Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Bible in 90 Days

An intensive Bible reading plan that walks through the entire Bible in 90 days.
Duration: 88 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Okukungubaga 2:1 - Ezeekyeri 12:20

(A)Obusungu bwa Mukama nga bubuubuukidde ku Muwala wa Sayuuni
    ne bumussa wansi w’ekire!
Ekitiibwa kya Isirayiri, Mukama akissizza wansi
    okuva mu ggulu okutuuka ku nsi;
ne yeerabira entebe ey’ebigere bye
    ku lunaku lwe yasunguwalirako.

(B)Mukama azikirizza
    abatuula mu Yakobo bonna awatali kubasaasira;
mu busungu bwe amenye
    ebigo eby’amaanyi eby’omuwala wa Yuda;
assizza wansi obwakabaka bwe n’abakungu be
    n’abamalamu ekitiibwa.

(C)Mu busungu obungi
    amaanyi gonna aga Isirayiri agakendeezezza;
bw’alabye omulabe ng’asembera,
    n’aggyawo omukono gwe ogwa ddyo;
anyiigidde Yakobo okufaanana ng’omuliro
    bwe gubumbujja ne gwokya buli ekiguliraanye.

(D)Anaanudde omutego gwe okufaanana nga ogw’omulabe,
    era omukono gwe ogwa ddyo mweteefuteefu.
Azikirizza ebyo byonna ebisanyusa amaaso
    mu weema ey’omuwala wa Sayuuni,
okufaanana ng’omulabe bwe yandikoze;
    obusungu bwe bubuubuuka ng’omuliro.

(E)Mukama afuuse ng’omulabe;
    azikirizza Isirayiri,
n’azikiriza embiri ze,
    n’azikiriza n’ebifo bye eby’amaanyi.
Aleetedde muwala wa Yuda
    okweyongera okukaaba n’okukungubaga.

(F)Asaanyizzaawo eweema ye n’efaanana ng’ennimiro,
    era azikirizza n’ekifo kye eky’Okukuŋŋaanirangamu.
Mukama yeerabizza Sayuuni
    embaga ze entukuvu ne ssabbiiti,
era mu busungu bwe obungi
    anyoomye kabaka ne kabona.

(G)Mukama atamiddwa ekyoto kye,
    n’alekulira n’ekifo kye ekitukuvu.
Awaddeyo bbugwe w’embiri ze eri omulabe;
    era baleekaanidde mu nnyumba ya Mukama,
ne baleetamu oluyoogaano
    nga ku lunaku olw’embaga entukuvu.

(H)Mukama yamalirira okumenya
    bbugwe eyeetoolodde muwala wa Sayuuni,
n’agolola omuguwa ogupima,
    Omukono gwe ne guteewala kuzikiriza.
Yaleetera enkomera ne bbugwe okukungubaga,
    byonna ne biggweerera.

(I)Emiryango gye gisse mu ttaka,
    n’emitayimbwa gyagyo agimenye n’agyonoona.
Kabaka we n’abakungu be baawaŋŋangusizibwa,
    eteri mateeka gaabwe agabafuga,
era ne bannabbi be tebakyafuna
    kwolesebwa kuva eri Mukama.

10 (J)Abakadde b’Omuwala wa Sayuuni
    batuula wansi ku ttaka nga basiriikiridde;
bayiye enfuufu ku mitwe gyabwe
    era beesibye ebibukutu;
n’abawala ba Yerusaalemi
    bakotese emitwe gyabwe.

11 (K)Amaaso gange gakooye olw’okukaaba
    n’emmeeme yange enyiikadde
n’omutima gwange gulumwa
    olw’okuzikirizibwa kw’abantu bange,
n’olw’abaana abato n’abaana abawere okuzirikira
    wakati mu nguudo ez’omu kibuga.

12 (L)Bakaabirira bannyaabwe nga bwe boogera nti,
    “Omugaati n’envinnyo biri ludda wa?”
nga bwe bazirika okufaanana ng’abaliko ebiwundu
    mu nguudo ez’ekibuga,
nga bwe bakaabira
    mu bifuba bya bannyaabwe.

13 (M)Nnyinza kugamba ki,
    era kiki kye nnyinza okukugeraageranyaako
    ggwe Omuwala wa Yerusaalemi?
Kiki kye nnyinza okukufaananya,
    okukusanyusa ggwe
    Omuwala Embeerera owa Sayuuni?
Ekiwundu kyo kinene nnyo,
    kale ani ayinza okukiwonya?

14 (N)Okwolesebwa bannabbi bo kwe baafuna,
    kwali kwa bulimba era kwa butaliimu;
tebaakutegeeza obutali butuukirivu bwo
    okukuwonya obusibe.
Engero ze baabanyumizanga
    zaali za bulimba era eziwabya.

15 (O)Bonna abayitawo
    babakubira mu ngalo
ne bafuuwa empa ne banyeenyeza
    omuwala wa Yerusaalemi emitwe gyabwe nga boogera nti,
“Kino kye kibuga ekyayitibwanga
    ekituukiridde,
    era essanyu ly’ensi zonna?”

16 (P)Abalabe bo bonna
    baasaamiridde nga beewuunya;
nga bafuuwa empa, era baluma amannyo
    nga boogera nti, “Tumuzikirizza.
Luno lwe lunaku lwe twalindirira,
    kaakano lutuukiridde, era tululabye.”

17 (Q)Mukama akoze kye yateekateeka,
    era atuukirizza ekigambo kye
    kye yalagira mu nnaku ez’edda.
Akuzikirizza awatali kukusaasira,
    aleetedde omulabe wo okukusekerera,
    n’amaanyi g’abalabe bo agagulumizza.

18 (R)Kaabirira Mukama
    n’eddoboozi ery’omwanguka
ggwe Omuwala wa Sayuuni.
    Leka amaziga go gakulukute ng’omugga
    emisana n’ekiro.
Teweewummuza so toganya
    maaso go kuwummula.

19 (S)Golokoka, okaabe ekiro
    obudde nga bwa kaziba;
Fuka emmeeme yo ng’amazzi
    mu maaso ga Mukama.
Yimusa emikono gyo gy’ali,
    olw’obulamu bw’abaana bo abato
abazirise olw’enjala
    mu buli luguudo.

20 (T)“Tunula, Ayi Mukama Katonda osaasire!
    Ani gwe wali obonerezza bw’otyo?
Ddala, abakyala balye ebibala by’embuto zaabwe,
    abaana be bakuzizza?
Ddala, bakabona ne bannabbi battibwe
    mu watukuvu wa Mukama?

21 (U)“Abato n’abakulu bonna bafiiridde wamu
    mu nfuufu ey’enguudo;
abavubuka bange ne bawala bange
    battiddwa n’ekitala;
obattidde ku lunaku olw’obusungu bwo,
    era obasse awatali kusaasira.

22 (V)“Nga bw’oyita abantu ku lunaku olw’embaga,
    bw’otyo bw’ompitidde ebikemo ku njuyi zonna;
era ku lunaku olw’obusungu bwa Mukama,
    tewali n’omu eyasimattuka newaakubadde eyasigalawo;
abo be nalabirira ne nkuza,
    omulabe wange be yazikiriza.”
(W)Nze muntu eyakangavvulwa
    n’omuggo ogw’obusungu bwe.
(X)Angobye mu maaso ge n’antambuliza
    mu kizikiza, awatali kitangaala;
(Y)ddala, omukono gwe gunnwanyisizza
    emirundi egiddiriŋŋanwa olunaku lwonna.

