Add parallel Print Page Options

10 (A)Eno y’endagaano yange naawe n’ezzadde lyo eririddawo, gy’onookuumanga: Buli musajja mu mmwe anaakomolebwanga.

Read full chapter

11 (A)Munaakomolebwanga ekikuta eky’omubiri gwammwe, ekyo kibeere akabonero ak’endagaano yange naawe.

Read full chapter

16 (A)Noolwekyo ekisuubizo kijja lwa kukkiriza, kiryoke kiweebwe lwa kisa, eri ezzadde lyonna, so si ezzadde erigondera amateeka lyokka naye n’eri ezzadde erya Ibulayimu olw’okukkiriza; era oyo ye jjajjaffe ffenna. 17 (B)Kyawandiikibwa nti, “Nkufudde jjajja w’amawanga amangi.” Ye jjajjaffe mu maaso g’oyo gwe yakkiriza, Katonda azuukiza abafu, era alaba ebitaliiwo ng’ebiriwo, era atonda ebintu ebiggya.

Read full chapter

(A)Yesu n’amugamba nti, “Olwa leero obulokozi buzze mu nnyumba muno, kubanga omusajja ono naye muzzukulu wa Ibulayimu.

Read full chapter

22 (A)Obutuukirivu bwa Katonda butuweebwa olw’okukkiriza Yesu Kristo. Katonda tasosola.

Read full chapter