Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Old/New Testament

Each day includes a passage from both the Old Testament and New Testament.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Omubuulizi 7-9

Okulondawo Ekisinga Obulungi

(A)Obwatiikirivu bw’erinnya eddungi businga eby’akawoowo ebirungi;
    n’olunaku olw’okufa lusinga olwo olw’okuzaalirwako.
(B)Kirungi okulaga mu nnyumba ey’abakungubaga
    okusinga okulaga mu nnyumba ey’ebyassava.
Kubanga buli omu wa kufa,
    ekyo kiteekwa okuba ku mutima gwa buli muntu.
(C)Okunakuwala kusinga okuseka,
    kubanga amaaso amanakuwavu gazzaamu omutima amaanyi.
(D)Omutima gw’omugezi guba wamu n’abo abali mu nnaku;
    naye ogw’omusirusiru guba mu kusanyuka.
(E)Kirungi okussaayo omwoyo ku kunenya kw’omuntu ow’amagezi
    okusinga okuwuliriza ennyimba z’abasirusiru.
(F)Okuseka kw’abasirusiru
    kuli ng’okutulikatulika kw’amaggwa agali mu muliro gw’entamu[a];
    na kino nakyo butaliimu.

(G)Kya mazima, okunyigirizibwa kufuula ow’amagezi okuba omusirusiru,
    n’enguzi efaafaaganya okutegeera.

(H)Enkomerero y’ekintu esinga entandikwa yaakyo,
    n’omugumiikiriza asinga ow’amalala.
(I)Tosunguwalanga mangu nga waliwo akusokaasoka,
    kubanga obusungu bubeera munda y’abasirusiru.

10 Teweebuuzanga nti, “Lwaki ennaku ziri ez’edda zisinga zino?”
    Kubanga si kya magezi okwebuuza ekibuuzo ng’ekyo.

11 (J)Amagezi kintu kirungi, okufaanana ng’eky’obugagga ky’obusika,
    era kigasa abo abakyalaba enjuba.
12 Amagezi kiwummulo,
    ng’ensimbi bwe ziri ekiwummulo,
naye enkizo y’okumanya y’eno:
    amagezi gakuuma obulamu bw’oyo agalina.

13 (K)Lowooza ku Katonda ky’akoze:

ani ayinza okugolola ekyo ekyakyama Katonda kye yakola?
14 Ebiseera bwe biba ebirungi, sanyuka;
    naye bwe biba ebibi, kirowoozeeko;
Katonda eyakola ekimu
    era ye yakola ne kinnaakyo.
Noolwekyo omuntu tayinza kuzuula kirimubaako
    mu nnaku ze ez’omu maaso.

15 (L)Mu bulamu bwange buno obutaliimu ndabye bino byombi:

omutuukirivu azikiririra mu butuukirivu bwe,
    n’omukozi w’ebibi n’awangaalira mu bibi bye.
16 Teweefuulanga mutuukirivu ayitiridde
    wadde okwefuula ow’amagezi ow’ekitalo;
    oleme okwezikiriza.
17 (M)Tobanga mwonoonyi kakuzzi
    wadde okuba omusirusiru;
    oleme okufa ng’ekiseera kyo tekinnatuuka.
18 (N)Ekyo kirungi okiyige, na kiri oleme kukibuusa maaso,
    kubanga oyo atya Katonda abyewala okubiyitiriza.

19 (O)Ow’amagezi ne bw’aba omu mu kibuga,
    aba w’amaanyi okusinga abakulembeze ekkumi ab’omu kibuga ekyo.

20 (P)Ddala ku nsi tekuli muntu mutuukirivu,
    atakola bibi.

21 (Q)Towulirizanga buli kigambo, bantu kye boogera,
    si kulwa ng’owulira omuweereza wo ng’akukolimira,
22 kubanga naawe okimanyidde ddala mu mutima gwo,
    ng’emirundi mingi okolimidde abalala.

