Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

M’Cheyne Bible Reading Plan

The classic M'Cheyne plan--read the Old Testament, New Testament, and Psalms or Gospels every day.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
2 Bassekabaka 23

Endagaano Eragaanibwa buggya

23 Awo kabaka n’ayita abakadde bonna aba Yuda n’ab’omu Yerusaalemi. (A)N’ayambuka mu yeekaalu ya Mukama ne bakabona, ne bannabbi, n’abantu bonna okuva ku wa wansi okutuukira ddala ku wa waggulu mu bitiibwa byabwe. N’asoma ebigambo eby’omu Kitabo eky’Endagaano ekyali kizuuliddwa mu yeekaalu ya Mukama, nga bonna bawulira. (B)Awo kabaka n’ayimirira okuliraana empagi n’azza obuggya endagaano ne Mukama, okutambuliranga mu kkubo lya Mukama, n’okukwatanga amateeka ge, n’okutambuliranga mu mpya ze, n’okugonderanga ebiragiro bye, n’omutima gwe gwonna, n’emmeeme ye yonna, ng’akakasa ebyawandiikibwa ebyali mu kitabo ekyo. Awo abantu bonna ne beewaayo okuzza endagaano obuggya.

(C)Awo kabaka n’alagira Kirukiya kabona asinga obukulu ne bakabona abaamuddiriranga, wamu n’abaggazi okuggya mu yeekaalu ya Mukama ebintu byonna ebya Baali n’ebya Asera, n’eby’eggye lyonna ery’omu ggulu, n’abyokera ebweru wa Yerusaalemi mu ttale eriri mu kiwonvu kya Kiduloni, evvu n’alitwala e Beseri[a]. (D)N’agoba bakabona abaasinzanga ebifaananyi abaali balondeddwa bassekabaka ba Yuda okwoterezanga obubaane mu bifo ebigulumivu mu bibuga ebya Yuda n’okwetooloola Yerusaalemi, n’abo abayoterezanga obubaane eri Baali n’enjuba n’omwezi, n’eri emunyeenye n’eri eggye lyonna ery’omu ggulu. (E)N’aggya empagi ya Asera[b] mu yeekaalu ya Mukama, n’agitwala ebweru wa Yerusaalemi mu kiwonvu ekya Kiduloni, n’agyokera eyo. N’agisekulasekula n’asaasaanya evvu lyayo ku malaalo ag’abantu abaabulijjo. (F)Ate era yamenyaamenya n’ennyumba ez’abaalyanga ebisiyaga ezaali mu yeekaalu ya Mukama, era eyo abakazi gye baalukiriranga Asera ebitimbibwa.

(G)Awo Yosiya n’aleeta bakabona bonna okuva mu bibuga bya Yuda, n’ayonoona ebifo ebigulumivu okuva e Geba okutuuka e Beeruseba, bakabona gye baayoterezanga obubaane, era n’amenyaamenya amasabo agaali okumpi ne wankaaki ow’oku Mulyango gwa Yoswa, omukulembeze ow’ekibuga, agaali ku luuyi olwa kkono olwa wankaaki ow’ekibuga. (H)Newaakubadde nga bakabona bali ab’oku bifo ebigulumivu tebaweerezanga ku kyoto kya Mukama mu Yerusaalemi, balyanga emigaati egitali mizimbulukuse wamu ne bakabona bannaabwe.

