Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

M’Cheyne Bible Reading Plan

The classic M'Cheyne plan--read the Old Testament, New Testament, and Psalms or Gospels every day.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
1 Ebyomumirembe 5-6

Ekika kya Lewubeeni

(A)Batabani ba Lewubeeni, mutabani omukulu owa Isirayiri, ye yali omubereberye, naye nayonoona obufumbo bwa kitaawe, obusika bwe ng’omuggulanda ne buweebwa batabani ba Yusufu mutabani wa Isirayiri, kyeyava tabalirwa mu byafaayo ng’omubereberye. (B)Yuda yali w’amaanyi okusinga baganda be, era mu ye mwe mwava kabaka ow’eggwanga lya Isirayiri, wabula ebyobusika eby’obuggulanda byali bya mutabani wa Yusufu omukulu. (C)Batabani ba Lewubeeni, mutabani omukulu owa Isirayiri baali:

Kanoki, ne Palu, ne Kezulooni ne Kalumi.

Ab’enda ya Yoweeri baali

Semaaya mutabani we, ne Gogi muzzukulu we,

ne Simeeyi muzzukulu we. Mikka yali mutabani wa Simeeyi,

ne Leyaya n’aba muzzukulu we, ne Baali n’aba muzzukulu we.

(D)Mutabani wa Baali yali Beera, omukulu w’ekika ky’Abalewubeeni, Tirugazupiruneseri kabaka w’e Busuuli gwe yatwala mu buwaŋŋanguse.

(E)Baganda be ng’enda zaabwe bwe zaali be bano:

Yeyeri omukulu w’ekika, Zekkaliya, (F)Bera mutabani wa Azozi, muzzukulu wa Sema, muzzukulu wa Yoweeri.

Be baasenga mu Aloweri okutuuka e Nebo ne Baalu Myoni. (G)Ate baasenga n’ebuvanjuba w’eddungu okutuukira ddala ku mugga Fulaati, kubanga amagana gaabwe gaali gaaze nnyo.

10 (H)Awo ku mirembe gya Sawulo ne balumba Abakaguli, era Abakaguli ne bagwa mu mikono gyabwe, era bali ne beegazaanyiza mu nsi y’Abakaguli okutuukira ddala ku luuyi olw’ebuvanjuba olw’e Gireyaadi.

Ekika kya Gaadi

11 (I)Bazzukulu ba Gaadi baabeeranga okuliraana Basani okwolekera Saleka.

12 Yoweeri ye yali omukulembeze, ne Safamu nga ye mumyuka we, ate ne wabaawo ne Yanayi ne Safati mu Basani.

13 Baganda baabwe mu nda z’abajjajjaabwe bwe baali

Mikayiri, ne Mesullamu, ne Seeba, ne Yolayi, ne Yakani, ne Ziya, ne Eberi, bonna awamu musanvu.

14 Bano be baali ab’omu nnyumba ya Abikayiri mutabani wa Kuuli, muzzukulu wa Yalowa, muzzukulu wa Gireyaadi, muzzukulu wa Mikayiri, muzzukulu wa Yesisayi, muzzukulu wa Yakudo, ne muzzukulu wa Buzi.

15 Aki mutabani wa Abudyeri, muzzukulu wa Guni, omukulu w’ennyumba yaabwe.

16 Baabeeranga mu Gireyaadi, mu Basani, ne mu bibuga byayo ebirala ne mu malundiro g’e Saloni okutuuka ku nsalo yaayo.

17 (J)Bino byonna byawandiikibwa mu bitabo ebyafaayo mu mirembe gya Yosamu kabaka wa Yuda, ne Yerobowaamu kabaka wa Isirayiri.

