Isaaya 54:4
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
4 (A)“Totya kubanga toliddayo kukwatibwa nsonyi.
Toggwaamu maanyi kubanga togenda kuswazibwa.
Olyerabira ensonyi z’obuvubuka bwo,
n’ekivume ky’obwannamwandu bwo tolikijjukira nate.
Zeffaniya 3:16-17
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
16 (A)Ku lunaku olwo Yerusaalemi kirigambibwa nti,
“Totya, ggwe Sayuuni;
emikono gyo gireme okuddirira.
17 (B)Mukama Katonda ali naawe,
ow’amaanyi alokola:
alikusanyukira,
alikukkakkanyiza mu kwagala kwe,
alikusanyukira n’okuyimba.”
Zabbuli 126:3
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
3 (A)Mukama atukoledde ebikulu,
kyetuvudde tusanyuka.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.