10 (I)Yavvoola era n’amenyaamenya ekyoto kya Tofesi ekyali mu Kiwonvu ky’abaana ba Kinomu, obutaganya muntu yenna kuwaayo mwana we owoobulenzi newaakubadde owoobuwala ng’ekiweebwayo eri Moleki. 11 (J)Era yaggyawo n’embalaasi ezaali mu mulyango gwa yeekaalu, bassekabaka ba Yuda ze baali bawonze eri enjuba, era n’ayokya amagaali ze gaasikanga. Zaabeeranga mu luggya okuliraana n’ekisenge ekyali eky’omukungu Nasanumereki. 12 (K)Yamenyaamenya n’ebyoto bassekabaka ba Yuda bye baali bazimbye ku kasolya okumpi n’ekisenge ekya waggulu ekya Akazi, era n’ebyoto Manase bye yali azimbye mu mpya zombi eza yeekaalu ya Mukama. Byonna yabiggyayo, n’abimenyaamenya, enfuufu yaabyo n’agiyiwa mu kiwonvu ekya Kiduloni. 13 (L)Era kabaka n’ayonoona n’ebifo ebigulumivu ebyali ebuvanjuba w’e Yerusaalemi ku luuyi olwa bukiikaddyo ku lusozi olw’okuzikirira, ebyo Sulemaani kabaka wa Isirayiri bye yazimbira bakatonda ab’omuzizo: Asutoleesi katonda omukazi ow’Abasidoni, ne Kemosi ow’Abamowaabu, ne Mirukomu ow’Abamoni. 14 (M)N’amenyaamenya empagi, n’atemaatema empagi za Asera era ebifo ebyo n’abijjuza amagumba g’abantu.

Amasabo n’Ebyoto Bimenyebwamenyebwa

15 (N)Era n’ekyoto ekyali e Beseri, n’ekifo ekigulumivu ekyaleetera Isirayiri okwonoona, Yerobowaamu mutabani wa Nebati bye yali azimbye, byonna Yosiya n’abimenyaamenya. N’ayokya era n’asekulasekula ekifo ekigulumivu okutuusa lwe kyafuuka enfuufu era n’ayokya n’empagi eya Asera. 16 (O)Awo Yosiya bwe yatunulatunula, n’alaba amalaalo agaali ku lusozi, n’agenda n’aggyamu amagumba g’abafu n’agokera ku kyoto n’akyonoona, ng’ekigambo kya Mukama bwe kyali omusajja wa Katonda kye yalangirira.

17 Awo kabaka n’abuuza nti, “Kijjukizo ki ekyo kye ndaba?” Abasajja ab’ekibuga ne bamuddamu nti, “Ago ge malaalo ag’omusajja wa Katonda eyava mu Yuda n’alangirira ebigambo ebikwata ku kyoto eky’e Beseri, by’okikoze.” 18 (P)N’abagamba nti, “Mugaleke, era temuganya muntu yenna kukwata ku magumba ge.” Awo ne batakwata ku magumba ge, wadde aga nnabbi ow’e Samaliya. 19 N’amasabo gonna agaali mu bifo ebigulumivu bassekabaka ba Yuda bye baali bazimbye mu bibuga bya Samaliya ne baleetera obusungu bwa Mukama okubuubuuka, Yosiya n’agavvoola era n’agaggyawo nga bwe yakola e Beseri. 20 (Q)Yosiya n’atta bakabona bonna abaaweerezanga mu bifo ebigulumivu ku byoto byayo, era amagumba gaabwe n’agokera okwo, n’oluvannyuma n’addayo e Yerusaalemi.

Okukuuma Embaga ey’Okuyitako

21 (R)Awo kabaka n’alagira abantu bonna ng’agamba nti, “Mukwate Okuyitako kwa Mukama Katonda wammwe ng’ekyawandiikibwa bwe kiri mu Kitabo eky’endagaano.” 22 Okuviira ddala ku mirembe gy’abalamuzi, ne ku mirembe gya bassekabaka ba Isirayiri n’aba Yuda, tewaaliwo kukwata Mbaga ey’Okuyitako. 23 Naye mu mwaka ogw’ekkumi n’omunaana ogw’obufuzi bwa kabaka Yosiya, Embaga eyo n’ebaawo mu Yerusaalemi. 24 (S)Ate era n’abafumu, n’aboogeza emizimu, n’ebifaananyi, n’eby’emizizo byonna ebyali mu Yuda ne mu Yerusaalemi, Yosiya, n’abiwera. Ekyo yakikola okutuukiriza ebigambo eby’etteeka eryali mu kitabo Kirukiya kabona kye yazuula mu Yeekaalu ya Mukama. 25 (T)Era tewali kabaka eyasooka Yosiya wadde eyamuddirira eyamufaanana era eyakyukira Mukama n’omutima gwe gwonna, n’emmeeme ye yonna era n’amaanyi ge gonna, ng’agoberera Amateeka ga Musa.

