama!

1 Abakkolinso 15:1-28

Kristo Yazuukira

15 (A)Abooluganda, mbajjukiza Enjiri gye nababuulira era gye mwakkiriza era gye munywereddemu. (B)Mulokolebwa lwa Njiri eyo gye nababuulira, bwe muginywererako, naye bwe kitaba bwe kityo muba mwakkiririza bwereere. (C)Kubanga nabategeeza ekigambo ekikulu ennyo nange kye nnaweebwa ekigamba nti Kristo yafa olw’ebibi byaffe, ng’Ebyawandiikibwa bwe bigamba, (D)era nti yaziikibwa, n’azuukizibwa ku lunaku olwokusatu ng’Ebyawandiikibwa bwe bigamba, (E)era nti yalabibwa Keefa n’oluvannyuma ekkumi n’ababiri. Era yalabibwa abooluganda abasukka ebikumi ebitaano omulundi gumu era abamu ku abo bakyali balamu newaakubadde ng’abalala baafa. (F)Olwo n’alyoka alabikira Yakobo, n’oluvannyuma n’alabikira n’abatume bonna. (G)Oluvannyuma lwa bonna n’alyoka alabikira nange, ng’omwana azaalibbwa nga musowole.

(H)Kubanga nze nsembayo mu batume, Era sisaanira na kuyitibwa mutume, kubanga nayigganya Ekkanisa ya Katonda. 10 (I)Naye olw’ekisa kya Katonda ndi nga bwe ndi kaakano, era ekisa Katonda kye yankwatirwa tekyafa bwereere. Kubanga nakola nnyo okusinga abalala bonna, naye si nze nakola wabula ekisa kya Katonda ekiri nange kye kyakola. 11 Oba nze oba bo, be baakola ennyo ekyo si kikulu, ekikulu kye kino nti twababuulira Enjiri era nammwe ne mugikkiriza.

Okuzuukira kw’Abafu

12 (J)Kale obanga abantu bategeezebwa nti Kristo yazuukizibwa mu bafu lwaki abamu mu mmwe bagamba nti tewali kuzuukira kwa bafu? 13 Kale obanga tewali kuzuukira kwa bafu ne Kristo teyazuukizibwa. 14 (K)Era obanga Kristo teyazuukizibwa, bye tubategeeza tebiriimu, era n’okukkiriza kwammwe tekuliiko kye kugasa. 15 (L)Ate era tuba ng’aboogera eby’obulimba ku Katonda, kubanga twakakasa nti Katonda yazuukiza Kristo. Naye teyamuzuukiza bwe kiba ng’abafu tebazuukizibwa. 16 Kale obanga abafu tebazuukizibwa, ne Kristo teyazuukizibwa. 17 (M)Era obanga Kristo teyazuukizibwa okukkiriza kwammwe tekuliimu nsa, era mukyali mu bibi byammwe. 18 Era n’abo abaafa nga bakkiriza Kristo baazikirira. 19 (N)Kale obanga essuubi lyaffe mu Kristo likoma mu bulamu buno bwokka, tuli bakusaasirwa nnyo okusinga abantu bonna.

20 (O)Kyokka ddala Kristo yazuukizibwa mu bafu, era bye bibala ebibereberye eby’abo abaafa. 21 (P)Kuba ng’okufa bwe kwaleetebwa omuntu, era n’okuzuukira kw’abafu kwaleetebwa muntu. 22 (Q)Kuba ng’abantu bonna bwe baafa olwa Adamu, era bwe batyo bonna balifuulibwa abalamu olwa Kristo. 23 (R)Kyokka buli omu mu luwalo lwe, Kristo ye yasooka era bw’alijja ababe ne baddako, 24 (S)olwo enkomerero n’eryoka etuuka, Kristo n’akwasa Katonda Kitaawe obwakabaka; Kristo ng’amaze okuzikiriza obufuzi bwonna, n’obuyinza bwonna era n’amaanyi gonna. 25 (T)Kubanga Kristo agwanidde okufuga okutuusa bw’alissa abalabe be bonna wansi w’ebigere bye. 26 (U)Omulabe we alisembayo okuzikirizibwa kwe Kufa. 27 (V)Kubanga yassa ebintu byonna wansi w’ebigere bye. Naye bw’agamba nti ebintu byonna biri wansi we, kitegeeza nti aggyeko oli ey’amusobozesa okufuga ebintu byonna. 28 (W)Katonda bw’alimala okussa byonna mu buyinza bwa Kristo, olwo Kristo yennyini, Omwana we, n’alyoka afugibwa Katonda eyamuwa okufuga byonna. Era olwo Katonda n’alyoka afugira ddala byonna.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.