Old/New Testament
5 (A)“Koowoola kaakano, waliwo anaakuyitaba?
Era ani ku batukuvu gw’onoolaajaanira?
2 (B)Obukyayi butta atalina magezi,
n’obuggya butta omusirusiru.
3 (C)Ndabye abasirusiru nga banywevu,
naye mangu ddala ne nkolimira ekifo kye batuulamu.
4 (D)Abaana baabwe tebalina bukuumi,
babetenterwa mu luggya nga tewali abawolereza.
5 (E)Omuyala alya amakungula gaabwe
era atwala n’ag’omu maggwa
era awankirawankira eby’obugagga byabwe.
6 Kubanga okulaba ennaku tekuva mu nsi,
wadde obuzibu okuva mu ttaka,
7 (F)wabula abantu bazaalibwa kulaba nnaku,
ng’ensasi bwe zibuuka waggulu.
8 (G)Naye nze, nzija kunoonya Katonda
era mmulekere ensonga zange.
9 (H)Akola ebikulu, ebitanoonyezeka,
ebyewuunyisa ebitabalika.
10 (I)Atonnyesa enkuba ku nsi,
n’aweereza amazzi mu byalo.
11 (J)Ayimusa abo abanyigirizibwa
n’abo abakaaba ne basitulibwa mu mirembe.
12 (K)Aziyiza enkwe z’ababi,
emikono gyabwe gireme okutuukiriza bye bateesa.
13 (L)Agwikiririza abagezigezi mu bukujjukujju bwabwe,
n’enkwe zaabwe n’aziziyiriza ddala.
14 (M)Ekizikiza kibabuutikira emisana,
ne bawammanta mu ttuntu ng’ekiro.
15 (N)Naye aggya abali mu bwetaavu mu mukono gw’abo ab’amaanyi,
n’abawonya ekitala kyabwe.
16 (O)Abaavu ne balyoka baba n’essuubi,
n’akamwa k’abatali benkanya ne kazibibwa.
17 (P)“Alina omukisa omuntu Katonda gw’abuulirira;
noolwekyo tonyooma kukangavvula kw’oyo Ayinzabyonna.
18 (Q)Kubanga ye y’afumita ate era y’anyiga,
y’alumya era y’awonya.
19 (R)Alikuwonya mu buzibu bwa ngeri mukaaga.
Weewaawo ne mu ngeri musanvu tootuukibwengako kulumizibwa.
20 (S)Mu njala alikuwonya okufa,
era anaakuwonyanga mu lutalo olw’ekitala.
21 (T)Onookuumibwanga eri olulimi olukambwe,
era tootyenga okuzikirira bwe kunaabanga kujja gy’oli.
22 (U)Oliseka ng’okuzikirira n’enjala bizze,
era tootyenga nsolo nkambwe ez’oku nsi.
23 (V)Onoobanga n’enkolagana n’amayinja ag’omu nnimiro,
era onoobanga n’emirembe awali ensolo enkambwe.
24 (W)Olimanya nti, ensiisira yo eri mirembe;
era eby’obugagga byo olibibala n’olaba nga tewali kibuzeeko.
25 (X)Olimanya ng’ezzadde lyo liriba ddene,
ne bazzukulu bo baliba bangi ng’omuddo ogw’oku nsi.
26 (Y)Olituusibwa ku ntaana yo nga wakaddiyira ddala,
ng’eŋŋaano bwe tuukira mu kiseera kyayo.
27 “Ekyo twakyekenneenya, kituufu.
Kimanye nga kikwata ku ggwe.”
Yobu Ayanukula
6 Yobu n’ayanukula ng’agamba nti,
2 (Z)“Singa okweraliikirira kwange,
n’okubonaabona kwange bipimibwa ne biteekebwa ku minzaani!
3 (AA)Weewaawo byandisinze omusenyu gw’ennyanja okuzitowa;
ebigambo byange kyenvudde mbyanguyiriza.
4 (AB)Obusaale bwa Ayinzabyonna buli mu nze
n’omwoyo gwange gunywedde obusagwa bwabwo:
entiisa ya Katonda erwana nange.
5 Entulege ekaaba awali omuddo,
oba ente ennume eŋŋooŋŋa awali emmere yaayo?
6 Emmere etaliimu nsa eriika omutali munnyo,
oba amazzi g’eggi okubaamu akawoomerera?
7 (AC)Omutima gwange tegusikirizibwa kubikombako,
biri ng’emmere etangasa.
8 (AD)“Singa Katonda ampa kye nsaba,
n’ampa kye nsuubira,
9 (AE)yandisiimye okumbetenta
ne mmalibwawo omukono gwe.
10 (AF)Kino kyandikkakkanyizza
obulumi obutakoma
kubanga sigaanye bigambo bya Mutukuvu.
11 (AG)Amaanyi ngaggya wa, ndyoke mbe n’essuubi?
Era enkomerero yange, eruwa ndyoke ngumiikirize?
12 Amaanyi gange ga mayinja
oba omubiri gwange gwa kikomo?