26 (U)Kyokka Mukama n’atakendeeza ku busungu bwe obungi obwabuubuukira ku Yuda, olw’ebikolwa byonna ebya Manase ebyaleetera Mukama okusunguwala. 27 (V)Awo Mukama n’ayogera nti, “Ndiggyawo Yuda mu maaso gange nga bwe nnaggyawo Isirayiri, era n’ekibuga Yerusaalemi kye nneeroboza, wamu ne yeekaalu eno gye nayogerako nti, ‘Erinnya lyange linaabanga omwo,’ siribisaako nate mwoyo.” 28 Ebyafaayo ebirala byonna eby’omu mirembe gya Yosiya, ne bye yakola byonna, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda?

29 (W)Awo mu biro ebyo, Falaawo Neko nga ye kabaka wa Misiri n’ayambuka okutabaala kabaka w’e Bwasuli ku Mugga Fulaati; kabaka Yosiya n’agenda okumubeera, naye Falaawo Neko olwamulengera ng’ajja, n’amuttira e Megiddo. 30 (X)Abaddu ba Yosiya ne bateeka omulambo gwe mu gaali ne baguggya e Megiddo ne bagutwala e Yerusaalemi, ne bamuziika mu ntaana ye. Awo abantu ab’omu nsi ne batwala Yekoyakaazi mutabani wa Yosiya ne bamufukako amafuta ne bamufuula kabaka n’asikira kitaawe okuba kabaka.

Yekoyakaazi kabaka wa Yuda

31 (Y)Yekoyakaazi we yaliira obwakabaka yalina emyaka amakumi abiri mu esatu, era n’afugira mu Yerusaalemi okumala emyezi esatu. Nnyina erinnya lye yali Kamutali muwala wa Yeremiya ow’e Libuna. 32 N’akola ebibi mu maaso ga Mukama nga bajjajjaabe bwe baakola. 33 (Z)Falaawo Neko n’amuggya ku bwakabaka n’amusibira mu masamba e Libula mu nsi y’e Kamasi obutaddayo kufuga mu Yerusaalemi, era n’asalira Yuda omusolo ogw’effeeza ttani ssatu ne bisatu byakuna ne zaabu kilo amakumi asatu mu nnya. 34 (AA)Awo Falaawo Neko n’afuula Eriyakimu mutabani wa Yosiya kabaka, n’akyusa n’erinnya lye, n’amutuuma Yekoyakimu. N’aggyayo Yekoyakaazi, n’amutwala e Misiri, era eyo gye yafiira. 35 (AB)Awo Yekoyakimu n’awangayo effeeza ne zaabu nga Falaawo Neko bwe yalagira. Era okusobola okutuukirizanga ekyo, Yekoyakimu yawoozanga abantu, n’abaggyangako effeeza ne zaabu nga buli muntu bwe yagerekebwa.

Yekoyakimu, Kabaka wa Yuda

36 (AC)Yekoyakimu we yafuukira kabaka yali awezezza emyaka amakumi abiri mu etaano, era n’afugira mu Yerusaalemi okumala emyaka kkumi na gumu. Nnyina erinnya lye yali Zebida muwala wa Pedaya ow’e Luuma. 37 Naye n’akola ebibi mu maaso ga Mukama, nga bajjajjaabe be bwe baakola.

Abaebbulaniya 5

(A)Buli Kabona Asinga Obukulu alondebwa mu bantu n’ateekebwawo okuweereza Katonda ku lwabwe, alyoke awengayo ebirabo n’essaddaaka olw’ebibi byabwe. (B)Asobola okukwata empola abantu abatamanyi era n’abo abakyama, kubanga naye yennyini muntu eyeetooloddwa obunafu. (C)Olw’obunafu obwo, kimugwanira okuwangayo ssaddaaka ku lulwe yennyini ne ku lw’abantu.