(Z)Akaddiyizza omubiri gwange n’eddiba lyange
    era amenye n’amagumba gange.
(AA)Antaayizza n’anzijuza
    obulumi n’okubonaabona.
(AB)Antadde mu kizikiza
    ng’abafu abaafa edda.

(AC)Ankomedde n’okuyinza ne siyinza kudduka,
    ansibye enjegere ezizitowa.
(AD)Ne bwe mukoowoola ne mukaabira nga mmusaba anyambe,
    okusaba kwange akuggalira bweru.
(AE)Anteeredde amayinja mu kkubo lyange
    era akyamizza amakubo gange.

10 Ng’eddubu bwe liteega,
    n’empologoma bwe yeekweka
11 (AF)yansikambula n’anziggya mu kkubo lyange n’antaagulataagula
    n’andeka awo nga sirina anyamba.
12 (AG)Yanaanuula omutego gwe,
    n’anteekawo okuba ssabbaawa ey’obusaale bwe.

13 (AH)Yafumita omutima gwange
    n’obusaale okuva mu mufuko gwe.
14 (AI)Nafuuka ekisekererwa eri abantu bonna,
    era bannyooma nga bannyimbirira okuzibya obudde.
15 (AJ)Anzijuzza ebikaawa
    era ampadde ekikompe eky’obubalagaze nkinywe.

16 (AK)Ampadde oluyinjayinja okululya amannyo gange ne gamenyeka;
    anninnyiridde mu nfuufu.
17 Emmeeme yange terina mirembe,
    n’okujjukira sijjukira bugagga bwe bufaanana.
18 (AL)Era njogera nti, “Ekitiibwa kyange kigenze,
    n’essuubi lyonna lye nalina mu Mukama limpeddeko.”

19 Nzijukira okubonaabona kwange n’okuwankawanka kwange,
    n’obulumi n’obubalagaze.
20 (AM)Mbijjukira bulungi
    era bwe mbirowoozaako omutima gwange gulumwa.
21 Ebyo byonna mbijjukira,
    kyenvudde mbeera n’essuubi.

22 (AN)Olw’okwagala kwa Mukama okutaggwaawo,
    tetulimalibwawo, kubanga ekisa kye tekiggwaawo.
23 (AO)Buli lukya ekisa kyo kiba kiggya;
    n’obwesigwa bwo bwa lubeerera.
24 (AP)Njogera mu mutima gwange nti, “Mukama gwe mugabo gwange,
    kyenaava mbeera n’essuubi mu ye.”

25 (AQ)Mukama mulungi eri abo abamulinamu essuubi,
    eri oyo amunoonya.
26 (AR)Kirungi omuntu okulindirira
    obulokozi bwa Mukama n’obukkakkamu.
27 Kirungi omuntu okwetikka ekikoligo kye
    mu buvubuka bwe.

28 (AS)Atuulenga yekka mu kasirise
    kubanga Mukama y’akimwambiseemu.
29 (AT)Leka akweke amaaso ge mu nfuufu, mpozi wanaabaawo essuubi.
30 (AU)Leka aweeyo oluba lwe okukubibwa,
    era amalibwe n’okuvumibwa.

31 (AV)Kubanga Mukama taligobera bantu bweru
    ebbanga lyonna.
32 (AW)Newaakubadde ng’aleeta obulumi, aliraga ekisa
    kubanga okwagala kwe kungi nnyo tekuggwaawo.
33 (AX)Tagenderera kuleeta bulumi
    newaakubadde okubonaabona ku baana ba bantu.

34 Mukama akkiriziganya
    n’okulinnyirira abasibe,
35 n’okuggyako omuntu obwetwaze bwe
    mu maaso g’Oyo Ali Waggulu Ennyo,
36 (AY)oba n’obutaba na bwenkanya eri omuntu?

37 (AZ)Ani ayinza okwogera ekintu ne kituukirira,
    Mukama nga takiragidde?
38 (BA)Mu kamwa k’oyo Ali Waggulu Ennyo,
    si mmwe muva ebigambo eby’okubeerwa n’eby’okubonereza?
39 (BB)Lwaki omuntu omulamu yeemulugunya,
    bw’abonerezebwa olw’ebibi bye?

40 (BC)Twekebere engeri zaffe, era tuzeetegereze,
    tudde eri Mukama.
41 (BD)Tuyimuse emitima gyaffe n’emikono gyaffe
    eri Katonda mu ggulu, twogere nti,
42 (BE)“Twayonoona ne tujeema,
    tokyerabiranga era tonatusonyiwa.

43 (BF)“Ojjudde obusungu n’otugobaganya,
    n’otutta awatali kutusaasira.
44 (BG)Weebisseeko ekire,
    waleme okubaawo okusaba n’okumu okutuuka gy’oli.
45 (BH)Otufudde obusa n’ebisasiro
    mu mawanga.

46 (BI)“Abalabe baffe bonna batwogerako
    ebigambo ebibi.
47 (BJ)Tubonyeebonye olw’entiisa n’emitego
    n’okunyagibwa n’okuzikirizibwa.”
48 (BK)Amaaso gange gakulukuta emigga gy’amaziga
    olw’okuzikirira kw’abantu bange.

49 (BL)Era amaaso gange ganeeyongeranga okukulukuta amaziga
    awatali kusirika,
50 (BM)okutuusa Mukama lw’alisinzira
    mu ggulu n’alaba.
51 Bye ndaba bireeta ennaku ku mutima gwange,
    olw’ebyo ebyatuuka ku bawala b’ekibuga kyange.

52 (BN)Abalabe bange banjigganya olutata
    ne baba ng’abayigga ennyonyi.
53 (BO)Bagezaako okuzikiririza obulamu bwange mu bunnya,
    ne bankasuukirira amayinja;
54 (BP)amazzi gaabikka omutwe gwange,
    ne ndowooza nti, nsanyeewo.

55 (BQ)“Nakoowoola erinnya lyo, Ayi Mukama,
    nga ndi mu bunnya wansi ennyo;
56 (BR)wawulira okwegayirira kwange: toziba matu go
    eri okukaaba kwange.”
57 (BS)Bwe nakukoowoola wansemberera
    n’oyogera nti, “Totya!”

58 (BT)Mukama watunula mu nsonga yange,
    era n’onunula obulamu bwange.
59 (BU)Ayi Mukama, walaba ebibi bye bankola,
    obasalire omusango nga bwe kibagwanira.
60 (BV)Walaba bwe bampalana,
    n’enkwe zaabwe zonna ze bansalira.

61 Wawulira bye banvuma, Ayi Mukama Katonda,
    n’enkwe zaabwe zonna ze bansalira,
62 (BW)obwama n’ebirowoozo eby’abalabe bange
    bye bantesaako obudde okuziba.
63 Batunuulire mu kutuula kwabwe ne mu kuyimirira kwabwe;
    bannyooma nga bwe bannyimbirira.