18 (K)Abalewubeeni, n’Abagaadi, n’ekitundu ky’ekika kya Manase baalina abasajja emitwalo ena mu enkumi nnya mu lusanvu mu nkaaga, ab’amaanyi era nga bazira mu kukwata engabo, ekitala, ne mu kukozesa obusaale, era nga batendeke mu kulwana. 19 (L)Ne balumba Abakaguli, ne Yetuli, ne Nafisi ne Nodabu. 20 (M)Olw’okwesiga n’okusaba Katonda okubabeera, baawangula Abakaguli mu lutalo. 21 Baanyaga amagana g’ente, n’eŋŋamira emitwalo etaano, n’endiga emitwalo abiri mu etaano n’endogoyi enkumi bbiri ate ne bawamba n’abasajja emitwalo kkumi. 22 (N)Era bangi ku bo battibwa kubanga olutalo lwali lwa Katonda. Ne basenga eyo okutuusa lwe baawaŋŋangusibwa.

Ekitundu ky’Ekika kya Manase

23 (O)Abantu ab’ekitundu ky’ekika kya Manase baali bangi nnyo, era baasenga mu nsi eya Basani okutuuka ku Baalukerumooni, ne Seniri, ne ku lusozi Kerumooni.

24 Bano be baali abakulu b’ennyumba zaabwe: Eferi, ne Isi, ne Eryeri, ne Azulyeri, ne Yeremiya, ne Kodaviya, ne Yakudyeri, abasajja abazira era ab’amaanyi, abettutumu, nga gy’emitwe gy’ennyumba zaabwe. 25 (P)Naye ne bakola ebibi ebimenya ebiragiro bya Katonda wa bajjajjaabwe, ne bagoberera bakatonda baamawanga ag’omu nsi eyo, Katonda be yazikiririza mu maaso gaabwe. 26 (Q)Katonda wa Isirayiri kyeyava akubiriza omwoyo gwa Puli kabaka w’e Bwasuli, eyayitibwanga Tirugazupiruneseri, n’alumba Abalewubeeni, n’Abagaadi n’ekitundu ekyali kisigaddewo ku Manase, n’abawamba era n’abatwala mu buwaŋŋanguse e Kala, n’e Kaboli, n’e Kaala ne ku mugga Gozani, gye bali n’okutuusa leero.

Ekika kya Leevi

(R)Batabani ba Leevi baali

Gerusoni, ne Kokasi ne Merali.

Batabani ba Kokasi ne baba

Amulaamu, ne Izukali, ne Kebbulooni, ne Wuziyeeri.

(S)Ate abaana ba Amulaamu baali

Alooni, ne Musa ne Miryamu.

Batabani ba Alooni baali

Nadabu, ne Abiku, ne Eriyazaali ne Isamaali.

Eriyazaali n’azaala Finekaasi,

ate Finekaasi n’azaala Abisuwa;

Abisuwa n’azaala Bukki,

ate Bukki n’azaala Uzzi;

Uzzi n’azaala Zerakiya,

ne Zerakiya n’azaala Merayoosi;

Merayoosi n’azaala Amaliya,

ne Amaliya n’azaala Akitubu;

(T)Akitubu n’azaala Zadooki,

ate Zadooki n’azaala Akimaazi;

Akimaazi n’azaala Azaliya,

ne Azaliya n’azaala Yokanaani;

10 (U)Yokanaani n’azaala Azaliya (oyo ye yaweerezanga nga kabona mu yeekaalu sulemaani gye yazimba mu Yerusaalemi);

11 Azaliya n’azaala Amaliya,

ne Amaliya n’azaala Akitubu;

12 Akitubu n’azaala Zadooki,

ne Zadooki n’azaala Sallumu;

13 (V)Sallumu n’azaala Kirukiya,

ne Kirukiya n’azaala Azaliya;

14 (W)Azaliya n’azaala Seraya,

ne Seraya n’azaala Yekozadaki;

15 (X)Yekozadaki yatwalibwa mu buwaŋŋanguse Mukama bwe yawaayo Yuda ne Yerusaalemi mu mukono gwa Nebukadduneeza.

16 (Y)Batabani ba Leevi baali

Gerusomu, ne Kokasi ne Merali.

17 Gano ge mannya g’abatabani ba Gerusomu,

ne Libuni ne Simeeyi.

18 Batabani ba Kokasi baali

Amulaamu, ne Izukali, ne Kebbulooni ne Wuziyeeri.