(D)Tewali muntu yenna ayinza okwefuula kabona wabula ng’ayitiddwa Katonda okukola omulimu, nga bwe yayita Alooni. (E)Ne Kristo bw’atyo teyeegulumiza yekka, okufuuka Kabona Asinga Obukulu. Katonda yamwogerako nti,

“Ggwe oli Mwana wange,
    leero nkuzadde ggwe.”

(F)Era n’awalala agamba nti,

“Ggwe walondebwa okuba Kabona emirembe n’emirembe,
    ng’olubu lwa Merukizeddeeki bwe luli.”

(G)Mu kiseera Yesu kye yabeerera ku nsi mu mubiri ogw’obuntu, yasaba ne yeegayirira oyo ayinza okumulokola mu kufa nga bw’akaaba amaziga mu ddoboozi ery’omwanguka. Yesu yasinza Katonda mu mazima, Katonda n’awulira okusaba kwe. (H)Newaakubadde yali Mwana wa Katonda, yayiga okumugondera ne bwe kwamutuusanga mu kubonaabona. (I)Era bwe yamala okutuukirizibwa, n’afuuka obulokozi obutaggwaawo eri abo bonna abagondera Katonda. 10 (J)Katonda yamuyita okuba Kabona Asinga Obukulu ng’olubu lwa Merukizeddeeki bwe luli.

Okulabula ku kudda ennyuma

11 Waliwo bingi bye twandiyagadde okumwogerako, naye ate nga kizibu okubinyonnyola, kubanga temuyiga mangu. 12 (K)Newaakubadde nga kaakano mwandibadde musobola okuyigiriza abalala, kyetaaga okuddamu okubayigiriza, ebintu ebya bulijjo eby’amazima ebikwata ku kigambo kya Katonda. Mwetaaga mata so si mmere enkalubo ey’abakulu. 13 (L)Kubanga omuntu bw’aba ng’akyanywa mata, aba akyali mwana muto. Aba tannategeera kigambo kikwata ku by’obutuukirivu. 14 (M)Naye emmere enkalubo ya bakulu, abeeyigirizza okwawulanga ekirungi n’ekibi.

Yoweeri 2

Okulabula ku Lunaku lwa Mukama Olujja

(A)Bakabona mufuuyire ekkondeere mu Sayuuni.
    N’akagombe ak’okulabula kavugire ku lusozi lwange olutukuvu.

Buli muntu yenna mu ggwanga akankane olw’entiisa,
    kubanga olunaku lwa Mukama lusembedde,
era lunaatera okutuuka.
    (B)Luliba olunaku olutaliiko ssanyu, olw’ekizikiza;
    olunaku olw’ebire ebingi n’ekizikiza ekikutte.
Eggye ery’enzige ery’amaanyi ennyo,
    ng’ery’abantu abalwanyi ab’ekitalo, libuutikidde ensozi.
Tewabangawo ggye lirifaanana mu biro byonna eby’edda,
    era teribaayo liryenkana mu mirembe gyonna egiriddawo.

(C)Enzige ezikulembedde zirya ng’omuliro ogwokya buli wantu,
    n’ezizivaako emabega nazo zibizikiririze ddala ng’ennimi z’omuliro.
Mu maaso gye ziraga ensi erabika bulungi ng’ennimiro ya Adeni,
    naye gye ziva buli kimu zikiridde;
    ensi yonna zigirese nga ddungu jjereere.
(D)Zifaanana ng’embalaasi,
    era zidduka ng’embalaasi ez’entalo.
(E)Zigenda zibuuka ku nsozi
    nga zikekera ng’amagaali agasikibwa embalaasi bwe gakekera;
ne ziwuuma nga bwe zitulikatulika ng’omuliro ogwokya ebisubi ebikalu; era nga
    ziri ng’eggye eddene mu lutalo eryetegekedde okulumba omulabe.

