Old/New Testament
21 (A)Awo Yekosafaati ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe, n’aziikibwa mu kibuga kya Dawudi; Yekolaamu mutabani we n’amusikira. 2 Yekolaamu yalina baganda be, batabani ba Yekosafaati, nga be ba Azaliya, ne Yekyeri, ne Zekkaliya, ne Azaliya, ne Mikayiri ne Sefatiya. Abo bonna bali baana ba Yekosafaati kabaka wa Yuda. 3 (B)Kitaabwe yabawa eby’obugagga bingi, ebya ffeeza ne zaabu, n’ebintu eby’omuwendo ebirala, wamu n’ebibuga ebiriko bbugwe mu Yuda, naye obwakabaka n’abuwa Yekolaamu kubanga ye yali omuggulanda.
Yekolaamu Kabaka wa Yuda
4 (C)Awo Yekolaamu bwe yamala okwenywereza ddala ku ntebe ye ey’obwakabaka, n’atta baganda be bonna n’ekitala, era n’abakungu abamu aba Isirayiri.[a] 5 Yekolaamu yalina emyaka amakumi asatu mu ebiri we yafuukira kabaka, era n’afugira emyaka munaana mu Yerusaalemi. 6 (D)N’atambulira mu makubo ga bakabaka ba Isirayiri, ng’ennyumba ya Akabu bwe yakolanga, era n’okuwasa n’awasa muwala wa Akabu. N’akola eby’ebibi mu maaso ga Mukama. 7 (E)Newaakubadde ng’ebyo byonna byali bwe bityo, Mukama teyayagala kusaanyaawo nnyumba ya Dawudi, kubanga yali akoze endagaano ne Dawudi, ate ng’asuubizza okukuuma ettabaaza ye n’eya bazzukulu be ng’eyaka emirembe gyonna.
8 (F)Mu biro bya Yekolaamu Edomu n’ajeemera okufuga kwa Yuda ne beeteekerawo kabaka owaabwe. 9 Awo Yekolaamu n’agendayo n’abakungu be n’amagaali ge gonna. Abayedomu ne bamutaayiza ye n’abaduumizi ab’amagaali ge mu kiro, naye n’abagolokokerako n’abakuba. 10 (G)Okuva ku olwo Edomu ne bajeemera Yuda n’okutuusa leero. Mu kiseera ekyo Libuna naye ne n’amujeemera, kubanga Yekolaamu yali avudde ku Mukama Katonda wa bajjajjaabe. 11 Yali azimbye n’ebifo ebigulumivu ku nsozi za Yuda, era ng’aleetedde n’abatuuze ba Yerusaalemi obutaba beesigwa, nga ne Yuda bawabye.
12 (H)Yekolaamu n’afuna ebbaluwa okuva eri Eriya nnabbi ng’egamba nti,
“Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda wa jjajjaawo Dawudi nti, ‘Olw’obutatambulira mu makubo ga kitaawo Yekosafaati, wadde mu makubo ga Asa kabaka wa Yuda, 13 (I)naye n’otambulira mu kkubo lya bakabaka ba Isirayiri, n’oleetera Yuda n’abantu b’e Yerusaalemi obutaba beesigwa, ng’ennyumba ya Akabu bwe yakola, era n’otta ne baganda bo ab’ennyumba ya kitaawo, abaali bakusinga empisa, 14 Mukama kyaliva aleeta kawumpuli ow’amaanyi, ku bantu bo, n’abaana bo, n’abakyala bo, ne ku bintu byo byonna, 15 (J)ate naawe olirwala obulwadde obw’amaanyi mu lubuto, erireetera ebyenda byo okuvaayo, buli lunaku.’ ”
16 (K)Awo Mukama n’asitusa obusungu bw’Abafirisuuti n’Abawalabu abaabeeranga okumpi n’Abaesiyopiya eri Yekolaamu, 17 (L)ne balumba Yuda, ne bakiwangula, ne batwala ebintu byonna ebyali mu lubiri lwa kabaka, ne batabani be, ne bakazi be, ne wataba mutabani we n’omu eyalekebwa okuggyako Yekoyakaazi, omuggalanda.
18 Oluvannyuma lw’ebyo byonna, Mukama n’aleetako Yekolaamu obulwadde obutawonyezeka obw’omu lubuto. 19 (M)Awo ebiro bwe byayitawo, nga wayiseewo emyaka ebiri, ebyenda bye ne bitanula okumuvaamu, olw’obulwadde, n’afa mu bulumi bungi. Abantu be ne batamukumira lumbe, nga bwe baali bakoledde bajjajjaabe.