19 (Z)Batabani ba Merali baali

Makuli ne Musi.

Gino gy’emituba egy’Abaleevi okutandika ne bajjajja baabwe:

20 Abaava mu Gerusomu baali

Libuni mutabani we, ne Yakasi,

ne Zimura, 21 ne Yowa,

ne Iddo, ne Zeera,

ne Yeyaserayi.

22 (AA)Bazzukulu ba Kokasi baali

Amminadaabu mutabani we, Koola muzzukulu we,

Assiri muzzukulu we; 23 Erukaana muzzukulu we,

Ebiyasaafu muzzukulu we, Assiri muzzukulu we;

24 (AB)Takasi muzzukulu we, Uliyeri muzzukulu we, Uzziya muzzukulu we, ne Sawuli muzzukulu we.

25 Batabani ba Erukaana baali

Amasayi ne Akimosi,

26 ne bazzukulu be nga be ba Erukaana, ne Zofayi,

ne Nakasi, 27 (AC)ne Eriyaabu,

ne Yerokamu, ne Erukaana

ne Samwiri.

28 (AD)Batabani ba Samwiri baali

Yoweeri omuggulanda we,

n’owokubiri nga ye Abiya.

29 Bazzukulu ba Merali baali

Makuli, ne Libuni,

ne Simeeyi, ne Uzza,

30 ne Simeeyi, ne Kaggiya

ne Asaya, ng’omu ye kitaawe w’omulala nga bwe baddiriŋŋana.

31 (AE)Bano be basajja Dawudi be yalonda okukulira eby’ennyimba mu nnyumba ya Mukama, essanduuko ng’eteekeddwamu. 32 Baaweererezanga mu nnyimba mu maaso g’ekuŋŋaaniro ey’Eweema ey’Okusisikanirangamu, okutuusa Sulemaani lwe yazimba yeekaalu ya Mukama mu Yerusaalemi. Era bakolanga emirimu gyabwe, nga bagoberera ebiragiro ebyabaweebwa.

33 (AF)Bano be basajja abaaweerezanga, wamu ne batabani baabwe:

Okuva mu Abakokasi;

Kemani, omuyimbi,

mutabani wa Yoweeri, muzzukulu wa Samwiri,

34 (AG)muzzukulu wa Erukaana, muzzukulu wa Yerokamu,

muzzukulu wa Eryeri, muzzukulu wa Toowa,

35 muzzukulu wa Zufu, muzzukulu wa Erukaana,

muzzukulu wa Makasi, muzzukulu wa Amasayi;

36 muzzukulu wa Erukaana, muzzukulu wa Yoweeri,

muzzukulu wa Azaliya, muzzukulu wa Zeffaniya,

37 (AH)muzzukulu wa Takasi, muzzukulu wa Assiri,

muzzukulu wa Ebiyasaafu, muzzukulu wa Koola,

38 (AI)muzzukulu wa Izukali, muzzukulu wa Kokasi,

muzzukulu wa Leevi, mutabani wa Isirayiri.

39 (AJ)Kemani yalina muganda we Asafu eyamuyambangako mu mulimu ogwo, era n’ab’enju ye baali bwe bati:

Asafu mutabani wa Berekiya, muzzukulu wa Simeeyi,

40 muzzukulu wa Mikayiri, muzzukulu wa Baaseya,

muzzukulu wa Malukiya, 41 muzzukulu wa Esuni,

muzzukulu wa Zeera, muzzukulu wa Adaaya,

42 muzzukulu wa Esani, muzzukulu wa Zimma,

muzzukulu wa Simeeyi, 43 muzzukulu wa Yakasi,

muzzukulu wa Gerusoni, mutabani wa Leevi.

44 Ne baganda be abalala abaamuyambangako baali abazzukulu ba Merali, mutabani wa Leevi,

Esani mutabani wa Kiisi, muzzukulu wa Abudi,

muzzukulu wa Malluki, 45 muzzukulu wa Kasukabiya,

muzzukulu wa Amaziya, muzzukulu wa Kirukiya, muzzukulu wa Amaziya,

46 muzzukulu wa Amuzi, muzzukulu wa Bani,

muzzukulu wa Semeri, 47 muzzukulu wa Makuli,

muzzukulu wa Musi, muzzukulu wa Merali,

mutabani wa Leevi.

