Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

M’Cheyne Bible Reading Plan

The classic M'Cheyne plan--read the Old Testament, New Testament, and Psalms or Gospels every day.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
1 Samwiri 4

Abafirisuuti Bawamba Essanduuko ya Katonda

(A)Awo ekigambo kya Samwiri ne kibuna Isirayiri yenna.

Mu biro ebyo Abayisirayiri ne balumba Abafirisuuti, Abayisirayiri ne basiisira okumpi ne Ebenezeri, ate nga Abafirisuuti bo basiisidde mu Afeki. Abafirisuuti ne basimba ennyiriri okulumba Abayisirayiri ne bayungula eggye lyabwe okulumba; olutalo bwe lwanyiinyiitira, Abayisirayiri ne bawangulibwa, era enkumi nnya ku bo ne battibwa. (B)Abalwanyi bwe baddayo mu nkambi, abakadde ba Isirayiri ne beebuuzaganya nti, “Lwaki Mukama alese Abafirisuuti okutuwangula leero? Tuleete essanduuko ya Mukama ey’endagaano okuva e Siiro, tugende nayo etuwonye amaanyi g’abalabe baffe.”

(C)Awo abantu ne batuma abasajja e Siiro, ne baggyayo essanduuko ey’endagaano ya Mukama Ayinzabyonna, atudde ku ntebe ye ey’obwakabaka wakati mu bakerubi. Batabani ba Eri bombi, Kofuni ne Finekaasi nabo ne bagenda n’essanduuko ya Katonda ey’endagaano.

(D)Essanduuko ya Mukama ey’endagaano bwe yatuuka mu nkambi ey’Abayisirayiri, bonna ne baleekaanira waggulu mu ddoboozi ery’omwanguka, n’ettaka ne liyuuguuma. Awo Abafirisuuti bwe baawulira oluyoogaano ne beebuuza nti, “Oluyoogaano olwo lwonna mu nkambi ey’Abaebbulaniya lutegeeza ki?”

Bwe baategeera nti essanduuko ya Mukama ereeteddwa mu nkambi, (E)Abafirisuuti ne batya. Ne boogera nti, “Lubaale azze mu nkambi. Tufudde! Tewabangawo kigambo ekifaanana bwe kityo. Zitusanze! Ani ayinza okutuwonya balubaale[a] bano ab’amaanyi? Bano be balubaale abaabonyaabonya Abamisiri n’endwadde n’ebibonoobono ebya buli ngeri mu ddungu. (F)Abafirisuuti, mugume omwoyo, mube basajja. Bwe kitaabe bwe kityo munaaba baddu b’Abaebbulaniya nga bo bwe babadde abaweereza bammwe. Mube basajja mulwane.”

10 (G)Abafirisuuti ne beerwanako ne bawangula Abayisirayiri. Buli Muyisirayiri n’addukira mu nsiisira ye. Ne waba okuttibwa kunene nnyo, Abayisirayiri ne bafiirwa abaserikale abaatambuzanga ebigere emitwalo esatu. 11 (H)Essanduuko ya Katonda n’ewambibwa, era ne batabani ba Eri bombi, Kofuni ne Finekaasi ne battibwa.

Okufa Kwa Eri

12 (I)Olunaku lwe lumu ne wabaawo omusajja Omubenyamini eyava mu lutalo n’adduka okutuuka e Siiro, ng’ayuzizza engoye ze n’omutwe gwe nga gujjudde enfuufu. 13 (J)Bwe yatuuka, Eri yali atudde mu ntebe ye ku mabbali g’ekkubo ng’atunula, nga yeeraliikiridde olw’essanduuko ya Katonda. Omusajja bwe yatuuka mu kibuga n’asaasaanya amawulire ku ebyo ebibaddewo, ekibuga kyonna ne kikuba ebiwoobe.

14 Eri bwe yawulira oluyoogaano n’abuuza nti, “Oluyoogaano luno luva ku ki?”

Omusajja n’ayanguwa n’atuuka awaali Eri n’amutegeeza. 15 (K)Eri yali aweza emyaka egy’obukulu kyenda mu munaana, amaaso ge nga gayimbadde, era nga n’okulaba takyalaba. 16 Omusajja oyo n’ategeeza Eri nti, “Naakava mu lutalo, era nziruseeyo leero.”

Eri n’amubuuza nti, “Bigenze bitya mwana wange?” 17 Omusajja eyaleeta amawulire n’amuddamu nti, “Isirayiri edduse Abafirisuuti, era eggye lyaffe lifiiriddwa abalwanyi bangi. Ate ne batabani bo bombi Kofuni ne Finekaasi battiddwa, era n’essanduuko ya Katonda ewambiddwa.”

