Old/New Testament
Zofali Ayogera
11 Awo Zofali Omunaamasi n’ayogera nti,
2 (A)“Ebigambo ebyo byonna bisigale nga tebiddiddwamu?
Omwogezi ono anaabalibwa ng’ataliiko musango?
3 (B)Okwogera kwo okutaliimu kunaatusirisa?
Oduule bw’otyo wabulewo akunenya?
4 (C)Ogamba Katonda nti, ‘Ebirowoozo byange tebirina nsobi,
era ndi mutukuvu mu maaso go.’
5 Naye, singa Katonda ayogera,
singa abikkula akamwa ke n’akuddamu,
6 (D)n’akubikkulira ebyama by’amagezi;
kubanga amagezi amatuufu ddala galiko enjuuyi bbiri.
Manya kino: Katonda n’okwerabira yeerabira ebimu ku bibi byo.
7 (E)“Osobola okupima ebyama bya Katonda?
Oyinza okunoonyereza ku Ayinzabyonna n’omumalayo?
8 (F)Bigulumivu okusinga eggulu, kiki ky’osobola okukola?
Bikka okusinga obuziba bw’emagombe, kiki ky’osobola okumanya?
9 Obuwanvu bwabyo businga ensi
era bugazi okusinga ennyanja.
10 (G)“Singa ajja n’akusibira mu kkomera era n’atuuza olukiiko,
ani ayinza okumuwakanya?
11 (H)Mazima ddala amanya abantu abalimba.
Bw’alaba ebibi, tabifaako?
12 Naye omuntu omusirusiru, talifuna magezi,
ng’omwana gw’endogoyi ogw’omu nsi bwe gutayinza kuzaalibwa nga gusobola okufugibwa.
13 (I)“Naye bw’owaayo omutima gwo gy’ali,
n’ogolola emikono gyo gy’ali,
14 (J)singa oggyawo ekibi ekiri mu mukono gwo,
n’otokkiriza kibi kubeera mu weema yo,
15 (K)olwo onoositula omutwe n’obwenyi bwo nga tokwatibwa nsonyi,
era oyimirire ng’oli munywevu awatali kutya.
16 (L)Mazima ddala ojja kwerabira emitawaana gyo,
olijjukira bujjukizi ng’amazzi agaayita edda.
17 (M)Obulamu bujja kwaka okusinga omusana ogw’omu ttuntu,
n’ekizikiza kijja kufuuka ng’obudde obw’oku nkya.
18 (N)Olibeera munywevu, kubanga olibeera n’essuubi;
olitunuulira ebikwetooloodde n’owummulira mu mirembe.
19 (O)Oligalamira nga tewali n’omu akutiisa,
era bangi abalikunoonyaako omukisa.
20 (P)Naye amaaso g’abakozi b’ebibi galiremererwa,
era tebalisobola kuwona,
essuubi lyabwe libeere ng’omukka ogw’enkomerero.”
Yobu Ayanukula
12 Awo Yobu n’amuddamu nti,
2 (Q)“Awatali kubuusabuusa muli bantu.
Bwe mulifa n’amagezi gammwe ne gafa.
3 (R)Naye nange nnina amagezi ntegeera,
temunsinga.
Ani atabimanyi ebyo byonna?
4 (S)Nfuuse ekisekererwa eri mikwano gyange.
Nze eyakoowolanga Katonda n’anziramu,
ne nsekererwa obusekererwa, ate nga ndi mutukuvu ataliiko musango!
5 Abantu abali mu ddembe lyabwe batera okusekerera abali mu mitawaana,
ng’ebizibu bwe biba ku abo ababa batuuse awazibu.
6 (T)Weema z’abanyazi tezibaako mutawaana,
era abo abanyiiza Katonda babeera mu ddembe
abo abeetikka katonda waabwe mu mikono gyabwe.
7 Naye buuza ensolo zijja kukuyigiriza,
oba ebinyonyi eby’omu bbanga binaakubuulira.
8 Oba yogera n’ettaka linaakusomesa
oba ebyennyanja eby’omu nnyanja binaakunnyonnyola.
9 (U)Biki ku bino ebitamanyi nti,
omukono gwa Mukama gwe gukoze ebyo?
10 (V)Buli bulamu bwa kitonde buli mu mukono gwe,
na buli mukka ogussibwa abantu bonna.
11 (W)Okutu tekugezesa bigambo
ng’olulimi bwe lukomba ku mmere?
12 (X)Amagezi tegasangibwa mu bakaddiye?
Okuwangaala tekuleeta kutegeera?
13 (Y)Katonda y’alina amagezi n’amaanyi;
y’ateesa ebigambo era y’alina okutegeera.
14 (Z)Ky’amenya teri ayinza kuddamu kukizimba;
ky’asiba mu kkomera tekiyinza kuteebwa.
