Add parallel Print Page Options

Owoomukwano

14 (A)Ggwe ejjiba lyange, eribeera mu njatika ez’omu njazi,
    mu bwekwekero obw’amayinja,
ndaga amaaso go,
    ka mpulire eddoboozi lyo,
kubanga eddoboozi lyo ddungi nnyo,
    n’amaaso go gasanyusa.

Read full chapter

(A)Emimwa gyo giri ng’ewuzi ey’olugoye olutwakaavu;
    n’akamwa ko kandabikira bulungi.
Amatama go mu lugoye lw’ogabisseeko
    gali ng’ekitundu ky’ekkomamawanga.[a]

Read full chapter

Footnotes

  1. 4:3 Amakomamawanga mamyufu

(A)Mmwe abawala ba Yerusaalemi, mbakuutira,
    ng’empeewo n’enjaza ez’omu ttale,
temusisimula newaakubadde okuzuukusa okwagala
    okutuusa nga kweyagalidde.

Read full chapter

(A)Mmwe abawala ba Yerusaalemi,
    mbakuutira nti bwe mulaba ku muganzi wange,
mumutegeeze ng’okwagala kwange
    gy’ali bwe kunzita.

Read full chapter

16 (A)Enjogera ye mpomerevu,
    weewaawo awamu n’ebyo byonna ayagalibwa.
Ono ye muganzi wange, ye mukwano gwange;
    mmwe abawala ba Yerusaalemi.

Read full chapter