Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Old/New Testament

Each day includes a passage from both the Old Testament and New Testament.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
2 Ebyomumirembe 17-18

Yekosafaati Kabaka wa Yuda

17 Yekosafaati mutabani wa Asa n’asikira Asa bw’atyo n’afuuka kabaka, n’okwenyweza ne yeenyweza eri Isirayiri. (A)N’ateeka abaserikale mu bibuga ebiriko bbugwe ebya Yuda, n’ateeka n’eggye mu Yuda, ne mu bibuga ebya Efulayimu, kitaawe Asa bye yali awambye.

(B)Mukama n’abeera wamu ne Yekosafaati kubanga mu buto bwe yatambuliranga mu makubo ga jjajjaawe Dawudi ge yatambulirangamu. Teyeebuuza ku Babaali, (C)naye yanoonya Katonda wa kitaawe, era n’agoberera amateeka ge okusinga engeri za Isirayiri. (D)Mukama n’anyweza obwakabaka mu mukono gwe, era Yuda yenna ne baleetera Yekosafaati ebirabo, n’aba n’obugagga bungi n’ekitiibwa kinene. (E)Omutima gwe ne gunywerera mu kkubo lya Mukama, n’okuggyawo n’aggyawo ebifo ebigulumivu n’ebifaananyi bya Baasera mu Yuda.

(F)Mu mwaka ogwokusatu ogw’obufuzi bwe, n’atuma abakungu be bano: Benikayiri, ne Obadiya, ne Zekkaliya, ne Nesaneeri, ne Mikaaya okugenda nga bayigiriza mu bibuga bya Yuda. (G)Ne wabaawo n’Abaleevi abagenda nabo: Semaaya, ne Nesaniya, ne Zebadiya, ne Asakeri, ne Semiramoosi, ne Yekonasaani, ne Adoniya, ne Tobbiya, ne Tobadoniya, wamu ne Erisaama ne Yekolaamu. (H)Ne bayigiriza mu Yuda yonna, nga bakozesa Ekitabo ekya Mateeka ga Mukama; ne babuna mu bibuga byonna ebya Yuda ne bayigiriza abantu.

10 (I)Awo entiisa ya Mukama n’egwa ku bwakabaka obw’amawanga agaali geetoolodde Yuda, ne batakola ntalo na Yekosafaati. 11 (J)Abamu ku Bafirisuuti ne baleetera Yekosafaati ebirabo, ne ffeeza ng’omusolo, ate Abawalabu ne bamuleetera ebisibo eby’endiga ennume kasanvu mu lusanvu, n’embuzi kasanvu mu lusanvu. 12 Yekosafaati ne yeeyongeranga amaanyi, n’azimba ebigo n’ebibuga eby’amaterekero mu Yuda, 13 n’abeera n’ebyamaguzi bingi ddala mu bibuga bya Yuda. Yalina n’abaserikale abatendeke mu Yerusaalemi nga bazira. 14 (K)Okubalibwa ng’enju za bakitaabwe bwe zaali kwali bwe kuti:

Okuva mu Yuda, abaduumizi ab’ebibinja eby’olukumi (1,000) baali:

Aduna omuduumizi ow’abasajja abalwanyi emitwalo amakumi asatu (300,000),

15 n’eyamuddiriranga yali Yekokanani omuduumizi ow’abasajja emitwalo amakumi abiri mu munaana (280,000);

16 (L)n’eyamuddiriranga yali Amasiya mutabani wa Zikuli, eyeewaayo obwebange okuweerezanga Mukama, omuduumizi ow’abasajja emitwalo amakumi abiri (200,000).

17 (M)Okuva mu Benyamini:

Eriyada, omuserikale omuzira, eyaduumiranga abasajja ab’obusaale n’engabo emitwalo amakumi abiri (200,000),

18 n’eyamuddiriranga ye yali Yekozabadi eyaduumiranga abasajja emitwalo kkumi na munaana abaali beeteeseteese okulwana (180,000).