48 (AK)Baganda baabwe Abaleevi baavunaanyizibwanga okukola emirimu gyonna egy’omu Weema, ye Nnyumba ya Katonda.

Ennyumba ya Alooni

49 (AL)Naye Alooni ne batabani be ne bazzukulu be, be baawangayo ku kyoto ebiweebwayo ebyokebwa ne ku kyoto eky’okwoterezangako obubaane olw’ebyo byonna ebyakolebwanga mu Kifo ekisinga Obutukuvu, olw’okutangirira Isirayiri, nga Musa, omuddu wa Katonda bwe yalagira.

50 Bano be baava mu nda ya Alooni:

mutabani we Eriyazaali, muzzukulu we Finekaasi,

muzzukulu we Abisuwa, 51 muzzukulu we Bukki,

muzzukulu we Uzzi, muzzukulu we Zerakiya,

52 muzzukulu we Merayoosi, muzzukulu we Amaliya,

muzzukulu we Akitubu, 53 (AM)muzzukulu we Zadooki,

ne muzzukulu we Akimaazi.

54 (AN)Bino by’ebifo ebyabaweebwa okutuulamu ng’ensi yaabwe era bino bye byali biweereddwa bazzukulu ba Alooni Abakokasi, kubanga be baasooka okufuna omugabo.

55 Baaweebwa Kebbulooni mu nsi ya Yuda, n’amalundiro agakyetoolodde, 56 (AO)naye ennimiro n’ebyalo ebyetoolodde ekibuga ekyo, byaweebwa Kalebu mutabani wa Yefune. 57 (AP)Bazzukulu ba Alooni baaweebwa Kebbulooni, ekibuga eky’okwekwekamu, Libuna n’amalundiro gaakyo, 58 (AQ)Kireni n’amalundiro gaakyo, Debiri n’amalundiro gaakyo, 59 (AR)Asani n’amalundiro gaakyo, ne Besusemesi n’amalundiro gaakyo.

60 (AS)Ate n’okuva eri ekika kya Benyamini baaweebwa Gibyoni[a] ne Geba, ne Allemesi, ne Anasosi wamu n’amalundiro gaabyo. Ebibuga byonna awamu ebyaweebwa Abakokasi byali kkumi na bisatu.

61 Bazzukulu ba Kokasi abalala baweebwa ebibuga kkumi okuva ku nda ez’ekitundu ky’ekika kya Manase nga bakuba akalulu.

62 Bazzukulu ba Gerusoni, ng’enda zaabwe bwe zaali, baaweebwa ebibuga kkumi na bisatu okuva ku bika bya Isakaali, Aseri, Nafutaali, n’okuva ku kika kya Manase mu Basani.

63 Bazzukulu ba Merali ng’enda zaabwe bwe zaali, baaweebwa ebibuga kkumi na bibiri okuva ku bika bya Lewubeeni, Gaadi ne Zebbulooni.

64 (AT)Awo Abayisirayiri ne bawa Abaleevi ebibuga ebyo ne babaweerako n’amalundiro byabyo.

65 N’ebibuga okuva mu bika bya Yuda, ne Simyoni ne Benyamini ebyogeddwako byabaweebwa nga bakuba akalulu.

66 Enda ezimu eza Kokasi zaaweebwa ebibuga okuva eri ensi y’ekika kya Efulayimu.

67 (AU)Okuva eri ensi ya Efulayimu baaweebwa Sekemu, ekibuga ky’obuddukiro, Gezeri, 68 (AV)ne Yokumyamu, ne Besukolooni, 69 (AW)ne Ayalooni ne Gasulimmoni, n’amalundiro gaabyo.

70 N’okuva eri ekitundu ky’ekika kya Manase, Abayisirayiri ne babagabira Aneri ne Biryamu, wamu n’amalundiro byako eri enda ezaali zisigaddewo eza Kokasi.

