Old/New Testament
23 Naye mu mwaka ogw’omusanvu Yekoyaada n’alaga obuyinza bwe. N’akola endagaano n’abaduumizi ab’ebibinja eby’ekikumi, era baali Azaliya mutabani wa Yekokamu, ne Isimayiri mutabani wa Yekokanani, ne Azaliya mutabani wa Obedi, ne Maaseya mutabani wa Adaya, ne Erisafaati mutabani wa Zikuli. 2 (A)Ne bagenda mu Yuda yonna ne bakuŋŋaanya Abaleevi n’abakulembeze b’ennyumba za bajjajja ba Isirayiri okuva mu bibuga byonna ebya Yuda ne bajja e Yerusaalemi. 3 (B)Ekibiina kyonna ne bakola endagaano ne kabaka mu yeekaalu ya Katonda.
Awo Yekoyaada n’abagamba nti, “Mutabani wa kabaka y’alifuga, nga Mukama bwe yasuubiza bazzukulu ba Dawudi. 4 Era bwe muti bwe munaakola: kimu kya kusatu ku mmwe bakabona n’Abaleevi abanaaberanga ku luwalo ku ssabbiiti munaakuumanga wankaaki, 5 ate kimu kya kusatu ekirala munaakuumanga olubiri lwa kabaka, n’ekimu kya kusatu ekirala munaakuumanga Omulyango ogw’Omusingi, n’abantu abalala bonna banaabeeranga mu luggya olwa yeekaalu ya Mukama. 6 (C)Tewabanga n’omu ayingira mu yeekaalu ya Mukama wabula bakabona, n’Abaleevi abanaabeeranga mu luwalo; abo banaayingiranga kubanga batukuvu, naye abantu abalala bonna banaagobereranga ekyo Mukama kye yalagira. 7 Abaleevi banaayimiriranga okwetooloola kabaka, buli omu ku bo ng’akutte ebyokulwanyisa bye mu mukono gwe, na buli anaayingiranga mu yeekaalu wa kuttibwa. Mubeere kumpi nnyo ne kabaka, buli gy’anaalaganga.”
8 (D)Abaleevi n’abantu bonna aba Yuda ne bakola nga Yekoyaada kabona bwe yalagira. Buli omu ku bo n’atwala abasajja be, abo abaali mu luwalo ku Ssabbiiti, wamu n’abo abaali bamaliriza olwabwe, kubanga Yekoyaada kabona yali tannabagaba mu mpalo. 9 N’awa abaduumizi ab’ekikumi amafumu, n’engabo ennene, n’engabo entono, ebyali ebya Kabaka Dawudi, ebyabeeranga mu yeekaalu ya Katonda. 10 Era n’ateekateeka buli musajja okuba omukuumi wa kabaka, nga buli omu ku bo akutte ekyokulwanyisa mu mukono gwe, nga beetoolodde kabaka, n’okwetooloola ekyoto ne yeekaalu, okuva mu bukiikaddyo, okutuuka ku bukiikakkono obwa yeekaalu.
11 (E)Awo Yekoyaada ne batabani be ne bafulumya mutabani wa kabaka ne bamutikkira engule ey’obwakabaka, ne bakola endagaano, era ne bamulangirira okuba kabaka. Ne bamufukako amafuta, ne boogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Wangaala kabaka!”
12 Naye Asaliya bwe yawulira oluyoogaano lw’abantu nga badduka era nga batendereza kabaka, n’agenda gye bali mu yeekaalu ya Mukama. 13 (F)N’atunula, laba, kabaka ng’ayimiridde okuliraana empagi ye ku mulyango, n’abakungu n’abafuuwa amakondeere nga bayimiridde okumwetooloola, era nga n’abantu bonna ab’ensi nga basanyuka nga bafuuwa n’amakondeere, n’abayimbi nga bakutte ebivuga byabwe nga bakulembedde okujaguza. Awo Asaliya n’ayuza ebyambalo bye, n’aleekaanira waggulu nti, “Bujeemu! Bujeemu!”
14 Yekoyaada kabona n’atuma abaduumizi ab’ebibinja eby’ekikumi, abaavunaanyizibwanga eggye, n’abagamba nti, “Mumufulumye mumuteeke wakati w’enyiriri, mutte n’ekitala omuntu yenna anaamugoberera.” Kabona yali ayogedde nti, “Temumuttira mu yeekaalu ya Mukama.” 15 (G)Bwe yali ng’anaatera okutuuka ku mulyango ogw’embalaasi mu luggya olwokubiri, ne bamukwata ne bamuttira eyo.
