M’Cheyne Bible Reading Plan
Dawudi Asaasira Sawulo n’atamutta
24 (A)Awo Sawulo bwe yakomawo ng’ava okugoba Abafirisuuti, ne bamutegeeza nti, “Dawudi ali mu ddungu erya Engedi.” 2 (B)Sawulo n’alonda abasajja enkumi ssatu okuva mu Isirayiri yenna, n’agenda nabo okunoonya Dawudi n’abasajja be, ku luuyi olw’enjazi embulabuzi gye Zaabeeranga.
3 (C)Sawulo n’atuuka okumpi n’awaali ebisibo by’endiga ebyali ku mabbali g’ekkubo, n’alaba empuku, n’ayingira omwo okuwummulako. Dawudi n’abasajja be baali mu mpuku omwo mu bifo ebikomererayo. 4 (D)Awo abasajja ba Dawudi ne bamugamba nti, “Luno lwe lunaku Mukama lwe yayogerako bwe yagamba nti, ‘Ndiwaayo omulabe wo mu mukono gwo, omukole nga bw’osiima.’ ” Dawudi n’asooba mpola n’asala ku kirenge ky’ekyambalo kya Sawulo.
5 (E)Naye oluvannyuma Dawudi n’awulira okulumirizibwa mu mutima olw’okusala ku kirenge ky’ekyambalo kya Sawulo. 6 (F)N’agamba abasajja be nti, “Kikafuuwe, nze okukola mukama wange ekintu ekifaanana bwe kityo, Mukama gwe yafukako amafuta, wadde okumugololerako omukono, kubanga Mukama yamufukako amafuta.” 7 N’ebigambo ebyo Dawudi n’aziyiza abasajja be n’atabakkiriza kulumba Sawulo. Awo Sawulo n’ava mu mpuku, n’agenda.
8 (G)Oluvannyuma, Dawudi naye n’afuluma empuku, n’akoowoola Sawulo ng’ayogera nti, “Mukama wange kabaka!” Awo Sawulo n’akyuka n’atunula emabega, Dawudi n’avuunama n’akka wansi ne yeeyala ku ttaka. 9 Dawudi n’agamba Sawulo nti, “Lwaki owuliriza eŋŋambo z’abantu aboogera nti, ‘Dawudi amaliridde okukukola akabi?’ 10 Leero okirabye n’amaaso go, Mukama bw’akumpadde mu mukono gwange ng’oli mu mpuku. Wabaddewo ababadde banneegayirira nkutte, naye ne sibawuliriza. Nagambye nti, ‘Sijja kugolola mukono gwange ku mukama wange, kubanga Mukama yamufukako amafuta.’ 11 (H)Kitange laba, akatundu ke naggye ku kirenge ky’ekyambalo kyo. Nasaze busazi ku kyambalo kyo naye ne sikutta. Kaakano kitegeere era okimanye nga sikusobyanga newaakubadde okukujeemera. Sinnakusobya newaakubadde ng’onjigganya okunzita. 12 (I)Mukama alamule wakati wange naawe. Mukama akusasule ng’ebikolwa ebibi byonna by’onkoze bwe biri, naye nze siriyimusa mukono gwange ku ggwe. 13 (J)Ng’olugero olw’ab’edda bwe baalugera nti, ‘Mu babi mwe muva akabi,’ kyendiva sikuyimusiza mukono gwange. 14 (K)Kabaka wa Isirayiri ajjiridde ani? Ani gw’oyigganya? Mbwa nfu oba nkukunyi? 15 (L)Mukama atulamule, asalewo wakati wo nange. Mukama atunuulire ensonga yange andokole mu mukono gwo.”
16 (M)Awo Dawudi bwe yamala okwogera ebigambo ebyo, Sawulo n’abuuza nti, “Eryo ddoboozi lyo, Dawudi mutabani wange?” Sawulo n’akuba ebiwoobe. 17 (N)N’agamba Dawudi nti, “Ggwe oli mutuukirivu okunsinga, kubanga onsasudde bulungi, newaakubadde nga nze nkuyisizza bubi. 18 (O)Leero ontegeezezza bw’onkoze obulungi, bw’otanzise ate nga Mukama yampaddeyo mu mukono gwo. 19 Omuntu bw’asiŋŋaana omulabe we, ayinza okumuganya okugenda nga tamutuusizzaako bisago? Kale Mukama akusasule bulungi olw’ekikolwa ky’onkoze leero. 20 (P)Kaakano ntegeeredde ddala ng’onoobeera kabaka, era n’obwakabaka bwa Isirayiri bulinywezebwa mu mukono gwo. 21 (Q)Kale nno ndayirira eri Mukama, nga tolizikiriza bazzukulu bange newaakubadde okusaanyaawo erinnya lyange mu nnyumba ya kitange.”
22 (R)Awo Dawudi n’alayirira Sawulo. Sawulo n’addayo ewuwe, naye Dawudi ne basajja be ne baddayo mu kifo gye baali beekwese.