71 (AX)Abagerusomu baaweebwa ebifo bino wansi:

okuva eri ekitundu ky’ekika kya Manase baafuna Golani mu Basani ne Asutoleesi, wamu n’amalundiro byako.

72 (AY)Okuva eri ekika kya Isakaali baafuna Kedesi, Daberasi 73 Lamosi ne Anemu wamu n’amalundiro gaabyo (byako);

74 (AZ)okuva eri ekika kya Aseri, baafuna Masali, Abudoni, 75 (BA)Kukkoki ne Lekobu wamu n’amalundiro gaabyo;

76 (BB)n’okuva eri ekika kya Nafutaali baafuna Kedesi eky’omu Ggaliraaya, ne Kammoni ne Kiriyasayimu wamu n’amalundiro byako.

77 Abaleevi abaali basigaddewo, be bazzukulu ba Merali, baaweebwa ebifo bino wansi:

okuva eri ekika kya Zebbulooni baafuna Limunono ne Taboli wamu n’amalundiro byabyo;

78 (BC)okuva eri ekika kya Lewubeeni, emitala wa Yoludaani ku luuyi olw’ebuvanjuba lw’e Yeriko, baafuna Bezeri ekiri mu ddungu, Yaza, 79 (BD)Kedemosi ne Mefaasi wamu n’amalundiro byabyo;

80 (BE)n’okuva eri ekika kya Gaadi baafuna Lamosi ekiri mu Gireyaadi, Makanayimu, 81 (BF)Kesuboni ne Yazeri wamu n’amalundiro byabyo.

Abaebbulaniya 10

Kristo yeewaayo omulundi gumu ku lwa bonna

10 (A)Amateeka kisiikirize busiikirize eky’ebirungi ebigenda okujja, go ku bwagwo tegamala, kubanga ssaddaaka ezo ze zimu eza buli mwaka ze bawaayo obutayosa ezitayinza kutukuza abo abaziwaayo. Ssaddaaka ezo zandibadde tezikyaweebwayo, kubanga abaaziwaayo, omulundi ogumu gwandibamaze okubatukuza, ne bataddayo kweraliikirira olw’ebibi byabwe. (B)Naye ssaddaaka eza buli mwaka zaabajjukizanga ebibi byabwe. (C)Kubanga omusaayi gw’ente ennume n’embuzi tegusobola kuggyawo bibi.

(D)Noolwekyo Kristo bwe yali ng’ajja mu nsi kyeyava agamba nti,

“Ssaddaaka n’ebiweebwayo tewabyagala.
    Naye wanteekerateekera omubiri.
Ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’ekibi,
    tewabisiima.
(E)Kyennava njogera nti, ‘Nzuno, nga bwe kyawandiikibwa mu mizingo gy’ebyawandiikibwa:
    Nzize okukola by’oyagala, ng’Ebyawandiikibwa bwe binjogerako.’ ”

(F)Nga bwe kyogera waggulu nti, Ssaddaaka n’ebiweebwayo, n’ebiweebwayo ebiramba ebyokebwa, n’ebiweebwayo olw’ebibi tewabyagala so tewabisiima, so nga biweebwayo ng’amateeka bwe galagira, (G)n’alyoka agamba nti, “Nzuuno nzize okukola by’oyagala.” Noolwekyo aggyawo enkola esooka alyoke anyweze enkola eyookubiri. 10 (H)Twatukuzibwa olw’okwagala kwe, omubiri gwa Yesu Kristo bwe gwaweebwayo omulundi ogumu ku lwaffe ffenna.

11 (I)Buli kabona ayimirira buli lunaku ng’aweereza, n’awaayo ssaddaaka mu ngeri y’emu, ezitayinza kuggyawo bibi, 12 naye Kristo bwe yamala okuwaayo ssaddaaka ey’emirembe gyonna, olw’ebibi, n’alyoka atuula ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda. 13 (J)Okuva mu kiseera kino alindirira abalabe be bafuulibwe entebe y’ebigere bye. 14 (K)Kubanga olw’ekiweebwayo ekyo ekimu, abaatukuzibwa yabawa obutuukirivu obw’emirembe gyonna.