64 (BX)Obasasule nga bwe kibagwanira Ayi Mukama Katonda,
    olw’ebikolwa eby’emikono gyabwe.
65 (BY)Osseeko ekibikka ku mitima gyabwe,
    n’ekikolimo kyo kibabeereko.
66 Obayigganye mu busungu bwo obazikirize
    ng’osinziira mu ggulu lya Mukama Katonda.
(BZ)Zaabu ng’ettalazze!
    Zaabu ennungi ng’efuuse!
Amayinja ag’omuwendo gasaasaanye
    buli luguudo we lutandikira.

Abaana ba Sayuuni ab’omuwendo
    abaali beenkana nga zaabu ennungi,
kaakano bali ng’ensuwa ez’ebbumba,
    omulimu gw’emikono gy’omubumbi.

(CA)Ebibe biyonsa
    abaana baabyo,
naye abantu bange bafuuse ng’abatalina kisa,
    bafaanana nga bammaaya mu ddungu.

(CB)Olw’ennyonta omwana ayonka gy’alina,
    olulimi lwe lukwatira ku kibuno ky’akamwa ke;
abaana basaba emmere
    naye tewali n’omu agibawa.

(CC)Abaalyanga ebiwoomerera
    basabiriza ku nguudo;
n’abo abaakuzibwa ng’abambala engoye ezinekaaneka
    bali ku ntuumu ez’ebisasiro.

(CD)Ekibonerezo ky’abantu bange
    kisinga ekya Sodomu,
ekyawambibwa mu kaseera akatono,
    nga tewali n’omu azze kukibeera.

Abalangira baabwe baatukula nnyo okusinga omuzira,
    nga beeru okusinga amata;
n’emibiri gyabwe nga mimyufu okusinga amayinja amatwakaavu,
    era banyirivu nga safiro.

(CE)Naye kaakano badduggala okusinga enziro,
    era tebakyasobola kutegeerekeka mu nguudo.
Olususu lwabwe lukalidde ku magumba gaabwe;
    lukaze ng’ekiti ekikalu.

(CF)Abafa ekitala bafa bulungi
    okusinga abafa enjala,
kubanga abafa enjala bayongobera ne baggwaawo
    olw’obutaba na mmere mu nnimiro.

10 (CG)Abakazi ab’ekisa abaagala abaana
    bafumbye abaana baabwe;
abaana abaafuuka emmere
    abantu bange bwe baazikirizibwa.

11 (CH)Mukama akituukirizza mu busungu bwe obungi,
    era abayiyeeko obusungu bwe obungi.
Yakoleeza omuliro mu Sayuuni
    ogwayokya emisingi gyakyo.

12 (CI)Bakabaka b’ensi
    n’abantu ab’ensi endala tebakkiriza,
nti abalabe n’ababakyawa baliyingira
    mu wankaaki wa Yerusaalemi.

13 (CJ)Ebyo byabatuukako olw’ebibi bya bannabbi be,
    n’olw’obutali butuukirivu bwa bakabona be,
abaayiwa omusaayi
    gw’abatuukirivu abaababeerangamu.

14 (CK)Badoobera mu nguudo
    nga bamuzibe;
bajjudde omusaayi
    so tewali ayaŋŋanga okukwata ku byambalo byabwe.

15 (CL)Abantu baabagobaganya nga boogera nti, “Muveewo, mmwe abatali balongoofu!
    Muviireewo ddala, so temutukwatako!”
Bwe baafuuka emmombooze,
    amawanga gabagobaganya nga boogera nti,
    “Tebakyasaana kubeera wano.”

16 (CM)Mukama yennyini abasaasaanyizza,
    takyabafaako.
Bakabona tebakyassibwamu kitiibwa,
    newaakubadde abakadde okuweebwa ebifo eby’oku mwanjo.

17 (CN)Amaaso gaffe gakooye
    olw’okulindirira okubeerwa okutajja;
nga tulindirira
    eggwanga eriyinza okutulokola.

18 (CO)Baatucocca
    ne batulemesa okutambulira mu nguudo zaffe;
enkomerero yaffe n’eba kumpi,
    n’ennaku zaffe ne ziggwaayo.

19 (CP)Abaatuyiganyanga baatusinga embiro
    okusinga n’empungu ez’omu bbanga.
Baatugobera mu nsozi
    ne batuteegera mu ddungu.

20 (CQ)Oyo Mukama gwe yafukako amafuta
    yagwa mu mitego gyabwe.
Twalowooza nga tulikwekebwa mu kisiikirize kye
    ne tubeeranga mu mawanga.

21 (CR)Sanyuka ojaguze, ggwe Omuwala wa Edomu,
    abeera mu nsi ya Uzi;
naye lumu olinywa ku kikompe
    n’otamiira ne weeyambula.

22 (CS)Ggwe Muwala wa Sayuuni, ekibonerezo kyo kikomye awo,
    talikwongerayo mu busibe.
Naye ggwe omuwala wa Edomu, Mukama alikubonereza,
    n’ayanika ekibi kyo mu lujjudde.
(CT)Jjukira Ayi Mukama ekitutuuseeko.
    Tunula olabe ennaku yaffe.
(CU)Omugabo gwaffe guweereddwa bannamawanga,
    n’amaka gaffe gatwaliddwa abatali ba mu nnyumba.
(CV)Tufuuse bamulekwa abatalina bakitaabwe,
    ne bannyaffe bafuuse bannamwandu.
(CW)Tusasulira amazzi ge tunywa;
    n’enku tuteekwa okuzigula.
(CX)Abatucocca batugobaganya;
    tukooye ate nga tetulina wa kuwummulira.
(CY)Twakola endagaano ne Misiri n’Abasuuli
    okutufuniranga ku mmere.
(CZ)Bajjajjaffe baayonoona, ne bafa,
    naye tubonerezebwa olw’ebikolwa byabwe ebitaali bya butuukirivu.
(DA)Abaddu be batufuga,
    tewali n’omu ayinza okutulokola mu mukono gwabwe.
Tuba kumpi n’okuttibwa nga tunoonya emmere,
    olw’ekitala ekiri mu ddungu.
10 (DB)Olususu lwaffe luddugadde ng’enziro
    olw’enjala ennyingi.
11 (DC)Abakyala ba Sayuuni,
    n’abawala embeerera ab’omu bibuga bya Yuda bakwatiddwa olw’amaanyi.
12 (DD)Abalangira bawanikibbwa baleebeetera ku mikono gyabwe
    n’abakadde tewali abassaamu kitiibwa.
13 Abavubuka bawalirizibwa okusa emmere ku jjinja ne ku lubengo,
    n’abalenzi batagala nga beetisse entuumu z’enku.
14 (DE)Abakadde tebakyatuula mu wankaaki w’ekibuga,
    n’abavubuka tebakyayimba.
15 (DF)Emitima gyaffe tegikyasanyuka,
    n’okuzina kwaffe kufuuse kukungubaga.
16 (DG)Engule egudde okuva ku mitwe gyaffe.
    Zitusanze kubanga twonoonye!
17 (DH)Emitima gyaffe kyegivudde gizirika,
    era n’amaaso gaffe kyegavudde gayimbaala.
18 (DI)Olw’okuba nga olusozi Sayuuni lulekeddwa nga lwereere,
    ebibe kyebivudde bitambulirako.

