Old/New Testament
Obutaliimu bw’Amagezi g’Abantu
1 (A)Ebigambo by’Omubuulizi, mutabani wa Dawudi kabaka mu Yerusaalemi.
2 (B)“Obutaliimu! Obutaliimu!” bw’ayogera Omubuulizi.
Byonna butaliimu.
3 (C)Omuntu afuna ki mu byonna by’akola,
mu byonna ebimukooya wansi w’enjuba?
4 (D)Omulembe ogumu gugenda, omulala ne gujja,
naye ensi ebeerera emirembe gyonna.
5 (E)Enjuba evaayo era n’egwa,
ate n’eyanguwa okutuuka mu kifo mw’eviirayo.
6 Empewo ekunta ng’eraga obukiikaddyo,
ne yeetooloola okutuuka obukiikakkono;
empewo yeetooloola ne yeetooloola,
n’ekomerawo ku biwaawaatiro byayo.
7 (F)Emigga gyonna gikulukuta nga giraga mu nnyanja,
naye ennyanja tejjula;
ekifo emigga gye gikulukutira
era gye gyeyongera okukulukutira.
8 (G)Ebintu byonna bijjudde obukoowu
omuntu bw’atasobola kutenda!
Eriiso terimatira kulaba,
wadde okutu okukoowa okuwulira.
9 (H)Ekyo ekyabaawo era kye kigenda okubaawo,
n’ekyo ekikoleddwa era kye kigenda okukolebwa;
era tewali kintu kiggya wansi w’enjuba.
10 Waali wabaddewo ekintu ekyali kigambiddwa nti,
“Laba kino kiggya”?
Kyaliwo dda
mu mirembe egyatusooka?
11 (I)Tewali kujjukira bintu byasooka
era tewaliba kujjukira bintu ebyo ebitanabaawo mu ebyo ebijja oluvannyuma.
Amagezi Agatali ga Katonda Butaliimu
12 (J)Nze Omubuulizi nali kabaka wa Isirayiri mu Yerusaalemi. 13 (K)Nagezaako n’omutima gwange okuyiga n’okwetegereza n’amagezi gange gonna mu ebyo ebikolebwa wansi w’eggulu; omulimu Katonda gwe yawa abaana b’abantu okukola, guteganya. 14 (L)Ndabye ebintu byonna ebikolebwa wansi w’enjuba; era laba, byonna butaliimu na kugoberera mpewo.
15 (M)Ekyo ekyakyama tekisoboka kugololebwa,
n’ekibulako tekibalibwa.
16 (N)Nayogera munda yange nti, “Nfunye amagezi mangi agasinga ag’abo bonna abaali babadde mu Yerusaalemi, era nfunye amagezi n’okumanya kungi.” 17 (O)Era omutima gwange ne gumanya okwawula amagezi n’eddalu, n’obutategeera. Ne ntegeera nti na kino nakyo kugoberera mpewo.
18 (P)Kubanga mu magezi amangi mujjiramu okunakuwala kungi;
amagezi gye gakoma obungi, n’okunakuwala gye gukoma.
Amasanyu Tegagasa
2 (Q)Nayogera munda yange nti, “Jjangu kaakano ngezese okusanyuka. Weesanyuse.” Naye laba, na kino kyali butaliimu. 2 (R)Nagamba nti, “Okuseka busirusiru. Era okusanyuka kugasa ki?” 3 (S)Nanoonyereza n’omutima gwange, bwe nnaasanyusa omubiri gwange n’omwenge, nga nkyagoberera okunoonya amagezi. Nayagala okulaba abantu kyebasaanira okukola wansi w’enjuba mu nnaku ez’obulamu bwabwe entono.