15 (L)Mwoyo Mutukuvu naye akikakasa bw’ayogera nti,

16 (M)“Eno y’endagaano gye ndikola nabo,
    oluvannyuma lw’ennaku ezo, bw’ayogera Mukama.
Nditeeka amateeka gange ku mitima gyabwe,
    era ndiwandiika amateeka gange mu myoyo gyabwe.”

17 (N)Ayongerako kino nti,

“Sirijjukira nate bibi byabwe
    newaakubadde obujeemu bwabwe.”

18 Naye kaakano awali okusonyiyibwa ebintu ebyo, waba tewakyali kyetaagisa kuwaayo kiweebwayo olw’ebibi.

Obugumiikiriza

19 (O)Kale abooluganda nga bwe tulina obuvumu okuyingira mu Watukuvu w’Awatukuvu olw’omusaayi gwa Yesu, 20 (P)eyatuggulirawo ekkubo eriggya era eddamu eriyita mu lutimbe, gwe mubiri gwe, 21 (Q)kale nga bwe tulina Kabona Asinga Obukulu nga y’afuga ennyumba ya Katonda, 22 (R)tusembere awali Katonda n’omwoyo ogw’amazima ogujjudde okukkiriza nga tulina emitima egitukuzibbwa okuva mu ndowooza embi, era nga n’emibiri gyaffe ginaazibbwa n’amazzi amatukuvu. 23 (S)Kale tunyweze essuubi lye twatula nga tetusagaasagana, kubanga eyasuubiza mwesigwa, 24 era tussengayo omwoyo buli muntu eri munne, nga twekubiriza mu kwagala ne mu kukola ebikolwa ebirungi. 25 (T)Tuleme kulekayo kukuŋŋaana, ng’abamu bwe bakola, naye buli muntu agumye munne, na ddala nga bwe mulaba nti, Olunaku lw’okudda kwa Mukama waffe lusembedde.

26 (U)Singa tukola ebibi mu bugenderevu, nga tumaze okumanya amazima, waba tewakyaliwo ssaddaaka eweebwayo olw’ekibi. 27 (V)Wabula ekiba kisigadde kwe kulindirira okusalirwa omusango ogw’ekibonerezo eky’omuliro ogw’amaanyi ogugenda okumalawo abalabe ba Katonda. 28 (W)Omuntu yenna eyajeemeranga amateeka ga Musa yattibwanga awatali kusaasirwa, bwe waabangawo abajulirwa babiri oba basatu abamulumiriza. 29 (X)Noolwekyo omuntu alinnyirira Omwana wa Katonda, era n’omusaayi gw’endagaano ogunaazaako ebibi n’aguyisa ng’ogwa bulijjo, era n’anyoomoola Omwoyo ow’ekisa, talibonerezebwa n’obukambwe obusingawo? 30 (Y)Kubanga tumumanyi oyo eyagamba nti, “Okuwoolera eggwanga kwange. Nze ndisasula.” Era nti, “Mukama y’aliramula abantu be.” 31 (Z)Kintu kya ntiisa okugwa mu mikono gya Katonda omulamu!

32 (AA)Mujjukire ennaku ez’edda bwe mwategeera Kristo, ne mugumiikiriza okubonyaabonyezebwa okw’amaanyi. 33 (AB)Oluusi mwavumibwanga era ne muyigganyizibwa mu lwatu, ate olulala ne mussa kimu n’abo abaabonaabona nga mmwe. 34 Mwalumirwa wamu n’abasibe, era mwagumiikiriza n’essanyu bwe mwanyagibwako ebyammwe kubanga mwamanya nti mulina ebisinga obulungi era eby’olubeerera ebibalindiridde.

35 Kale munywererenga ku buvumu bwammwe bwe mulina, obuliko empeera ennene. 36 (AC)Kubanga kibasaanira okugumiikiriza nga mukola Katonda by’ayagala mulyoke mufune ebyo bye yasuubiza.

