Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Old/New Testament

Each day includes a passage from both the Old Testament and New Testament.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Yobu 1-2

Yobu n’eby’Amaka ge byonna

(A)Waaliwo omusajja mu nsi ya Uzzi[a] erinnya lye Yobu; yali muntu ataliiko kya kunenyezebwa, nga wa mazima, eyeewalanga ekibi, era ng’atya Katonda. (B)Yalina abaana aboobulenzi musanvu n’aboobuwala basatu. (C)Mu byobugagga ebingi ennyo bye yalina; mwe mwali endiga kasanvu, eŋŋamira enkumi ssatu, emigogo gy’ente ezirima ebikumi bitaano, endogoyi enkazi ebikumi bitaano, n’abaddu bangi nnyo nnyini; yali mwatiikirivu okusinga abantu abalala bonna mu nsi z’ebuvanjuba.

Batabani be baakwatanga embaga z’amazaalibwa gaabwe buli omu mu mpalo ng’ennaku zaabwe bwe zaali ziddiriŋŋananga mu maka ga buli omu; era baayitanga bannyinaabwe bonsatule okubajagulizaangako. (D)Ennaku z’embaga bwe zaggwangako, Yobu yabatumyanga n’abatukuza;[b] yakeeranga mu makya n’abaweerangayo ebiweebwayo ebyokebwa ng’omuwendo gwabwe bwe gwali ng’alowooza nti, “Oboolyawo ng’abaana bange bayonoonye ne bavvoola Katonda mu mitima gyabwe.” Kino yakikolanga bulijjo.

Setaani Agezesa Yobu

(E)Olunaku lumu, bamalayika ne bajja mu maaso ga Mukama, ne Setaani naye n’ajjiramu. (F)Mukama n’abuuza Setaani nti, “Ova wa?”

Setaani n’addamu Mukama nti, “Nva kutalaaga nsi yonna okulaba ebintu nga bwe biri.”

(G)Mukama Katonda n’abuuza Setaani nti, “Weetegerezza omuddu wange Yobu, atalina amufaanana, anzisaamu ekitiibwa, ataliiko kyakunenyezebwa era eyeewala buli ngeri yonna eyinza okukozesa omuntu ebibi?”

(H)Setaani n’addamu Mukama Katonda nti, “Ekitiibwa akussaamu kya bwereere? 10 (I)Tomukozeeko lukomera ye n’ennyumba ye, n’eby’obugagga by’alina? Buli ky’akola okiwadde omukisa; n’eby’obugagga bye byeyongedde nnyo obungi! 11 (J)Kale geza okwate ku by’alina obimuggyeko olabe nga taakwegaane nga n’ensi yonna eraba!” 12 Mukama Katonda n’agamba Setaani nti, “Byonna by’alina biri mu mikono gyo, naye togeza n’okwata ku bulamu bwe.” Oluvannyuma lw’ebyo Setaani n’ava mu maaso ga Mukama.

Yobu afiirwa Abaana be n’eby’Obugagga bwe

13 Awo olunaku lumu, batabani ba Yobu ne bawala be bwe baali banywa omwenge era nga baliira ebyassava mu maka ga mukulu waabwe, 14 omubaka n’ajja eri Yobu n’amugamba nti, “Ente zibadde zirima nga n’endogoyi ziri kumpi nazo, 15 (K)Abaseba[c] ne bazigwako ne bazitwala era n’abaddu bonna ne babatta nze nsigaddewo nzekka okujja okukutegeeza bino.”

16 (L)Oyo aba akyayogera ebyo, laba, omubaka omulala n’atuuka naye n’amugamba nti, “Omuliro gubuubuuse nga guva mu ggulu ne gusaanyaawo endiga zonna n’abasumba baazo, nze nsigaddewo nzekka okukutegeeza bino.”

17 (M)N’oyo aba akyayogera, n’omubaka omulala n’atuuka, n’agamba nti, “Abakaludaaya[d] bazze nga beetegese mu bibinja bisatu, ne bagwa ku ŋŋamira ne bazitwala era ne batta n’abaddu ababadde bazirabirira, era nze nzekka nze nsigaddewo okujja okukumanyisa bino.”

