Old/New Testament
Birudaadi Ayogera
8 Awo Birudaadi Omusukusi n’addamu n’agamba nti,
2 (A)“Onookoma ddi okwogera ebintu bino?
Era ebigambo bino by’oyogera n’akamwa ko binaakoma ddi okuba ng’empewo ey’amaanyi?
3 (B)Katonda akyusakyusa mu nsala ye?
Oba oyo Ayinzabyonna akyusakyusa amazima?
4 (C)Abaana bo bwe baayonoona eri Mukama,
n’abawaayo eri empeera y’ekibi kyabwe.
5 (D)Kyokka bw’onoonoonya Katonda,
ne weegayirira oyo Ayinzabyonna,
6 (E)bw’onooba omulongoofu era ow’amazima,
ddala ddala anaakuddiramu
n’akuzzaayo mu kifo kyo ekituufu.
7 (F)Wadde ng’entandikwa yo yali ntono,
embeera yo ey’enkomerero ejja kuba nnungi ddala.
8 (G)Buuza ku mirembe egy’edda,
era onoonyereze ku bakitaabwe bye baayiga;
9 (H)kubanga ffe twazaalibwa jjuuzi era tetulina kye tumanyi,
era ne nnaku ze twakamala ku nsi ziri ng’ekisiikirize.
10 Tebaakulage bakumanyise era bakutegeeze ebigambo bye mitima gyabwe
oba by’okutegeera kwabwe?
11 Ebitoogo biyinza okumera
awatali bitosi?
12 (I)Biba bikyakula nga tebinnasalibwa,
bikala mangu okusinga omuddo.
13 (J)Bw’etyo enkomerero bw’ebeera ey’abo bonna abeerabira Katonda,
essuubi ly’abatatya Katonda bwe libula.
14 (K)Ebyo bye yeesiga byatika mangu,
ebyo bye yeesiga, nnyumba ya nnabbubi!
15 (L)Yeesigama wuzi za nnabbubi ne zikutuka
azeekwatako nnyo naye ne zitanywera.
16 (M)Ali ng’ekimera ekifukirire obulungi ekiri mu musana,
nga kyanjadde amatabi gaakyo mu nnimiro;
17 emirandira gyakyo nga gyezingiridde, okwetooloola entuumu y’amayinja,
nga ginoonya ekifo mu mayinja.
18 (N)Naye bwe bakiggya mu kifo kyakyo,
ekifo ekyo kikyegaana ne kigamba nti, Sikulabangako.
19 (O)Mazima ddala essanyu lyakyo liggwaawo,
ebirime ebirala ne bikula okuva mu ttaka.
20 (P)Mazima ddala Katonda talekerera muntu ataliiko musango,
era tanyweza mukono gw’abakola ebibi.
21 (Q)Ajja kuddamu ajjuze akamwa ko enseko,
n’emimwa gyo amaloboozi ag’essanyu.
22 (R)Abalabe bo balijjula obuswavu,
era n’ennyumba z’abakozi b’ebibi zirimalibwawo.”
Yobu Ayanukula
9 Yobu n’alyoka addamu nti,
2 (S)“Ddala nkimanyi nga kino kituufu.
Naye omuntu asobola atya okuba omutuukirivu eri Katonda?
3 (T)Wadde ng’omuntu yandyagadde okuwakana naye,
tayinza kumuddamu kibuuzo na kimu ku bibuuzo olukumi.
4 (U)Amagezi ge ga nsusso, amaanyi ge mangi nnyo;
ani eyali amuwakanyizza n’avaayo nga taliiko binuubule?
5 (V)Asimbula ensozi ne zivaayo nga tezimanyiridde
era n’azivuunika ng’asunguwadde.
6 (W)Ensi aginyeenya n’eva mu kifo kyayo
era n’akankanya empagi zaayo.
7 (X)Ayogera eri enjuba ne teyaka,
akugira n’alemesa ekitangaala ky’emmunyeenye okulabika.
8 (Y)Ye yekka abamba eggulu
era n’atambulira ku mayengo g’ennyanja.
9 (Z)Ye mukozi wa Nabaliyo, entungalugoye ne Kakaaga,
n’ebibinja eby’emunyeenye eby’obukiikaddyo.
10 (AA)Akola ebyewuunyo ebizibu okunnyonnyola,
n’akola n’ebyamagero ebitabalika.
11 (AB)Bw’ayita we ndi sisobola kumulaba,
bw’ampitako, sisobola kumutegeera.
12 (AC)Bw’aba alina ky’aggya ku muntu, ani ayinza okumuziyiza?
Ani ayinza okumubuuza nti kiki ky’okola?