4 (T)Natandikawo emirimu egy’amaanyi: ne neezimbira amayumba ne neesimbira ennimiro ez’emizabbibu. 5 Ne neerimira ennimiro, ne neekolera n’ebifo ebigazi, ne nsimbamu buli ngeri ya miti egy’ebibala. 6 Ne neesimira ebidiba omuva amazzi ag’okufukirira ebibira by’emiti emito. 7 Neefunira abaddu abasajja n’abakazi, era nalina abaddu abaazaalirwa mu nnyumba yange. Ne mbeera n’amagana g’ente n’ebisibo by’endiga okusinga bonna abansooka okubeera mu Yerusaalemi. 8 (U)Ne neekuŋŋaanyiza ffeeza ne zaabu ebyavanga mu misolo, egyampebwanga bakabaka n’egyavanga mu bwakabaka bwabwe. Neefunira abayimbi abasajja n’abakazi, ne nfuna n’ebintu byonna ebisanyusa omuntu, ne neefunira n’abakazi. 9 (V)Ne nfuuka mukulu ne nsukkirira bonna abansooka mu Yerusaalemi. Mu ebyo byonna nasigala siweebuuse mu magezi.
10 Na buli amaaso gange kye gaayagala okulaba sa kigamma,
omutima gwange ne ngusanyusa mu buli kimu.
Omutima gwange gwasanyukira bye nakola byonna,
era eyo y’empeera yange olw’okutegana kwange kwonna.
11 (W)Awo bwe nalowooza byonna emikono gyange bye gyakola,
n’okutegana kwonna nga nkola,
laba, byonna bwali butaliimu na kugoberera mpewo,
tewaali na kimu kye nagobolola wansi w’enjuba.
Amagezi Agatali ga Katonda n’Obusirusiru Byombi Butaliimu
12 (X)Awo ne nkyuka ne ndowooza ku magezi,
ne ku ddalu ne ku busirusiru,
kubanga oyo aliddirira kabaka mu bigere alibaako ki ky’akola,
okuggyako ekyo kabaka ky’akoze?
13 (Y)Awo ne ndaba amagezi nga gasinga obusirusiru,
n’ekitangaala nga kisinga ekizikiza.
14 (Z)Omugezi amaaso ge gali mu mutwe gwe,
naye atalina magezi atambulira mu kizikiza.
Kyokka ne ntegeera
nga bombi akabi kabatuukako.
15 (AA)Ne ndyoka njogera mu mutima gwange nti,
“Ekyo ekigwa ku musirusiru nange kirintuukako.
Kale lwaki mbeera omugezi?”
Era na kino ne nkizuula
nga butaliimu.
16 (AB)Kubanga ku mugezi ne ku musirusiru tewaliwo ajjukirwa lubeerera;
mu nnaku ezirijja bombi baliba beerabirwa dda.
Okufaanana ng’omusirusiru n’omugezi naye alifa.
17 (AC)Awo ne nkyawa obulamu kubanga buli ekikolebwa wansi w’enjuba kindeetera buyinike. Byonna butaliimu na kugoberera mpewo. 18 (AD)Nakyawa okutegana kwange kwonna kwe nateganamu wansi w’enjuba, kubanga byonna ndi wakubirekera oyo alinzirira mu bigere. 19 Kale ani amanyi obanga aliba musajja mugezi oba musirusiru? Kyokka ye y’aliba mukama w’ebyo byonna bye nateganira nga nkozesa amagezi gange wansi w’enjuba; era na kino nakyo butaliimu. 20 Awo ne nterebuka olw’okutegana kwange kwonna wansi w’enjuba. 21 Kubanga oluusi omuntu ategana ng’akozesa amagezi ge n’okumanya awamu n’obukalabakalaba bwe, naye byonna ateekwa okubirekera oyo atabiteganiranga nako. Na kino nakyo butaliimu na kabi keereere. 22 (AE)Omuntu afuna ki mu kutegana kwe kwonna n’okukaluubirirwa mu ebyo by’ateganamu wansi w’enjuba? 23 (AF)Kubanga ennaku ze zonna n’okutegana kwe bijjula bulumi; era ne mu kiro omutima gwe teguwummula; na kino nakyo butaliimu.
