Menu
Bible Gateway Plus logo
Bible Gateway logo
account
Start your day in Scripture. Get the Verse of the Day by email.
Bible Gateway Plus logo
Bible Gateway logo
One verse. Every morning. Sign up.
  • Read
    • Reading Plans
    • Advanced Search
    • Available Versions
    • Audio Bibles
  • Study
    • Scripture Engagement
    • More Resources
  • News
  • Explore
    • Newsletters
    • Devotionals
    • Bible Gateway App
    • Bible Audio App
    • Take a Tour
  • Store
    • Bibles
    • Deals
    • More
  • Bible Gateway Plus
LCB
Version
Bible Books Bible Books
LCB
Version
Read
Study
News
Explore
Store
Bible Gateway Plus
Light Mode Dark Mode
Font Size
Log In show menu
Previous Next
Print PrintSettingsSettingsShare ShareParallelParallelExpandExpandCollapse

1 Bassekabaka 9  Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya

Mukama Alabikira Sulemaani

9 (A)Awo Sulemaani bwe yamala okuzimba yeekaalu ya Mukama n’olubiri lwe, n’okuzimba ebyo byonna bye yasiima, 2 (B)Mukama n’amulabikira omulundi ogwokubiri, nga bwe yamulabikira e Gibyoni. 3 (C)Mukama n’amugamba nti,

“Mpulidde okusaba n’okwegayirira kw’owaddeyo gye ndi; ntukuzizza yeekaalu eno gy’ozimbye, n’erinnya lyange, emirembe gyonna. Amaaso gange n’omutima gwange binaabeeranga omwo.

4 (D)“Naawe bw’onootambuliranga mu maaso gange n’omutima ogw’amazima n’obugolokofu, nga Dawudi kitaawo bwe yakola, era n’okolanga bye nkulagira byonna, n’okwatanga amateeka gange, 5 (E)nnaanyweza entebe yo ey’obwakabaka mu Isirayiri emirembe gyonna, nga bwe nasuubiza Dawudi kitaawo bwe n’ayogera nti, ‘Tolirema kuba na musajja ow’omu lulyo lwo anaatuulanga ku ntebe ey’obwakabaka bwa Isirayiri.’

6 (F)“Naye ggwe oba batabani bo bwe munanjeemeranga ne mutakwatanga biragiro byange n’amateeka ge mbawadde, ne mutanula okuweereza bakatonda abalala, 7 (G)kale ndiggya ku Isirayiri ensi gye mbawadde era ne yeekaalu gye ntukuzizza n’erinnya lyange ndigireka. Olwo Isirayiri erifuuka eky’okunyoomoolwa n’ekyokusekererwa mu mawanga gonna. 8 (H)Newaakubadde nga yeekaalu eno eyatiikirira kaakano, buli anaayitangawo aneewunyanga n’aŋŋoola ng’agamba nti, ‘Kiki ekireetedde Mukama okukola ekintu bwe kiti ku nsi eno ne ku yeekaalu eno?’ 9 Abantu baliddamu nti, ‘Kubanga baava ku Mukama Katonda waabwe, eyaggya bajjajjaabwe mu Misiri, ne basembeza bakatonda abalala, n’okubasinza ne babasinza era n’okubaweereza ne babaweereza. Mukama kyavudde ababonereza mu ngeri eyo.’ ”

Ebintu Ebirala Sulemaani bye Yakola

10 Ku nkomerero y’emyaka amakumi abiri, mu kiseera Sulemaani mwe yazimbira ebizimbe byombi, eyeekaalu ya Mukama, n’olubiri lwe olw’obwakabaka, 11 (I)Kabaka Sulemaani yagabira Kiramu kabaka w’e Ttuulo ebibuga amakumi abiri, olw’emivule, n’emiberosi ne zaabu bye yaweereza Sulemaani. 12 Naye Kiramu bwe yava e Ttuulo n’agenda okulambula ebibuga Sulemaani bye yamugabira, ne bitamusanyusa. 13 (J)N’amubuuza nti, “Bino bibuga bya ngeri ki by’ompadde muganda wange?” N’abituuma erinnya Kabuli, era bwe biyitibwa n’okutuusa olunaku lwa leero. 14 Kiramu yali aweerezza kabaka ttani nnya eza zaabu.

15 (K)Kabaka Sulemaani mu buyinza bwe n’amaanyi ge, yakuŋŋaanya abasajja ab’amaanyi bangi okuzimba yeekaalu ya Mukama, n’olubiri lwe, n’obusenge obuwagika bbugwe wa Yerusaalemi, n’ebibuga ebya Kazoli, ne Megiddo ne Gezeri. 16 Falaawo, ye kabaka w’e Misiri yali atabadde, n’okuwamba n’awamba Gezeri, n’akireka ng’akikumyeko omuliro, ng’asse Abakanani abaakibeerangamu. Ekifo ekyo n’akigabira muwala we, muka Sulemaani ng’ekirabo ku mbaga yaabwe. 17 (L)Awo Sulemaani n’akizimba buggya; n’azimba ne Besukolooni ekya wansi, 18 (M)Baalasi ne Tamali mu ddungu, 19 (N)n’ebibuga eby’amawanika, n’omwakuumirwanga amagaali, n’abeebagala embalaasi ze, ne byonna bye yayagala okuzimba mu Yerusaalemi, ne mu Lebanooni ne mu bitundu byonna bye yafuganga.