18 (L)Olwayogera ku ssanduuko ya Katonda, Eri n’asirituka okuva ku ntebe ye n’agwa okumpi n’omulyango. Ensingo ye n’emenyeka n’afiirawo kubanga yali musajja mukadde nnyo ate nga n’obuzito muzito. Yali akulembedde Isirayiri okumala emyaka amakumi ana.

19 Mu kiseera ekyo muka mwana we, Finekaasi, yali lubuto era ng’anaatera okuzaala. Bwe yawulira amawulire nti Essanduuko ya Katonda ewambiddwa era nti ne ssezaala we ne bba bafudde, n’alumwa era n’azaalirawo, kubanga obulumi bwamuyitirirako. 20 Omukazi oyo bwe yali ng’anaatera okufa, abamuzaalisa ne bamugamba nga boogera nti, “Totya, kubanga ozadde mulenzi.” Naye n’atabaanukula wadde okubassaako omwoyo.

21 (M)N’atuuma omwana erinnya Ikabodi, amakulu gaalyo nti, “Ekitiibwa kivudde ku Isirayiri,” kubanga essanduuko ya Katonda yali ewambiddwa ate nga ssezaala we ne bba bafudde. 22 N’ayogera nti, “Ekitiibwa kivudde ku Isirayiri kubanga essanduuko ya Katonda ewambiddwa.”

Abaruumi 4

Ibulayimu Yaweebwa Obutuukirivu lwa Kukkiriza

Kale kiki kye tunaayogera ku jjajjaffe Ibulayimu ku bikwata ku by’omubiri? (A)Singa Ibulayimu yaweebwa obutuukirivu lwa bikolwa, yandyenyumirizza, naye si eri Katonda. (B)Ebyawandiikibwa bitugamba bitya? Ibulayimu yakkiriza Katonda ne kimubalirwa okuba obutuukirivu.

(C)Omuntu bw’akola omulimu, asasulwa empeera ye. Empeera gy’aweebwa, teba kirabo. Katonda tayinza kukusembeza olw’ebikolwa byo. Katonda asembeza aboonoonyi olw’okukkiriza kwe balina mu ye. Kabaka Dawudi naye yayogera kye kimu ku muntu ono Katonda gw’awa obutuukirivu obutavudde mu bikolwa bye ng’agamba nti:

“Baweereddwa omukisa,
    abasonyiyiddwa ebyonoono byabwe,
    ne baggyibwako ebibi byabwe.
(D)Aweereddwa omukisa omuntu,
    Mukama gw’atalibalira kibi.”

(E)Kale omukisa guno, gw’abakomole bokka oba n’abatali bakomole? Ebyawandiikibwa bitugamba nti okukkiriza kwa Ibulayimu kwamubalirwa okuba obutuukirivu. 10 Kale, kwamubalirwa kutya? Ng’akomolebbwa oba nga tannakomolebwa? Nedda si ng’akomolebbwa naye nga tannakomolebwa. 11 (F)Akabonero ke yafuna ak’okukomolebwa, ye nvumbo ku butuukirivu olw’okukkiriza kwe, nga tannakomolebwa, alyoke abeere jjajja w’abo bonna abakkiriza nga si bakomole, nabo balyoke babalirwe obutuukirivu. 12 Ate era ye jjajja w’abantu bonna, abakomole, era abatambulira mu kkubo ery’okukkiriza, jjajjaffe Ibulayimu kwe yalina nga tannakomolebwa.

13 (G)Ibulayimu n’ezzadde lye tebaaweebwa kisuubizo eky’okulya ensi yonna, ng’omugabo gwe, lwa kukwata mateeka. Katonda, ensi yagimusuubiza lwa butuukirivu obwamuweebwa olw’okukkiriza. 14 (H)Kale obanga baweebwa obusika lw’amateeka, okukkiriza kuba tekugasa, era nga n’ekisuubizo tekirina makulu. 15 (I)Katonda anyiiga Amateeka ge bwe gatagonderwa. Naye bwe wataba mateeka, tewaba mateeka ga kujeemera.

16 (J)Noolwekyo ekisuubizo kijja lwa kukkiriza, kiryoke kiweebwe lwa kisa, eri ezzadde lyonna, so si ezzadde erigondera amateeka lyokka naye n’eri ezzadde erya Ibulayimu olw’okukkiriza; era oyo ye jjajjaffe ffenna. 17 (K)Kyawandiikibwa nti, “Nkufudde jjajja w’amawanga amangi.” Ye jjajjaffe mu maaso g’oyo gwe yakkiriza, Katonda azuukiza abafu, era alaba ebitaliiwo ng’ebiriwo, era atonda ebintu ebiggya.