19 (N)Abo be basajja abaaweerezanga kabaka, obutassaako abo abaali mu bibuga ebyaliko bbugwe n’ebigo okubuna Yuda yonna.

Mikaaya Ayogera Ebyobunnabbi Akabu

18 (O)Yekosafaati yali mugagga nnyo era nga wa kitiibwa kinene nnyo, ate nga mukoddomi wa Akabu. Bwe waayitawo emyaka, n’aserengeta okugenda okulaba ku Akabu e Samaliya. Akabu n’amuteekerateekera ekijjulo eky’amaanyi n’amuttira endiga nnyingi n’ente nnyingi, ye n’abantu be yagenda nabo, era n’amusendasenda okulumba Lamosugireyaadi. Akabu kabaka wa Isirayiri n’abuuza Yekosafaati kabaka wa Yuda nti, “Onoogenda nange okulumba Lamosugireyaadi?” Yekosafaati n’addamu nti, “Ky’oli kye ndi, era n’abantu bo be bantu bange, tujja kukwegattako mu lutalo.” Naye Yekosafaati n’alabula kabaka wa Isirayiri nti, “Sooka weebuuze ku Mukama.”

Awo kabaka wa Isirayiri n’akuŋŋaanya bannabbi bonna awamu; baali abasajja ebikumi bina, n’ababuuza nti, “Tugende tulumbe Lamosugireyaadi nantiki tulekeyo?” Ne bamuddamu nti, “Tugende, kubanga Mukama anaakigabula mu mukono gwa kabaka.” Naye Yekosafaati n’abuuza nti, “Tewaliwo wano nnabbi wa Mukama gwe tuyinza okwebuuzaako?”

Awo kabaka wa Isirayiri n’addamu Yekosafaati nti, “Waliyo omusajja omulala gwe tuyinza okwebuuzaako ku Mukama, ye Mikaaya mutabani wa Imula, naye namukyawa kubanga tandagulako birungi, wabula ebibi ebyereere.” Yekosafaati n’ayogera nti, “Kabaka teyandiyogedde bw’atyo.” Kabaka wa Isirayiri n’alyoka alagira omu ku bakungu be nti, “Kima Mikaaya mutabani wa Imula ku bwangu.”

Awo kabaka wa Isirayiri ne Yekosafaati kabaka wa Yuda ne batuula ku ntebe zaabwe ez’obwakabaka mu gguuliro ku mulyango gwa wankaaki w’e Samaliya, nga bambadde ebyambalo byabwe, nga ne bannabbi bonna balagulira mu maaso gaabwe. 10 Zeddekiya mutabani wa Kenaana yali yeeweesereza amayembe ag’ekyuma, n’ayogera nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Abasuuli balitomerwa na gano okutuusa lwe balimalibwawo.’ ”

11 (P)Era ne bannabbi abalala bonna baalagulanga kye kimu nti, “Yambuka olumbe Lamosugireyaadi onoowangula kubanga Mukama anaakiwaayo mu mukono gwa kabaka.”

12 Awo omubaka eyali agenze okuyita Mikaaya, n’amugamba nti, “Laba, ebigambo ebya bannabbi bali abalala byogera kyekimu, kale naawe ba bumu nabo.”

13 (Q)Naye Mikaaya n’ayogera nti, “Nga Mukama bw’ali omulamu Katonda ky’anaŋŋamba ekyo kye nnaayogera.”

14 Awo bwe yatuuka ewa kabaka, kabaka n’amubuuza nti, “Mikaaya tulumbe Lamosugireyaadi, oba tulekeyo?” N’amuddamu nti, “Mugende mukirumbe, munaakiwangula, kubanga banaaweebwayo mu mukono gwo.”

15 Naye kabaka n’amugamba nti, “Nnaakulayizanga emirundi emeka, obutannimbanga wabula okuntegeezanga amazima mu linnya lya Mukama?”