23 (R)Ebyo byonna nabyekenneenya n’amagezi ne ŋŋamba nti,

“Mmaliridde okuba omugezi,”
    wabula kino kyandi wala.
24 (S)Amagezi ne bwe gaba ga kikula ki, gali wala nnyo era tegalojjeka,
    kale ani ayinza okugavumbula?
25 (T)Bwe ntyo ne nkyusa omutima gwange nnoonye okutegeera,
    nekkanye, era nnoonyereze amagezi ndowooze ne ku bintu nga bwe biri,
n’okutegeera obusirusiru bw’okukola ebibi:
    n’eddalu ery’obusirusiru.

26 (U)Ekintu kye nalaba eky’obulabe ekisinga okufa,
    ye mukazi alina omutima ogusendasenda,
era ogusikiriza,
    era emikono gye gisiba ng’enjegere.
Oyo ayagala Katonda, y’awona omukazi oyo,
    kyokka ye omwonoonyi talema kugwa mu mutego gwe.

27 (V)Omubuulizi agamba nti, “Laba, kino kyenvumbudde:

“Okugatta ekintu ku kinnaakyo, okuzuula enkola y’ebintu,
28     (W)bwe nnali nga nkyanoonyereza
    nabulako kye nzuula,
okuggyako okulaba omusajja omwesimbu omu mu basajja lukumi,
    kyokka mu bakazi bonna ssaalabamu n’omu atuukiridde.
29 Wabula kino kyokka kye nalaba:
    Katonda yatonda omuntu nga mugolokofu,
    naye abantu ne beenoonyeza ebintu ebirala bingi.”

Obuwulize eri Abakulembeze

Ani afaanana omuntu omugezi
    amanyi okunnyonnyola buli kintu?
Amagezi gaakaayakanyisa obwenyi bw’omuntu,
    ne gakyusa emitaafu gyamu.

Nkugamba nti gondera ekiragiro kya kabaka, kubanga walayira[b] mu maaso ga Katonda. (X)Toyanguyiriza kuva mu maaso ga kabaka. Kyokka ensonga bw’ebanga etali ntuufu, tobanga ku ludda lumuwakanya, kubanga ye akola buli ky’ayagala. (Y)Kubanga ekigambo kya kabaka kisukkuluma byonna; kale ani ayinza okumubuuza nti, “Okola ki ekyo?”

Oyo agondera ekiragiro kye talituukibwako kabi,
    omutima ogw’amagezi gulimanya ekiseera ekisaana okukoleramu ekintu gundi, n’engeri ey’okukolamu ekintu ekyo.
(Z)Kubanga waliwo ekiseera ekituufu n’enkola esaana ku buli kintu,
    newaakubadde ng’obuyinike bw’omuntu bumuzitoowerera okukamala.

Nga bwe watali muntu amanyi binaabaawo,
    kale ani ayinza okumutegeeza ebinajja?
Tewali muntu alina buyinza kufuga mpewo;
    bwe kityo tewali n’omu alina buyinza ku lunaku lwa kufa kwe.
Ng’omuntu bw’aweebwa ebiragiro mu biseera eby’olutalo,
    bwe kityo n’obutali butuukirivu bwe buduumira abo ababutambuliramu.

Ebyo byonna bye nalaba bwe nagezaako okwekenneenya buli kintu ekikolebwa wansi w’enjuba. Waliwo ekiseera omufuzi buli lw’abinika baafuga, kyokka nga yeerumya yekka. 10 (AA)Ndabye abantu abakozi b’ebibi nga baziikibwa, abo abaawaanibwanga mu kibuga nga bazze mu kifo ekitukuvu. Na kino nakyo butaliimu.

11 Omuntu bw’asalirwa omusango n’atabonererezebwawo, emitima gy’ababi gijjula kuteekateeka kukola bubi. 12 (AB)Newaakubadde ng’omuntu omubi azza emisango kikumi, ate n’awangaala, nkimanyi ng’abatuukirivu, abo abatya Katonda bijja kubagendera bulungi. 13 (AC)Naye olwokubanga abakozi b’ebibi tebatya Katonda, tebiyinza kubagendera bulungi, era n’ennaku zaabwe zinaayitanga mangu ng’ekisiikirize.