18 (L)Katonda yasuubiza Ibulayimu abazzukulu bangi. Ne bwe kyalabika ng’ekitasoboka, Ibulayimu yalina okukkiriza mu Katonda, n’oluvannyuma n’abeera jjajja w’amawanga mangi, okusinziira ku ekyo ekyayogerwa nti, “Ezadde lyo bwe liriba.” 19 (M)Teyatendewererwa mu kukkiriza, newaakubadde nga yali wa myaka nga kikumi, nga n’omubiri gwe munafu nnyo, ate nga ne Saala mugumba. 20 (N)Teyabuusabuusa kisuubizo kya Katonda mu butakkiriza, naye yaweebwa amaanyi lwa kukkiriza; n’agulumiza Katonda. 21 (O)Yakakasiza ddala nti Katonda kye yasuubiza asobola okukituukiriza, 22 (P)era bwe kityo ne kimubalirwa okuba obutuukirivu. 23 Naye tekyawandiikibwa ku lulwe yekka nti, “Kyamubalirwa okuba obutuukirivu;” 24 (Q)naye era naffe, abakkiririza mu oyo eyazuukiza Yesu Mukama waffe mu bafu. 25 (R)Kristo yaweebwayo okuttibwa olw’ebibi byaffe, n’azuukizibwa tulyoke tuweebwe obutuukirivu.

Yeremiya 42

42 (A)Awo abaduumizi ba magye bonna, ng’ogasseeko Yokanaani mutabani wa Kaleya ne Yezaniya mutabani wa Kosaaya, n’abantu bonna okuva ku asokerwako wansi okutuuka ku akomererayo waggulu baatuukirira (B)nnabbi Yeremiya ne bamugamba nti, “Tukwegayiridde, wulira okusaba kwaffe osabe Mukama Katonda wo ku lw’abantu bano bonna abafisseewo. Kale naawe nga bw’olaba, abaali abangi kaakano tusigaddewo batono nnyo. (C)Saba Mukama Katonda wo atubuulire gye tusaanye okulaga ne kye tusaanye okukola.”

(D)Nnabbi Yeremiya n’abagamba nti, “Mbawulidde, ddala nzija kubasabira eri Mukama Katonda wammwe nga bwe munsabye; nzija kubabuulira byonna Mukama by’anaŋŋamba, sirina kye nnaabakisa.”

(E)Awo ne bagamba Yeremiya nti, “Mukama abeere omujulirwa ow’amazima era omwesigwa gye tuli, bwe tutalikola kyonna Mukama Katonda wo ky’anaakutuma okutugamba. (F)Oba kyangu oba kikalubo tujja kugondera Mukama Katonda waffe, gye tukutuma kaakano, tulyoke tufune emirembe, kubanga tujja kugondera Mukama Katonda waffe.”

Bwe waayitawo ennaku kkumi ekigambo kya Mukama ne kijjira Yeremiya. (G)N’alyoka ayita Yokanaani omwana wa Kaleya n’abaduumizi b’eggye lya Yuda bonna abaali naye, n’abantu bonna okuva ku asokerwako wansi okutuuka ku akomererayo waggulu. (H)N’abagamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri, gye mwantuma okubabuuliza nti, 10 (I)‘Bwe munaasigala mu nsi eno, nzija kubazimba era siibaleke kugwa. Nzija kubasimba so si kubasimbula, kubanga nnumiddwa olw’ekikangabwa kye mbatuusizzaako. 11 (J)Temutya kabaka w’e Babulooni, kaakano gwe mutya. Temumutya, bw’ayogera Mukama, kubanga ndi nammwe era nzija kubalokola, mbanunule mu mukono gwa kabaka oyo. 12 (K)Nzija kubalaga ekisa alyoke abakwatirwe ekisa, abakomyewo mu nsi yammwe.’

