Add parallel Print Page Options

26 (A)Ndibawaayo eri abo abaagala okubatta, eri Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni n’abakungu be. Wabula oluvannyuma, Misiri eribeeramu abantu nga bwe yali edda,” bw’ayogera Mukama Katonda.

Read full chapter

21 (A)“Omwana w’omuntu, mmenye omukono gwa Falaawo, ye kabaka w’e Misiri, era laba tegusibiddwa okusiigako eddagala, n’okugussaako ekiwero okugusiba, guleme okufuna amaanyi okukwata ekitala.

Read full chapter

25 (A)Awo Zeddekiya nga yakafugira emyaka mwenda, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni n’eggye lye lyonna ne balumba Yerusaalemi ku lunaku olw’ekkumi mu mwezi ogw’ekkumi; ne basiisira ebweru waakyo, ne bakizimbako ebigo okukyetooloola. Awo ekibuga ne kizingizibwa okumala emyaka ebiri nga Zeddekiya y’akyali kabaka. (B)Ku lunaku olw’omwenda mu mwezi ogwokuna enjala n’eba nnyingi nnyo mu kibuga, abantu ab’omu nsi ne babulwako n’emmere ey’okulya. (C)Awo kabaka n’eggye lye lyonna abaali mu kibuga ne bawagula mu bbugwe ekituli, ekiro, ne badduka nga bayita mu mulyango ogwaliraananga ennimiro ya kabaka ne bayita ne ku Bakaludaaya abaali bazingizza ekibuga enjuuyi zonna. (D)Naye eggye ly’Abakaludaaya ne bagoberera kabaka, okutuusa lwe bamukwatira mu nsenyi ez’e Yeriko n’eggye lye lyonna ne lisaasaana okumwabulira. (E)Ne bawamba kabaka, ne bamuleeta eri kabaka w’e Babulooni e Libula gye yasalirwa omusango. (F)Ne battira batabani ba Zeddekiya mu maaso ge, ne bamuggyamu amaaso, ne bamuteeka mu masamba, n’atwalibwa e Babulooni.

Read full chapter

(A)Naye eggye ly’Abakaludaaya ne libagoba ne lisanga Zeddekiya mu nsenyi ez’e Yeriko, ne bamuwamba, ne bamuleeta eri kabaka Nebukadduneeza ow’e Babulooni e Libuna mu nsi y’e Kamasi; n’amusalira eyo omusango.

Read full chapter