Zabbuli 65:12
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
12 (A)Ebifo awali omuddo mu ddungu bijjula amazzi,
n’obusozi ne bulabika bulungi nga bweyagala.
Yoweeri 1:18-20
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
18 Ensolo nga zisinda!
Amagana gabuliddwa amagezi;
kubanga tewali muddo,
n’endiga nazo zidooba.
19 (A)Ayi Mukama, Ggwe gwe nkaabirira,
kubanga omuddo gwonna gumaliddwawo empiira,
n’emiti gyonna egy’omu nnimiro
nagyo giyidde.
20 (B)Ensolo ez’omu nsiko nazo zikukaabira okuziyamba,
emigga gikalidde,
ne gye ziriira, omuddo gwonna guyidde.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.