Old/New Testament
10 Abassaako emikono be bano:
Nekkemiya owessaza,
mutabani wa Kakaliya.
Ne Zeddekiya, 2 (A)ne Seraya, ne Azaliya, ne Yeremiya,
3 (B)ne Pasukuli, ne Amaliya, ne Malukiya,
4 ne Kattusi, ne Sebaniya, ne Malluki,
5 (C)ne Kalimu, ne Meremoosi, ne Obadiya,
6 ne Danyeri, ne Ginnesoni, ne Baluki,
7 ne Messulamu, ne Abiya, ne Miyamini,
8 ne Maaziya, ne Birugayi ne Semaaya.
Abo be baali bakabona.
9 (D)Abaleevi be bano:
Yesuwa mutabani wa Azaniya, ne Binnuyi batabani ba Kenadaadi ne Kadimiyeeri
10 n’abaabayambangako be ba Sebaniya, ne Kodiya,
ne Kerita, ne Peraya, ne Kanani,
11 ne Mikka, ne Lekobu, ne Kasabiya,
12 ne Zakkuli, ne Serebiya, ne Sebaniya,
13 ne Kodiya, ne Baani ne Beninu.
14 Abakulembeze b’abantu baali:
Palosi, ne Pakasumowaabu, ne Eramu, ne Zattu, ne Baani,
15 ne Bunni, ne Azugaadi, ne Bebayi,
16 (E)ne Adoniya, ne Biguvaayi, ne Adini,
17 ne Ateri, ne Keezeekiya, ne Azzuli,
18 ne Kodiya, ne Kasumu, ne Bezayi,
19 ne Kalifu, ne Anasosi, ne Nebayi,
20 (F)ne Magupiyasi, ne Mesullamu, ne Keziri,
21 ne Mesezaberi, ne Zadooki, ne Yadduwa,
22 ne Peratiya, ne Kanani, ne Anaya,
23 (G)ne Koseya, ne Kananiya, ne Kassubu,
24 ne Kallokesi, ne Piruka, ne Sobeki,
25 ne Lekumu, ne Kasabuna, ne Maaseya,
26 ne Akiya, ne Kanani, ne Anani,
27 ne Malluki, ne Kallimu ne Baana.
28 (H)“Abantu abalala bakabona, n’Abaleevi, n’abaakuumanga wankaaki, n’abayimbi, n’abaweereza b’omu yeekaalu, n’abo bonna abeeyawula ku mawanga agaali gabaliraanye olw’Amateeka ga Katonda, awamu ne bakyala baabwe, ne batabani baabwe bonna ne bawala baabwe bonna; bonna abamanyi era abategeera 29 (I)beegatte ku baganda baabwe abakungu balayire okugobereranga Amateeka ga Katonda agaabaweebwa Musa omuddu wa Katonda, n’okugonderanga, amateeka gonna, n’ebiragiro, byonna ebya Mukama Katonda waffe.
30 (J)“Tusuubiza obutafumbiza bawala baffe mu bantu abatwetoolodde, newaakubadde okukkiriza batabani baffe okuwasa bawala baabwe.
31 (K)“Abantu abamawanga agatwetoolodde, bwe banaaleetanga ebyamaguzi oba ebyokulya okubitunda ku lunaku olwa ssabbiiti, tetuubibagulengako ku Ssabbiiti newaakubadde ku lunaku olwatukuzibwa olulala lwonna. Buli mwaka ogw’omusanvu tetuulimenga ttaka lyaffe, era tunaasonyiwanga be tubanja bonna.
32 “Tunaatwalanga obuvunaanyizibwa okuwangayo eri Katonda waffe kimu kya kusatu ekya sekeri[a] buli mwaka olw’obuweereza mu nnyumba ya Katonda waffe: 33 (L)olw’emigaati egy’okulaga; olw’ekiweebwayo eky’obutta ekya buli kiseera, n’olw’ekiweebwayo ekyokebwa ekya buli kiseera, n’olw’ebiweebwayo ebya Ssabbiiti, n’eby’embaga y’omwezi ogwakaboneka, n’embaga ezaateekebwawo n’olw’ebintu ebyatukuzibwa; n’olw’ebiweebwayo olw’ekibi okutangiririra Isirayiri; n’olw’emirimu gyonna egy’omu nnyumba ya Katonda waffe.
34 (M)“Ffe bakabona, n’Abaleevi, n’abantu twekubidde obululu okumanya ebiseera ennyumba zaffe mwe zinaaleeteranga enku mu nnyumba ya Katonda waffe, okwakanga mu kyoto kya Mukama Katonda waffe nga kyaka buli mwaka, nga bwe kyawandiikibwa mu mateeka.