16 (H)Awo Yekoyaada n’akola endagaano wakati we n’abantu bonna era ne kabaka, nti baliba bantu ba Mukama. 17 (I)Abantu bonna ne bagenda mu ssabo lya Baali ne balimenyaamenya, ne bamenyaamenya n’ebyoto bye n’ebifaananyi bye, era ne battira ne Matani kabona wa Baali mu maaso g’ebyoto bya Baali.
18 (J)Awo Yekoyaada n’assaawo abanaalabiriranga yeekaalu ya Mukama, era n’alonda bakabona n’Abaleevi Dawudi be yali awadde obuvunaanyizibwa obw’okuwangayo ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama, nga bwe kyawandiikibwa mu mateeka ga Musa, nga bajaguza era nga bayimba, nga Dawudi bwe yalagira. 19 (K)N’ateeka n’abaggazi ku wankaaki za yeekaalu ya Mukama, waleme okubaawo omuntu yenna atali mulongoofu ayingira.
20 (L)N’agenda n’abaduumizi ab’ekikumi, n’abakungu, n’abafuzi b’abantu, n’abantu bonna ab’eggwanga, ne baggya kabaka mu yeekaalu ya Mukama, ne bayita mu wankaaki ow’ekyengulu ne balaga mu lubiri lwa kabaka. Ne batuuza kabaka ku ntebe ye ey’obwakabaka. 21 (M)Abantu bonna ab’ensi ne bajaguza, n’ekibuga ne kitereera, kubanga Asaliya yali attiddwa n’ekitala.
Yowaasi Addaabiriza Yeekaalu
24 Yowaasi yalina emyaka musanvu we yafuukira kabaka, era n’afugira emyaka amakumi ana mu Yerusaalemi n’erinnya lya nnyina ye yali Zebbiya ow’e Beeruseba. 2 (N)Yowaasi n’akola ebirungi mu maaso ga Mukama mu biro byonna ebya Yekoyaada kabona. 3 Yekoyaada n’amulondera abakyala babiri, era ne bamuzaalira abaana aboobulenzi n’aboobuwala.
4 Bwe waayitawo ebbanga, Yowaasi n’ayagala okuddaabiriza yeekaalu ya Mukama. 5 (O)N’ayita bakabona n’Abaleevi, n’abagamba nti, “Mugende mu bibuga bya Yuda, musolooze ensimbi eza buli mwaka okuva mu Isirayiri yenna, olw’okuddaabiriza yeekaalu ya Mukama, era mutandikirewo.” Naye Abaleevi ne batakikolerawo.
6 (P)Awo kabaka n’atumya Yekoyaada kabona asinga obukulu, n’amubuuza nti, “Kiki ekyakulobera okugamba Abaleevi, n’ekibiina kya Isirayiri ku lw’eweema ey’Obujulirwa, okuva eri Yuda ne Yerusaalemi okuleetanga omusolo, Musa omuddu wa Katonda gwe yalagira?”
7 Mu biro eby’emabegako, batabani ba Asaliya, omukazi oli omubi, baali baamenya ne bayingira mu yeekaalu ya Mukama, ne bakozesa ebintu byonna ebyawongebwa mu yeekaalu ya Mukama, emirimu gya Baali.
8 Awo kabaka n’alagira ne bakola essanduuko, ne bagissa ebweru wa wankaaki wa yeekaalu ya Mukama. 9 Ekiragiro ne kiyita mu Yuda yonna ne mu Yerusaalemi yonna, okuleeteranga Mukama omusolo, Musa omuddu wa Katonda gwe yalagira Isirayiri nga bali mu ddungu. 10 (Q)Abakungu bonna n’abantu bonna ne baleetanga omusolo ogwo nga basanyufu, ne baguteekanga mu ssanduuko, okutuusa lwe yajjulanga. 11 Buli essanduuko bwe yaleetebwanga Abaleevi eri abakungu ba kabaka ne balaba ng’erimu sente nnyingi, omuwandiisi wa kabaka n’omukungu wa kabona asinga obukulu, baagitwalanga ne baziggyamu, ne bagikomyawo mu kifo kyayo. Kino baakikolanga buli lunaku, era ne bakuŋŋaanya ensimbi nnyingi. 12 (R)Kabaka ne Yekoyaada ne bazikwasa abo abaavunaanyizibwanga omulimu gwa yeekaalu ya Mukama, bo ne bapangisa abaagula amayinja n’ababazzi okuddaabiriza yeekaalu ya Mukama, n’abalala baali baweesi ba byuma n’ebikomo era nabo nga baakuddaabiriza yeekaalu ya Mukama.