14 (AD)Waliwo ekintu ekirala ekiraga obutaliimu ekiri ku nsi: abantu abatuukirivu batukibwako ebyo ebisaanira ababi, ate abatali batuukirivu ne batuukibwako ebyo ebigwanira abatuukirivu. Kino nakyo nkiyita butaliimu. 15 (AE)Bwe ntyo nteesa nti omuntu yeyagalire mu bulamu: kubanga wansi w’enjuba tewali kisinga, wabula omuntu okulya n’okunywa n’okweyagala. Kale essanyu linaamuwerekeranga mu mirimu gye, ennaku zonna ez’obulamu bwe Katonda bw’amuwadde wansi w’enjuba.

16 (AF)Bwe nanoonyereza amagezi ne neetegereza okutegana kw’omuntu ku nsi kuno, nga teyeebaka emisana n’ekiro. 17 (AG)Ne ndaba ebyo byonna Katonda by’akoze, nga tewali n’omu ayinza kutegeera Katonda by’akola wansi w’enjuba, omuntu ne bw’agezaako ennyo okukinoonyereza tayinza kukivumbula. Newaakubadde omuntu omugezi yeefuula nti akimanyi, tayinza kukitegeera.

Ekkubo Bonna lye Bakwata

(AH)Awo ne ndowooza ku ebyo, ne nzuula ng’omutuukirivu n’omugezi bye bakola biri mu mukono gwa Katonda; naye tewali muntu n’omu amanyi obanga kwagalibwa oba kukyayibwa bye bimulindiridde. (AI)Omutuukirivu n’omwonoonyi, omulungi n’omubi, omuyonjo n’omujama, abo abawaayo ssaddaaka n’abo abatagiwaayo bonna gye bagenda y’emu.

Nga bwe kiri eri omuntu omulungi,
    era bwe kiri n’eri omwonoonyi;
Nga bwe kiri eri abo abalayira,
    era bwe kiri n’eri abo abatya okulayira.

(AJ)Bonna ekibalindiridde kimu; kano ke kabi akabeera wansi w’enjuba. Ate emitima gy’abantu mu bulamu buno giraluse gijjudde ebibi, bayaayaanira buli kimu; n’oluvannyuma ne bakka emagombe eri bannaabwe. Naye omuntu omulamu aba n’essuubi, wadde embwa ennamu esinga empologoma enfu!

(AK)Kubanga buli kiramu kimanya nga kya kufa,
    naye abafu tebaliiko kye bamanyi:
tebakyagasa
    wadde okujjukirwa.
(AL)Okwagala kwabwe, n’obukyayi bwabwe,
    n’obuggya bwabwe nga bizikiridde;
nga tebakyetaba mu ebyo byonna
    ebikolebwa wansi w’enjuba.

(AM)Genda olye emmere yo ng’osanyuka, onywe ne wayini wo nga weeyagala; kubanga Katonda asiimye ky’okola. (AN)Yambalanga engoye ennyonjo[c], era weesiigenga n’ebyakaloosa. (AO)Ssanyukanga ne mukyala wo gw’oyagala ennaku zo zonna, mu bulamu buno obutaliimu, Katonda bw’akuwadde wansi w’enjuba, kubanga ekyo gwe mugabo gwo mu kutegana kwo kw’oteganamu wansi w’enjuba. 10 (AP)Buli omukono gwo kye gugenda okukola, kikole n’amaanyi go gonna; kubanga teri mulimu wadde okulowooza, oba okutegeera wadde amagezi emagombe gy’olaga.

11 (AQ)Ate nalaba nga wansi w’enjuba,

ng’ow’embiro ennyingi si y’awangula mu mpaka,
    era ne kirimaanyi si y’awangula olutalo,
ng’ate bakalimagezi bonna si be baatiikirira;
    wabula ng’omukisa gukwata bukwasi oyo
    aba aliwo mu kifo ekituufu ne mu kiseera ekituufu.

