Add parallel Print Page Options

23 Ebyo byonna akamwa ko bye kanaayogeranga kikugwanira okubikolanga, mu ngeri y’emu nga bw’onoobanga weeyamye obweyamo eri Mukama Katonda wo n’akamwa ko.

Read full chapter

25 (A)Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, mmwe ne bakazi bammwe mulaze mu bikolwa byammwe ebyo bye mwasuubiza nti, ‘Tujja kukola nga bwe tweyama okwotereza kabaka omukazi ow’eggulu obubaane era n’okumuwa ekiweebwayo ekyokunywa.’

“Mugende mu maaso, mukole bye mwasuubiza! Mutuukirize obweyamo bwammwe!

Read full chapter

18 (A)Abaana balonda enku, bakitaabwe ne bakuma omuliro, olwo abakazi ne bakanda eŋŋaano ne bakolera kabaka w’eggulu omukazi emigaati. Bafuka ekiweebwayo ekyokunywa eri bakatonda abalala okunkwasa obusungu.

Read full chapter

(A)Nnyabwe yakola obwenzi,
    n’abazaalira mu buwemu.
Yayogera nti, “Ndigenda eri baganzi bange abampa emmere n’amazzi,
    n’ebimbugumya n’ebyokwambala,
    n’amafuta n’ekyokunywa.”
(B)Kyendiva nziba ekkubo lye n’amaggwa,
    ne mmuzimbako bbugwe okumwetooloola, aleme okulaba ekkubo wayitira.
(C)Aligezaako okugoberera baganzi be abakwate,
    naye talibatuukako, alibanoonya naye talibalaba.
Oluvannyuma alyogera nti, “Naagenda eri bba wange eyasooka,
    kubanga mu biro ebyo nabanga bulungi
    okusinga bwe ndi kaakano.”
(D)Tajjukira nga nze namuwanga eŋŋaano,
    ne wayini n’amafuta,
era eyamuwa effeeza ne zaabu
    bye baakozesanga okuweerezanga Baali.
(E)“Kyendiva neddiza emmere yange ey’empeke ng’eyengedde,
    ne wayini wange ng’atuuse;
era nzija kumuggyako ebyambalo byange eby’ebbugumu n’ebyambalo byange ebya bulijjo,
    bye yayambalanga.
10 (F)Era kyenaava nyanika obukaba bwe
    mu maaso ga baganzi be,
    so tewaliba amuwonya mu mukono gwange.
11 (G)Ndikomya ebinyumu bye byonna, n’embaga ze eza buli mwaka,
    n’embaga ze ez’emyezi egyakaboneka, ne ssabbiiti ze,
    n’enkuŋŋaana ze zonna entukuvu.
12 (H)Ndizikiriza emizabbibu gye n’emitiini gye,
    gye yayogerako nti, ‘Guno gwe musaala baganzi bange gwe bansasula.’
Ndibizisa,
    era n’ensolo ez’omu nsiko ziribyonoona.
13 (I)Ndimubonereza olw’ennaku
    ze yayotereza obubaane eri Babaali,
ne yeeyambaza empeta n’ebintu eby’omuwendo ennyo,
    n’agenda eri baganzi be,
    naye nze n’aneerabira,”
    bw’ayogera Mukama.

Read full chapter