18 Aba akyayogera, laba, n’omulala n’ajja n’amugamba nti, “Batabani bo ne bawala bo babadde baliira era nga banywera omwenge mu nnyumba ya mukulu waabwe, 19 (N)laba, omuyaga ogw’amaanyi guvudde mu ddungu ne gugoyaagoya ennyumba yonna mwe babadde era bonna bafiiriddemu nze mponyeewo nzekka okujja okukubikira.”

20 (O)Yobu olwawulira bino byonna, n’agolokoka n’ayuza ebyambalo bye n’amwa omutwe gwe, n’avuunama n’asinza: 21 (P)n’agamba nti,

“Nazaalibwa sirina kantu
    era bwe ntyo bwe ndiddayo.
Mukama ye yawa era Mukama y’aggyeewo,
    erinnya lya Mukama Katonda lyebazibwe.”

22 (Q)Mu bino byonna Yobu teyayonoona kubanga teyeemulugunyiza Katonda.

Obulamu bwa Yobu Bukwatibwako

(R)Ku lunaku olulala bamalayika ne bajja okukiika mu maaso ga Mukama Katonda, ne Setaani naye n’ajjiramu. Mukama Katonda n’abuuza Setaani nti, “Ova wa?” Setaani n’amuddamu nti, “Nva kutalaaga ensi yonna.”

(S)Mukama Katonda n’agamba Setaani nti, “Olowoozezza ku muddu wange Yobu? Talina kyakunenyezebwa, mwesimbu, atya Katonda era eyeewala ekibi bw’atyo talina amufaanana. Anywezezza obutuukirivu bwe newaakubadde nga wansokasoka mmuzikirize awatali nsonga.”

Setaani n’amuddamu nti, “Eddiba olw’eddiba, omuntu kyaliva awaayo byonna by’alina olw’okuwonya obulamu bwe; (T)naye golola omukono gwo okwate ku magumba ge n’omubiri gwe olabe oba taakwegaane.”

(U)Mukama Katonda n’amugamba nti, “Weewaawo, ali mu mukono gwo, kyokka mulekere obulamu bwe.”

(V)Awo Setaani n’ava awali Mukama Katonda, n’alwaza Yobu amayute amazibu okuva ku mutwe, okutuukira ddala ku bigere. (W)Yobu n’atandika okweyaguzanga oluggyo ng’eno bw’atudde mu vvu.

Kyokka mukyala we n’amugamba nti, “Okyagugubidde ku butuukirivu bwo? Weegaane Katonda ofe!”

10 (X)Naye ye n’amuddamu nti, “Oyogera ng’omu ku bakazi abatategeera bwe bandyogedde! Tunaafunanga birungi byereere mu mukono gwa Katonda?”

Mu bino byonna Yobu teyayonoona na kamwa ke.

Mikwano gya Yobu Abasatu

11 (Y)Awo mikwano gya Yobu abasatu; Erifaazi[e] Omutemani, Birudaadi Omusuki, ne Zofali Omunaamasi bwe baawulira emitawaana egyali gituuse ku mukwano gwabwe, ne bajja buli omu okuva ewuwe ne basisinkana nga bwe baali bateesezza, bagende bamusaasire bamuzzeemu amaanyi. 12 (Z)Tebaamutegeererawo nga bakyali wala, olw’embeera gye yalimu; ne bayimusa amaloboozi gaabwe ne bakuba ebiwoobe ne bayuza ebyambalo byabwe ne bayiwa enfuufu ku mitwe gyabwe. 13 (AA)Awo ne batuula naye we yali atudde okumala ennaku musanvu emisana n’ekiro nga tewali anyega, olw’obulumi obungi Yobu bwe yalimu.

Ebikolwa by’Abatume 7:22-43

22 (A)Musa n’ayigirizibwa mu magezi gonna ag’Abamisiri, n’akula nga w’amaanyi mu bigambo ne mu bikolwa.