13 (L)“Wabula bwe mugamba nti, ‘Tetuusigale mu nsi eno gye mbakomezzaamu,’ olwo munaaba temugondedde Mukama Katonda wammwe. 14 (M)Bwe mugamba nti, ‘Nedda, tujja kugenda tubeere e Misiri, gye tutaalabe ntalo wadde okuwulira ekkondeere nga livuga oba okubulwa omugaati ogw’okulya,’ 15 kale nno muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe abaasigalawo mu Yuda. Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Bwe munaamalirira okugenda e Misiri era ne mugenda okubeererayo ddala, 16 (N)olwo ekitala kye mutya kijja kubasanga eyo, n’enjala gye mutya ejja kubagoberera e Misiri era eyo gye mulifiira. 17 (O)Mumanyire ddala nti, Abo bonna abamaliridde okugenda e Misiri okusenga eyo balifa kitala, n’enjala ne kawumpuli; tewaliba n’omu alisigalawo wadde okuwona ekikangabwa kye ndibaleetako.’ 18 (P)Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Ng’obusungu bwange n’ekiruyi bwe bifukiddwa ku abo abali mu Yerusaalemi, bwe kityo ekiruyi kyange bwe kinaafukibwa ku mmwe bwe munaagenda e Misiri. Munaabeera kya kukolimirwa, era kya ntiisa, era kya kusalirwa musango era kivume: temuliraba kifo kino nate.’

19 (Q)“Mmwe abafisseewo ku Yuda, Mukama abagambye nti, ‘Temugenda Misiri.’ Mumanye kino nga mbalabula leero 20 (R)nti, Mwakola ekisobyo kinene bwe mwantuma eri Mukama Katonda wammwe ne mugamba nti, ‘Tusabire eri Mukama Katonda waffe: tubuulire byonna by’agamba tujja kubikola.’ 21 (S)Mbabuulidde leero, naye era temugondedde Mukama Katonda wammwe mu byonna bye yantuma okubagamba. 22 (T)Kale nno mutegeerere ddala kino nga mulittibwa na kitala, oba njala oba kawumpuli mu nsi gye mwagala okugenda okusengamu.”

Zabbuli 18

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi gye yayimbira Mukama bwe yamuwonya abalabe be ne Sawulo.

18 Nkwagala Ayi Mukama kubanga ggwe maanyi gange.

(A)Mukama lwe lwazi lwange, ky’ekigo kyange ekigumu era ye mununuzi wange,
    ye Katonda wange era lwe lwazi lwange mwe neekweka;
    ye ngabo yange era ye mulokozi wange ow’amaanyi, era kye kigo kyange ekinywevu.
(B)Nkoowoola Mukama asaana okutenderezebwa,
    era amponya eri abalabe bange.

(C)Emiguwa gy’okufa gyanneetooloola;
    embuyaga ez’okusaanawo zansaanikira.
(D)Ebisiba eby’amagombe byanneetooloola;
    n’emitego gy’okufa ne ginjolekera.
(E)Mu nnaku yange nakoowoola Mukama;
    ne nkaabirira Katonda wange annyambe.
Yawulira eddoboozi lyange ng’ali mu yeekaalu ye;
    omulanga gwange ne gutuuka mu matu ge.

(F)Emisingi gy’ensi ne gikankana ne giyuuguuma;
    ensozi ne zinyeenyezebwa ne ziseeseetuka,
    kubanga yali asunguwadde.
(G)Omukka ne gunyooka nga guva mu nnyindo ze.
    Omuliro ne guva mu kamwa ke,
    ne gukoleeza amanda ne gabuubuuka.
(H)Yayabuluza eggulu n’akka wansi;
    ebire ebikutte nga biri wansi w’ebigere bye.
10 (I)Yeebagala kerubi n’abuuka,[a]
    n’aseeyeeyeza ku biwaawaatiro by’empewo.
11 (J)Yafuula ekizikiza ekyamwetooloolanga
    okuba enkuufiira ey’ebire ebijjudde amazzi.
12 (K)Okumasamasa okwali mu maaso ge ne kuva mu bire bye,
    n’okumyansa kw’eggulu n’omuzira.
13 (L)Mukama yabwatuka ng’asinziira mu ggulu; oyo Ali Waggulu Ennyo yayogera;
    mu kamwa ke ne muvaamu omuzira n’okumyansa kw’eggulu.
14 (M)Yalasa obusaale bwe n’asaasaanya abalabe;
    n’okumyansa okw’eggulu n’abawangula.
15 (N)Ebiwonvu eby’omu nnyanja ne bibikkulwa
    n’emisingi gy’ensi ne gyeyerula
olw’okunenya kwo Ayi Mukama
    n’olw’okubwatuka kw’omukka ogw’omu nnyindo zo.

