Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

M’Cheyne Bible Reading Plan

The classic M'Cheyne plan--read the Old Testament, New Testament, and Psalms or Gospels every day.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
1 Samwiri 7-8

(A)Awo abantu b’e Kiriyasuyalimu ne bajja ne baddukira essanduuko ya Mukama, ne bagitwala mu nnyumba ya Abinadaabu ku lusozi. Ne bayawula Eriyazaali mutabani we okuvunaanyizibwa essanduuko ya Mukama[a].

Abafirisuuti Bawangulwa e Mizupa

Essanduuko n’emala mu Kiriyasuyalimu ebbanga ddene, eryawerera ddala emyaka amakumi abiri, era abantu b’ennyumba ya Isirayiri bonna baali banakuwavu era nga banoonya Mukama. (B)Awo Samwiri n’agamba ennyumba ya Isirayiri yonna nti, “Obanga mudda eri Mukama n’omutima gumu, muggyeewo bakatonda abagwira ne Baasutoleesi, mmweweeyo eri Mukama gwe muba muweerezanga yekka, era anaabalokola okuva mu mukono gw’Abafirisuuti.” Awo Abayisirayiri ne bava ku Babaali ne Baasutoleesi, ne baweerezanga Mukama yekka.

(C)Samwiri n’ayogera nti, “Mukuŋŋaanye Isirayiri yenna e Mizupa, mbegayiririre eri Mukama.” (D)Bwe baali bakuŋŋaanidde e Mizupa, ne basena amazzi, ne bagayirira mu maaso ga Mukama, ne basiiba era ne baatula ebibi byabwe nga boogera nti, “Twonoonye eri Mukama.” Olwo Samwiri nga ye mukulembeze era omulamuzi wa Isirayiri e Mizupa.

(E)Awo Abafirisuuti bwe baawulira nga Abayisirayiri bakuŋŋaanidde e Mizupa, abafuzi b’Abafirisuuti ne babalumba. Abayisirayiri bwe baakiwulira ne batya Abafirisuuti. (F)Ne bagamba Samwiri nti, “Tolekeraawo kutukaabiririra eri Mukama Katonda waffe, atulokole okuva mu mukono gw’Abafirisuuti.” (G)Awo Samwiri n’addira omwana gw’endiga oguyonka n’aguwaayo ng’ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama, n’akaabirira Mukama ku lwa Isirayiri, Mukama n’amuddamu.

10 (H)Ku lunaku olwo Samwiri bwe yali ng’awaayo ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama, Abafirisuuti ne basembera okulwanyisa Isirayiri, naye Mukama n’abwatuka okubwatuka okw’amaanyi, Abafirisuuti ne batya nnyo, era ne badduka Abayisirayiri. 11 Abasajja Abayisirayiri ne bava e Mizupa ne bagoba Abafirisuuti, ne bagenda nga babatta okutuukira ddala ku Besukali.

12 (I)Awo Samwiri n’addira ejjinja n’aliteeka wakati wa Mizupa ne Seni, ekifo ekyo n’akituuma Ebenezeri[b], ng’agamba nti, “Mukama atuyambye okutuusa kaakano.” 13 (J)Abafirisuuti ne bawangulwa, ne bataddayo nate kulumba Isirayiri. Era ennaku zonna eza Samwiri, omukono gwa Mukama ne gunyigiriza Abafirisuuti. 14 Abayisirayiri ne beddiza ebibuga byonna Abafirisuuti bye baali babawambyeko okuva mu Ekulooni okutuuka e Gaasi, ate era Isirayiri n’anunula ebitundu ebyali biriraanyeewo okuva mu buyinza bw’Abafirisuuti. Ne waba okutabagana wakati wa Isirayiri n’Abamoli[c].