Okugoba owooluganda ow’empisa embi
5 (A)Twategeezebwa nga mu mmwe mulimu obwenzi, ate obwenzi obutali na mu baamawanga, kubanga omuntu atwala muka kitaawe n’amufuula mukazi we. 2 (B)Mwekuluntazizza mu kifo ky’okwewombeeka. Oyo akola ekikolwa ng’ekyo eky’okwekuluntaza, tasaanye kuggyibwamu mu mmwe? 3 (C)Nze newaakubadde nga siri eyo nammwe mu mubiri, naye nga bwe ndi nammwe mu mwoyo, omuntu eyakola ekyo mmaze okumusalira omusango okumusinga. 4 Mu linnya lya Mukama waffe Yesu, mukuŋŋaane nga nange ndi nammwe mu mwoyo n’amaanyi ga Mukama waffe Yesu nga gali nammwe. 5 (D)Omuntu ng’oyo mumuweeyo eri Setaani omubiri gwe guzikirizibwe, omwoyo gwe gulyoke gulokolebwe ku lunaku lwa Mukama waffe.
6 (E)Okwenyumiriza kwammwe si kulungi. Temumanyi ng’ekizimbulukusa ekitono kizimbulukusa ekitole kyonna? 7 (F)Muggyeemu ekizimbulukusa eky’edda, mulyoke mubeere ekitole ekiggya, nga temuliimu kizimbulukusa; kubanga Kristo ye ndiga eyaweebwayo ng’ekiweebwayo eky’Okuyitako ku lwaffe. 8 (G)Noolwekyo tulye embaga si na kizimbulukusa eky’edda, newaakubadde ekizimbulukusa eky’ettima n’ekibi, naye tugirye n’omugaati ogutaliimu kizimbulukusa nga gulimu obulongoofu n’amazima.
9 (H)Mbawandiikira nga mbalabula obutegattanga na benzi, 10 (I)so si okwewala abenzi ab’ensi eno, oba aboomululu, oba abakumpanya, oba abasinza bakatonda abalala, kubanga kyandibagwanidde mmwe okuva mu nsi. 11 (J)Naye kaakano mbawandiikira nga mbategeeza nti mwewale omuntu yenna ayitibwa owooluganda ng’ate mwenzi, owoomululu, asinza bakatonda abalala, oba omuvumi, oba omutamiivu oba omukumpanya. Ab’engeri eyo n’okulya temulyanga nabo.
12 (K)Kale nze nfaayo ki okusalira ab’ebweru omusango? Lwaki sisalira abo abali mu mmwe? 13 (L)Naye ab’ebweru Katonda ye abasalira. Omubi oyo ali mu mmwe mumuggyeemu.
3 Awo n’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, lya ekiri mu maaso go, lya omuzingo gw’empapula guno; oluvannyuma ogende oyogere eri ennyumba ya Isirayiri.” 2 Ne njasama, n’ampa omuzingo gw’empapula ne ngulya.
3 (A)N’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, lya omuzingo gw’empapula gwe nkuwa, ojjuze olubuto lwo.” Ne ngulya, ne guwoomerera ng’omubisi gw’enjuki.
4 Oluvannyuma n’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, kaakano laga eri ennyumba ya Isirayiri oyogere ebigambo byange gye bali. 5 (B)Sikutuma eri eggwanga eririna enjogera etategeerekeka era abalina olulimi oluzibu, b’otayinza kutegeera mu njogera, naye eri ennyumba ya Isirayiri, 6 (C)so si eri abantu abangi abalina enjogera etategeerekeka era abalina olulimi oluzibu, b’otayinza kutegeera bye bagamba. Mazima singa nakutuma gye bali, bandikuwulirizza. 7 (D)Naye ennyumba ya Isirayiri si beetegefu kukuwuliriza kubanga si beetegefu kumpuliriza; era ennyumba ya Isirayiri yonna balina ekyenyi kikalubo n’emitima mikakanyavu. 8 (E)Naye naawe ndikufuula omukalubo era omukakanyavu mu mutima nga bo. 9 (F)Ndifuula ekyenyi kyo okuba ng’ejjinja erikaluba ennyo, erikaluba ng’ejjinja ery’embaalebaale. Tobatya so totiisibwatiisibwa, newaakubadde nga nnyumba njeemu.” 10 N’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, wuliriza bulungi era okwate ebigambo byonna bye njogera naawe. 11 (G)Genda kaakano eri abantu bo, mu buwaŋŋanguse, oyogere nabo. Bagambe nti, Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda, obanga banaawulira, obanga tebaawulire.”
12 (H)Awo Omwoyo n’ansitula, ne mpulira emabega wange eddoboozi ng’okuwuluguma okunene nga lyogera nti, “Ekitiibwa kya Mukama kyebazibwe mu kifo gy’abeera.” 13 (I)Okuwuuma okw’ebiwaawaatiro by’ebiramu nga bikuubagana, n’okuwuuma kwa zinnamuziga ku mabbali gaabyo kwali ng’okuwuluguma okw’amaanyi. 14 Omwoyo n’ansitula n’antwala, ne ŋŋendera mu buyinike ne mu busungu, ng’omukono gwa Mukama ogw’amaanyi guli ku nze. 15 (J)Ne ntuuka mu kifo ekimu awaali abawaŋŋanguse e Terabibu ku mugga Kebali, ne ntuula mu bo okumala ennaku musanvu, nga nsamaaliridde.