20 (N)Yekolaamu yali wa myaka amakumi asatu mu ebiri bwe yatandika okuba kabaka, era n’afugira mu Yerusaalemi emyaka munaana. Okufa kwe tekwaleetera muntu n’omu kwejjusa, n’aziikibwa mu kibuga kya Dawudi naye si ku biggya bya bassekabaka.
Akaziya Kabaka wa Yuda
22 (O)Abantu ab’omu Yerusaalemi ne bafuula Akaziya, mutabani wa Yekolaamu omuggalanda, kabaka, kubanga abasajja abanyazi abajja n’Abawalabu baali bamaze okutta abaana be bonna abakulu. Awo Akaziya mutabani wa Yekolaamu n’atandika okufuga Yuda. 2 Akaziya yalina emyaka amakumi ana mu ebiri bwe yatandika okufuga, era n’afugira omwaka gumu mu Yerusaalemi. Erinnya lya nnyina yali Asaliya, muzzukulu wa Omuli.
3 (P)Ne Akaziya n’atambulira mu makubo ag’ennyumba ya Akabu, kubanga nnyina yamupikirizanga okukola ebibi. 4 N’akola ebibi mu maaso ga Mukama, ng’ennyumba ya Akabu bwe yakola, kubanga oluvannyuma olw’okufa kwa kitaawe be baamuwabyanga, okukola ebikyamu. 5 (Q)Era naye yagobereranga ebirowoozo byabwe, era n’agenda ne Yekolaamu, mutabani wa Akabu kabaka wa Isirayiri okutabaala Kazayeeri kabaka w’e Busuuli e Lamosugireyaadi. Abasuuli ne bafumita Yolaamu ebiwundu 6 (R)era n’addayo e Yezuleeri okujjanjabibwa ebiwundu bye yali afunidde e Laama, bwe yali ng’alwana ne Kazayeeri kabaka w’e Busuuli. Awo Akaziya mutabani wa Yekolaamu kabaka wa Yuda n’agenda okulaba ku Yolaamu mutabani wa Akabu olw’ebisago ebyali bimutuusibbwako.
7 (S)Naye kyali kyategekebwa Katonda, nti okugwa kwa Akaziya kulimutuukako ng’akyalidde Yolaamu. Awo Akaziya bwe yatuuka eyo, n’agenda ne Yolaamu okusisinkana Yeeku mutabani wa Nimusu, Mukama gwe yali afuseeko amafuta okuzikiriza ennyumba ya Akabu. 8 (T)Awo Yeeku bwe yali ng’asalira ennyumba ya Akabu omusango, n’asanga abakungu ba Yuda, ne batabani ba baganda ba Akaziya, abaaweerezanga Akaziya, n’abatta. 9 (U)N’oluvannyuma n’anoonya Akaziya, era abasajja be ne bamuwambira e Samaliya gye yali yeekwese, n’aleetebwa ewa Yeeku n’attibwa. Ne bamuziika nga boogera nti, “Ono ye muzzukulu wa Yekosafaati, eyanoonya Mukama, n’omutima gwe gwonna.” Era mu nnyumba ya Akaziya ne wataba n’omu eyayinza okusikira obwakabaka.
Asaliya ne Yowaasi
10 Awo Asaliya, nnyina Akaziya bwe yalaba nga mutabani we afudde, n’asitula olutalo era n’azikiriza ennyumba yonna ey’obwakabaka bwa Yuda. 11 Naye Yekosabeyaasi, muwala wa kabaka Yekolaamu, n’abba Yowaasi mutabani wa Akaziya okuva mu balangira abaali bagenda okuttibwa, n’amukweka ye n’omukozi we mu kimu ku bisenge. Awo Yekosabeyaasi muwala wa kabaka Yekolaamu, ate nga ye yali mukyala wa Yekoyaada kabona, n’akweka omwana, Asaliya aleme okumutta. Yekosabeyaasi, yali mwannyina Akaziya. 12 Omwana n’akwekebwa okumala emyaka mukaaga mu nnyumba ya Katonda, nga Asaliya y’afuga ensi.
Yesu Agumya Abayigirizwa be
14 (A)“Omutima gwammwe tegweraliikiriranga. Mukkiriza Katonda, era nange munzikirize. 2 (B)Mu nnyumba ya Kitange mulimu ebisenge bingi, era ŋŋenda okubateekerateekera ekifo. Singa tekiri bwe kityo nandibagambye. 3 (C)Bwe ndimala okubateekerateekera ekifo ndikomawo, ne mbatwala gye ndi, Nze gye ndi nammwe gye muba mubeera. 4 Era gye ŋŋenda ekkubo mulimanyi.”