13 (AD)Katonda taziyiza busungu bwe;
n’ebibinja bya Lakabu byakankanira wansi w’ebigere bye.
14 Kaakano nnyinza ntya okuwakana naye?
Nnyinza ntya okufuna ebigambo mpakane naye?
15 (AE)Wadde nga siriiko musango, sisobola kubaako kye muddamu,
mba nnyinza kwegayirira bwegayirizi oyo Omulamuzi wange ankwatirwe ekisa.
16 Ne bwe na ndimukoowodde n’ampitaba,
sirowooza nti yandimpadde ekiseera n’ampuliriza.
17 (AF)Yandimenyeemenye mu muyaga
nannyongerako ebiwundu awatali nsonga.
18 (AG)Teyandindese kuddamu mukka
naye yandimmaliddewo ddala nga mbonaabona.
19 Bwe kiba nga kigambo kya maanyi bwanyi, ye wa maanyi.
Era bwe kiba kya kusala musango, ani alimuyita?
20 Ne bwe sandibaddeko musango, akamwa kange kandigunsalidde.
Ne bwe bandinnangiridde nti siriiko kyakunenyezebwa, kandirangiridde nti gunsinze.
21 (AH)“Wadde nga sirina kyakunenyezebwa,
sikyefaako,
obulamu bwange mbunyooma.
22 (AI)Byonna kye kimu, kyenva ŋŋamba nti,
Azikiriza bonna abataliiko musango awamu n’abakozi b’ebibi.
23 (AJ)Kawumpuli bw’aba asse mbagirawo,
Mukama asekerera okubonaabona kw’abatalina musango.
24 (AK)Ensi yaweebwayo mu mukono gw’abakozi b’ebibi.
Abikka ku maaso g’abagiramula.
Bw’aba nga si Mukama, kale ani?
25 (AL)Kaakano ennaku zange zidduka okusinga omuddusi,
zifuumuuka, tezirina kalungi ke ziraba.
26 (AM)Zifuumuuka ng’amaato ag’ebitoogo[a] agadduka ennyo,
ng’empungu eyanguyiriza okugenda eri omuyiggo.
27 (AN)Bwe ŋŋamba nti, Leka neerabire okusinda kwange,
oba nti neerabire obunyiikaavu bwange, nsekemu,
28 (AO)ne neekokkola okubonaabona kwange,
mmanyi nga Mukama tombale ng’ataliiko musango.
29 (AP)Omusango gunsinze,
lwaki nteganira obwereere?
30 (AQ)Ne bwe nandinaabye sabbuuni
n’engalo zange ne nzitukuza,
31 era wandinsudde mu kinnya,
n’engoye zange zennyini ne zinneetamwa.
32 (AR)Kubanga Mukama si muntu nga nze bwe ndi nti muddemu,
era nti tusisinkane tuwozaŋŋanye mu mbuga z’amateeka.
33 (AS)Tewali mutabaganya
ayinza kututeekako mukono gwe ffembi,
34 (AT)eyandizigyeko omuggo gwa Katonda
entiisa ye n’erekeraawo okunzijira.
35 (AU)Olwo nno nandyogedde nga simutya;
naye nga bwe kiri kaakano, sisobola.”
10 (AV)“Obulamu bwange mbukyayidde ddala,
noolwekyo leka nfukumule okwemulugunya kwange,
njogerere mu kulumwa kw’emmeeme yange.
2 (AW)Nnaagamba Katonda nti, Tonsalira musango ne gunsinga,
ntegeeza ky’onvunaana.
3 (AX)Kikusanyusa okunnyigiriza,
okunyooma omulimu gw’emikono gyo,
n’owagira emirimu gy’abakozi b’ebibi?
4 (AY)Amaaso go ga mubiri?
Olaba ng’omuntu bw’alaba?
5 (AZ)Ennaku zo zisinga ez’omuntu,
n’emyaka gyo gisinga egy’omuntu,
6 (BA)olyoke onoonye ebisobyo byange
era obuulirize ekibi kye nkoze,
7 newaakubadde ng’omanyi nti sirina musango
era nga tewali n’omu ayinza kunzigya mu mukono gwo?
8 (BB)“Emikono gyo gye gyammumba, gye gyankola.
Ate kaakano onookyuka okunsanyaawo?
9 (BC)Jjukira nti wammumba ng’ebbumba,
ate kaakano onoonfuula ng’enfuufu?
10 Tewanzitulula ng’amata
n’onkwasa ng’omuzigo?”
11 (BD)Tewannyambaza omubiri n’olususu,
n’oluka amagumba n’ebinywa n’ongatta?
12 (BE)Kale wampa okuganja mu maaso go,
era walabirira, n’omwoyo gwange.
13 (BF)Naye bino wabikweka mu mutima gwo,
era mmanyi nga byali mu birowoozo byo.
