Yeremiya 15:16
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
16 (A)Ebigambo byo bwe byanzijira, ne mbirya,
byali ssanyu era okujaguza kw’omutima gwange.
Kubanga mpitibwa linnya lyo,
Ayi Mukama Katonda ow’Eggye.
Zabbuli 19:10
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
10 (A)Ebyo byonna bisaana okuyaayaanirwa okusinga zaabu,
okusingira ddala zaabu ennungi ennyo.
Biwoomerera okusinga omubisi gw’enjuki,
okusukkirira omubisi gw’enjuki ogutonnya nga guva mu bisenge byagwo.
Okubikkulirwa 10:9-10
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
9 (A)Ne ŋŋenda eri malayika ne mugamba ampe omuzingo gw’ekitabo ogwo omutono. N’aŋŋamba nti, “Gutwale ogulye; mu kamwa ko guliwoomerera ng’omubisi gw’enjuki, naye guligulumbya olubuto lwo.” 10 Ne nziggya omuzingo ogwo omutono mu mukono gwa malayika ne ngulya, ne gumpomera ng’omubisi gw’enjuki, naye bwe nagumira ne gugulumbya olubuto lwange.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.