15 (K)Samwiri n’alamula era n’afuga Isirayiri ennaku zonna ez’obulamu bwe. 16 Buli mwaka n’agendanga e Beseri, n’e Girugaali n’e Mizupa[d] mu mpalo ng’alamula Isirayiri mu bifo ebyo byonna. 17 (L)N’oluvannyuma yakomangawo e Laama, amaka ge gye gaabeeranga, nayo n’alamulirayo Isirayiri. N’azimbirayo Mukama ekyoto.

Abayisirayiri Basaba Kabaka

(M)Samwiri bwe yakaddiwa, n’alonda batabani be okuba abalamuzi ba Isirayiri. (N)Erinnya lya mutabani we omukulu ye yali Yoweeri, n’owokubiri nga ye Abiya, ne balamulanga mu Beeruseba. (O)Naye batabani be ne batagoberera mpisa ze, ne bakyama ne banoonya amagoba, ne balya enguzi, era nga tebalamula mu bwenkanya.

(P)Awo abakadde bonna aba Isirayiri ne bakuŋŋaana ne bajja eri Samwiri e Laama, (Q)ne bamugamba nti, “Laba, okaddiye ne batabani bo tebagoberera mpisa zo, kaakano tulondere kabaka anaatukulemberanga, tubeere ng’amawanga amalala gonna.”

(R)Naye bwe baayogera nti, “Tuwe kabaka anaatukulemberanga,” ne kitasanyusa Samwiri. Samwiri n’asaba eri Mukama. (S)Awo Mukama n’agamba Samwiri nti, “Wuliriza ebigambo byonna abantu bye bakugamba. Tebajeemedde ggwe, naye bajeemedde nze nneme kuba kabaka waabwe. Okusinziira ku bikolwa byabwe okuva ku lunaku lwe nabaggya mu Misiri okutuusa ku lunaku lwa leero, bwe banjeemera, ne baweereza bakatonda abalala, nawe bwe batyo bwe bakuyisa. (T)Kaakano bawulirize, naye obalabulire ddala, era obategeeze ebintu byonna kabaka anaabafuga by’alibakola.”

10 Awo Samwiri n’ategeeza abantu abaali bamusaba kabaka, ebigambo byonna Mukama bye yamugamba. 11 (U)N’abagamba nti, “Bino bye bintu kabaka alibafuga by’alibakola: alitwala batabani bammwe n’abafuula abagoba ab’amagaali ge n’abeebagazi ab’embalaasi ze, n’abamu okuddukiranga mu maaso ag’amagaali ge. 12 (V)Abamu ku bo alibafuula abaduumizi b’enkumi, n’abalala n’abafuula abaduumizi b’ataano, n’abalala okumulimiranga ennimiro ze n’okuzikungulanga, n’abalala okuweesanga ebyokulwanyisa n’ebintu eby’amagaali ge. 13 Alitwala bawala bammwe, okumuteekerateekera ebyakaloosa, n’okumufumbiranga, n’okumukoleranga emigaati. 14 (W)Alitwala ennimiro zammwe ennungi, n’ennimiro zammwe ez’emizabbibu n’ez’emizeeyituuni, n’aziwa abaweereza be. 15 Alitwala ekimu eky’ekkumi eky’emmere yammwe ey’empeke, n’eky’ennimiro zammwe ez’emizabbibu, n’akigabira abakungu be n’abaweereza be. 16 Alitwala abaweereza bammwe abasajja n’abaweereza bammwe abakazi, n’abavubuka bammwe abasinga obulungi n’endogoyi, n’abyeddiza. 17 Alitwala ekimu eky’ekkumi ku bisibo byammwe, mmwe n’abafuula abaweereza be. 18 (X)Luliba lumu, mulyekkokkola kabaka wammwe gwe mwerondera, naye Mukama talibafaako ku lunaku olwo.”

19 (Y)Naye abantu ne bagaana okuwuliriza Samwiri, ne boogera nti, “Nedda! Twagala kabaka okutufuga, 20 (Z)naffe tubeere ng’amawanga amalala gonna, nga tulina kabaka atufuga ayinza okutukulembera n’atulwanira entalo zaffe.”

