Add parallel Print Page Options

16 (A)n’amugamba nti, “Nze Mukama neerayiridde, nga bw’okoze kino, n’otonnyima mwana wo omu yekka bw’ati,

Read full chapter

Katonda bye Yayogera Bituukirira

48 (A)“Muwulire kino, mmwe ennyumba ya Yakobo,
    abayitibwa erinnya lya Isirayiri,
    era abaava mu nda ya Yuda.
Mmwe abalayirira mu linnya lya Mukama,
    era abaatula Katonda wa Isirayiri,
    naye si mu mazima wadde mu butuukirivu.

Read full chapter

Obukakafu bw’ebisuubizo bya Katonda

13 (A)Katonda bwe yasuubiza Ibulayimu, nga bwe wataali mulala gw’ayinza kwerayirira amusinga, yeerayirira yekka. 14 (B)Yalayira ng’agamba nti, “Ndikuweera ddala omukisa, era n’okukwaza nnaakwazanga.” 15 (C)Bw’atyo Ibulayimu bwe yalindirira n’obugumiikiriza, n’aweebwa ekyasuubizibwa.

16 (D)Abantu balayira omuntu abasinga obukulu, ku nkomerero kye balayidde kye kisalawo. 17 (E)Ne Katonda bw’atyo, kyeyava ateekawo ekirayiro ng’ayagala okukakasiza ddala abasika b’ekisuubizo nti talijjulula ekyo kye yasuubiza.

Read full chapter

40 Ngolola omukono gwange eri eggulu ne nangirira nti,
    ddala ddala nga bwe ndi omulamu emirembe gyonna

Read full chapter

16 (A)Naye omubi Katonda amugamba nti,

“Lekeraawo okwatulanga amateeka gange,
    n’endagaano yange togyogerangako.

Read full chapter