Yesu ly’Ekkubo Erituusa Abantu eri Kitaawe
5 (D)Tomasi n’amugamba nti, “Mukama waffe, tetumanyi gy’olaga, kale tuyinza tutya okumanya ekkubo?”
6 (E)Yesu n’addamu nti, “Nze kkubo, n’amazima n’obulamu. Tewali n’omu ajja eri Kitange wabula ng’ayita mu Nze. 7 (F)Singa muntegedde ne Kitange mwandimutegedde. Era okuva kaakano mumulabye era mumutegedde.”
8 Firipo n’amugamba nti, “Mukama waffe, tulage Kitaffe, kinaatumala.”
9 (G)Yesu n’amugamba nti, “Firipo, kasookedde mbeera nammwe ebbanga lino lyonna era tontegeeranga? Buli alaba Nze aba alabye Kitange! Kale lwaki ate oyogera nti, ‘Tulage Kitaffe?’ 10 (H)Tokkiriza nga Nze ndi mu Kitange era ne Kitange ali mu Nze? Ebigambo bye mbategeeza si byange ku bwange, wabula biva eri Kitange abeera mu Nze, era akola emirimu ng’ayita mu Nze. 11 (I)Kale munzikirize nti ndi mu Kitange era nga ne Kitange ali mu Nze. Oba si ekyo munzikirize olw’emirimu gyokka.
12 (J)“Ddala ddala mbagamba nti buli anzikiriza alikola emirimu egyo gye nkola, era alikola egisinga egyo, kubanga Nze ŋŋenda eri Kitange. 13 (K)Era buli kye munaasabanga mu linnya Lyange nnaakibakoleranga, Kitange alyoke agulumizibwe mu Mwana. 14 Bwe munaasabanga ekintu kyonna mu linnya lyange nnaakikolanga.”
Okusuubizibwa Mwoyo Mutukuvu
15 (L)“Kale obanga munjagala mugonderenga ebiragiro byange, 16 (M)nange ndisaba Kitange n’abawa Omubeezi omulala anaabeeranga nammwe emirembe n’emirembe, 17 (N)Mwoyo ow’Amazima ensi gwe teyinza kufuna, kubanga temulaba era temumanyi. Naye mmwe mumumanyi kubanga abeera nammwe, era anaabeeranga mu mmwe. 18 (O)Siribaleka nga bamulekwa, ndikomawo gye muli. 19 (P)Mu bbanga ttono, ensi eneeba tekyandaba, naye mmwe nga mundaba. Kubanga Nze ndi mulamu, era nammwe muliba balamu. 20 (Q)Ku lunaku olwo mulitegeera nga Nze ndi mu Kitange, era nga muli mu Nze, nga nange ndi mu mmwe. 21 (R)Buli anjagala anaagonderanga ebiragiro byange; era kubanga anjagala, ne Kitange anaamwagalanga. Era nange nnaamwagalanga, era nnaamulabikiranga.”
22 (S)Yuda, atali Isukalyoti n’amugamba nti, “Mukama waffe, lwaki oyagala okweraga eri ffe so si eri ensi?” 23 (T)Yesu n’amuddamu nti, “Omuntu yenna anjagala anaagonderanga ekigambo kyange, ne Kitange anaamwagalanga, era Nze ne Kitange tunajjanga ne tubeera mu ye era tunaatuulanga mu ye. 24 (U)Oyo atanjagala tagondera bigambo byange. Ate ebigambo bye njogera si byange ku bwange wabula bya Kitange eyantuma. 25 Ebyo mbibabuulidde nga nkyali nammwe. 26 (V)Naye Omubeezi, Mwoyo Mutukuvu, Kitange gw’alituma mu linnya lyange, bw’alijja alibayigiriza ebintu byonna era alibajjukiza byonna bye nabagamba. 27 (W)Mbalekera emirembe, era mbawa emirembe gyange. Emirembe gye mbawa tegiringa egy’ensi. Noolwekyo temutyanga era temweraliikiriranga.
28 (X)“Mujjukire kye n’abagamba nti ŋŋenda era ndikomawo gye muli. Singa ddala mubadde munjagala mwandisanyuse kubanga ŋŋenda eri Kitange, kubanga Kitange y’ansinga ekitiibwa. 29 (Y)Kaakano mbabuulidde ebintu bino nga tebinnabaawo, bwe birituukirira mulyoke munzikirize. 30 (Z)Sikyayogera bintu bingi nammwe, kubanga omufuzi omubi ow’ensi eno ajja. Naye Nze tanninaako buyinza. 31 (AA)Kyokka ensi eryoke emanye nti njagala Kitange, nzija kukola Kitange ky’andagidde.
“Musituke tuve wano.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.