15 (AA)Bw’aziyiza amazzi, ekyeeya kijja,
bw’agata gazikiriza ensi.
16 (AB)Ye, ye nannyini maanyi n’obuwanguzi,
abalimba n’abalimbibwa bonna babe.
17 (AC)Aggyawo abawi b’amagezi nga tebalina kantu,
abalamuzi n’abafuula abasirusiru.
18 (AD)Bakabaka abaggyako enjegere ze beesiba ebiwato byabwe,
n’abasibamu obukete.[a]
19 (AE)Bakabona abatwala nga tebalina kantu,
n’asuula abasajja abaanywera.
20 (AF)Aziba emimwa egy’abawi b’amagezi abeesigwa,
era n’aggyawo okwolesebwa kw’abakadde.
21 Ayiwa ekivume ku bakungu,
era n’aggya ebyokulwanyisa ku b’amaanyi.
22 (AG)Abikkula ebintu eby’ebuziba eby’ekizikiza,
n’aleeta n’ebisiikirize eby’amaanyi mu kitangaala.
23 (AH)Afuula amawanga okuba ag’amaanyi, era n’agazikiriza;
agaziya amawanga n’agasaasaanya.
24 (AI)Abakulembeze baamawanga abaggyako okukola ebisaanidde;
n’abasindika nga bagwirana mu ddungu eritaliimu kkubo.
25 (AJ)Bawammantira mu kizikiza awatali kitangaala;
abaleetera okutagala ng’abatamiivu.”
13 “Laba, eriiso lyange lyalaba ebyo byonna,
n’okutu kwange ne kuwulira ne mbitegeera.
2 (AK)Kye mumanyi nange kye mmanyi;
siri wa wansi ku mmwe.
3 (AL)Naye neegomba okwogera n’oyo Ayinzabyonna,
era n’okuleeta ensonga zange mu maaso ga Katonda.
4 (AM)Naye mmwe mumpayiriza;
muli basawo abatagasa mmwe mwenna!
5 (AN)Kale singa musirika!
Olwo lwe mwandibadde n’amagezi.
6 Muwulire kaakano endowooza yange,
muwulirize okwegayirira kw’emimwa gyange.
7 (AO)Katonda munaamwogerera nga mwogera ebitali bya butuukirivu?
Munaamwogerera eby’obulimba?
8 (AP)Munaamulaga ng’ataliiko luuyi,
munaamuwoleza ensonga ze.
9 (AQ)Singa akukebera, anaakusanga oli bulungi?
Oyinza okumulimba nga bw’oyinza okulimba abantu?
10 Tayinza butakunenya,
singa osaliriza mu bubba.
11 (AR)Ekitiibwa kye ekisukiridde tekyandikutiisizza?
Entiisa ye teyandikuguddeko?
12 Ebigambo byammwe ebijjukirwa ngero za vvu,
n’okwewolereza kwammwe kwa bbumba.
13 Musirike nze njogere;
kyonna ekinantukako kale kintuukeko.
14 Lwaki neeteeka mu mitawaana,
obulamu bwange ne mbutwalira mu mikono gyange?
15 (AS)Ne bw’anzita, mu ye mwe nnina essuubi,
ddala ddala nditwala ensonga zange mu maaso ge.
16 (AT)Ddala kino kinaavaamu okusumululwa kwange,
kubanga teri muntu atatya Katonda ayinza kwetantala kujja mu maaso ge!
17 (AU)Muwulirize ebigambo byange n’obwegendereza;
amatu gammwe gawulire bye ŋŋamba.
18 (AV)Kaakano nga bwe ntegese empoza yange,
mmanyi nti nzija kwejeerera.
19 (AW)Waliwo ayinza okuleeta emisango gye nvunaanibwa?
Bwe kiba bwe kityo, nzija kusirika nfe.
20 Ebintu ebyo ebibiri byokka by’oba ompa, Ayi Katonda,
awo sijja kukwekweka.
21 (AX)Nzigyako omukono gwo,
olekere awo okuntiisatiisa n’okunkangakanga.
22 (AY)Kale nno ompite nzija kukuddamu,
oba leka njogere ggwe onziremu.
23 (AZ)Nsobi meka era bibi bimeka bye nkoze?
Ndaga ekibi kyange era n’omusango gwange.
24 (BA)Lwaki okweka amaaso go,
n’onfuula omulabe wo?
25 (BB)Onoobonyaabonya ekikoola ekifuuyiddwa omuyaga?
Onooyigga ebisasiro ebikaze?
26 (BC)Kubanga ompadiikako ebintu ebiruma,
n’ondeetera okuddamu okwetikka ebibi byange eby’omu buvubuka.