19 (DJ)Ggwe, Ayi Mukama obeerera ennaku zonna;
    entebe yo ey’obwakabaka ya mirembe na mirembe.
20 (DK)Lwaki otwelabiririra ddala okumala ennaku ezo zonna?
    Tuddiremu, Ayi Mukama, tudde gy’oli.
21 (DL)Tukomyewo gy’oli Ayi Mukama,
    otuzze buggya ng’edda;
22 (DM)wabula ng’otusuulidde ddala,
    era ng’otusunguwalidde nnyo nnyini obutayagala na kutuddiramu.

Ebintu Ebiramu n’Ekitiibwa kya Mukama

(DN)Awo mu mwaka ogw’amakumi asatu mu mwezi ogwokuna ku lunaku olwokutaano mu mwezi ogwo, bwe nnali nga ndi mu buwaŋŋanguse ku mabbali g’omugga Kebali, eggulu ne libikkulwa, ne ndaba okwolesebwa okuva eri Katonda. (DO)Ku lunaku olwokutaano mu mwezi ogwo, gwe gwali omwaka ogwokutaano ogw’obuwaŋŋanguse bwa kabaka Yekoyakini, (DP)ekigambo kya Mukama ne kinzijjira, nze Ezeekyeri kabona, mutabani wa Buuzi, mu nsi ey’Abakaludaaya ku mabbali g’omugga Kebali, n’omukono gwa Mukama gwali ku ye.

(DQ)Awo ne ntunula ne ndaba kibuyaga ng’ava mu bukiikakkono, n’ekire ekikutte ekimyansa ekyamwetooloola, wakati nga wafaanana ng’awali ekyuma ekimasamasa. (DR)Wakati mu muliro mwalabika ng’omwali ebiramu ebina, nga birina ekifaananyi ky’omuntu. (DS)Buli kimu kyalina obwenyi buna, n’ebiwaawaatiro bina. (DT)Amagulu gaabyo gaali magolokofu, n’ebigere byabyo nga bifaanana ekigere ky’ennyana, era nga bitangalijja ng’ekikomo ekizigule. (DU)Byalina engalo ez’omuntu wansi w’ebiwaawaatiro byabyo ku njuyi zaabyo ennya. Byonna ebina byalina obwenyi n’ebiwaawaatiro, (DV)era ebiwaawaatiro byabyo nga bisonga waggulu, buli kiwaawaatiro nga kikoona ku kinnaakyo. Buli kimu kyatambula nga kiraga mu maaso, nga tekikyuse kutunula mabega.

10 (DW)Obwenyi bwabyo bwafaanana bwe buti: Buli kimu kyalina ekyenyi eky’omuntu, oluuyi olwa ddyo olwa buli kyenyi nga lufaanana ekyenyi eky’empologoma, n’oluuyi olwa kkono ku buli kyenyi nga lufaanana ekyenyi eky’ente, ate nga birina n’ekyenyi ky’emunyungu. 11 (DX)Ebyenyi byabyo n’ebiwaawaatiro byabyo byali byanjuluze nga bitunudde waggulu. Buli kimu kyalina ebiwaawaatiro bibiri, buli kiwaawaatiro nga kikona ku kinnaakyo, ebibiri ebirala nga bibisse ku mibiri gyabyo. 12 Buli kimu kyali kitunudde gye kyali kiraga. Omwoyo gye yalaganga nabyo gye byalaganga, ne bitakyuka kudda mabega. 13 (DY)Endabika ey’ebiramu ebyo yafaanana ng’omuliro ogwaka ogw’amanda oba omuliro ogw’omumuli. Omuliro gwavanga mu maaso n’emabega, nga gwakaayaakana era nga gumyansa. 14 (DZ)Ebiramu byetawulanga ng’okumyansa okw’eggulu.

15 Bwe nnali nga nkyali ku ebyo, ne ndaba zinnamuziga ku ttaka emabbali wa buli kiramu, n’ebyenyi byabyo ebina. 16 (EA)Endabika eya zinnamuziga n’okukolebwa kwazo kwali nga berulo,[a] zonna nga zifaanana. Buli emu yafaanana nga nnamuziga ekwataganye ne ginnaayo. 17 (EB)Era zeetoolooleranga mu njuyi zonna ennya, nga tezizinaazina ng’ebiramu bitambula. 18 (EC)Empanka zaazo zaali mpanvu nga zitiisa, era empanka ennya zonna nga zijjuddemu amaaso.

19 Ebiramu bwe byaseeseetukanga, zinnamuziga zaabyo nazo ne ziseeseetuka; ebiramu bwe byagolokokanga okuva mu ttaka zinnamuziga nazo ne zigolokoka. 20 (ED)Omwoyo buli gye yabanga agenda, gye byagendanga, ne zinnamuziga ne zisitukira wamu nazo, kubanga omwoyo eyali mu biramu ye yabanga ne mu zinnamuziga. 21 (EE)Ebiramu bwe byaseeseetukanga, nazo ne ziseeseetuka, ebiramu bwe byasitukanga, nazo ne zisituka; ebiramu bwe byagolokokanga okuva ku ttaka, ne zinnamuziga ne zigolokokera wamu nazo, kubanga omwoyo ow’ebiramu yabanga mu zinnamuziga.

22 (EF)Waggulu w’emitwe gy’ebiramu waliwo ekifaananyi eky’ekifo ekigazi, ekyatemagananga ng’omuzira. 23 Wansi w’ekifo ekyo ekigazi ebiwaawaatiro byabyo byali bigolole, nga bituukagana, buli kiramu nga kirina ebiwaawaatiro bibiri ebyabikkanga emibiri gyabyo. 24 (EG)Ebiramu bwe byagenda, nawulira okuwuuma kw’ebiwaawaatiro byabyo, ng’okuwuuma kw’amazzi amangi, ng’eddoboozi lya Ayinzabyonna, ng’oluyoogaano lw’eggye. Bwe byayimirira, ne bissa ebiwaawaatiro byabyo.

25 Awo ne wawulikika eddoboozi okuva waggulu w’ekifo ekigazi waggulu w’emitwe gyabyo, bwe byayimiriranga nga bissizza ebiwaawaatiro byabyo. 26 (EH)Waggulu w’ekifo ekigazi waggulu w’emitwe gyabyo waaliwo ekyafaanananga entebe ey’obwakabaka, eya safiro, ate waggulu w’ekifaananyi eky’entebe ey’obwakabaka nga watuddeyo eyafaanana ng’omuntu. 27 (EI)Ekyo nakirabira ku kyafaanana ng’ekiwato kye, okwambuka ng’afaanana ng’ekyuma ekyengeredde, nga kiriko omuliro mungi; n’okuva mu kiwato kye okukka ng’afaanana omuliro, nga yeetooloddwa okumasamasa enjuuyi zonna. 28 (EJ)Ekitiibwa ekyamwetooloolanga kyafaanana nga musoke mu bire ku lunaku olw’enkuba. Ekyo kye kyali ekifaananyi eky’ekitiibwa kya Mukama.

Bwe nakiraba, ne nvuunama, ne mpulira eddoboozi ly’oyo eyali ayogera.

Okuyitibwa kwa Ezeekyeri

(EK)N’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, yimirira njogere naawe.” (EL)Awo bwe yali ng’akyayogera nange, Omwoyo nanzikako n’annyimusa, ne mpulira ng’ayogera nange.