Okulabula Isirayiri
16 (K)Oluvannyuma lw’ennaku omusanvu ekigambo kya Mukama ne kinzijira: 17 (L)“Omwana w’omuntu, nkufudde omukuumi w’ennyumba ya Isirayiri, era buli lw’onoowuliranga ekigambo kye nnaayogeranga, balabulenga. 18 (M)Bwe ŋŋamba atali mutuukirivu nti, ‘Mazima tolirema kufa,’ n’otamulabula newaakubadde okwogera naye ng’omulabula alekeyo engeri ze ezitali za butuukirivu asobole okuwonya obulamu bwe, omuntu oyo atali mutuukirivu alifa olw’obutali butuukirivu bwe, naye omusaayi gwe ndiguvunaana ggwe. 19 (N)Naye bw’olirabula omuntu atali mutuukirivu, n’atalekaayo obutali butuukirivu, newaakubadde engeri ze embi, alifa olw’ekibi kye, naye obulamu bwo bulilokolebwa.
20 (O)“Ate era bw’alireka ebikolwa bye eby’obutuukirivu n’akola ebibi, ne nteeka enkonge mu maaso ge, alifa. Olw’okubanga tewamulabula, alifa olw’ekibi kye. Ebikolwa eby’obutuukirivu bye yakola tebirijjukirwa, era ndikuvunaana olw’omusaayi gwe. 21 (P)Kyokka bw’olabulanga omutuukirivu obutayonoona, n’atayonoona, ddala ddala aliba mulamu kubanga yawulira okulabula kwo, era naawe oliba weerokodde.”
22 (Q)Omukono gwa Mukama gw’andiko eyo, n’aŋŋamba nti, “Golokoka olage ku ttale, era eyo gye nnaayogerera naawe.” 23 (R)Ne nsituka ne ndaga ku ttale. Ekitiibwa kya Mukama kyaliwo, nga kifaanana ekitiibwa kye nalaba ku Mugga Kebali; ne neeyala wansi.
24 (S)Awo Omwoyo n’anzikako, n’annyimusa okuva we nnali, n’aŋŋamba nti, “Genda weggalire mu nnyumba yo. 25 (T)Ggwe omwana w’omuntu balikusiba emiguwa, n’olemwa okugenda okulaba abantu bo. 26 (U)Ndiziba akamwa ko, n’osirikira ddala, n’olema okubanenya, newaakubadde nga nnyumba njeemu. 27 (V)Kyokka bwe ndyogera gy’oli, ndizibula akamwa ko era olibagamba nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Ayinzabyonna.’ Aliwuliriza kale aliwuliriza, n’oyo aligaana okuwuliriza naye muleke agaane okuwuliriza; nnyumba njeemu.”
Ya Mukulu wa Bayimbi: Ya Yedusuni. Zabbuli ya Dawudi.
39 (A)Nagamba nti, “Nneekuumanga mu bye nkola,
n’olulimi lwange lulemenga okwogera ebitali birongoofu.
Abakola ebitali bya butuukirivu bwe banaabanga awamu nange
nnaabuniranga bubunizi ne soogera.”
2 (B)Naye bwe nasirika
ne sibaako kye njogedde wadde ekirungi,
ate obuyinike bwange ne bweyongera.
3 Omutima gwange ne gumbabuukirira munda yange.
Bwe nnali nkyakifumiitirizaako, omuliro ne gukoleera munda yange;
kyenava njogera nti:
4 (C)“Ayi Mukama, ntegeeza entuuko zange nga bwe ziriba,
n’ennaku ze nsigazza;
ommanyise ebiseera byange mu bulamu buno bwe biri ebimpi ennyo.”
5 (D)Ennaku z’obulamu bwange wazitegeka ziri ng’oluta.
Obungi bw’emyaka gyange tobulabamu kantu.
Buli muntu, mukka bukka.
6 (E)Ddala ddala omuntu ku nsi ali ng’ekisiikirize.
Atawaana mu kino ne mu kiri, naye byonna butaliimu.
Akuŋŋaanya obugagga, so nga tamanyi agenda kubutwala.
7 (F)Naye kaakano, Ayi Mukama, nnoonya ki? Essuubi lyange liri mu ggwe.
8 (G)Ondokole mu bibi byange byonna,
abasirusiru baleme okunsekerera.
9 (H)Nasirika busirisi, saayasamya kamwa kange;
kubanga kino ggwe wakikola.
10 (I)Olekere awo okunkuba,
emiggo gy’onkubye giyitiridde!
11 (J)Onenya omuntu ng’omukangavvula olw’ekibi kye ky’akola,
omumaliramu ddala ensa, ng’ennyenje bw’ekola olugoye.
Ddala omuntu mukka bukka.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.