M’Cheyne Bible Reading Plan
Ekitabo ky’Amateeka Kizuulibwa
22 (A)Yosiya n’atandika okufuga nga wa myaka munaana, era n’afugira mu Yerusaalemi emyaka amakumi asatu mu gumu, ng’erinnya lya nnyina ye Yedida, muwala wa Adaya ow’e Bozukasi. 2 (B)N’akola ebirungi mu maaso ga Mukama, ng’atambulira mu ngeri za jjajjaawe Dawudi, awatali kutaaganaaga.
3 (C)Mu mwaka ogw’ekkumi n’omunaana ogw’obufuzi bwa kabaka Yosiya, kabaka n’atuma omuwandiisi Safani mutabani wa Azaliya ate muzzukulu wa Mesullamu okulaga mu yeekaalu ya Mukama. N’amugamba nti, 4 (D)“Yambuka eri Kirukiya kabona Asinga obukulu, akutegeeze omuwendo gw’ensimbi ezireeteddwa mu yeekaalu ya Mukama abaggazi ze basoloozezza ku bantu. 5 (E)Ensimbi ezo zikwasibwe abasajja abaalondebwa okulabirira omulimu ogwa yeekaalu basasule abakozi abaddaabiriza yeekaalu ya Mukama, 6 (F)ababazzi, n’abazimbi, n’abaasa b’amayinja. Ate era baguleko n’embaawo n’amayinja amateme nga byonna bya kuddaabiriza yeekaalu. 7 (G)Naye tebabuuzibwa engeri gye bakozesezaamu ensimbi ezo, kubanga basajja abakola n’obwesigwa.”
8 (H)Awo Kirukiya kabona asinga obukulu n’ategeeza Safani omuwandiisi nti, “Ekitabo eky’Amateeka nkizudde we kibadde mu yeekaalu[a].” N’akiwa Safani n’akisoma. 9 Safani omuwandiisi n’addayo eri kabaka n’amugamba nti, “Abakungu bawaddeyo ensimbi ezibadde mu yeekaalu ya Mukama era bazikwasizza abakozi n’abalabirizi ab’omulimu okuzikozesa n’okulabirira enkozesa yaazo.” 10 (I)Ate era Safani omuwandiisi n’ategeeza kabaka nti, “Kirukiya kabona, ampadde ekitabo.” Awo Safani n’akisomera kabaka.
11 Kabaka bwe yawulira ebigambo ebyasomebwa okuva mu Kitabo eky’Amateeka n’ayuza ebyambalo bye. 12 (J)N’alagira Kirukiya kabona, Akikamu mutabani wa Safani, ne Akubooli mutabani wa Mikaaya, ne Safani omuwandiisi, ne Asaya omuweereza wa kabaka nti, 13 (K)“Mugende mumbuulize eri Mukama, nze, n’abantu bange ne Yuda yonna ku bigambo ebiwandiikiddwa mu kitabo kino ekizuuliddwa. Obusungu bwa Mukama bungi nnyo gye tuli olwa bajjajjaffe obutawuliriza bigambo eby’omu kitabo kino, era tebaakola ng’ebyawandiikibwa bino bwe bitugamba.”