21 (AA)Awo Samwiri bwe yawulira ebigambo byonna eby’abantu, n’abiddiramu Mukama. 22 (AB)Mukama n’addamu Samwiri nti, “Bawulirize obalondere kabaka.”

Awo Samwiri n’agamba abantu ba Isirayiri nti, “Buli omu ku mmwe addeyo ewuwe.”

Abaruumi 6

Okuba Abalamu mu Kristo

(A)Kale tunaagamba tutya? Tweyongere okwonoona, olwo ekisa kya Katonda kiryoke kyeyongere? (B)Kikafuuwe, kubanga ffe abaafa eri ekibi tuyinza tutya okweyongera okukikola? (C)Oba temumanyi nga bonna bwe baabatizibwa mu Yesu Kristo, baafiira wamu naye? (D)Bwe twabatizibwa twaziikibwa wamu ne Kristo. Nga Kristo bwe yazuukizibwa okuva mu bafu olw’ekitiibwa kya Kitaawe, naffe twafuna obulamu obuggya, era bwe tutyo tutambulirenga mu bulamu obwo obuggya.

(E)Obanga twegatta wamu naye mu kifaananyi eky’okufa kwe, bwe tutyo bwe tulyegattira awamu naye mu kuzuukira kwe. (F)Tumanyi kino nti omuntu waffe ow’edda yakomererwa wamu naye ku musaalaba, omubiri gw’ekibi guleme kuba gwa mugaso, tuleme kuddamu kuba baddu ba kibi. Omuntu bw’afa aba takyafugibwa kibi.

Naye obanga twafiira wamu ne Kristo, tukkiriza nga tuliba balamu wamu naye (G)Tumanyi nti, nga Kristo bwe yazuukizibwa mu bafu, takyafa nate, okufa tekukyamufuga. 10 (H)Okufa kwe yafa eri ekibi, yafa omulundi gumu, naye kaakano mulamu era mulamu ku bwa Katonda.

11 (I)Bwe mutyo nammwe mwerowoozenga okuba abaafiira ddala eri ekibi, naye abalamu eri Katonda mu Kristo Yesu. 12 Noolwekyo ekibi kiremenga okufuga omubiri gwammwe ogufa, nga mugondera okwegomba kwagwo. 13 (J)Temuwangayo bitundu byammwe eby’omubiri okukozesebwa ebitali bya butuukirivu eri ekibi, naye mweweereyo ddala eri Katonda, ng’abantu abalamu abaava mu bafu. Ebitundu byammwe eby’omubiri gwammwe bikozesebwe eby’obutuukirivu eri Katonda. 14 (K)Temukkiriza kibi kwongera kubafuga, kubanga temukyafugibwa mateeka, wabula ekisa kya Katonda.

Baddu ba butuukirivu

15 Kale tukole tutya? Kale tukole ekibi kubanga tetufugibwa mateeka wabula ekisa kya Katonda? Kikafuuwe. 16 (L)Temumanyi nga muba baddu b’oyo gwe muwulira? Muyinza okuba abaddu b’ekibi ne kibaleetera okufa, oba muyinza okuba abaddu abawulira Katonda n’abawa obutuukirivu. 17 (M)Kyokka Katonda yeebazibwe kubanga mwabanga baddu ba kibi, naye bwe mwagondera okuyigiriza kwe mwayigirizibwa n’omutima gwammwe gwonna, ne mukugondera. 18 (N)Noolwekyo mwasumululwa okuva mu kibi, ne mufuuka baddu ba butuukirivu abasanyusa Katonda.