35 (N)“Ate era tutwala obuvunaanyizibwa okulaba nga buli mwaka tuleeta mu nnyumba ya Mukama ebibala ebisooka ku bisimbe byaffe ne ku buli muti ogubala ebibala.
36 (O)“Era nga bwe kyawandiikibwa mu mateeka, tunaaletanga abaana aboobulenzi ababereberye, n’ennyana ennume ezisooka ez’ente zaffe, n’ennyana z’amagana gaffe, n’ez’ebisibo byaffe, eri bakabona abaweerereza mu nnyumba ya Katonda waffe.
37 (P)“Tunaaleetanga mu mawanika g’ennyumba ya Katonda waffe, eri bakabona, ekitole ekibereberye ku mmere gye tunaabanga tugoyezza, ne ku biweebwayo byaffe, ne ku bibala ebya buli muti gwaffe ebiriibwa, ne ku wayini waffe, ne ku mafuta. Ate era tunaaleeteranga Abaleevi ekimu eky’ekkumi ku bimera byaffe, kubanga Abaleevi be bakuŋŋaanya ebitundu eby’ekkumi mu byalo byaffe byonna gye tulimira. 38 (Q)Kabona, ow’omu lulyo lwa Alooni, yanaawerekeranga abaleevi, bwe banaabanga bagenze okukima ebitundu eby’ekkumi, era Abaleevi banaaleetanga kimu kya kkumi ku bitundu eby’ekkumi mu nnyumba ya Katonda waffe, mu bisenge, mu mawanika.[b] 39 (R)Abantu ba Isirayiri okwo nga kw’otadde n’Abaleevi, banaaleetanga ebirabo byabwe eby’emmere ey’empeke, ne wayini omuggya, n’omuzigo mu mawanika, ebintu eby’omu kifo ekitukuvu gye biterekebwa, era bakabona abaweereza, n’abakuuma wankaaki n’abayimbi gye babeera.
“Tetuulagajjalirenga nnyumba ya Katonda waffe.”
Abatuuze Abapya aba Yerusaalemi
11 (S)Abakulembeze b’abantu ne babeeranga mu Yerusaalemi, abantu abalala ne bakuba akalulu okulonda omuntu omu ku buli bantu kkumi okugenda okubeera mu Yerusaalemi, ekibuga ekitukuvu; omwenda bo ne basigala mu byalo byabwe. 2 Abantu ne beebaza abo bonna abeewaayo okubeera mu Yerusaalemi.
3 (T)Bano be bakungu b’amasaza abaasenga mu Yerusaalemi: Abayisirayiri abamu, nga mwe muli bakabona n’Abaleevi, n’abaweereza ab’omu yeekaalu, ne bazzukulu ba baddu ba Sulemaani; buli omu yabeeranga ku ttaka lye mu kibanja kye. 4 (U)Mu Yerusaalemi mwabeerangamu abamu ku bazzukulu ba Yuda, n’abamu ku bantu abaava mu Benyamini.
Bazzukulu ba Yuda abaasenga eyo be bano:
Ataya mutabani wa Uzziya, muzzukulu wa Zekkaliya, muzzukulu wa Amaliya, muzzukulu wa Sefatiya, muzzukulu wa Makalaleri, ow’omu lulyo lwa Pereezi;
5 ne Maaseya mutabani wa Baluki, muzzukulu wa Kolukoze, muzzukulu wa Kazaya, muzzukulu wa Adaya, muzzukulu wa Yoyalibu, muzzukulu wa Zekkaliya, ow’omu lulyo lwa Siiro.
6 Bazzukulu ba Pereezi abaasenga mu Yerusaalemi baawerera ddala abasajja ebikumi bina mu nkaaga mu munaana (468), abaali abalwanyi abazira.
7 Bazzukulu ba Benyamini abaasenga eyo be bano:
Sallu mutabani wa Mesullamu, muzzukulu wa Yowedi, muzzukulu wa Pedaya, muzzukulu wa Kolaya, muzzukulu wa Maaseya, muzzukulu wa Isiyeri, muzzukulu wa Yesaya; 8 n’abagoberezi be Gabbayi ne Sallayi, bonna ne bawera abasajja lwenda mu abiri mu munaana (928). 9 Yoweeri mutabani wa Zikuli ye yali omulabirizi waabwe, ne Yuda mutabani wa Kassenuwa nga ye mukulu w’Ekitundu Ekyokubiri eky’ekibuga.