16 (R)Awo Mikaaya n’addamu nti, “Nalaba Isirayiri yenna, nga basaasaanye ku nsozi ng’endiga ezitalina musumba, Mukama n’ayogera nti, ‘Abantu bano tebalina abakulembera, buli omu addeyo ewaabwe mirembe.’ ”

17 Kabaka wa Isirayiri n’agamba Yekosafaati nti, “Sakugambye nti talina kirungi ky’andagulako, okuggyako ebibi?”

18 (S)Mikaaya n’ayongerako na bino nti, “Noolwekyo muwulire ekigambo kya Mukama: Nalaba Mukama ng’atudde ku ntebe ye ey’obwakabaka n’eggye lyonna ery’omu ggulu nga liyimiridde okumwetooloola ku mukono gwe ogwa kkono. 19 Awo Mukama n’abuuza nti, ‘Ani anasendasenda Akabu kabaka wa Isirayiri okulumba Lamosugireyaadi n’oluvannyuma afiire eyo?’

“Omu ku bo n’ateesa kino, n’omulala kiri. 20 Ku nkomerero, omwoyo ogumu ne gusembera, ne guyimirira mu maaso ga Mukama ne gwogera nti, ‘Nze nzija kumusendasenda.’

Mukama n’agubuuza nti, ‘Ekyo onookikola otya?’

21 (T)“Ne guddamu nti, ‘Nzija kugenda, mbeere omwoyo omulimba mu kamwa ka buli nnabbi we.’

Mukama n’agugamba nti, ‘Ggwe onoosobola okumusendasenda, era genda okole bw’otyo.’

22 (U)“Kale nno Mukama atadde omwoyo ogw’obulimba mu kamwa ka bannabbi bo, era Mukama akwogeddeko kabi keereere.”

23 (V)Awo Zeddekiya mutabani wa Kenaana n’asembera okumpi ne Mikaaya we yali n’amukuba oluyi mu maaso, n’amubuuza nti, “Omwoyo wa Mukama yampiseeko wa okwogera naawe?”

24 Mikaaya n’amuddamu nti, “Laba, ekyo olikimanya ku lunaku lw’oligenda okwekweka mu kisenge eky’omunda.”

25 Awo kabaka wa Isirayiri n’alagira nti, “Mukwate Mikaaya mumuzzeeyo ewa Amoni ew’omukulu w’ekibuga n’ewa Yowaasi omulangira, 26 (W)mwogere nti, ‘Bw’ati bw’ayogera kabaka nti, Omuntu ono mumuteeke mu kkomera, temumuwa kintu kyonna wabula omugaati omutono n’amazzi amatono, okutuusa lwe ndikomawo mirembe.’ ”

27 Awo Mikaaya n’alangirira nti, “Bw’olikomawo mirembe, Mukama nga tayogeredde mu nze,” ate n’ayongerako na kino nti, “Mmwe mwenna, mwekuume ebigambo byange.”

Akabu Afiira e Lamosugireyaadi

28 Awo kabaka wa Isirayiri ne Yekosafaati kabaka wa Yuda ne bambuka e Lamosugireyaadi. 29 (X)Kabaka wa Isirayiri n’agamba Yekosafaati nti, “Nze nzija kugenda mu lutalo nga nneefudde ng’omuntu omulala, naye ggwe yambala ebyambalo byo.” Awo kabaka wa Isirayiri ne yeefuula ng’omuntu omulala, ne bagenda mu lutalo.

30 Naye kabaka w’e Busuuli yali alagidde abaduumizi ab’amagaali ge nti, “Temulwanagananga na muntu yenna, oba wa kitiibwa oba si wa kitiibwa, okuggyako kabaka wa Isirayiri.” 31 (Y)Awo abaduumizi ab’amagaali bwe balaba Yekosafaati, ne boogera nti, “Oyo ye kabaka wa Isirayiri.” Ne bakyuka ne bamulumba, naye Yekosafaati n’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka, Mukama n’amubeera, era Katonda n’abaziyiza, n’okubaggyawo n’abaggyawo. 32 Abaduumizi ab’amagaali bwe baakizuula nti si ye kabaka wa Isirayiri, ne balekeraawo okumugoba.