16 (O)Mukama yagolola omukono gwe ng’ali waggulu,
    n’ankwata n’annyinyulula mu mazzi amangi.
17 (P)Yamponya abalabe bange ab’amaanyi,
    abankyawa, abo abaali bansinza amaanyi.
18 (Q)Bannumba nga ndi mu buzibu,
    naye Mukama n’annyamba.
19 (R)N’antwala mu kifo ekigazi n’amponya,
    kubanga yansanyukira nnyo.
20 (S)Mukama ankoledde ng’obutuukirivu bwange bwe buli,
    ansasudde ng’ebikolwa byange ebirungi bwe biri.
21 (T)Kubanga ntambulidde mu makubo ga Mukama,
    ne sikola kibi eri Katonda wange.
22 (U)Ddala ddala amateeka ga Mukama gonna ngagondedde,
    era ne siva ku biragiro bye.
23 Sisobyanga mu maaso ge
    era nneekuuma obutayonoona.
24 (V)Noolwekyo, Mukama ansasudde ng’obutuukirivu bwange bwe buli,
    era ng’ebikolwa byange ebirungi bwe biri by’alaba.

25 (W)Eri omwesigwa weeraga ng’oli mwesigwa,
    n’eri atalina musango weeraga nga tolina musango.
26 (X)Eri abalongoofu weeraga ng’oli mulongoofu,
    n’eri abakyamu weeraga ng’obasinza amagezi.
27 (Y)Owonya abawombeefu,
    naye abeegulumiza obakkakkanya.
28 (Z)Okoleezezza ettaala yange;
    Ayi Mukama Katonda wange, ekizikiza kyange okimulisizza.
29 (AA)Bwe mbeera naawe nsobola okulumba abalabe bange;
    nga ndi ne Katonda wange nsobola okuwalampa bbugwe.

30 (AB)Katonda byonna by’akola bigolokofu;
    Mukama ky’asuubiza akituukiriza;
era bwe buddukiro
    bw’abo bonna abamwekwekamu.
31 (AC)Kale, ani Katonda, wabula Mukama?
    Era ani Lwazi, wabula Katonda waffe?
32 (AD)Oyo ye Katonda ampa amaanyi era aluŋŋamya ekkubo lyange.
33 (AE)Ebigere byange abinyweza ng’eby’empeewo,
    n’ansobozesa okuyimirira ku ntikko z’ensozi.
34 (AF)Anjigiriza okulwana entalo,
    ne nsobola n’okuleega omutego ogw’obusaale ogw’ekikomo.
35 (AG)Ompadde obulokozi bwo okuba engabo yange;
    era ompaniridde n’omukono gwo ogwa ddyo;
    weetoowazizza n’ongulumiza.
36 Ongaziyirizza ekkubo ebigere byange we biyita,
    obukongovvule bwange ne butanuuka.

37 (AH)Nagoba abalabe bange embiro,
    ne mbakwata ne sidda mabega okutuusa nga mbazikirizza.
38 (AI)Nababetenta ne batasobola na kugolokoka,
    ne mbalinnyako ebigere byange.
39 Ompadde amaanyi ag’okulwana;
    abalabe bange ne banvuunamira.
40 (AJ)Okyusizza abalabe bange ne bankuba amabega ne badduka,
    ne ndyoka nsanyaawo abo bonna abankyawa.
41 (AK)Baalaajana naye tewaali yabawonya;
    ne bakaabirira Mukama, naye n’atabaddamu.
42 Ne mbamerengula ng’enfuufu empewo gy’efuumuula;
    ne mbasammula eri ng’ebisooto by’omu luguudo.

43 (AL)Omponyezza obulumbaganyi bw’abantu;
    n’onfuula omufuzi w’amawanga.
    Abantu be nnali simanyi ne bafuuka abaweereza bange.
44 (AM)Olumpulira ne baŋŋondera,
    bannamawanga ne bajugumira mu maaso gange.
45 (AN)Bannamawanga baggwaamu omutima
    ne bava mu bigo byabwe nga bakankana.
46 (AO)Mukama mulamu! Atenderezebwe, Olwazi lwange;
    era agulumizibwe Katonda w’obulokozi bwange.
47 (AP)Ye Katonda, asasula ku lwange abankola obubi
    era akakkanya amawanga ne ngafuga.
    Amponyeza abalabe bange.
48 (AQ)Ayi Mukama, ongulumizizza okusinga abalabe bange,
    n’onkuuma abakambwe ne batankwatako.
49 (AR)Noolwekyo, Ayi Mukama, nnaakutenderezanga mu mawanga,
    era nnaayimbanga nga ntendereza erinnya lyo.
50 (AS)Awa kabaka obuwanguzi obw’amaanyi,
    amulaga ebyekisa emirembe gyonna oyo gwe yafukako amafuta,
    eri Dawudi n’eri ezzadde lye.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.