10 Bakabona baali:
Yedaya mutabani wa Yoyalibu, ne Yakini, 11 (V)ne Seraya mutabani wa Kirukiya, muzzukulu wa Mesullamu, muzzukulu wa Zadooki, muzzukulu wa Merayoosi, muzzukulu wa Akitubu, alabirira ennyumba ya Katonda, 12 ne baganda baabwe abaakolanga emirimu mu yeekaalu, be basajja lunaana mu abiri mu babiri (822); Adaya mutabani wa Yerokamu, muzzukulu wa Peraliya, muzzukulu wa Amuzi, muzzukulu wa Zekkaliya, muzzukulu wa Pasukuli, muzzukulu wa Malukiya, 13 ne baganda be, abaali abakulu b’ennyumba; abasajja ebikumi bibiri mu ana mu babiri (242); Amasusaayi mutabani wa Azaleri, muzzukulu wa Azayi, muzzukulu wa Mesiremoosi, muzzukulu wa Immeri, 14 ne baganda be, abaali abalwanyi abazira; abasajja kikumi mu abiri mu munaana (128). Omukulu waabwe ye yali Zabudyeri mutabani wa Kaggedolimu.
15 Abaleevi baali:
Semaaya mutabani wa Kassubu, muzzukulu wa Azulikamu, muzzukulu wa Kasabiya, muzzukulu wa Bunni;
16 (W)Sabbesayi ne Yozabadi, abakulu b’Abaleevi, abaavunaanyizibwanga emirimu egy’ebweru egy’ennyumba ya Katonda;
17 (X)Mattaniya mutabani wa Mikka, muzzukulu wa Zabudi muzzukulu wa Asafu, eyakulemberanga okwebaza mu kiseera eky’okusaba;
Bakubukiya omumyuka we mu baganda be;
ne Abuda mutabani wa Sammuwa, muzzukulu wa Galali, ate muzzukulu wa Yedusuni.
18 (Y)Abaleevi abaabeeranga mu kibuga ekitukuvu bonna awamu, baali ebikumi bibiri mu kinaana mu bana (284).
19 Abakuumi b’emiryango baali:
Akkubu, ne Talumoni ne baganda baabwe; abaakuumanga emiryango nga bawera abasajja kikumi mu nsanvu mu babiri (172).
20 Abayisirayiri abalala bonna, awamu ne bakabona, n’Abaleevi, baabeeranga mu byalo byonna ebya Yuda, buli muntu ng’ali ku butaka bwe.
21 (Z)Naye abaweereza ba yeekaalu baabeeranga ku lusozi Oferi, era Zika ne Gisupa be baali abakulu baabwe.
22 (AA)Omukulu w’Abaleevi mu Yerusaalemi yali Uzzi mutabani wa Baani, muzzukulu wa Kasabiya, muzzukulu wa Mattaniya, era muzzukulu wa Mikka. Ate era Uzzi yali omu ku bazzukulu ba Asafu, abaakulemberanga okuyimba mu nnyumba ya Katonda. 23 (AB)Abayimbi baakoleranga ku biragiro bya kabaka, nga buli lunaku bwe lwetaaganga.
24 (AC)Pesakiya mutabani wa Mesezaberi, omu ku bazzukulu ba Zeera mutabani wa Yuda, ye yali omusigire wa Kabaka, ku nsonga zonna ez’abantu.
25 (AD)Abantu abamu aba Yuda baabeeranga mu Kirasualuba n’ebyalo ebikyetoolodde, n’abalala mu Diboni n’ebyalo ebikyetoolodde, n’abalala mu Yekabuzeeri n’ebyalo ebikyetoolodde, 26 (AE)n’abalala mu Yesuwa, n’abalala mu Molada n’abalala mu Besupereti, 27 (AF)n’abalala mu Kazalusuwali, n’abalala mu Beeruseba n’ebyalo ebikyetoolodde, 28 (AG)n’abalala mu Zikulagi, n’abalala mu Mekona n’ebyalo ebikyetoolodde 29 (AH)n’abalala mu Enulimmoni, n’abalala mu Zola, n’abalala mu Yalamusi, 30 (AI)n’abalala mu Zonowa, n’abalala mu Adulamu n’ebyalo ebikyetoolodde, n’abalala mu Lakisi n’ennimiro ezikyetoolodde, n’abalala mu Azeka n’ebyalo ebikyetoolodde. Ne basiisira okuva e Beeruseba okutuuka ku kiwonvu kya Kinomu.
31 (AJ)Bazzukulu ba Benyamini abaava e Geba baabeeranga mu Mikumasi, ne mu Ayiya, ne mu Beseri n’ebyalo ebikyetoolodde, 32 (AK)ne mu Anasosi, ne mu Nobu, ne mu Ananiya, 33 (AL)ne mu Kazoli, ne mu Laama, ne mu Gittayimu, 34 (AM)ne mu Kadidi, ne mu Zeboyimu, ne mu Neballati, 35 (AN)ne mu Loodi ne mu Ono, ne mu kiwonvu kya babumbi.
