Add parallel Print Page Options

10 (A)Osunieri n’ajjula Omwoyo wa Mukama n’akulembera Abayisirayiri, n’alumba Kusanurisaseyimu kabaka w’e Mesopotamiya era n’amuwangula kubanga Mukama yamuwaayo mu mikono gya Osunieri.

Read full chapter

18 (A)Awo Omwoyo n’aka ku Amasayi, omukulu w’abo amakumi asatu, n’ayogera nti,

“Ffe tuli babo, Dawudi!
    Tuli naawe, Omwana wa Yese!
Obuwanguzi, Obuwanguzi gy’oli;
    era Obuwanguzi bubeere eri abo abakuyamba,
        kubanga Katonda wo ajja kukubeera.”

Awo Dawudi n’abaaniriza era n’abafuula bakungu mu ggye lye.

Read full chapter

14 (A)Awo Omwoyo wa Mukama n’akka ku Yakaziyeeri mutabani wa Zekkaliya, muzzukulu wa Benaya muzzukulu wa Yeyeri, muzzukulu wa Mattaniya, Omuleevi ow’ezzadde lya Asafu ng’ayimiridde wakati mu lukuŋŋaana.

Read full chapter

35 (A)Bwe mutyo omusango gw’okutemula abatuukirivu, okutandikira ku Aberi omutuukirivu okutuuka ku Zaakaliya, mutabani wa Balakiya gwe mwattira wakati wa yeekaalu n’ekyoto, ne gubasingira ddala.

Read full chapter

51 (A)okuva ku musaayi gwa Aberi okutuuka ku musaayi gwa Zaakaliya, eyattirwa wakati w’ekyoto ky’ebiweebwayo ne yeekaalu. Mmwe ab’omulembe guno mbategeeza nti mugenda kuvunaanibwa olw’ebyo byonna.

Read full chapter

41 (A)Naye Musa n’abagamba nti, “Lwaki munyooma ekiragiro kya Mukama Katonda? Ebyo bye mutegeka tebiyinza kutuukiririra.

Read full chapter

17 (A)Ku lunaku olwo obusungu bwange bulibabuubuukirako, nange ndibakisa amaaso gange, ne babeera bangu okuzikirizibwa, era ebizibu bingi n’emitawaana biribajjira. Ku lunaku olwo balyebuuza nti, ‘Emitawaana gino tegitutuseeko lwa kubanga Katonda waffe tali wakati mu ffe?’

Read full chapter

(A)n’agenda n’asisinkana Asa n’amugamba nti, “Mumpulirize, mmwe Asa, ne Yuda ne Benyamini mwenna, Mukama ali nammwe bwe muba mu ye. Bwe munaamunoonyanga, munaamulabanga, naye bwe munaamulekuliranga naye anaabalekuliranga.

Read full chapter