33 Naye omu ku basajja n’amala ganaanuula omutego gwe, n’alasa kabaka wa Isirayiri mu kifo ekimu ebyambalo bye eby’olutalo we byegattira. Kabaka n’agamba omugoba w’eggaali lye nti, “Kyusa onzigye mu lutalo kubanga nfumitiddwa.” 34 (Z)Olutalo ne lukanya olunaku lwonna, kyokka kabaka wa Isirayiri ne yeewaliriza okusigala mu gaali lye ng’atunuulidde Abasuuli okutuusa akawungeezi, era enjuba bwe yali ng’egwa n’afa.

Yokaana 13:1-20

Yesu Anaaza Abayigirizwa be Ebigere

13 (A)Ku lunaku olukulembera Embaga ey’Okuyitako, Yesu yamanya ng’ekiseera kye kituuse ave mu nsi muno agende eri Kitaawe. Yesu bwe yayagala ababe mu nsi, yabalagira ddala okwagala kwe kwonna okutuusiza ddala ku kiseera ekisembayo.

Bwe baali balya ekyekiro, Setaani yali yamaze dda okuteeka mu mutima gwa Yuda Isukalyoti, omwana wa Simooni, ekirowoozo eky’okulya mu Yesu olukwe. (B)Yesu bwe yamanya nti Kitaawe yateeka byonna mu mikono gye, era nga yava wa Katonda ate gy’adda, n’asituka ku mmere, ne yeggyako omunagiro gwe, ne yeesiba ettawulo mu kiwato, (C)n’ateeka amazzi mu bensani, n’atandika okunaaza abayigirizwa be ebigere nga bw’abasiimuuza ettawulo gye yali yeesibye.

Bwe yatuuka ku Simooni Peetero, Peetero n’amugamba nti, “Mukama wange, ggwe onnaaze ebigere?”

(D)Yesu n’amuddamu nti, “Ensonga enkozesa kino togimanyi kaakano, wabula ekiseera kirituuka n’ogitegeera.”

Peetero n’amuddamu nti, “Nedda, tolinnaaza bigere emirembe gyonna.” Yesu n’amugamba nti, “Bwe siikunaaze bigere, nga tossa kimu nange.”

Simooni Peetero n’amugamba nti, “Mukama wange, tonnaaza bigere byokka, naye nnaaza n’emikono n’omutwe.”

10 (E)Yesu n’amuddamu nti, “Anaabye omubiri, aba teyeetaaga kunaaba okuggyako ebigere byokka, alyoke abe omulongoofu. Kaakano muli balongoofu, naye si mwenna.” 11 Kubanga Yesu yamanya anaamulyamu olukwe. Kyeyava agamba nti, “Si mwenna abalongoofu.”

12 Yesu bwe yamala okubanaaza ebigere n’ayambala omunagiro gwe, n’addayo n’atuula, n’abagamba nti, “Kye mbakoze mukitegedde? 13 (F)Mmwe mumpita Muyigiriza era Mukama wammwe, mukola bulungi okumpita bwe mutyo kubanga ddala bwe ntyo bwe ndi. 14 (G)Kale Nze Mukama wammwe era Omuyigiriza, nga bwe mbanaazizza ebigere, nammwe musaana okunaazagananga ebigere. 15 (H)Mbalaze ekyokulabirako, mukolenga nga Nze bwe mbakoze. 16 (I)Ddala ddala mbagamba nti, Omuddu tasinga mukama we. Era n’oyo atumibwa tasinga oli amutumye. 17 (J)Bwe mumanya ebintu bino muba n’omukisa bwe mubikola. 18 (K)Ebintu bino byonna sibyogera nammwe mwenna, buli omu ku mmwe be nalonda mmumanyi; ekyawandiikibwa kituukirire ekigamba nti, ‘Oyo bwe tulya emmere anneefuukidde!’ 19 (L)Kino nkibategeeza okuva kaakano, nga tekinnabaawo, bwe kinaabaawo mulyoke munzikirize. 20 (M)Ddala ddala mbagamba nti buli asembeza gwe ntuma, ng’asembezezza Nze, era asembeza Nze ng’asembezezza oyo eyantuma.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.