(F)Abantu abazirabyeko nga zisembera bali mu bulumi bungi,
    era bonna beeraliikirivu.
(G)Zirumba n’amaanyi ng’eggye ery’abalwanyi,
    ne ziwalampa ebisenge ng’abajaasi.
Zikumbira mu nnyiriri zaazo nga zitereera bulungi
    awatali kuwaba n’akamu.
Tezirinnyaganako,
    buli emu ekumbira mu kkubo lyayo.
Ziwaguza mu buli kyakulwanyisa kyonna,
    ne watabaawo kisobola kuziziyiza.
(H)Zifubutuka ne zigwira ekibuga.
    Zikiwalampa ne zibuna bbugwe waakyo.
Zirinnya amayumba
    ne ziyingirira mu madirisa ng’ababbi bwe bakola.

10 (I)Zikankanya ensi
    era n’eggulu ne lijugumira.
Zibuutikira enjuba n’omwezi,
    era n’emmunyeenye tezikyayaka.
11 (J)Mukama akulembera eggye lye
    n’eddoboozi eribwatuuka.
Eggye lya Mukama ddene nnyo era lya maanyi.
    Abalirimu abatuukiriza ebiragiro bye ba maanyi.
Kubanga olunaku lwa Mukama lukulu
    era lwa ntiisa nnyo.
    Ani ayinza okulugumira?

Abantu Bayitibwa Okwenenya

12 (K)Mukama kyava agamba nti,
    “Mukomeewo gye ndi n’omutima gwammwe gwonna.
    Mukomeewo n’okusiiba n’okukaaba awamu n’okukungubaga.”

13 (L)Muyuze emitima gyammwe
    so si byambalo byammwe.
Mudde eri Mukama Katonda wammwe,
    kubanga ajjudde ekisa n’okusaasira,
era tasunguwala mangu; ajjudde okwagala okutaggwaawo;
    n’abandisaanidde okubonerezebwa abasonyiwa.
14 (M)Ani amanyi obanga anaakyuka n’abasonyiwa,
    n’abawa omukisa gwe
ne musobola n’okuwaayo eri Mukama Katonda wammwe
    ekiweebwayo eky’emmere enkalu, n’ekiweebwayo eky’ekyokunywa?

15 (N)Mufuuyire ekkondeere mu Sayuuni,
    mulangirire okusiiba okutukuvu.
    Muyite olukuŋŋaana olussaamu Katonda ekitiibwa.
16 (O)Mukuŋŋaanye abantu bonna.
    Mutukuze ekibiina ekyo ekikuŋŋaanye.
Muyite abakulu abakulembeze.
    Muleete abaana abato
    n’abo abakyali ku mabeere.
N’oyo eyakawasa aveeyo mu kisenge kye,
    n’eyakafumbirwa naye aveeyo gy’ali.
17 (P)Bakabona abaweereza ba Mukama
    bayimirire wakati w’ekisasi kya yeekaalu n’ekyoto,
bakaabirire Mukama nga bamusaba nti, “Saasira abantu bo, Ayi Mukama;
    abantu b’obusika bwo tobaleka kugwa mu mikono gya bannamawanga okubafuga
    era n’okubasekerera.
Bannamawanga baleme kuduula nga boogera nti,
    ‘Katonda waabwe ali ludda wa?’ ”

Mukama Asaasira Abantu Be

18 (Q)Awo Mukama n’akwatirwa ensi ye ekisa,
    n’asaasira abantu be.

19 (R)N’ayanukula abantu be nti,

“Muwulirize, nzija kubaweereza emmere enkalu, n’envinnyo, n’amafuta,
    ebimala okubakkusiza ddala,
era siriddayo kubaleka, ne mufuuka ekivume,
    bannaggwanga amalala ne babasekerera.

20 (S)“Ndibagobako eggye ery’omu bukiikakkono
    ne ndigobera mu ddungu ery’ewala ennyo.
Ekibinja ekikulembeddemu ndikigobera mu nnyanja ey’Ebuvanjuba,
    n’ekibinja eky’emabega ndikigobera mu nnyanja ey’Ebugwanjuba.
Ekivundu n’okuwunya birituuka wala
    okusinga ebyo byonna bye libakoze.”