24 (AG)Tewali kisingira muntu kulya na kunywa na kusanyukira mu ebyo by’akola. Na kino nkiraba, kiva mu mukono gwa Katonda, 25 kubanga awatali ye, ani ayinza okulya oba asobola okusanyuka? 26 (AH)Kubanga omuntu asanyusa Katonda, Katonda amuwa amagezi n’okumanya n’essanyu; naye omwonoonyi Katonda amuwa omulimu gw’okukuŋŋaanyiza oyo asanyusa Katonda. Na kino nakyo butaliimu na kugoberera mpewo.
Buli Kintu Kirina Ekiseera Kyakyo
3 (AI)Buli kintu kirina ekiseera kyakyo,
na buli ekikolebwa wansi w’eggulu kirina ekiseera kyakyo.
2 Waliwo ekiseera eky’okuzaalibwa n’ekiseera eky’okufa;
ekiseera eky’okusimba ate n’ekiseera eky’okukungula ebyo ebyasimbibwa;
3 ekiseera eky’okutta n’ekiseera eky’okuwonya;
ekiseera eky’okumenya n’ekiseera eky’okuzimba;
4 ekiseera eky’okukaabiramu n’ekiseera eky’okusekeramu;
ekiseera eky’okukungubaga n’ekiseera eky’okuzina;
5 ekiseera eky’okusaasaanyizaamu amayinja, n’ekiseera eky’okugakuŋŋaanyizaamu;
ekiseera eky’okugwiramu mu kifuba n’ekiseera eky’okukyewaliramu;
6 waliwo ekiseera eky’okunoonyezaamu n’ekiseera eky’okulekeraawo okunoonya;
ekiseera eky’okukuumiramu ekintu n’ekiseera eky’okukisuuliramu;
7 (AJ)n’ekiseera eky’okuyulizaamu n’ekiseera eky’okuddabiririzaamu;
ekiseera eky’okusirikiramu n’ekiseera eky’okwogereramu;
8 waliwo ekiseera eky’okwagaliramu n’ekiseera eky’okukyayiramu;
ekiseera eky’entalo n’ekiseera eky’eddembe.
9 (AK)Ddala omuntu kiki ky’afuna mu kutegana kwe? 10 (AL)Ndabye omugugu Katonda gw’atadde ku bantu. 11 (AM)Buli kimu yakikola nga kirungi mu kiseera kyakyo. Kyokka newaakubadde nga Katonda yateeka mu mitima gy’abantu okutegeera obulamu obutaggwaawo, omuntu tayinza kuteebereza mulimu gwa Katonda gwonna, we gutandikira oba we gukoma. 12 Mmanyi nga tewali kisingira bantu kusanyuka na kukola bulungi nga balamu. 13 (AN)Buli muntu alyoke alye, anywe afune okwesiima olw’ebyo ebiva mu kutegana kwe, kubanga ekyo kirabo kya Katonda. 14 (AO)Mmanyi nga buli Katonda ky’akola kya lubeerera; tekyongerwako, era tewali kikijjibwako. Katonda yakikola bw’atyo, abantu balyoke bamutye.
15 (AP)Ekyo ekiriwo ky’amala dda okubaawo;
n’ekyo ekinaaberawo kyabaawo dda;
era Katonda alagira ebyali bibaddewo, ne byongera okubaawo.
16 Ate era nalaba nga wansi w’enjuba,
mu kifo ky’okusala amazima waliwo kusaliriza;
ne mu kifo ky’obutuukirivu waliwo bwonoonyi.
17 (AQ)Ne njogera munda yange nti,
“Katonda aliramula
abatuukirivu n’aboonoonyi;
kubanga yateekawo ekiseera ekya buli kimu;
era na buli mulimu.”
18 (AR)Ne ndowooza nti, “Katonda agezesa abaana b’abantu era bajjukire nti nsolo busolo. 19 (AS)Kubanga ekituuka ku baana b’abantu kye kituuka ne ku nsolo; omuntu afa, n’ensolo n’efa. Bonna bassa omukka gwe gumu; omuntu talina nkizo ku nsolo. Byonna butaliimu. 20 (AT)Bonna bagenda mu kifo kye kimu, bonna bava mu nfuufu era mu nfuufu mwe badda. 21 (AU)Ani amanyi obanga omwoyo gw’omuntu gwambuka waggulu, ogw’ensolo gwo ne gukka mu ttaka?”