14 Awo Kirukiya kabona, ne Akikamu, ne Akubooli, ne Safani, ne Asaya ne bagenda eri Kuluda nnabbi omukyala muka Sallumu mutabani wa Tikuva muzzukulu wa Kalukasi omuwanika w’ebyambalo, okumwebuuzaako. Yabeeranga mu kitundu ekyokubiri mu Yerusaalemi. 15 N’abagamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti, 16 (L)‘Mutegeeze oyo abatumye nti ŋŋenda kuleeta ku kifo kino n’abantu bano akabi, ng’ebyawandiikibwa mu kitabo bwe bigamba, kabaka wa Yuda by’asomye. 17 (M)Olw’okunvaako n’olw’okwotereza obubaane eri bakatonda, nga baleetera obusungu bwange okubuubuuka olwa bakatonda be bakoze, ndibaleetako obusungu bwange era tewaliba n’omu alibukkakkanya.’ 18 (N)Naye mugambe kabaka wa Yuda eyabatumye okwebuuza ku Mukama nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti, ebikwata ku bigambo bye wawulidde: 19 (O)kubanga obadde mumenyefu mu mutima ne weetoowaza mu maaso ga Mukama bwe wawulidde ebigambo ebyo bye nayogedde ku kifo kino ne ku bantu bano, nti baakuzikirira era baggweewo, ate n’oyuza n’ebyambalo byo nga wennyamidde mu maaso gange, mpulidde okukaaba kwo, bw’ayogera Mukama. 20 (P)Kyendiva nkutwala eri bajjajjaabo, n’oziikibwa mu mirembe, era amaaso go tegaliraba kabi kendireeta ku kifo kino.’ ”
Awo ne bazaayo obubaka obwo eri kabaka.
Ssabbiiti kiwummulo ky’Abantu ba Katonda
4 (A)Noolwekyo ng’ekisuubizo eky’okuyingira mu kiwummulo kye, bwe kikyaliwo, twerinde, omuntu yenna ku mmwe aleme kulabika nga takituuseemu. 2 (B)Kubanga naffe tubuuliddwa Enjiri, nga nabo bwe baagibuulirwa. Kyokka baalema okukkiriza ekigambo kye baawulira, era tebaalina kye baagasibwa. 3 (C)Kubanga ffe abakkiriza, ffe tuyinza okuyingira mu kiwummulo kye, nga bwe yayogera nti,
“Kyennava ndayira nga nsunguwadde nti,
‘Tebaliyingira mu kiwummulo kyange.’ ”
Omulimu gwe gwaggwa ku kutondebwa kw’ensi. 4 (D)Kubanga waliwo w’ayogerera nti, “Katonda bwe yamala okukola emirimu gye gyonna n’awummulira ku lunaku olw’omusanvu.” 5 (E)Ayongera n’agamba nti, “Tebaliyingira mu kiwummulo kyange.”
6 (F)Kyaterekerwa abamu okuyingiramu, ate ng’abo abaasooka okubuulirwa Enjiri, tebaayingira olw’obujeemu. 7 (G)Katonda kyeyava ateekateeka nate olunaku, n’alutuuma leero, bwe yayogerera mu Dawudi, oluvannyuma lw’ekiseera ekiwanvu nti,
“Leero bwe munaawulira eddoboozi lye,
Temukakanyaza mitima gyammwe.
8 (H)Kubanga singa Yoswa yabatwala mu kifo eky’okuwummula, Katonda teyandiyogedde ku lunaku olulala olw’okuwummula.” 9 Naye Katonda atusuubizza olunaku olwa Ssabbiiti lwe tuliwummula, newaakubadde nga terunnatuuka. 10 (I)Kubanga oyo ayingira mu kiwummulo kya Katonda, awummula emirimu gye nga Katonda bwe yawummula ng’amaze emirimu gye. 11 (J)Noolwekyo tufubenga okuyingira mu kiwummulo ekyo, omuntu yenna alemenga kugoberera ekyokulabirako ekibi eky’abajeemu.
12 (K)Ekigambo kya Katonda kiramu era kikola. Kisala okusinga ekitala eky’obwogi obubiri, era kiyitamu ne kituukira ddala ku mmeeme n’omwoyo, n’ennyingo n’obusomyo, era kyawula ebirowoozo n’okufumiitiriza kw’omutima. 13 (L)Katonda amanyi ebintu byonna, so tewali kitonde na kimu ekikwekeddwa amaaso ge. Alaba buli kintu, era tulyogera mazima nga tumutegeeza buli kimu.