(EM)N’ayogera nti, “Omwana w’omuntu, nkutuma eri Abayisirayiri, eri eggwanga ejeemu eryanjeemera, era bo ne bajjajjaabwe banjeemera okuva edda n’okutuusa olunaku lwa leero. (EN)Abantu be nkutumamu bakakanyavu era bakozi ba bibi. Bategeeze nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,’ (EO)Oba banaawuliriza oba tebaawulirize, kubanga nnyumba njeemu, balimanya nga mu bo musituseemu nnabbi. (EP)Kaakano ggwe omwana w’omuntu, tobatya newaakubadde ebigambo bye banaayogera, newaakubadde emyeramannyo n’amaggwa nga bikwetoolodde, era ng’obeera wakati mu njaba ez’obusagwa. Totya bigambo bye banaayogera newaakubadde okutekemuka kubanga nnyumba njeemu. (EQ)Oteekwa okubategeeza ebigambo byange, oba banaawuliriza oba tebaawulirize, kubanga bajeemu. (ER)Naye ggwe omwana w’omuntu wuliriza kye nkugamba. Tojeema ng’ennyumba eyo bwe yanjeemera. Yasamya akamwa ko olye bye nkuwa.”

(ES)Awo ne ntunula, ne ndaba omukono nga gugoloddwa gye ndi, mu gwo nga mulimu omuzingo gw’ekitabo. 10 (ET)N’agwanjuluriza mu maaso gange, munda nga muwandiikibbwamu ne kungulu nga kuwandiikibbwako ebigambo eby’okukungubaga n’okukuba ebiwoobe, n’okukaaba.

Awo n’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, lya ekiri mu maaso go, lya omuzingo gw’empapula guno; oluvannyuma ogende oyogere eri ennyumba ya Isirayiri.” Ne njasama, n’ampa omuzingo gw’empapula ne ngulya.

(EU)N’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, lya omuzingo gw’empapula gwe nkuwa, ojjuze olubuto lwo.” Ne ngulya, ne guwoomerera ng’omubisi gw’enjuki.

Oluvannyuma n’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, kaakano laga eri ennyumba ya Isirayiri oyogere ebigambo byange gye bali. (EV)Sikutuma eri eggwanga eririna enjogera etategeerekeka era abalina olulimi oluzibu, b’otayinza kutegeera mu njogera, naye eri ennyumba ya Isirayiri, (EW)so si eri abantu abangi abalina enjogera etategeerekeka era abalina olulimi oluzibu, b’otayinza kutegeera bye bagamba. Mazima singa nakutuma gye bali, bandikuwulirizza. (EX)Naye ennyumba ya Isirayiri si beetegefu kukuwuliriza kubanga si beetegefu kumpuliriza; era ennyumba ya Isirayiri yonna balina ekyenyi kikalubo n’emitima mikakanyavu. (EY)Naye naawe ndikufuula omukalubo era omukakanyavu mu mutima nga bo. (EZ)Ndifuula ekyenyi kyo okuba ng’ejjinja erikaluba ennyo, erikaluba ng’ejjinja ery’embaalebaale. Tobatya so totiisibwatiisibwa, newaakubadde nga nnyumba njeemu.” 10 N’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, wuliriza bulungi era okwate ebigambo byonna bye njogera naawe. 11 (FA)Genda kaakano eri abantu bo, mu buwaŋŋanguse, oyogere nabo. Bagambe nti, Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda, obanga banaawulira, obanga tebaawulire.”

12 (FB)Awo Omwoyo n’ansitula, ne mpulira emabega wange eddoboozi ng’okuwuluguma okunene nga lyogera nti, “Ekitiibwa kya Mukama kyebazibwe mu kifo gy’abeera.” 13 (FC)Okuwuuma okw’ebiwaawaatiro by’ebiramu nga bikuubagana, n’okuwuuma kwa zinnamuziga ku mabbali gaabyo kwali ng’okuwuluguma okw’amaanyi. 14 Omwoyo n’ansitula n’antwala, ne ŋŋendera mu buyinike ne mu busungu, ng’omukono gwa Mukama ogw’amaanyi guli ku nze. 15 (FD)Ne ntuuka mu kifo ekimu awaali abawaŋŋanguse e Terabibu ku mugga Kebali, ne ntuula mu bo okumala ennaku musanvu, nga nsamaaliridde.

Okulabula Isirayiri

16 (FE)Oluvannyuma lw’ennaku omusanvu ekigambo kya Mukama ne kinzijira: 17 (FF)“Omwana w’omuntu, nkufudde omukuumi w’ennyumba ya Isirayiri, era buli lw’onoowuliranga ekigambo kye nnaayogeranga, balabulenga. 18 (FG)Bwe ŋŋamba atali mutuukirivu nti, ‘Mazima tolirema kufa,’ n’otamulabula newaakubadde okwogera naye ng’omulabula alekeyo engeri ze ezitali za butuukirivu asobole okuwonya obulamu bwe, omuntu oyo atali mutuukirivu alifa olw’obutali butuukirivu bwe, naye omusaayi gwe ndiguvunaana ggwe. 19 (FH)Naye bw’olirabula omuntu atali mutuukirivu, n’atalekaayo obutali butuukirivu, newaakubadde engeri ze embi, alifa olw’ekibi kye, naye obulamu bwo bulilokolebwa.

20 (FI)“Ate era bw’alireka ebikolwa bye eby’obutuukirivu n’akola ebibi, ne nteeka enkonge mu maaso ge, alifa. Olw’okubanga tewamulabula, alifa olw’ekibi kye. Ebikolwa eby’obutuukirivu bye yakola tebirijjukirwa, era ndikuvunaana olw’omusaayi gwe. 21 (FJ)Kyokka bw’olabulanga omutuukirivu obutayonoona, n’atayonoona, ddala ddala aliba mulamu kubanga yawulira okulabula kwo, era naawe oliba weerokodde.”

22 (FK)Omukono gwa Mukama gw’andiko eyo, n’aŋŋamba nti, “Golokoka olage ku ttale, era eyo gye nnaayogerera naawe.” 23 (FL)Ne nsituka ne ndaga ku ttale. Ekitiibwa kya Mukama kyaliwo, nga kifaanana ekitiibwa kye nalaba ku Mugga Kebali; ne neeyala wansi.

24 (FM)Awo Omwoyo n’anzikako, n’annyimusa okuva we nnali, n’aŋŋamba nti, “Genda weggalire mu nnyumba yo. 25 (FN)Ggwe omwana w’omuntu balikusiba emiguwa, n’olemwa okugenda okulaba abantu bo. 26 (FO)Ndiziba akamwa ko, n’osirikira ddala, n’olema okubanenya, newaakubadde nga nnyumba njeemu. 27 (FP)Kyokka bwe ndyogera gy’oli, ndizibula akamwa ko era olibagamba nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Ayinzabyonna.’ Aliwuliriza kale aliwuliriza, n’oyo aligaana okuwuliriza naye muleke agaane okuwuliriza; nnyumba njeemu.”