14 (BG)Singa nyonoona, ondaba
era tewandindese n’otombonereza.
15 (BH)Bwe mba nga nsingibbwa omusango,
zinsanze nze!
Newaakubadde nga sirina musango, sisobola kuyimusa mutwe gwange,
kubanga nzijjudde obuswavu era mu kunyigirizibwa kwange, mwe nsaanikiddwa.
16 (BI)Bwe mba ng’asituka, n’onjigga ng’empologoma,
era n’onnumba n’amaanyi go amangi ennyo.
17 (BJ)Oleeta abajulizi abajja okunnumiriza,
era obusungu bwo ne bweyongera gye ndi;
amayengo ne gajja okunnumba olutata.
18 (BK)“Kale lwaki wanziggya mu lubuto lwa mmange?
Wandindese nga tewannabaawo liiso lyonna lindabyeko.
19 Singa satondebwa,
oba singa natwalibwa butereevu okuva mu lubuto ne nzikibwa.
20 (BL)Ennaku zange entono kumpi teziweddeeko?
Ndeka mbeeko n’akaseera ak’okusanyuka,
21 (BM)nga sinnaba kugenda mu kifo eteri kudda,
ekiri mu nsi ejjudde ekizikiza, n’ekisiikirize eky’ebuziba,
22 y’ensi ey’ekizikiza ekikutte, eyeekisiikirize eky’ebuziba
era n’okutabukatabuka,
ng’omusana gwayo guli nga ekizikiza.”
Firipo n’Omwesiyopya
26 (A)Awo malayika wa Mukama n’agamba Firipo nti, “Kwata ekkubo eriraga mu bukiikaddyo, eriva e Yerusaalemi nga liyita mu ddungu okugenda e Ggaaza.” 27 (B)Firipo n’akwata ekkubo eryo. Mu kiseera ekyo waaliwo omusajja Omwesiyopya mu kkubo eryo ng’ava mu kusinza e Yerusaalemi. Yali mulaawe nga mukungu mu lubiri lwa Kandake, kabaka omukazi owa Esiyopya, era ye yali omuwanika we omukulu. 28 Yali atudde mu ggaali lye ng’addayo ewaabwe nga bw’asoma ekitabo kya nnabbi Isaaya. 29 (C)Awo Mwoyo Mutukuvu n’agamba Firipo nti, “Semberera eggaali eryo oligendereko.”
30 Firipo n’adduka n’atuuka ku ggaali, n’awulira Omwesiyopya ng’asoma mu kitabo kya nnabbi Isaaya. N’amubuuza nti, “By’osoma obitegeera?”
31 Omwesiyopya n’addamu nti, “Nnaabitegeera ntya nga sirina abinnyinnyonnyola?” N’asaba Firipo ayingire mu ggaali lye batuule bombi.
32 Ekyawandiikibwa kye yali asoma nga kigamba bwe kiti nti:
“Yatwalibwa ng’endiga egenda okuttibwa.
Ng’omwana gw’endiga bwe gusiriikirira nga bagusalako ebyoya,
naye bw’atyo teyayasamya kamwa ke.
33 (D)Yajoogebwa n’atalamulwa mu bwenkanya.
Ani alyogera ku bazzukulu be?
Kubanga ekiseera kye eky’obulamu bwe ku nsi kyakoma!”
34 Omulaawe kwe kubuuza Firipo nti, “Nnyinnyonnyola, munnange, nnabbi gw’ayogerako; yeeyogerako yekka oba ayogera ku mulala?” 35 (E)Awo Firipo n’atandika n’Ekyawandiikibwa ekyo n’amubuulira Enjiri ya Yesu Kristo.
36 (F)Bwe baali bagenda ne batuuka awali amazzi, omulaawe n’agamba nti, “Laba amazzi! Kale lwaki sibatizibwa?” 37 Awo Firipo n’amugamba nti, “Oyinza okubatizibwa, bw’oba ng’okkiriza n’omutima gwo gwonna.” Omulaawe n’addamu nti, “Nzikiriza nga Yesu Kristo Mwana wa Katonda.” 38 Awo n’alagira omugoba w’eggaali lye okuyimirira, ne bakka mu mazzi, Firipo n’amubatiza. 39 (G)Bwe baava mu mazzi amangwago Omwoyo wa Mukama n’atwala Firipo, Omulaawe n’ataddayo kumulaba nate, naye n’atambula olugendo lwe ng’ajjudde essanyu. 40 (H)Naye Firipo n’alabikira mu Azoto, n’agenda ng’abuulira Enjiri mu bibuga byonna eby’omu kitundu ekyo okutuukira ddala e Kayisaliya.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.