Add parallel Print Page Options

(A)“Kale kaakano bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, Lwaki mweretako akabi akanene bwe kati nga musala ku Yuda abasajja n’abakazi, n’abaana abato n’abawere aba Yuda ne mutalekaawo muntu?

Read full chapter

28 (A)Naye abeewaggula n’abakozi b’ebibi balizikirizibwa wamu,
    n’abo abava ku Mukama Katonda, balimalibwawo.

Read full chapter

18 (A)Ndibagoberera n’ekitala, n’enjala ne kawumpuli ne mbafuula ekyenyinyalwa eri obwakabaka bwonna obw’ensi era ekikolimo n’ekikangabwa, n’eky’okusekererwa n’okuvumwa eri amawanga gonna gye ndibagobera.

Read full chapter

15 kale nno muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe abaasigalawo mu Yuda. Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Bwe munaamalirira okugenda e Misiri era ne mugenda okubeererayo ddala, 16 (A)olwo ekitala kye mutya kijja kubasanga eyo, n’enjala gye mutya ejja kubagoberera e Misiri era eyo gye mulifiira. 17 (B)Mumanyire ddala nti, Abo bonna abamaliridde okugenda e Misiri okusenga eyo balifa kitala, n’enjala ne kawumpuli; tewaliba n’omu alisigalawo wadde okuwona ekikangabwa kye ndibaleetako.’ 18 (C)Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Ng’obusungu bwange n’ekiruyi bwe bifukiddwa ku abo abali mu Yerusaalemi, bwe kityo ekiruyi kyange bwe kinaafukibwa ku mmwe bwe munaagenda e Misiri. Munaabeera kya kukolimirwa, era kya ntiisa, era kya kusalirwa musango era kivume: temuliraba kifo kino nate.’

Read full chapter