Ekifaananyi Ekiraga Okuzingizibwa kwa Yerusaalemi

“Kaakano omwana w’omuntu, ddira ekipande eky’ebbumba okiteeke mu maaso go, okikubeko ekifaananyi ky’ekibuga Yerusaalemi, (FQ)okizingize, okizimbeko bbugwe okukyetooloola, okituumeko ekifunvu, era oteekewo ensiisira okukyetooloola n’ebifunvu bye banaatomera enjuuyi zonna.

(FR)“Oluvannyuma oddire olukalango olw’ekyuma, oluteeke okuba bbugwe ow’ekyuma wakati wo n’ekibuga, okyuke okitunuulire. Kiriba mu mbeera ey’okuzingizibwa, era naawe kizingize. Ako kaliba kabonero eri ennyumba ya Isirayiri.

“N’oluvannyuma oligalamira ku lubiriizi lwo olwa kkono n’oddira ekibi ky’ennyumba ya Isirayiri okyeteekeko. Olyetikka ekibi kyabwe ennaku z’olimala ng’ogalamidde ku lubiriizi lwo. Ennaku z’olimala ezenkanankana emyaka gye baamala nga boonoona. Noolwekyo olimala ennaku ebikumi bisatu mu kyenda nga weetisse ekibi ky’ennyumba ya Isirayiri.

(FS)“Ekyo bw’olikimala, oligalamira nate, ku mulundi guno ku lubiriizi lwo olwa ddyo, ne weetikka ekibi ky’ennyumba ya Yuda. Olimala ennaku amakumi ana, buli lunaku mwaka. Olikyusa amaaso go n’otunula eri okuzingizibwa kwa Yerusaalemi, okyogerereko ebigambo n’omukono gwo ogutali mubikkeko, (FT)Ndikusiba emiguwa n’otosobola kwekyusa okuva ku luuyi olumu okudda ku lulala, okutuusa ennaku ez’obusibe bwo lwe ziriggwaako.

(FU)“Ddira eŋŋaano ne sayiri, n’obulo, n’omukyere, n’ebijanjalo, n’enva endiirwa endala obisse mu kibya omuterekebwa, obikozese okwefumbira omugaati. Oligulya mu nnaku ezo ebikumi ebisatu mu ekyenda z’oliba ogalamidde ku luuyi olw’omubiri gwo. 10 Opime gulaamu ebikumi bibiri mu amakumi asatu ez’emmere gy’olirya buli lunaku, era gy’oliriira mu biseera ebigere. 11 Ate opime nga kitundu kya lita ey’amazzi, oganywe mu biseera ebigere. 12 (FV)Olye emmere nga bwe wandiridde keeke eya sayiri; ogifumbe n’obusa bw’omuntu, ng’abantu balaba.” 13 (FW)Mukama n’aŋŋamba nti, “Mu ngeri eno abantu ba Isirayiri baliriira emmere etali nnongoofu mu mawanga gye ndibasindika.”

14 (FX)Ne njogera nti, “Nedda Ayi Mukama Katonda. Sseeyonoonesanga, era okuva mu buto bwange n’okutuusa kaakano siryanga kifu wadde ekitaaguddwataaguddwa ensolo enkambwe. Siryanga nnyama etali nnongoofu.”

15 N’ayogera nti, “Weewaawo, nnaakukkiriza okukozesa obusa bw’ente okufumba omugaati mu kifo ky’obusa bw’abantu.”

16 (FY)N’oluvannyuma n’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, ndisalako emmere eri mu Yerusaalemi. Abantu balirya emmere engere mu kutya, ne banywa amazzi amapime mu kutya, 17 (FZ)kubanga emmere n’amazzi biriba bya bbula. Tebalyagala kwetunulako, era baliggwaawo olw’ekibi kyabwe.”

(GA)“Kaakano, omwana w’omuntu, ddira ekitala ekyogi, okikozese nga weembe ya kinyoozi okwemwa omutwe n’ekirevu. N’oluvannyuma oteeke enviiri ku minzaani ozipime era ozigabanyeemu. (GB)Ennaku ez’obusibe bwo bwe ziriggwaako, oyokere kimu kya kusatu ku nviiri ezo mu kibuga. Ekimu kya kusatu ekirala okisaasaanye mu mpewo. Ndibagobesa ekitala. (GC)Naye ddira ku miguwa mitono, egy’enviiri ogifundikire mu kyambalo kyo. Ate era ddira mitono ku egyo, ogisuule mu muliro, ogyokye. Omuliro gulibuna ennyumba ya Isirayiri yonna okuva okwo.

“Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Eno ye Yerusaalemi gye nateeka wakati mu mawanga, ng’ensi zonna zigyetoolodde. (GD)Naye, boonoonye okusinga amawanga n’ensi abemwetoolodde bwe boonoonye ne bajeemera amateeka n’ebiragiro byange. Ajeemedde amateeka gange, n’atagoberera biragiro byange.

(GE)“Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Mubadde bajeemu nnyo n’okusinga amawanga agabeetoolodde ne mutagoberera biragiro byange wadde okukuuma amateeka gange. Mukoze ebibi okusinga amawanga agabeetoolodde ne mutagoberera biragiro byange wadde okukuuma amateeka gange. Mwonoonye okukira amawanga agabeetoolodde bwe gakola.

(GF)“Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Nze kennyini ndi mulabe wo, Yerusaalemi, era ndikubonerereza mu maaso g’amawanga. (GG)Olwa bakatonda bo abalala bonna ab’emizizo, ndikukola ekyo kye sikolanga, era kye siriddayo kukola. 10 (GH)Bakitaabwe baliriira abaana baabwe mu maaso gammwe, ate n’abaana balirya bakitaabwe, era ndikubonereza ne nsasaanya abalisigalawo eri empewo. 11 (GI)Noolwekyo nga bwe ndi omulamu, olw’okuyonoonesa awatukuvu wange ne bakatonda abalala ab’ekivve, n’ebikolwa byammwe eby’ekivve, nze kennyini kyendiva nnema okukulaga ekisa, era sirikulaga kisa wadde okukusaasira, bw’ayogera Mukama Katonda. 12 (GJ)Kimu kya kusatu ku bantu bo balifa kawumpuli oba bazikirire olw’ekyeya nga bali mu ggwe. Kimu kya kusatu ekirala kirittibwa ekitala ebweru wa bbugwe, ne kimu kya kusatu ekirala ndikisaasaanya eri empewo ne mbagoba n’ekitala ekisowole.

13 (GK)“Olwo nno obusungu bwange n’ekiruyi kyange birikkakkana, era ndiba nesasuzza. Era bwe ndibasunguwalira balimanya nga nze Mukama nkyogeredde mu buggya.

14 (GL)“Ndikufuula ekyazikirira era ekivume mu mawanga agakwetoolodde, mu maaso g’abo bonna abayitawo. 15 (GM)Bwe ndikubonerereza mu busungu bwange, ne mu kiruyi kyange nga nnyiize, oliba kivume, oyogerebweko oyeeyerezebwe. Oliba kyakulabula era ekintu ekitiisa eri amawanga agakwetoolodde. Nze Mukama nkyogedde. 16 (GN)Bwe ndirasa obusaale obutta era obuzikiriza obw’ekyeya ndirasa okubazikiriza. Ndyongera okuleeta ekyeya, ne nsalako n’emmere ebaweebwa. 17 (GO)Ndibaleetera ekyeya n’ensolo enkambwe ez’omu nsiko, ne zibaleka nga temulina baana. Kawumpuli n’okuyiwa omusaayi biribatuukako, ne mbaleetako ekitala. Nze Mukama nkyogedde.”