Yesu Kristo Kabona Asinga Obukulu
14 (M)Noolwekyo nga bwe tulina Kabona Asinga Obukulu, eyagenda mu ggulu, ye Yesu, Omwana wa Katonda, tunyweze okukkiriza kwe twayatula. 15 (N)Tulina Kabona Asinga Obukulu alumirwa awamu naffe mu bunafu bwaffe, eyakemebwa mu byonna nga ffe, kyokka n’atakola kibi kyonna. 16 Kale tusembererenga entebe ya Katonda ey’obwakabaka ey’ekisa n’obuvumu, tufune okusaasirwa n’ekisa tubeerwe mu kwetaaga kwaffe.
1 (A)Buno bwe bubaka bwa Mukama obwajjira Yoweeri mutabani wa Pesweri.
2 (B)Muwulirize mmwe abakadde ba Isirayiri,
buli ali mu nsi naye awulirize.
Kino kyali kibaddewo mu biseera byammwe,
oba mu biseera bya bakitammwe?
3 (C)Mukibuulire abaana bammwe,
nabo balikibuulira abaana baabwe,
nabo balikibuulira ab’emirembe egiriddawo.
4 (D)Ebibinja by’enzige ebisooka bye zitalidde,
enzige eziddirira zibirumbye,
ate ezo bye zireseewo,
enzige ento bye ziridde,
ate zino bye zireseewo,
enzige endala ne zibizikiririza ddala byonna!
5 (E)Muzuukuke, mmwe abatamiivu, mwekaabire amaziga;
mukube ebiwoobe mmwe mwenna abanywi b’omwenge,
mukube ebiwoobe kubanga akamwa kammwe
katuuse okwerabira omwenge omusu.
6 (F)Eggwanga lirumbye ensi yange,
ery’amaanyi ennyo era ery’abantu abatabalika.
Amannyo gaalyo gali ng’ag’empologoma,
n’amasongezo gaalyo ng’ag’empologoma enkazi.
7 (G)Eggwanga eryo lizikirizza emizabbibu gyange,
ne limalawo emitiini gyange.
Lisusumbudde ebikuta byagyo,
byonna biri ku ttaka,
amatabi gaagyo gasigadde gatukuuliridde.
8 (H)Mukungubage nga nnamwandu omuto afiiriddwa bba,
ng’ayambadde ebibukutu olw’ennaku.
9 (I)Ebiweebwayo eby’emmere ey’empeke n’ebiweebwayo eby’okunywa
tewakyali kirabikako mu nnyumba ya Mukama.
Bakabona abaweerereza mu maaso ga Katonda
bakungubaga.
10 (J)Ennimiro ziweddemu ebirime;
ettaka likaze,
Emmere ey’empeke eweddewo,
omwenge omusu n’amafuta g’emizeeyituuni ne bibulira ddala.
11 (K)Mmwe abalimi mukwatibwe entiisa,
mmwe abalima emizabbibu mukaabe.
Mukaabire eŋŋaano ne sayiri,
kubanga ebyandikunguddwa byonna biweddewo.
12 (L)Omuzabbibu gukaze
n’omutiini guyongobedde.
Omukomamawanga, n’olukindu ne apo
n’emiti gyonna egy’omu nnimiro giwotose.
Abantu tebakyalina ssanyu.
Abantu bayitibwa Okwenenya
13 (M)Mmwe bakabona, mwesibe mwambale ebibukutu mukungubage.
Mmwe abaweereza ba Katonda wange ab’oku kyoto,
mweyale wansi awali ekyoto,
musule awo ekiro kyonna nga mukuba ebiwoobe,
kubanga mu nnyumba ya Katonda wammwe temukyali kiweebwayo kyonna,
eky’emmere ey’empeke oba eky’envinnyo.
14 (N)Mulangirire okusiiba okutukuvu
n’okukuŋŋaana mu maaso ga Katonda.
Muyite abakulu abakulembeze
n’abantu bonna ababeera mu nsi,
bajje mu nnyumba ya Mukama Katonda waabwe
bamukaabirire.
15 (O)Zitusanze olw’olunaku luli!
Kubanga olunaku lwa Mukama olw’entiisa lusembedde.