20 Abantu bonna abaasigalawo ku Bamoli, n’Abakiiti, n’Abaperezi, n’Abakiivi n’Abayebusi, abataali Bayisirayiri, 21 (O)Abayisirayiri be bataayinza kuzikiririza ddala, Sulemaani n’abafuula baddu, n’okutuusa leero. 22 (P)Naye teyafuula Muyisirayiri n’omu muddu, wabula bo baali nga balwanyi be, na bakungu be, na baami be, na baduumizi b’amagaali na beebagazi ba mbalaasi ze. 23 (Q)Era be baali nga abakungu abaavunaanyizibwanga emirimu gye gyonna, era abo bonna abaavunaanyizibwanga emirimu egyo, awamu nga bawera abakungu ebikumi bitaano mu ataano.

24 (R)Awo muwala wa Falaawo bwe yava mu kibuga kya Dawudi n’agenda mu lubiri Sulemaani lwe yamuzimbira, Sulemaani n’azimba obusenge obuwagika bbugwe.

25 (S)Sulemaani yawangayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo eby’emirembe ku kyoto kye yazimbira Mukama, emirundi esatu[a] mu mwaka, ng’ayotereza obubaane mu maaso ga Mukama, ng’atuukiriza obulombolombo bwa yeekaalu.

26 (T)Kabaka Sulemaani yazimba n’ebyombo mu Eziyonigeba[b] okuliraana Erosi mu Edomu, ku lubalama lw’ennyanja Emyufu. 27 (U)Kiramu n’aweereza abasajja be abalunnyanja okukoleranga awamu n’aba Sulemaani. 28 (V)Ne baseeyeeya okutuuka mu Ofiri[c], ne baleeta ttani kkumi na nnya eza zaabu eri Sulemaani.

Footnotes

  1. 9:25 Emirundi esatu mu mwaka, z’embaga ssatu enkulu: Embaga ey’Emigaati Egitali Mizimbulukuse, n’Embaga eya Wiiki, n’Embaga ey’Ensiisira (Kuv 23:14-17; Ma 16:16; 2By 8:13)
  2. 9:26 Eziyonigeba Sulemaani bwe yawamba omwalo gw’omu Eziyonigeba, ekyali mu Edomu, kyamusobozesa okusuubuliranga ku Nnyanja Emyufu ne ku Guyanja ogunene ogwa Buyindi
  3. 9:28 Ofiri Bangi bagamba Ofiri kyali kibuga ku myalo gya Buwalabu oba ku mwalo gwa Somaliya, oba Buyindi oba Zimbabwe. Tekimanyiddwa bulungi.

Cross references

  1. 9:1 : 1Bk 7:1; 2By 8:6
  2. 9:2 : 1Bk 3:5
  3. 9:3 : a 2Bk 20:5; Zab 10:17 b Ma 11:12; 1Bk 8:29
  4. 9:4 : a Lub 17:1 b 1Bk 15:5
  5. 9:5 : a 1By 22:10 b 2Sa 7:15; 1Bk 2:4
  6. 9:6 : 2Sa 7:14
  7. 9:7 : a 2Bk 17:23; 25:21 b Yer 7:14 c Zab 44:14 d Ma 28:37
  8. 9:8 : Ma 29:24; Yer 22:8-9
  9. 9:11 : 2By 8:2
  10. 9:13 : Yos 19:27
  11. 9:15 : a Yos 16:10; 1Bk 5:13 b nny 24; 2Sa 5:9 c Yos 19:36 d Yos 17:11
  12. 9:17 : Yos 16:3; 2By 8:5
  13. 9:18 : Yos 19:44
  14. 9:19 : a nny 1 b 1Bk 4:26
  15. 9:21 : a Lub 9:25-26 b Yos 15:63; 17:12; Bal 1:21, 27, 29 c Ezr 2:55, 58
  16. 9:22 : Lv 25:39
  17. 9:23 : 1Bk 5:16
  18. 9:24 : a 1Bk 3:1; 7:8 b 2Sa 5:9; 1Bk 11:27; 2By 32:5
  19. 9:25 : Kuv 23:14; 2By 8:12-13, 16
  20. 9:26 : a 1Bk 22:48 b Kbl 33:35; Ma 2:8
  21. 9:27 : 1Bk 10:11; Ez 27:8
  22. 9:28 : 1By 29:4
Next
1 Bassekabaka 8
1 Bassekabaka 10
Next
dropdown
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.

Bible Gateway Plus logo
Bible Gateway logo

Font Size

Font Size

Dark Mode

Light Mode Dark Mode

About

  • About
  • Learn About the Bible
  • Statement of Faith
  • Mobile App
  • Store
  • Blog
  • Newsroom
  • Support Us

Help

  • FAQs
  • Tutorials
  • Use Bible Gateway on Your Site
  • Advertise with us
  • Contact us
  • Privacy policy
  • California Privacy Rights
  • Do Not Sell My Personal Information
  • Site: Terms of use
  • Widget: Terms of use

Our Network

  • FaithGateway
  • StudyGateway
  • ChurchSource
  • HarperCollins Christian Publishing
  • Grupo Nelson
  • Editorial Vida
  • Thomas Nelson
  • WestBow Press
  • Zondervan
  • MasterLectures

Social

  • Facebook
  • Instagram
  • Pinterest
  • TikTok
  • X
  • YouTube

Preferences

  • Versión en español
  • Preferences
  • Classic Bible Gateway
Sign Up for Bible Gateway: News & Knowledge
Get weekly Bible news, info, reflections, and deals in your inbox.

By submitting your email address, you understand that you will receive email communications from Bible Gateway, operated by HarperCollins Christian Publishing, 501 Nelson Pl, Nashville, TN 37214 USA, including commercial communications and messages from partners of Bible Gateway. You may unsubscribe from Bible Gateway’s emails at any time. If you have any questions, please review our Privacy Policy or email us at privacy@biblegateway.com.

Preferences

  • Versión en español
  • Preferences
  • Classic Bible Gateway