Obubaka eri Ensozi za Isirayiri

Awo ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira nti, (GP)“Omwana w’omuntu tunuulira ensozi za Isirayiri, (GQ)oyogere nti, ‘Mmwe ensozi za Isirayiri, muwulire ekigambo kya Mukama Katonda. Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda eri ensozi n’obusozi, eri emigga n’ebiwonvu, nti, Nze kennyini ndibaleetako ekitala ne nzikiriza n’ebifo byammwe ebigulumivu. (GR)Ebyoto byammwe birimenyebwamenyebwa, n’ebyoto kwe mwotereza obubaane birimenyebwamenyebwa; ndittira abantu bo mu maaso ga bakatonda bo abalala. (GS)Ndiddira emirambo gy’Abayisirayiri ne ngiteeka mu maaso ga bakatonda baabwe abalala, era ndisaasaanya amagumba go okwetooloola ebyoto byo. (GT)Buli gye mubeera ebibuga biriyonoonebwa n’ebifo byammwe ebigulumivu birisaanyizibwawo, n’ebyoto byammwe ne byonoonebwa ne bimenyebwamenyebwa, ne bakatonda bammwe ne bamenyebwamenyebwa ne boonoonebwa, era n’ebyoto byammwe ebyokerwako obubaane ne bimenyebwa ne bye mukoze ne bisaanawo. Abantu bo balittibwa wakati mu mmwe, ne mulyoka mumanya nga nze Mukama.

(GU)“ ‘Naye ndirekawo abamu ku mmwe, era muliba bakaawonawo nga musaasaanye mu nsi ne mu mawanga. (GV)Era eyo mu mawanga bakaawonawo gye mwatwalibwa mu busibe, mulinzijukira, kubanga nnumwa olw’emitima gyabwe eginjeemedde egyegomba era egisinza bakatonda abalala. Balikyama olw’obutali butuukirivu bwabwe, n’olwebikolwa byabwe byonna ebigwenyufu. 10 Era balimanya nga nze Mukama; saabatiisiza bwereere okubaleetako akabi kano.

11 (GW)“ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Kuba mu ngalo zo, osambagale era okaabire waggulu oyogere nti, “Woowe”; olw’ebikolwa byonna ebitali bya butuukirivu n’ebintu byonna eby’ekkive eby’ennyumba ya Isirayiri; abamu baligwa n’ekitala, abalala balifa enjala, n’abalala balifa kawumpuli. 12 (GX)Ali ewala alifa kawumpuli, n’oyo ali okumpi aligwa n’ekitala, n’oyo alisigalawo alifa enjala. Bwe ntyo bwe ndiraga obusungu bwange. 13 (GY)Mulitegeera nga nze Mukama, abantu baabwe bwe balisangibwa nga bafiiridde wakati mu bakatonda baabwe be baakola n’emikono okwetooloola ebyoto byabwe, ne ku buli lusozi oluwanvu, ne ku buli ntikko ez’ensozi, ne buli wansi w’omuti oguliko ebikoola, n’omwera oguliko ebikoola, ebifo gye baali nga bootereza obubaane eri bakatonda baabwe be baakola n’emikono. 14 (GZ)Era ndigolola omukono gwange ku bo, ensi ne yonooneka ne tebalamu kintu okuva ku ddungu okutuuka e Dibula, ne buli gye babeera. Olwo balimanya nga nze Mukama.’ ”

Enkomerero Etuuse

Awo ekigambo kya Mukama ne kinzijira nti, (HA)“Omwana w’omuntu, bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda eri ensi ya Isirayiri nti:

“ ‘Enkomerero! Enkomerero etuuse
    ku nsonda ennya ez’ensi.
Enkomerero ebatuuseeko
    era ndibasumulurira obusungu bwange,
ne mbasalira omusango ng’engeri zammwe bwe ziri
    era ndibabonereza ng’ebikolwa byammwe eby’ekkive byonna bwe biri.
(HB)Siribatunuulira na liiso lya kisa
    newaakubadde okubasonyiwa;
naye ndibasasula ng’engeri zammwe,
    n’ebikolwa byammwe eby’ekkive bwe biri mu mmwe.

Mulyoke mumanye nga nze Mukama.’

(HC)“Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti:

“ ‘Okuzikirizibwa okutali kumu
    laba kujja.
Enkomerero etuuse,
    enkomerero etuuse!
Ebagolokokeddeko
    era ejja.
(HD)Akabi kabajjidde,
    mmwe abatuuze.
Ekiseera kituuse era olunaku luli kumpi,
    olunaku olw’okutya so si olw’okujaguliriza ku nsozi.
(HE)Nnaatera okubalaga obusungu bwange,
    n’ekiruyi kyange.
Ndibasalira omusango ng’enneeyisa yammwe bw’eri,
    ne mbasasula ng’ebikolwa byammwe byonna eby’ekkive bwe biri.
Siribatunuulira na liiso lya kisa
    newaakubadde okubasonyiwa.
Ndibabonereza ng’engeri zammwe bwe ziri
    n’ebikolwa byammwe eby’ekkive bwe biri mu mmwe.

Mulyoke mumanye nga nze Mukama Katonda, era mbonereza.

10 (HF)“ ‘Olunaku luuluno
    lutuuse.
Akabi kabajjidde,
    obutali bwenkanya bumeze,
    n’amalala gamulisizza.
11 (HG)Obusungu bweyongedde
    ne bufuuka omuggo okubonereza obutali butuukirivu;
tewaliba n’omu alisigalawo;
    tewaliba n’omu ku kibiina
newaakubadde ku byobugagga byabwe,
    newaakubadde eky’omuwendo.
12 (HH)Ekiseera kituuse,
    n’olunaku lutuuse.
Agula aleme okusanyukirira,
    n’oyo atunda aleme okunakuwala,
    kubanga obusungu bubuubuukidde ku kibiina kyonna.
13 (HI)Atunda taliddizibwa
    kintu kye yatunda,
    bombi bwe banaaba nga bakyali balamu.
Kubanga okubonerezebwa kuli ku kibiina kyonna
    so tekukyajulukuka.
Era olw’ebibi byabwe tewaliba n’omu
    aliwonya obulamu bwe.

14 “ ‘Ne bwe balifuuwa ekkondeere
    ne bateekateeka buli kimu,
tewaliba n’omu aligenda mu lutalo,
    kubanga obusungu bwange bubuubuukidde ku kibiina kyonna.
15 (HJ)Ebweru waliyo ekitala
    ne munda waliyo kawumpuli n’enjala.
Abali ku ttale
    balifa kitala,
abali mu kibuga
    balimalibwawo kawumpuli n’enjala.
16 (HK)N’abo abaliwonawo
    baliddukira mu nsozi,
nga bakaaba nga bukaamukuukulu
    obw’omu biwonvu,
    buli omu olw’ebibi bye.
17 (HL)Emikono gyonna giriremala,
    n’amaviivi gonna galiba ng’amazzi.
18 (HM)Balyambala ebibukutu,
    ne bakwatibwa ensisi;
baliswala,
    n’emitwe gyabwe girimwebwa.