22 (AV)Bwe ntyo nalaba nga tewali kisinga muntu kusanyukira mulimu gwe, kubanga ekyo gwe mugabo gwe. Anti tewali asobola kumukomyawo alabe ebyo ebiribaawo oluvannyuma lwe.
Okubonaabona kwa Pawulo
16 (A)Nziramu okubagamba nti omuntu yenna aleme kundowooza kuba musirusiru; kyokka ne bwe mundowooza okuba omusirusiru, munsembeze, nange neenyumirizeeko katono. 17 (B)Kaakano bye njogera Mukama si yandagidde okubyogera, wabula neeyisa ng’omusirusiru mu buvumu buno obw’okwenyumiriza. 18 (C)Naye obanga bano beenyumiriza mu by’omubiri nange ka nneenyumirize. 19 (D)Mmwe muli bagezi, kyemuva mugumiikiriza abasirusiru. 20 Omuntu yenna bw’abafuula abaddu, oba n’abanyaga, oba n’abalyazaamanya, oba ne yeegulumiza, oba n’abakuba empi, mukigumiikiriza. 21 (E)Ekyo kinswaza okukyogera kubanga tubadde banafu mu ekyo. Naye omuntu yenna kye yeewaayo okukola, nga njogera mu busirusiru, nange neewaayo okukikola. 22 (F)Bo Baebbulaniya? Nange bwe ndi. Bagamba nti Bayisirayiri? Nange bwe ntyo. Bazzukulu ba Ibulayimu? Nange bwe ndi. 23 (G)Bagamba nti baweereza ba Kristo? Nga njogera ng’agudde eddalu, nze mbasinga; Mbasinga okukola ennyo, era nsibiddwa mu kkomera emirundi mingi okubasinga, n’emirundi gye nkubiddwa mingi okusingawo, era emirundi mingi ne mba kumpi n’okufa. 24 Abayudaaya bankuba embooko amakumi asatu mu mwenda ku mirundi egy’enjawulo etaano. 25 (H)Nakubwa emiggo emirundi esatu. Omulundi gumu nakubwa amayinja. Emirundi esatu ekyombo kye nalingamu kyamenyeka. Olulala ne nsula era ne nsiiba mu buziba. 26 (I)Ntambudde nnyo, era emirundi mingi ne mpona akabi k’omujjuzo gw’emigga, ne mpona n’akabi ak’abanyazi, n’empona ab’eggwanga lyange, era n’Abamawanga abalala. Nayolekera obubenje obw’omu kibuga, ne mpona n’okufiira mu ddungu ne mu muyaga ogw’oku nnyanja, ne mpona n’akabi ak’abantu abeeyita abooluganda; 27 (J)mu kukola ennyo ne mu kufuba nga seebaka, mu kulumwa enjala ne mu kufuuyibwa empewo ne mu kubeera obwereere. 28 Ebirala bye simenye nga nabyo bikyali awo, neeraliikirira buli lunaku nga ndowooza ku Kkanisa zonna nga bwe ziri. 29 Bwe wabaawo anafuye, nange nzigwamu amaanyi, omulala bw’agwa mu kibi, nange njaka munda yange.
30 (K)Naye obanga kiŋŋwanidde okwenyumiriza, ka neenyumirize olw’ebyo ebiraga obunafu bwange! 31 (L)Katonda, era Kitaawe wa Mukama waffe Yesu, atenderezebwa emirembe n’emirembe, amanyi nga ssirimba. 32 (M)Bwe nnali mu Damasiko, Kabaka Aleta yalagira gavana alagire abakuumi b’ekibuga, nkwatibwe, 33 (N)naye ne mpisibwa mu ddirisa, eryali mu kisenge kya bbugwe w’ekibuga, nga ndi mu kisero kye baaleebeesa ku miguwa okuntuusa ebweru wansi, bwe ntyo abo ne mbawona.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.