19 (O)Njogera nga nkozesa olulimi olwa bulijjo kubanga mukyali banafu. Nga bwe mwawangayo ebitundu byammwe eby’omubiri okuba abaddu b’ebirowoozo eby’obugwagwa, ne mweyongeranga okukola ebitali bya butuukirivu, bwe mutyo muweeyo ebitundu byammwe eby’omubiri okuba abaddu b’obutuukirivu, nga mweweerayo ddala eri Katonda, mube batukuvu. 20 (P)Bwe mwali abaddu b’ekibi, temwafugibwanga butuukirivu. 21 (Q)Kale mwagasibwa ki mu kukola ebintu ebyo, ebibaleetera ensonyi? Enkomerero yaabyo kufa. 22 (R)Naye kaakano obanga mwasumululwa mu kibi, ne mufuuka baddu ba Katonda, ebivaamu bibatuusa ku kutukuzibwa, n’enkomerero bwe bulamu obutaggwaawo. 23 (S)Empeera y’ekibi kwe kufa, naye ekirabo kya Katonda, bwe bulamu obutaggwaawo mu Yesu Kristo Mukama waffe.

Yeremiya 44

44 (A)Ekigambo ne kijjira Yeremiya ekikwata ku Bayudaaya bonna abaali mu nsi y’e Misiri e Migudooli n’e Tapaneese n’e Noofu ne mu nsi ey’e Pasuloosi nga kigamba nti, (B)“Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, Mwalaba ekikangabwa ekinene kye naleeta ku Yerusaalemi ne ku bibuga byonna ebya Yuda. Leero matongo (C)olw’ebibi bye baakola. Bankwasa obusungu olw’okwotereza bakatonda abalala obubaane n’okusinza, bo newaakubadde mmwe wadde bajjajjammwe be batamanyangako. (D)Emirundi mingi natuma abaddu bange bannabbi, abaabagamba nti, ‘Temukola bintu bino eby’omuzizo bye nkyawa!’ (E)Naye tebaawulira wadde okufaayo; tebaalekayo mpisa zaabwe embi wadde okulekayo okwotereza bakatonda abalala obubaane. Noolwekyo, obusungu bwange obungi ennyo kyebwava bubabuubuukira; ne buzinda ebibuga bya Yuda n’enguudo za Yerusaalemi era ne bifuuka amatongo, ne leero.

(F)“Kale kaakano bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, Lwaki mweretako akabi akanene bwe kati nga musala ku Yuda abasajja n’abakazi, n’abaana abato n’abawere aba Yuda ne mutalekaawo muntu? (G)Lwaki munsunguwaza olw’ebyo emikono gyammwe bye gikoze, nga mwotereza bakatonda abalala obubaane e Misiri, gye mwajja okubeera? Mujja kwezikiriza mufuuke eky’omuzizo n’eky’okukolimirwa mu mawanga gonna ag’omu nsi. (H)Mwerabidde ebibi bakitammwe ne bakabaka ba Yuda ne bakazi bammwe bye baakola era n’ebibi bye mwakola mmwe ne bakazi bammwe mu nsi ya Yuda ne mu nguudo za Yerusaalemi? 10 (I)Naye n’okutuusa leero tebeetoowazizza wadde okutya, wadde okugondera amateeka gange n’ebiragiro bye nabateekerawo mmwe ne bajjajjammwe.

11 (J)“Noolwekyo, bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, Mmaliridde okubazikiriza mmwe ne Yuda yonna. 12 (K)Ndiggyawo abaasigalira mu Yuda abaamalirira okugenda e Misiri okusenga eyo. Bonna balizikiririra mu Misiri, balifa ekitala oba enjala. Okuva ku muto okutuuka ku mukulu asingayo balifa era balifuuka ekyenyinyalwa n’eky’okusekererwa era n’okukolimirwa. 13 (L)Ndibonereza abo ababeera mu Misiri, bafe ekitala, n’enjala ne kawumpuli, nga bwe nabonereza Yerusaalemi. 14 (M)Tewali n’omu ku baasigalawo mu Yuda eyaddukira e Misiri, aliwona oba alisigalawo okudda mu nsi ya Yuda, gye beegomba okudda, tewali aliddayo okuggyako abatono ennyo.”