27 (BD)Oteeka ebigere byange mu nvuba,
era okuuma butiribiri amakubo gange mwe mpita
ng’oteeka obubonero ku bisinziiro by’ebigere byange.
28 (BE)Bw’atyo omuntu bw’aggwaawo ng’ekintu ekivundu,
ng’olugoye oluliiriddwa ennyenje.”
Okukyuka kwa Sawulo
9 (A)Mu kiseera ekyo Sawulo yali aswakidde ng’ayigganya abayigirizwa ba Mukama waffe ng’abatiisatiisa okwagala okubatta, n’atuukirira Kabona Asinga Obukulu, 2 (B)n’amusaba awandiikire ab’omu makuŋŋaaniro ag’omu Damasiko ebbaluwa, ng’ebasaba bakolagane naye mu kuyigganya abakkiriza bonna abasajja n’abakazi b’alisanga eyo, abasibe mu njegere, alyoke abaleete e Yerusaalemi. 3 (C)Awo Sawulo bwe yali atambula ng’anaatera okutuuka e Damasiko, amangwago ekitangaala eky’amaanyi ennyo okuva mu ggulu ne kimwakako okumwetooloola. 4 N’agwa wansi, n’awulira eddoboozi nga limugamba nti, “Sawulo! Sawulo! Onjigganyiza ki?”
5 Sawulo n’abuuza nti, “Ggwe ani, Mukama wange?”
Eddoboozi ne limuddamu nti, “Nze Yesu gw’oyigganya! 6 (D)Kale yimuka ogende mu kibuga onootegeezebwa ky’osaanidde okukola.”
7 (E)Abasajja abaali ne Sawulo ne bayimirira nga basobeddwa n’ekyokwogera nga kibabuze kubanga baawulira eddoboozi ng’ery’omuntu naye nga tebalaba ayogera. 8 Sawulo bwe yayimuka wansi n’agezaako okutunula naye ng’amaaso ge tegalaba. Era baamukwata bukwasi ku mukono okumuyingiza mu Damasiko. 9 N’amalayo ennaku ssatu nga talaba era nga talya mmere wadde okunywa amazzi okumala ebbanga eryo lyonna.
10 (F)Mu Damasiko mwalimu omuyigirizwa ng’ayitibwa Ananiya. Mukama n’ayogera naye mu kwolesebwa n’amuyita nti, “Ananiya!”
N’addamu nti, “Nze nzuuno, Mukama wange.”
11 (G)Mukama n’amugamba nti, “Genda ku luguudo oluyitibwa Olutereevu, onoonye ennyumba y’omuntu omu erinnya lye Yuda, omubuuze Sawulo ow’e Taluso. Ali eyo kaakano ng’asaba, kubanga 12 (H)mmulaze mu kwolesebwa omuntu ayitibwa Ananiya ng’ajja gy’ali era ng’amussaako emikono okumusabira amaaso ge galabe.”
13 (I)Ananiya n’agamba nti, “Naye Mukama wange, nga mpulidde ebintu ebitali birungi bingi nnyo omuntu oyo by’akoze abakkiriza abali mu Yerusaalemi. 14 (J)Era tuwulira nti yafuna n’ebbaluwa okuva eri Kabona Asinga Obukulu, ng’emuwa obuyinza okukwata buli mukkiriza yenna ali mu Damasiko!”
15 (K)Naye Mukama n’amugamba nti, “Ggwe genda okole kye ŋŋambye. Kubanga Sawulo mmulonze okutwala erinnya lyange eri Abaamawanga ne bakabaka, era n’eri abaana ba Isirayiri.” 16 (L)Era nnaamulaga nga bw’ateekwa okubonaabona ku lw’erinnya lyange.
17 (M)Bw’atyo Ananiya n’agenda n’ayingira mu nnyumba Sawulo mwe yali n’amussaako emikono n’amugamba nti, “Owooluganda Sawulo, Mukama waffe Yesu eyakulabikira mu kkubo ng’ojja antumye gy’oli, oddemu okulaba era ojjuzibwe Mwoyo Mutukuvu.” 18 Amangwago ebintu ebyali ng’amagamba ne bigwa okuva ku maaso ga Sawulo n’asobola okulaba, n’ayimirira n’abatizibwa. 19 (N)N’alya emmere n’afuna amaanyi. N’abeera wamu n’abakkiriza mu Damasiko okumala ennaku eziwerako.
20 (O)Amangwago Sawulo n’atandika okubuulira mu makuŋŋaaniro ku Yesu nti Yesu Mwana wa Katonda. 21 (P)Bonna abaamuwulira ne beewuunya, ne beebuuza nti, “Si y’ono eyayigganyanga ennyo abagoberezi ba Yesu mu Yerusaalemi? Ate twawulira nga yeesonga eyamuleeta abakwate abatwale eri bakabona abakulu.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.