21 (T)Mwe abali mu nsi, temutya.
    Musanyuke era mujaguze;
kubanga Mukama abakoledde ebikulu.
22     (U)Nammwe ensolo ez’omu nsiko temutya;
    kubanga omuddo gwonna mu nsiko gusibukidde.
Emiti gibaze ebibala byagyo,
    era emitiini n’emizabbibu nagyo gibaze ebibala bingi.
23 (V)Musanyuke mmwe abaana ba Sayuuni;
    mujagulize Mukama Katonda wammwe.
Kubanga abawadde
    enkuba esooka mu butuukirivu.
Era abawadde enkuba nnyingi esooka n’esembayo
    mu mwaka ng’obw’edda.
24 (W)Amawuuliro gammwe galijjula eŋŋaano,
    n’amasogolero gammwe galijjula envinnyo n’amafuta n’okubooga ne gabooga.

25 “Ndibaddizaawo byonna enzige bye zaalya mu myaka egyo.
    Lyali ggye lyange ery’amaanyi lye nabasindikira nga lirimu lusejjera,
    n’enzige ezisala obusazi,
    awamu n’ezo ezizikiririza ddala.
26 (X)Kale, munaabanga n’ebyokulya bingi nga bwe muneetaaganga.
    Munaatenderezanga erinnya lya Mukama Katonda wammwe
    abakoledde ebintu ebirungi bwe bityo.
Era abantu bange tebakyaddayo kuswazibwa.
27 (Y)Mulimanya nga ndi wakati mu Isirayiri,
    era nga Nze, Mukama, Nze Katonda wammwe,
    so tewali mulala;
n’abantu bange tebakyaddayo kuswazibwa.

Mukama Afuka Omwoyo We ku Bantu Be

28 (Z)“Awo olulituuka oluvannyuma lw’ebyo,
    ndifuka Omwoyo wange ku bantu bonna.
Batabani bammwe ne bawala bammwe balitegeeza eby’omu maaso;
    abakadde baliroota ebirooto,
    n’abavubuka bammwe balyolesebwa.
29 (AA)Mu biro ebyo
    ndifuka Omwoyo wange ku baweereza bange abasajja n’abakazi.
30 (AB)Era ndyolesa ebyamagero mu ggulu
    ne ku nsi:
    omusaayi n’omuliro n’ekikoomi eky’omukka.
31 (AC)Enjuba erifuuka ekizikiza,
    n’omwezi gulimyuka ng’omusaayi,
    olunaku lwa Mukama olukulu era olw’entiisa nga terunnatuuka.
32 (AD)Awo olulituuka buli alikoowoola
    erinnya lya Mukama okusaasirwa alirokoka.
Kubanga mu lusozi Sayuuni ne mu Yerusaalemi
    walibaawo abaliwona
    nga Mukama bw’ayogedde,
ne mu abo abalifikkawo
    mulibaamu abo Mukama b’aliyita.”

Zabbuli 142

Okusaba kwa Dawudi bwe yali mu mpuku.

142 (A)Nkaabirira Mukama n’eddoboozi ery’omwanguka;
    neegayirira Mukama ansaasire.
(B)Mmutegeeza byonna ebinneemulugunyisa,
    ne mmwanjulira ebinteganya byonna.

(C)Omwoyo gwange bwe gunnennyika,
    gw’omanyi eky’okunkolera.
Banteze omutego mu kkubo lyange mwe mpita.
(D)Bwe ntunula ku mukono gwange ogwa ddyo, sirabayo anambeera;
    sirina wa kwekweka, era tewali n’omu anfaako.

(E)Nkaabirira ggwe, Ayi Mukama,
    nga ŋŋamba nti, “Ggwe kiddukiro kyange,
    ggwe mugabo gwange mu nsi muno.”

(F)Owulire okukaaba kwange,
    kubanga njeezebwa nnyo!
Mponya abanjigganya,
    kubanga bansinza nnyo amaanyi.
(G)Nziggya mu kkomera,
    ndyoke nkwebaze nga ntendereza erinnya lyo.
Abatuukirivu balinneetooloola,
    ng’onkoledde ebyekisa ekingi ebingi.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.