23 “Awo Musa bwe yali awezezza emyaka amakumi ana, n’asalawo mu mutima gwe okukyalirako baganda be, abaana ba Isirayiri. 24 N’alaba Omuyisirayiri ng’anyigirizibwa, n’amutaasa, n’atta Omumisiri ng’awoolera eggwanga olw’oyo eyali anyigirizibwa. 25 Musa n’alowooza nti baganda be banaategeera nga Katonda amutumye okubalokola, naye ne batakitegeera. 26 Olunaku olwaddirira n’alaba abalwana. N’agezaako okubatabaganya ng’abagamba nti, ‘Abasajja lwaki mulwana nga muli baaluganda?’

27 “Naye oli eyali ayiikiriza munne n’asindika eri Musa ng’agamba nti, ‘Ani eyakufuula omufuzi waffe era omulamuzi waffe? 28 Oyagala kunzita nga bwe watta Omumisiri jjo?’ 29 (B)Musa bwe yawulira ebyo, n’adduka n’agenda abeera mugenyi mu nsi ya Midiyaani, era eyo n’azaalirayo abaana aboobulenzi babiri.

30 “Awo nga wayiseewo emyaka amakumi ana, Musa bwe yali ng’ali mu ddungu ly’olusozi Sinaayi, malayika n’amulabikira mu muliro ogwaka, wakati mu kisaka. 31 (C)Musa bwe yakiraba ne yeewuunya. N’agenda ng’asemberera ekisaka yeetegereze, eddoboozi lya Mukama ne limugamba nti, 32 (D)‘Nze Katonda wa bajjajja bo, Katonda wa Ibulayimu, ne Isaaka ne Yakobo.’ Musa n’akankana, era n’atasobola na kwongera kutunulayo.

33 (E)“Awo Mukama n’agamba Musa nti, ‘Gyamu engatto zo, kubanga ekifo w’oyimiridde kitukuvu. 34 (F)Ndabye okubonaabona kw’abantu bange mu Misiri, ne mpulira n’okusinda kwabwe. Kyenvudde nzika okubalokola. Kaakano jjangu, nkutume e Misiri.’

35 (G)“Oyo Musa gwe baagaana nga bagamba nti, ‘Ani eyakufuula omufuzi era omulamuzi waffe?’ Oyo Katonda gwe yatuma ng’ayita mu malayika eyamulabikira mu kisaka eky’omuliro, abeere omufuzi waabwe era omununuzi waabwe. 36 (H)Oyo n’abaggyayo ng’amaze okukola ebyamagero n’ebyewuunyisa, mu nsi y’e Misiri, n’abayisa mu Nnyanja Emyufu[a], n’abatambuza mu ddungu okumala emyaka amakumi ana.

37 (I)“Oyo ye Musa eyategeeza abaana ba Isirayiri nti, ‘Katonda agenda kubayimusiza Nnabbi ng’amuggya mu baganda bammwe nga nze.’ 38 (J)Era Musa oyo ye yali ne bajjajjaffe mu ddungu nga bakuŋŋaanye nga malayika ayogera naye ku lusozi Sinaayi, era yaweebwa ebigambo eby’obulamu okubitutuusaako.

39 (K)“Naye bajjajjaffe baagaana okumugondera, ne bamujeemera, era mu mitima gyabwe ne baddayo e Misiri. 40 (L)Ne bagamba Alooni nti, ‘Tukolere bakatonda abanaatukulembera, kubanga ono Musa eyatuggya mu nsi y’e Misiri tetumanyi kyabadde.’ 41 (M)Mu nnaku ezo, ne beekolera ennyana, ne bawaayo ssaddaaka eri ekifaananyi, ne basanyukira ekyo kye beekoledde n’emikono gyabwe. 42 (N)Awo Katonda n’abavaako, n’abawaayo okusinzanga eggye ery’omu ggulu, nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo kya bannabbi nti,

“ ‘Mwandeeteranga ssaddaaka n’ebiweebwayo mu ddungu emyaka gyonna amakumi ana,
    ggw’ennyumba ya Isirayiri?
43 (O)Muzimbye essabo lya Moloki,
    ne mugulumiza emmunyeenye ya katonda wammwe Lefani,
    nga be bakatonda abalala be mwekolera mubasinze.
Kyendiva mbawaŋŋangusa’ okusukka Babulooni.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.