37 (AD)Wasigadde akaseera katono nnyo,
    oyo ow’okujja ajje era talirwa.
38 (AE)Omutuukirivu wange, anaabanga mulamu lwa kukkiriza,
    kyokka bw’adda emabega simusanyukira.

39 Naye ffe tetuli ba kudda mabega mu kuzikirira, wabula tulina okukkiriza okunywevu okutuleetera okulokoka.

Amosi 4

Katonda yeerayirira okuzikiriza Abantu

(A)Muwulire kino mmwe ente ez’omu Basani ezibeera ku Lusozi Samaliya,
    mmwe abakazi abajooga abaavu ne munyigiriza abanaku,
    era abagamba ba bbaabwe nti, “Mutuletereyo ekyokunywa.”
(B)Mu butukuvu bwe Mukama Katonda alayidde nti,
    “Ekiseera kijja
lwe balibasika n’amalobo,
    era abalisembayo ku mmwe ne basikibwa n’amalobo agavuba.
(C)Mulisikibwa okuva mu mayumba gammwe
    ne musuulibwa ebweru nga muyisibwa mu bituli ebibotoddwa mu bbugwe,
    musuulibwe ku Kalumooni,
    bw’ayogera Mukama.
(D)Kale mmwe mugende e Beseri mukoleyo ebitasaana;
    era mugende ne Girugaali mwongere okukola ebibi.
Mutwalengayo ssaddaaka zammwe buli nkya,
    n’ekimu eky’ekkumi buli myaka esatu.
(E)Muweeyo ekiweebwayo eky’okwebaza eky’emigaati egizimbulukusibbwa,
    mulangirire n’ebiweebwayo eby’ekyeyagalire;
mwe mwenyumiririza, mmwe Abayisirayiri
    kubanga ekyo kye mwagala,”
    bw’ayogera Mukama Katonda Ayinzabyonna.

(F)“Nabaleetera enjala embuto zammwe ne ziba njereere mu buli kibuga,
    ne ssibawa kyakulya mu buli kabuga,
    naye era ne mugaana okudda gye ndi,”
    bw’ayogera Mukama.

(G)“Ne mbamma enkuba
    ng’ekyabulayo emyezi esatu amakungula gatuuke.
Ne ntonnyesa enkuba mu kibuga ekimu
    ne ngiziyiza mu kirala.
Yatonnyanga mu nnimiro emu,
    mu ndala n’etatonnya, ebirime ne biwotoka.
(H)Abantu ne bavanga mu kibuga ekimu ne balaga mu kirala nga banoonya amazzi banyweko,
    naye ne gababula;
    naye era ne mutakyuka kudda gye ndi,”
    bw’ayogera Mukama.

(I)“Emirundi mingi ebirime byammwe n’ennimiro zammwe ez’emizabbibu na bigengewaza.
    Nabileetako obulwadde.
Enzige nazo ne zirya emitiini gyammwe n’emizeeyituuni gyammwe,
    naye era temwadda gye ndi,”
    bw’ayogera Mukama.

10 (J)“Nabasindikira kawumpuli
    nga gwe nasindika mu Misiri.
Abavubuka bammwe ne mbattira mu lutalo n’ekitala
    awamu n’embalaasi zammwe ze mwawamba.
Okuwunya kw’olusisira lwammwe ne kuyitirira nnyo
    naye era ne mugaana okudda gye ndi,”
    bw’ayogera Mukama.

11 (K)“Nazikiriza abamu ku mmwe
    nga bwe nakola Sodomu ne Ggomola,
ne muba ng’olumuli olusikiddwa mu muliro ogwaka
    naye era ne mulema okudda gye ndi,”
    bw’ayogera Mukama.

12 “Kyendiva nkukola bwe ntyo, ggwe Isirayiri,
    era ndikwongerako ebibonoobono.
    Noolwekyo weetegeke okusisinkana Katonda wo, ggwe Isirayiri.”
13 (L)Kubanga laba, oyo eyatonda ensozi
    era ye yatonda n’embuyaga
    era abikkulira omuntu ebirowoozo bye.
Yafuula enkya okubeera ekiro,
    era alinnya mu bifo ebigulumivu eby’ensi.
    Mukama Katonda ow’Eggye lye linnya lye.