13 (AH)Mu mazima sirina maanyi
n’obusobozi bwanzigwako.
14 Oyo agaana ebyekisa okuva eri mukwano gwe
tafaayo kutya Ayinzabyonna.
15 (AI)Baganda bange tebeesigika, bali ng’akagga akabooga
ate ne kakalira,
16 akaddugalirira
buli lwe kakwata, ng’omuzira,
17 (AJ)ate ne kaggwaawo
buli lwe wabaawo ebbugumu.
18 Ebibinja by’abatambuze we biviira ku mugendo
ne biraga mu ddungu ne bizikirira.
19 (AK)Abatambuze b’e Teema banoonya,
bo ab’e Seeba ne balindirira n’essuubi.
20 (AL)Baalina essuubi
naye bwe baatuukayo ne banyolwa nnyo.
21 (AM)Kaakano bwe mundabye ne mutya
ne mukakasizza ddala nga temuliiko kye muyinza kukola.
22 Nnali mbagambye nti, ‘Mumpe ekirabo,’
oba nti, ‘Mumpeereyo ekintu ku by’obugagga bwammwe,
23 okumponya nve mu mukono gw’omulabe,
n’okumpeerayo ekintu mpone emitego gy’abakambwe’?
24 (AN)“Njigiriza nange n’aba musirise;
ndaga we nsobezza.
25 (AO)Ebigambo eby’amazima nga bya bulumi!
Naye okuwakana kwammwe kukakasa ki?
26 (AP)Mugezaako okugolola ebigambo byange,
ne mufuula ebigambo by’omuntu ali obubi okuba ng’empewo?
27 (AQ)Mukubira ne bamulekwa akalulu
ate ne mukubira ne mukwano gwammwe.
28 (AR)“Naye kaakano mubeere ba kisa muntunuulire.
Ndabika ng’omulimba?
29 (AS)Mufumiitirize, temusuula bwenkanya;
Mukirowoozeeko, kubanga obujulirwa bwange buli ku kalebwerebwe.
30 (AT)Emimwa gyange girabika ng’egirimba?
Emimwa gyange tegisobola kutegeera ttima?”
7 (AU)“Ebiseera by’omuntu ku nsi, tebyagerebwa?
Ennaku ze tezaagerebwa nga ez’omupakasi?
2 (AV)Ng’omuddu eyeegomba ekisiikirize okujja,
ng’omupakasi bwe yeesunga empeera ye;
3 (AW)bwe ntyo bwe nnaweebwa emyezi egy’okubonaabona,
ebiro ebyokutegana bwe byangererwa.
4 (AX)Bwe ngalamira neebake, njogera nti, ‘Ndiyimuka ddi, ekiro kinaakoma ddi?’
Nga nzijudde okukulungutana okutuusa obudde lwe bukya.
5 (AY)Omubiri gwange gujjudde envunyu n’ebikakampa,
n’olususu lwange lukutusekutuse era lulabika bubi.
6 (AZ)“Ennaku zange zidduka okusinga ekyuma ky’omulusi w’engoye bw’atambuza ky’alusisa engoye ze;
era zikoma awatali ssuubi.
7 (BA)Ojjukira Ayi Katonda, nti obulamu bwange tebuliimu, wabula mukka bukka,
amaaso gange tegaliddayo kulaba bulungi.
8 (BB)Eriiso ly’oyo eryali lindabyeko teririddayo kundaba;
amaaso gammwe galinnoonya, naye nga sikyaliwo.
9 (BC)Nga ekire bwe kibulawo ne kigenda,
bw’atyo n’aziikwa mu ntaana talivaayo.
10 (BD)Taliddayo mu nnyumba ye,
amaka ge tegaliddayo kumumanya nate.
11 (BE)Noolwekyo sijja kuziyiza kamwa kange, nzija kwogera okulumwa kw’omutima gwange;
nzija kwemulugunyiza mu bulumi bw’emmeeme yange.
12 (BF)Ndi nnyanja oba ndi lukwata ow’omu buziba,
olyoke onkuume?
13 (BG)Bwe ndowooza nti, obuliri bwange bunampa ku mirembe,
ekiriri kyange kinakendeeza ku kulumwa kwange;
14 (BH)n’olyoka ontiisa n’ebirooto
era n’onkanga okuyita mu kwolesebwa.
15 (BI)Emmeeme yange ne yeegomba okwetuga,
nfe okusinga okuba omulamu.
16 (BJ)Sikyeyagala, neetamiddwa. Sijja kubeera mulamu emirembe gyonna.
Ndeka; kubanga ennaku zange butaliimu.
17 (BK)Omuntu kye ki ggwe okumugulumiza,
n’omulowoozaako?
18 (BL)Bw’otyo n’omwekebejja buli makya,
n’omugezesa buli kaseera?
19 (BM)Olituusa ddi nga tonvuddeeko
n’ondeka ne mmira ku malusu?