36 Abamu ku b’omu bibinja by’Abaleevi aba Yuda, ne beegatta ku b’omu Benyamini.
Peetero ne Yokaana mu Lukiiko lw’Abayudaaya Olukulu
4 (A)Awo Peetero ne Yokaana baali bakyayogera eri abantu, bakabona, n’omukulu w’abakuumi ba Yeekaalu n’Abasaddukaayo ne bajja gye bali, 2 (B)nga basunguwadde nnyo okuwulira nga Peetero ne Yokaana bayigiriza abantu, ku bwa Yesu, okuzuukira mu bafu. 3 (C)Ne bakwata Peetero ne Yokaana, naye olwokubanga obudde bwali buyise ne babaggalira mu kkomera okutuusa enkeera. 4 (D)Kyokka abantu bangi ku abo abaali bawuliriza abatume ne bakkiriza, era omuwendo gw’abasajja bokka abakkiriza ne guba ng’enkumi ttaano!
5 (E)Enkeera, abafuzi n’abakulembeze b’Abayudaaya, n’abannyonnyozi b’amateeka ne bakuŋŋaanira mu Yerusaalemi. 6 (F)Baali ne Ana Kabona Asinga Obukulu, ne Kayaafa, ne Yokaana, ne Alegezanda n’abalala bangi abaalina oluganda ne Kabona Asinga Obukulu. 7 Awo abatume bombi ne baleetebwa ne basimbibwa mu maaso g’Olukiiko. Ne bababuuza nti, “Buyinza ki oba linnya ly’ani kwe musinzidde okukola kino?”
8 (G)Awo Peetero bwe yajjuzibwa Mwoyo Mutukuvu n’agamba nti, “Abafuzi, n’abakulembeze b’abantu, 9 (H)obanga tubuuzibwa nsonga ey’omusajja eyawonyezeddwa, 10 (I)mutegeere mmwe mwenna n’abantu bonna mu Isirayiri, omusajja ono ayimiridde mu maaso gammwe mu linnya lya Yesu Kristo Omunnazaaleesi, gwe mwakomerera naye Katonda n’amuzuukiza, era kaakano mulamu.
11 (J)“ ‘Oyo ly’Ejjinja abazimbi lye baagaana,
lye lifuuse ejjinja ekkulu ery’oku nsonda.’
12 (K)Tewali mu mulala yenna bulokozi, era tewali linnya ddala na limu mu mannya gonna agaaweebwa abantu, wansi w’eggulu, mwetugwanira okulokolebwa.”
13 (L)Awo ab’Olukiiko bwe baalaba obuvumu bwa Peetero ne Yokaana, ate n’okutegeera ne bategeera nga tebaasoma, era nga si batendeke, ne beewuunya nnyo, ne bategeera ng’abasajja abo baabeeranga ne Yesu. 14 Era bwe baalaba omusajja eyawonyezebwa ng’ayimiridde nabo, n’eky’okubaddamu ne kibabula. 15 (M)Ne babalagira okugira nga babeera wabweru Olukiiko lubakubaganyeko ebirowoozo. 16 (N)Ab’olukiiko ne beebuuzaganya nti, “Abasajja bano tubakole tutya? Kubanga tetuyinza kwegaana ekyamagero eky’amaanyi ekikoleddwa mu bo; buli muntu yenna mu Yerusaalemi akitegedde. 17 Naye engeri gye tunaaziyizaamu ebigambo byabwe okwongera okusaasaana kwe kubalabula n’amaanyi baleme kuddayo kwogera na muntu yenna ku linnya lya Yesu.”
18 (O)Ne babayita bakomewo mu Lukiiko, ne babalagira baleme kuddayo nate kwogera ku linnya lya Yesu. 19 (P)Naye Peetero ne Yokaana ne baddamu nti, “Mmwe muba musalawo obanga kituufu mu maaso ga Katonda okuwulira mmwe okusinga okuwulira Katonda. 20 Tetuyinza butayogera ku bintu bye twalaba, n’ebigambo bye twawulira.”
21 (Q)Awo Olukiiko bwe lwamala okwongera okubatiisatiisa ne lubaleka ne bagenda, kubanga baabulwa kwe banaasinziira okubabonereza ne batasasamaza bantu. Kubanga abantu bonna baali bagulumiza Katonda olw’ekyo ekyabaawo. 22 Omusajja eyawonyezebwa yali assussa mu myaka amakumi ana.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.