13 Abasajja abaavunaanyizibwanga omulimu ogwo baali banyiikivu, era n’omulimu ogwo gwali mu mikono gyabwe, era ne baddaabiriza yeekaalu ya Katonda okutuuka ku mutindo gwayo ogugisaanira, ne baginyweza. 14 Awo bwe baamaliriza, ensimbi ezafikkawo ne bazikomyawo ewa kabaka ne Yekoyaada, ate ezo ne zikozesebwa okukola ebintu eby’omu yeekaalu ya Mukama, eby’obuweereza n’eby’ebiweebwayo ebyokebwa, ne bbakuli ez’obubaane, n’ebibya ebya zaabu ne ffeeza. Era ne baweerangayo ebiweebwayo ebyokebwa mu yeekaalu ya Mukama ennaku zonna eza Yekoyaada.
15 Yekoyaada n’akaddiwa, n’awangaala nnyo, n’afa ng’aweza emyaka kikumi mu asatu egy’obukulu. 16 N’aziikibwa mu kibuga kya Dawudi ne bassekabaka, kubanga yakola ebirungi mu Isirayiri, ku lwa Katonda ne ku lwa yeekaalu ye.
Enneeyisa Embi eya Yowaasi
17 Awo Yekoyaada ng’amaze okufa, abakungu ba Yuda ne bajja ne bavuunamira kabaka, n’abawuliriza. 18 (S)Ne baleka yeekaalu ya Mukama, Katonda wa bajjajjaabwe, ne baweerezanga Baasera n’ebifaananyi, obusungu bwa Katonda kyebwava bubuubuukira ku Yuda ne Yerusaalemi. 19 (T)Newaakubadde nga Mukama yabatumira bannabbi okubakomyawo gy’ali, ne babalumiriza, tebassaayo mwoyo.
20 (U)Awo Omwoyo wa Katonda n’akka ku Zekkaliya muzzukulu wa Yekoyaada, n’ayimirira mu maaso g’abantu n’ayogera nti, “Bw’ati bw’ayogera Katonda nti, ‘Lwaki mujeemera amateeka ga Mukama? Temujja kufuna mukisa kukulaakulana. Kubanga muvudde ku Mukama naye kyavudde abaleka.’ ”
21 (V)Naye ne basala olukwe okutta Zekkaliya, kabaka n’alagira n’akubibwa amayinja, n’afiira mu luggya lwa yeekaalu ya Mukama. 22 (W)Kabaka Yowaasi n’atajjukira kisa Yekoyaada kitaawe wa Zekkaliya kye yamulaga, n’atta mutabani we. Zekkaliya bwe yali ng’afa n’ayogera nti, “Mukama kino akirabe, era akuvunaane.”
23 (X)Ku nkomerero ey’omwaka, eggye ery’Abasuuli ne lirumba Yowaasi. Ne bajja mu Yuda ne mu Yerusaalemi ne bazikiriza abakungu bonna, ne baweereza omunyago gwonna eri kabaka waabwe e Ddamasiko. 24 (Y)Newaakubadde ng’eggye ery’Abasuuli ly’ajja n’abasajja batono, Mukama yawaayo eggye eddene ennyo erya Yuda mu mukono gw’Abasuuli kubanga Yuda baava ku Mukama, Katonda wa bajjajjaabwe. Abasuuli ne babonereza Yowaasi. 25 (Z)Awo Abasuuli bwe baavaayo, ne baleka nga Yowaasi alumizibbwa nnyo, era abaddu be ne bamusalira olukwe, olw’omusaayi gw’abaana ba Yekoyaada kabona, gwe yayiwa, ne bamuttira mu kitanda kye. Bwe yafa, n’aziikibwa mu kibuga kya Dawudi, naye si mu masiro ga bassekabaka.
26 (AA)Abaamusalira olukwe baali Zabadi mutabani wa Simeyaasi omukazi Omwamoni, ne Yekozabadi mutabani wa Simulisi omukazi Omumowaabu. 27 Ebyafaayo ebikwata ku batabani be, n’ebyamulagulwako, n’eby’okuddaabiriza kwa yeekaalu ya Katonda, byawandiikibwa mu ngero ez’ekitabo ekya bassekabaka. Amaziya mutabani we n’amusikira.