20 (BN)Nyonoonye;
kiki kye nakukola, ggwe omukuumi w’abantu?
Lwaki onfudde nga akabonero ak’obulabe gy’oli,
ne neefuukira omugugu?
21 (BO)Era lwaki tosonyiwa kwonoona kwange,
n’oggyawo obutali butuukirivu bwange?
Kubanga kaakano nzija kwebaka mu ntaana;
era ojja kunnoonya ku makya naye naaba sikyaliwo.”
Ekkanisa Eyigganyizibwa
8 (A)Sawulo yali omu ku abo abaawagira okuttibwa kwa Suteefano. Era ku lunaku olwo okuyigganya Ekkanisa ne kutandika n’amaanyi mangi nnyo mu Yerusaalemi.
Abakkiriza bonna, okuggyako abatume, ne basaasaanira mu Buyudaaya ne mu Samaliya. 2 Abantu ba Katonda ne baggyawo Suteefano ne bamutwala ne bamuziika mu kwaziirana okungi. 3 (B)Naye Sawulo n’akolerera okuzikiriza Ekkanisa; n’agenda buli wantu ng’akwata abasajja n’abakazi n’abatwala mu kkomera.
Firipo Abuulira mu Samaliya
4 (C)Naye abakkiriza abadduka mu Yerusaalemi ne bagenda mu buli kifo nga babuulira Enjiri ya Yesu. 5 (D)Awo Firipo, n’alaga mu kimu ku bibuga bya Samaliya n’abuulira abantu Enjiri ya Kristo. 6 Ebibiina ne bimuwuliriza nnyo kubanga abantu bonna baalaba ebyamagero bye yakola. 7 (E)Baddayimooni bangi ne bava ku bantu nga bwe baleekaana; abaali bakoozimbye n’abalema bonna ne bawonyezebwa; 8 ekibuga ne kijjula essanyu.
Simooni Omufumu
9 (F)Waaliwo omusajja erinnya lye Simooni eyali omufumu omwatiikirivu mu kibuga omwo era nga yeewuunyisa nnyo abantu bonna mu Samaliya. Yeeyogerangako nti muntu mukulu era wa kitiibwa. 10 (G)Era abantu bangi ab’ekitiibwa n’abatali ba kitiibwa baamwogerangako nti, “Omusajja oyo ge maanyi ga Katonda agayitibwa, ‘Amangi.’ ” 11 Ne bamussangako nnyo omwoyo olw’ebyobufuusa bye yakolanga. 12 (H)Naye bwe bakkiriza obubaka bwa Firipo ng’abuulira ku bwakabaka bwa Katonda n’erinnya lya Yesu Kristo abasajja n’abakazi ne babatizibwa. 13 (I)Awo ne Simooni yennyini n’akkiriza era n’abatizibwa, n’agobereranga Firipo buli gye yalaganga; era ebyamagero Firipo bye yakolanga, Simooni n’abyewuunya nnyo.
14 (J)Awo abatume abaali mu Yerusaalemi bwe baawulira ng’abantu mu Samaliya bakkirizza ekigambo kya Katonda, ne babatumira Peetero ne Yokaana. 15 (K)Bwe baatuuka ne basabira abakkiriza bano abaggya bafune Mwoyo Mutukuvu, 16 (L)kubanga yali tannaba kubakkako, kubanga baali babatizibbwa mu linnya lya Mukama waffe Yesu kyokka. 17 (M)Awo Peetero ne Yokaana ne bassa emikono gyabwe ku bakkiriza abo, ne bafuna Mwoyo Mutukuvu.
18 Simooni, Omufumu, bwe yalaba ng’abantu bafunye Mwoyo Mutukuvu olw’abatume okubassaako emikono kyokka, kyeyava atoola ensimbi aziwe abatume bamuguze obuyinza obwo. 19 N’abagamba nti, “Mumpe obuyinza obwo, buli gwe nnassangako emikono gyange afune Mwoyo Mutukuvu!”
20 (N)Naye Peetero n’amugamba nti, “Ensimbi zo zizikirire naawe olw’okulowooza nti ekirabo kya Katonda kiyinza okugulibwa obugulibwa n’ensimbi. 21 (O)Mu nsonga eno tolinaamu mugabo kubanga omutima gwo si mulongoofu mu maaso ga Katonda. 22 Noolwekyo weenenye ekikolwa ekyo ekibi weegayirire Mukama, oboolyawo Katonda ayinza okukusonyiwa ebirowoozo byo ebyo ebibi. 23 Kubanga ndaba nga mu mutima gwo mujjudde obuggya, era oli muddu wa kibi.”
24 (P)Simooni n’abeegayirira nti, “Munsabire eri Mukama ebintu ebyo bye mwogedde bireme okuntuukako.”
25 (Q)Awo Peetero ne Yokaana bwe baamala okubuulira ekigambo kya Katonda n’obuvumu, ne basitula okuddayo mu Yerusaalemi, nga bagenda babuulira Enjiri mu bibuga bingi bye baayitangamu mu Samaliya.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.