Add parallel Print Page Options

14 (A)Mukama n’asunguwalira nnyo Abayisirayiri: Kyeyava abawaayo mu mikono gy’abanyazi ne babanyanga era ne batasobola na kwerwanako okuva mu mikono gy’abalabe baabwe ababeetoolodde kubanga Mukama yali amaze okubawaayo.

Read full chapter

20 (A)Mukama n’asunguwalira nnyo Abayisirayiri n’agamba nti, “Olw’okuba nga abantu bano bamenye endagaano gye nalagaana ne bajjajjaabwe, so tebagondedde ddoboozi lyange,

Read full chapter

13 (A)Gidyoni n’abuuza nti, “Ayi Mukama wange, obanga Mukama ali wamu naffe, kale lwaki bino byonna bitutuuseeko? Eby’amagero eby’ekitalo bajjajjaffe bye baatubuulirako nti, ‘Mukama yatuggya mu Misiri, byo biruwa?’ Naye Kaakano Mukama Katonda atwabulidde era atuwaddeyo mu mikono gy’Abamidiyaani.”

Read full chapter

(A)n’agenda n’asisinkana Asa n’amugamba nti, “Mumpulirize, mmwe Asa, ne Yuda ne Benyamini mwenna, Mukama ali nammwe bwe muba mu ye. Bwe munaamunoonyanga, munaamulabanga, naye bwe munaamulekuliranga naye anaabalekuliranga.

Read full chapter

20 (A)N’agamba nti, Nzija kubakweka amaaso gange
    ndabe ebinaabatuukako;
kubanga omulembe gwabwe mwonoonefu,
    abaana abatalinaamu bwesigwa.

Read full chapter

15 (A)Bwe munaayimusanga emikono gyammwe musabe
    nnaabakwekanga amaaso gange,
era ne bwe munaasabanga ennyo
    siiwulirenga
kubanga emikono gyammwe gisaabaanye omusaayi.

Read full chapter

17 (A)Nange nnaalindirira Mukama Katonda
    akwese amaaso ge okuva ku nnyumba ya Yakobo,
mmunoonye n’essuubi.

Read full chapter

42 (A)Temwambuka kubanga Mukama Katonda tali nammwe. Abalabe bammwe bajja kubawangula.

Read full chapter