Lulijja, ng’okuzikiriza
okuva eri Ayinzabyonna.
16 (P)Emmere tetuweddeeko
nga tulaba?
Essanyu n’okujaguza
mu nnyumba ya Katonda waffe tebikomye?
17 (Q)Ensigo ziwotokedde
mu ttaka,
amawanika makalu
n’ebyagi by’emmere bikaze,
kubanga emmere ey’empeke eweddewo.
18 Ensolo nga zisinda!
Amagana gabuliddwa amagezi;
kubanga tewali muddo,
n’endiga nazo zidooba.
Ya mukulu w’okuyimba. Zabbuli ya Dawudi.
140 (A)Omponye abakola ebibi, Ayi Mukama,
omponye abantu abakambwe;
2 (B)abateesa mu mitima gyabwe okukola ebibi;
abanoonya entalo buli kiseera.
3 (C)Ebigambo byabwe byogi ng’ennimi z’emisota;
ebiva mu kamwa kaabwe busagwa ng’obw’essalambwa.
4 (D)Onkuume abakola ebibi baleme okunkwatako, Ayi Mukama;
omponye abantu abakambwe
abateesa okunkyamya.
5 (E)Abantu ab’amalala banteze omutego;
banjuluzza ekitimba kyabwe;
ne batega emitego mu kkubo lyange.
6 (F)Nagamba Mukama nti, “Ggwe oli Katonda wange.”
Wulira okwegayirira kwange, onsaasire, Ayi Mukama!
7 (G)Ayi Mukama, Mukama wange, ggw’omponya n’amaanyi go,
ggwe engabo yange mu lutalo.
8 (H)Ayi Mukama, abakola ebibi tobawa bye beetaaga,
era tokkiriza ntekateeka zaabwe kutuukirira;
baleme kuba na malala wadde okwenyumiriza.
9 (I)Abanneetoolodde baleke enkwe zaabwe
zibeekyusizeeko baboneebone.
10 (J)Amanda agaaka omuliro gabagwire;
basuulibwe mu muliro,
bakasukibwe mu bunnya obutakoma mwe bataliva emirembe gyonna.
11 (K)Tokkiriza balimba kweyongera bungi;
abakambwe bayigganyizibwe bazikirire.
12 (L)Mmanyi nga Mukama ayamba abo ababonaabona, y’ayamba abanaku okuyisibwa mu bwenkanya.
13 (M)Abatuukirivu banaakutenderezanga,
era w’oli we banaabeeranga.
Zabbuli Ya Dawudi.
141 (N)Ayi Mukama nkukaabira; oyanguwe okujja gye ndi!
Owulire eddoboozi lyange, nga nkukoowoola.
2 (O)Okusaba kwange kubeere ng’ebyakaloosa mu maaso go,
n’okugolola emikono gyange gy’oli kubeere nga ssaddaaka ey’akawungeezi.
3 Onkuume, Ayi Mukama, nneme okwasamya akamwa kange,
era bwe njogera onkomeko.
4 (P)Okyuse omutima gwange guleme kugoberera kibi,
n’okwemalira mu bikolwa ebibi;
nneme okwetaba n’abantu abakola ebitali bya butuukirivu,
wadde okulya ku mmere yaabwe.
5 (Q)Leka omuntu omutuukirivu ankube, kubanga anaaba ankwatiddwa ekisa;
muleke annenye, ekyo kinaaba ng’amafuta amalungi agafukiddwa ku mutwe gwange;
sijja kugagaana.
Naye nnaasabanga bulijjo nga sikkiriziganya na babi wadde n’ebikolwa byabwe.
6 Abakola ebibi bwe baliweebwayo eri ab’okubasalira omusango,
olwo ne balyoka bayiga nti ebigambo byange bya mazima.
7 (R)Balyogera nti, “Ng’omuntu bw’akabala n’akuba amavuunike,
n’amagumba gaffe bwe galisaasaanyizibwa bwe gatyo mu kamwa k’emagombe.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.