15 Awo abasajja bonna abaali bamanyi nga bakazi baabwe baali bootereza bakatonda abalala obubaane, n’abakazi abalala abaaliwo, olukuŋŋaana nga lunene n’abantu bonna abaali babeera mu Misiri e Pasuloosi, ne baddamu Yeremiya nga boogera nti, 16 (N)“Tetujja kuwulira bubaka bw’oyogedde naffe mu linnya lya Mukama! 17 (O)Tujja kukola byonna bye twagambye okukola. Tujja kwotereza kabaka omukazi ow’eggulu obubaane, tuweeyo n’ebiweebwayo ebyokunywa nga bwe twakolanga, ffe ne bakitaffe, ne bakabaka baffe n’abakungu baffe mu bibuga bya Yuda ne mu nguudo z’e Yerusaalemi. Mu biseera ebyo twalina emmere nnyingi era nga tuli bulungi nga tetutuukibwako kabi. 18 (P)Naye okuva lwe twalekeraawo okwotereza kabaka omukazi ow’eggulu obubaane, n’okumuwa ekiweebwayo ekyokunywa, tetubadde na kantu konna era tubadde tuzikirira n’ekitala n’enjala.”

19 (Q)Abakazi ne bongerako nti, “Bwe twayotereza kabaka omukazi ow’eggulu obubaane ne tumuwa n’ekiweebwayo ekyokunywa, abaami baffe tebaamanya nti twali tumukolera obugaati obuliko ekifaananyi kye ne tumuwa n’ekiweebwayo ekyokunywa?”

20 Awo Yeremiya n’agamba abantu bonna, abasajja n’abakazi n’abantu bonna abaali bamuzzeemu nti, 21 (R)“Obubaane bwammwe bwe mwayotereza mu bibuga bya Yuda ne mu nguudo za Yerusaalemi, mmwe ne bakitammwe, ne bakabaka bammwe, n’abakungu n’abantu bonna mu nsi, ebyo Mukama si bye yajjukira n’alowoozaako? 22 (S)Mukama nga takyayinza kugumiikiriza bikolwa byammwe bibi n’eby’emizizo bye mwakola, ensi yammwe kyeyava efuuka ekikolimo n’ekyenyinyalwa era eteriimu bantu, nga bweri leero. 23 (T)Kubanga mwotereza obubaane abalala era ne mukola ebibi mu maaso ga Mukama Katonda ne mutamugondera wadde okugoberera amateeka ge oba ebiragiro bye oba bye yategeeza, emitawaana gibagidde nga kaakano bwe mulabye.”

24 (U)Awo Yeremiya n’agamba abantu bonna, ng’ogasseeko abakazi nti, “Muwulire ekigambo kya Mukama Katonda, abantu mwenna aba Yuda mu Misiri. 25 (V)Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, mmwe ne bakazi bammwe mulaze mu bikolwa byammwe ebyo bye mwasuubiza nti, ‘Tujja kukola nga bwe tweyama okwotereza kabaka omukazi ow’eggulu obubaane era n’okumuwa ekiweebwayo ekyokunywa.’

“Mugende mu maaso, mukole bye mwasuubiza! Mutuukirize obweyamo bwammwe! 26 (W)Naye muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe Abayudaaya mwenna abali mu Misiri. ‘Ndayira mu linnya lyange ekkulu,’ bw’ayogera Mukama nti, ‘Tewali n’omu ku abo abaava mu Yuda ababeera mu Misiri, aliddayo okuyita erinnya lyange wadde okulayira nti, “Nga Mukama Katonda bw’ali omulamu.” 27 (X)Kubanga mbawaddeyo eri akabi, si lwa bulungi; Abayudaaya abali mu Misiri balimalibwawo n’ekitala n’enjala okutuusa bonna lwe baliggwaawo. 28 (Y)Abo abaliwona ekitala ne baddayo mu Yuda okuva e Misiri baliba batono nnyo. Olwo abalisigalawo bonna okuva mu Yuda abajja okubeera mu Misiri, balitegeera ekigambo ekirikola, ekyange oba ekyabwe.

