Add parallel Print Page Options

(A)Ddamu amaanyi era beera muzira, byonna by’okola obyesigamye ku mateeka omuweereza wange Musa ge yakulagira; togaviirangako ddala, oleme okukyama ku mukono ogwa ddyo oba ogwa kkono olyoke obenga omuwanguzi buli gy’onoogendanga.

Read full chapter

(A)“Naye ggwe oba batabani bo bwe munanjeemeranga ne mutakwatanga biragiro byange n’amateeka ge mbawadde, ne mutanula okuweereza bakatonda abalala, (B)kale ndiggya ku Isirayiri ensi gye mbawadde era ne yeekaalu gye ntukuzizza n’erinnya lyange ndigireka. Olwo Isirayiri erifuuka eky’okunyoomoolwa n’ekyokusekererwa mu mawanga gonna. (C)Newaakubadde nga yeekaalu eno eyatiikirira kaakano, buli anaayitangawo aneewunyanga n’aŋŋoola ng’agamba nti, ‘Kiki ekireetedde Mukama okukola ekintu bwe kiti ku nsi eno ne ku yeekaalu eno?’ Abantu baliddamu nti, ‘Kubanga baava ku Mukama Katonda waabwe, eyaggya bajjajjaabwe mu Misiri, ne basembeza bakatonda abalala, n’okubasinza ne babasinza era n’okubaweereza ne babaweereza. Mukama kyavudde ababonereza mu ngeri eyo.’ ”

Read full chapter