Yesu gwe Muzabbibu gwennyini
15 (A)“Nze muzabbibu ogw’amazima, ate Kitange ye mulimi. 2 Buli ttabi eriri ku Nze eritabala bibala aliggyako. Naye buli ttabi eribala ebibala, alirongoosa lyeyongerenga okubala. 3 (B)Mmwe kaakano muli balongoofu olw’ekigambo kye mbagambye; 4 (C)mubeere mu Nze era nange mbeere mu mmwe. Ng’ettabi bwe litayinza kubala bibala ku bwalyo nga teriri ku muzabbibu, bwe mutyo nammwe temuyinza kubala bibala bwe mutabeera mu Nze.
5 (D)“Nze muzabbibu, mmwe matabi. Buli abeera mu Nze nange ne mbeera mu ye oyo abala ebibala bingi. Kubanga awatali Nze temuliiko kye muyinza kukola. 6 (E)Omuntu bw’atabeera mu nze asuulibwa ebweru ng’ettabi erikaze. Amatabi ng’ago bagakuŋŋaanya ne bagasuula ku muliro ne gaggya. 7 (F)Naye bwe munywerera mu Nze ne munyweza ebigambo byange, buli kye munaasabanga kinaabakolerwanga. 8 (G)Bwe mubala ebibala ebingi, muba bayigirizwa bange, ne Kitange, agulumizibwa.
9 (H)“Mbaagadde nga Kitange bw’anjagala. Noolwekyo munywererenga mu kwagala kwange. 10 (I)Bwe munaagonderanga ebiragiro byange olwo munaabanga munyweredde mu kwagala kwange, nga nange bwe ŋŋondera ebiragiro bya Kitange ne mbeera mu kwagala kwe. 11 (J)Mbategeezezza ebyo mulyoke mujjule essanyu lyange. Era essanyu lyammwe liryoke lituukirire. 12 (K)Kye mbalagira kye kino nti mwagalanenga nga Nze bwe mbaagala. 13 (L)Tewali kwagala kusinga okw’omuntu awaayo obulamu bwe olwa mikwano gye. 14 (M)Muba mikwano gyange bwe mukola bye mbalagira. 15 (N)Olwo nga sikyabayita baddu, kubanga omuddu tamanya bifa ku mukama we. Kaakano mmwe muli mikwano gyange, kubanga mbategeezezza byonna Kitange bye yaŋŋamba. 16 (O)Si mmwe mwannonda! Wabula Nze nabalonda, mulyoke mubale ebibala ate ebibala eby’olubeerera. Olwo buli kye munaasabanga Kitange mu linnya lyange anaakibawanga. 17 (P)Kye mbalagira kye kino nti mwagalanenga.
18 (Q)“Ensi bw’ebakyawanga mumanye nti yasooka kukyawa nze. 19 (R)Singa mubadde ba nsi, yandibaagadde, naye temuli ba nsi, kubanga nabalonda muve mu nsi, kyeva ebakyawa. 20 (S)Mujjukire kye nabagamba nti, ‘Omuddu tasinga mukama we.’ Kale obanga Nze banjigganya era nammwe bagenda kubayigganyanga. Era obanga baagondera ebigambo byange n’ebyammwe balibigondera. 21 (T)Ebyo byonna balibibakola ku lw’erinnya lyange, kubanga eyantuma tebamumanyi. 22 (U)Singa sajja ne njogera nabo tebandibadde na musango. Naye kaakano tebalina kya kwewolereza olw’ekibi kyabwe. 23 Buli ankyawa aba akyawa ne Kitange. 24 (V)Singa saakola mirimu egitaakolebwa muntu yenna mu bo tebandibaddeko musango. Naye kaakano balabye emirimu egyo, n’okutukyawa ne batukyawa, Nze ne Kitange. 25 (W)Ekyawandiikibwa ne kiryoka kituukirira ekigamba nti, ‘Bankyayira bwereere.’
26 (X)“Kyokka mmwe ndibatumira Omubeezi okuva eri Kitange, Omwoyo ow’amazima ava eri Kitange era alibategeeza buli ekinfaako. 27 (Y)Era nammwe mulinjulira, kubanga mubadde nange okuva ku lubereberye.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.