12 (AR)Kubanga omuntu tamanya kinaamubaako.

Ng’ekyenyanja bwe kikwatibwa mu muyonjo,
    oba ennyonyi nga bw’egwa ku mutego,
n’abaana b’omuntu bwe batyo bwe beesanga mu biseera eby’akabi,
    ebibatuukako nga tebabyetegekedde.

13 (AS)Era ekirala kye nalaba ekyampuniikiriza ennyo kye kino: 14 waaliwo akabuga nga kalimu abantu batono ddala, kabaka ow’amaanyi n’ajja n’akazingiza n’akazimbako ekigo ekinene. 15 (AT)Mu kabuga ako mwalimu omusajja omugezi, omwavu, ng’amanyi eky’okukola okuwonya akabuga ako, bw’atyo mu magezi ge ne kanunulwa. Naye nno ne wabulawo amujjukira. 16 (AU)Awo ne ndaba nti newaakubadde ng’amagezi gasinga amaanyi, naye ow’amagezi bw’aba omwavu, anyoomebwa, ne ky’ayogera tekissibwako mwoyo.

17 Naye ne bwe kiba kityo, ebigambo eby’ekimpowooze ebiva mu kamwa k’omugezi bissibwako omwoyo,
    okusinga okuleekaana kw’omufuzi w’abasirusiru.
18 (AV)Amagezi gasinga ebyokulwanyisa mu lutalo,
    naye omwonoonyi omu azikiriza ebirungi bingi.

2 Abakkolinso 13

Okulabula Okusembayo

13 (A)Omulundi guno gwe nzija gye muli gwe gwokusatu. Buli kigambo kirikakasibwa abajulirwa babiri oba basatu nga boogedde. (B)Nabalabula era mbalabula nga bwe nabalabula bwe nnali eyo omulundi ogwokubiri, era ne kaakano nga ssiriiyo, abo abaayonoona edda n’abalala bonna, nti bwe ndikomawo ssirisaasira, (C)nga bwe munoonya okukakasa oba nga njogerera mu Kristo, atali munafu gye muli, wabula ow’amaanyi mu mmwe. (D)Kubanga newaakubadde nga yakomererwa mu bunafu, kyokka mulamu mu maanyi ga Katonda. Naffe tuli banafu mu mibiri gyaffe nga tuli mu ye, naye tuliba balamu mu ye olw’amaanyi ga Katonda olw’omulimu gwe tukola mu mmwe.

(E)Mwekebere mulabe obanga muli mu kukkiriza; oba temumanyi nga Yesu Kristo ali mu mmwe? Mpozi nga temukakasibbwa. Naye nsuubira nga mumanyi nti tetuli abataakakasibwa. Kaakano tubasabira eri Katonda obutakola kibi na kimu, si lwa kwagala kulabika nga tusiimibwa, wabula mmwe mukole ebirungi, ffe ne bwe tunaasigala nga tetusiimibbwa. Kubanga tetuyinza kuwakanya mazima, wabula tugawagira buwagizi. (F)Ffe kitusanyusa bwe tuba abanafu, mmwe ne muba ab’amaanyi. Tubasabira mmwe okuzzibwa obuggya. 10 (G)Mbawandiikira kubanga siri nammwe, bwe ndijja nneme kubakambuwalira, okusinziira ku buyinza Mukama bwe yampa okubazimba, so si okubazikiriza.

Okusiibula n’omukisa

11 (H)Ebisigadde abooluganda, mujaguze, muzibwemu amaanyi, mulowooze bumu, mubeere n’emirembe, Katonda ow’okwagala n’emirembe anaabeeranga nammwe.

12 (I)Mulamusagane n’okulamusa okutukuvu.

13 (J)Abatukuvu bonna babalamusizza.

14 Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo, n’okwagala kwa Katonda, n’okussekimu okwa Mwoyo Mutukuvu, bibeerenga nammwe mwenna.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.