Zabbuli 148-150

148 Mutendereze Mukama!

Mumutendereze nga musinziira mu ggulu,
    mumutenderereze mu bifo ebiri waggulu.
(A)Mumutendereze mmwe mwenna bamalayika be,
    mumutendereze mmwe mwenna eggye lye ery’omu ggulu.
Mmwe enjuba n’omwezi mutendereze Mukama,
    nammwe mwenna emmunyeenye ezaaka mumutendereze.
(B)Tendereza Mukama ggwe eggulu eriri waggulu ennyo,
    naawe amazzi agali waggulu w’eggulu.

(C)Leka byonna bitendereze erinnya lya Mukama!
    Kubanga ye yalagira, ne bitondebwa.
(D)Yabinywereza ddala mu bifo byabyo ennaku zonna,
    n’ateekawo etteeka eritaliggwaawo.

(E)Mumutendereze nga musinziira ku nsi,
    mmwe balukwata n’ebifo byonna eby’omu buziba bw’ennyanja,
(F)mmwe okumyansa, n’omuzira ogw’amakerenda, n’omuzira ogukutte era n’olufu,
    naawe kikuŋŋunta, mugondere ekiragiro kye,
(G)mmwe agasozi n’obusozi,
    emiti egy’ebibala n’emivule;
10 ensolo ez’omu nsiko era n’ente zonna,
    ebyewalula n’ebinyonyi ebibuuka,
11 bakabaka b’ensi n’amawanga gonna,
    abalangira n’abafuzi bonna ab’ensi,
12 abavubuka abalenzi n’abawala;
    abantu abakulu n’abaana abato.

13 (H)Bitendereze erinnya lya Mukama,
    kubanga erinnya lye lyokka lye ligulumizibwa;
    ekitiibwa kye kisinga byonna eby’omu nsi n’eby’omu ggulu.
14 (I)Abantu be abawadde amaanyi,
    era agulumizizza abatukuvu be,
    be bantu be Isirayiri abakolagana naye.

Mutendereze Mukama.
149 (J)Mutendereze Mukama!

Muyimbire Mukama oluyimba oluggya,
    mumutenderereze wamu n’ekibiina ky’abatukuvu.

(K)Isirayiri asanyukirenga eyamutonda;
    n’abantu ba Sayuuni bajagulize Kabaka waabwe!
(L)Batenderezenga erinnya lye nga bwe bazina,
    bamutenderezenga nga bwe bakuba ennanga n’ebitaasa.
(M)Kubanga Mukama asanyukira abantu be,
    n’abawombeefu abawa engule ey’obulokozi.
(N)Abatuukirivu bajagulizenga mu kitiibwa kino;
    bayimbire ku bitanda byabwe olw’essanyu.

(O)Batenderezenga Katonda waabwe,
    bakwate ekitala eky’obwogi obubiri,
bawoolere eggwanga,
    babonereze n’amawanga,
bateeke bakabaka baago mu njegere,
    n’abakungu baago babasibe amagulu n’ebyuma,
(P)babasalire omusango ogwabawandiikirwa.
    Kino kye kitiibwa ky’abatukuvu be bonna.

Mutendereze Mukama.
150 (Q)Mutendereze Mukama!

Mutendereze Katonda mu kifo kye ekitukuvu;
    mumutenderereze ne mu ggulu lye ery’amaanyi.
(R)Mumutendereze olw’ebikolwa bye ebiraga amaanyi ge;
    mumutendereze olw’obukulu bwe obusukkiridde.
(S)Mumutendereze n’eddoboozi ery’ekkondeere,
    mumutendereze n’ennanga ey’enkoba n’endere.
(T)Mumutendereze n’ebitaasa n’amazina;
    mumutendereze n’ebivuga eby’enkoba n’endere!
(U)Mumutendereze nga mukuba ebitaasa;
    mumutendereze n’ebitaasa ebivuga ennyo!

(V)Buli ekissa omukka kitenderezenga Mukama!

Mutendereze Mukama.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.