29 (Z)“ ‘Kano ke kanaabeera akabonero gye muli nti ndibabonerereza mu kifo kino,’ bw’ayogera Mukama, ‘Mulyoke mumanye nga okulabula kwange okw’okubabonereza kujja kutuukirira.’ 30 (AA)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Ŋŋenda kuwaayo Falaawo Kofera kabaka w’e Misiri eri abalabe be abanoonya okumutta, nga bwe n’awaayo Zeddekiya kabaka wa Yuda eri Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni, omulabe eyamunoonya okumutta.’ ”

Zabbuli 20-21

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

20 (A)Mukama akwanukulenga ng’oli mu buzibu.
    Erinnya lya Katonda wa Yakobo likukuumenga.
(B)Akuweerezenga obuyambi obuva mu kifo kye ekitukuvu;
    akudduukirirenga okuva ku lusozi Sayuuni.
(C)Ajjukirenga ssaddaaka zo zonna z’omuwa,
    era asiimenga ebiweebwayo byo ebyokebwa.
(D)Akuwenga omutima gwo bye gwetaaga,
    era atuukirizenga by’oteekateeka byonna.
(E)Tulijaganya olw’obuwanguzi bwo,
    ne tuwuuba ebendera zaffe mu linnya lya Katonda waffe.

Mukama akuwenga byonna by’omusaba.

(F)Kaakano ntegedde nga Mukama awanguza oyo gwe yafukako amafuta,
    amwanukula ng’amuwa obuwanguzi n’omukono gwe ogwa ddyo,
    ng’asinziira mu ggulu lye ettukuvu.
(G)Abamu beesiga amagaali, n’abalala beesiga embalaasi,
    naye ffe twesiga erinnya lya Mukama Katonda waffe.
(H)Batalantuka ne bagwa wansi ne balemerawo,
    naye ffe tugolokoka ne tuyimirira nga tuli banywevu.
(I)Ayi Mukama, lokola kabaka,
    otwanukule bwe tukukoowoola.

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

21 (J)Ayi Mukama, kabaka ajaguliza mu maanyi go.
    Obuwanguzi bw’omuwadde nga bumuleetedde essanyu lingi!

(K)Omuwadde omutima gwe bye gwetaaga,
    era buli ky’asabye n’akamwa ke tokimummye.
(L)Ddala ddala wamwaniriza n’emikisa gyo egijjudde ebirungi,
    n’omutikkira engule eya zaabu omuka ennyo ku mutwe gwe.
(M)Yakusaba obulamu, era n’obumuwa,
    ennaku ennyingi ez’emirembe n’emirembe.
(N)Obuwanguzi bwe wamuwa bumuleetedde ekitiibwa kinene.
    Omuwadde ekitiibwa n’oyatiikirira.
(O)Ddala omuwadde emikisa gyo egy’olubeerera,
    n’omujjuza essanyu ng’oli naye buli kiseera.
Kubanga kabaka yeesiga Mukama,
    era olw’okwagala okutaggwaawo okw’oyo Ali Waggulu Ennyo,
    kabaka tagenda kunyeenyezebwa.

(P)Omukono gwo guliwamba abalabe bo bonna;
    omukono gwo ogwa ddyo gulikwata abo abakukyawa.
(Q)Bw’olirabika, Ayi Mukama,
    olibasiriiza n’omuliro ng’ogw’omu kyoto ekyengeredde.
Mukama, ng’ajjudde obusungu, alibamira bonna,
    era alibamalirawo ddala.
10 (R)Olizikiriza ezzadde lyabwe ku nsi,
    n’abaana baabwe bonna n’obamalawo mu baana b’abantu.
11 (S)Newaakubadde nga bakusalira enkwe,
    ne bateekateeka ebikolwa ebibi, kyokka tewali kye basobola kutuukiriza.
12 (T)Balikyuka ne bakudduka bwe baliraba
    ng’obaleezeemu omutego gwo ogw’obusaale.

13 Ogulumizibwenga, Ayi Mukama, mu maanyi go.
    Tunaayimbanga nga tutendereza obuyinza bwo.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.