19 (HN)“ ‘Balisuula effeeza yaabwe mu nguudo,
    ne zaabu yaabwe eriba ekitali kirongoofu;
effeeza yaabwe ne zaabu yaabwe
    tebiriyinza kubalokola
    ku lunaku lwa Mukama olw’obusungu bwe.
Era tebalikkuta
    newaakubadde okukkusibwa.
    Ebyo bye byabaleetera okugwa mu kibi.
20 (HO)Ebintu byabwe eby’omuwendo byabaleetera amalala,
    era ekyavaamu kwe kukola bakatonda abalala ab’emizizo
n’ebintu ebirala eby’ekivve,
    era kyendiva mbifuula ebitali birongoofu gye bali.
21 (HP)Ndibiwaayo byonna eri bannamawanga
    n’eri abakozi b’ebibi ab’omu nsi okuba omunyago
    era balibyonoona.
22 (HQ)Ndikyusa amaaso gange ne si batunuulira,
    era balyonoona ekifo kyange eky’omuwendo;
n’abanyazi balikiyingiramu
    ne bakyonoona.

23 (HR)“ ‘Muteeketeeke enjegere
    kubanga ensi ejjudde omusango ogw’okuyiwa omusaayi,
    n’ekibuga kijjudde effujjo.
24 (HS)Ndireeta eggwanga erisingirayo ddala okuba ebbi,
    ne batwala ennyumba zaabwe,
era ndikomya amalala gaabwe
    n’ebifo byabwe ebitukuvu biryonoonebwa.
25 (HT)Entiisa bw’erijja,
    balinoonya emirembe naye tebaligifuna.
26 (HU)Akabi kalyeyongera ku kabi,
    ne ŋŋambo ne zeeyongera;
balinoonya okwolesebwa okuva eri nnabbi,
    naye okuyigirizibwa kwa kabona kulibula
    n’okubuulirira kw’abakadde kulyerabirwa.
27 (HV)Kabaka alikaaba,
    n’omulangira alijjula obuyinike,
    n’emikono gy’abantu mu ggwanga girikankana olw’entiisa.
Ndibakolako ng’enneeyisa yaabwe bw’eri,
    era ndibasalira omusango ng’ensala yaabwe bw’eri.

Balyoke bamanye nga nze Mukama Katonda.’ ”

Eby’ekivve mu Yeekaalu

(HW)Awo mu mwaka ogw’omukaaga, mu mwezi ogw’omukaaga ku lunaku olwokutaano, bwe nnali nga ntudde mu nnyumba yange n’abakadde ba Yuda, nga batudde mu maaso gange omukono gwa Mukama Katonda ne gunzikako. (HX)Bwe natunula ne ndaba ekifaananyi ky’omuntu, okuva mu kiwato kye okukka wansi ngali ng’omuliro, n’okuva mu kiwato kye okwambuka ng’ayakaayakana ng’ekyuma ekyaka omuliro. (HY)N’agolola ekyalabika ng’omukono n’akwata enviiri zange. Omwoyo n’ansitula wakati w’ensi n’eggulu mu kwolesebwa kwa Katonda n’antwala e Yerusaalemi ku mulyango ogw’oluggi olutunuulira Obukiikakkono olw’oluggya olw’omunda ogutunuulira Obukiikakkono, awaali bakatonda abalala abaleetera Katonda obuggya. (HZ)Era awo we waali ekitiibwa kya Katonda wa Isirayiri, ng’okwolesebwa kwe nalaba mu kyererezi.

(IA)Awo n’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, yimusa amaaso eri Obukiikakkono.” Awo ne nnyimusa amaaso gange, era laba mu mulyango ogw’Obukiikakkono ogw’oluggi lw’ekyoto ne ndaba ekifaananyi eky’obuggya.

(IB)N’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, olaba kye bakola, ebigambo eby’ekivve ennyumba ya Isirayiri byekolera wano, nga bangobera wala n’ekifo kyange ekitukuvu? Naye oliraba ebintu eby’ekivve ebisingawo.”

Awo n’antwala ku mulyango ogw’oluggya. Ne ndaba ekituli mu bbugwe. N’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, kaakano sima mu bbugwe.” Ne nsima mu bbugwe, ne ndabayo omulyango.

Awo n’aŋŋamba nti, “Yingira olabe ebikolwa ebitali bya butuukirivu n’eby’ekivve bye bakola eyo.” 10 (IC)Ne nnyingira ne ndaba, era ku bisenge ne ndabako ebyekulula ebya buli kika kyonna, n’ensolo ez’emizizo ne bakatonda abalala bonna ab’ennyumba ya Isirayiri. 11 (ID)Abakadde nsanvu ab’ennyumba ya Isirayiri baali bayimiridde mu maaso gaabyo, ne Yaazaniya mutabani wa Safani, ng’ayimiridde wakati mu bo. Buli omu ku bo yali akute ekyoterezo mu mukono gwe, ng’ekire eky’akaloosa ak’obubaane kinyooka okuva mu byo.

12 (IE)N’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, olabye abakadde b’ennyumba ya Isirayiri bye bakola mu nzikiza, buli omu ng’ali mu ssabo lya katonda we? Bagamba nti, ‘Mukama tatulaba, era Mukama yeerabira ensi.’ ” 13 N’addamu n’aŋŋamba nti, “Oliraba ebintu eby’ekivve ebisinga n’ebyo.”

14 Awo n’antwala ku mulyango ogw’oluggi olw’Obukiikakkono ogw’ennyumba ya Mukama, ne ndaba abakazi abatudde eyo nga bakaabira katonda waabwe Tammuzi. 15 N’aŋŋamba nti, “Ebyo obirabye, omwana w’omuntu? Oliraba eby’ekivve ebisinga n’ebyo.”

16 (IF)Awo n’antwala mu luggya olw’omunda olw’ennyumba ya Mukama, awo ku mulyango gwa yeekaalu ya Mukama wakati w’ekisasi n’ekyoto, nga waliwo abasajja ng’amakumi abiri mu bataano, nga bakubye amabega eyeekaalu ya Mukama, nga batunudde Ebuvanjuba, ne bagwa bugazi nga basinza enjuba nga batunudde Ebuvanjuba.

17 (IG)N’ambuuza nti, “Ebyo obirabye, omwana w’omuntu? Kintu kitono ennyumba ya Yuda okukola ebintu eby’ekivve bye baakola wano? Kibagwanira okujjuza ensi n’ebikolwa eby’obukambwe ne bongeranga okunyiiza? Laba basembeza ettabi ku nnyindo yaabwe! 18 (IH)Kyendiva mbabonereza n’obusungu; siribakwatirwa kisa newaakubadde okubasonyiwa, era ne bwe balindekaanira siribawuliriza.”

Okuttibwa kw’Abasinza bakatonda abalala

Awo ne mpulira ng’akoowoola n’eddoboozi ery’omwanguka nti, “Muleete abakuumi b’ekibuga wano, buli omu n’ekyokulwanyisa kye mu mukono gwe.” (II)Ne ndaba abasajja mukaaga nga bava ku luuyi olw’omulyango ogw’engulu, ogutunudde mu bukiikakkono, buli omu ng’akutte ekissi mu ngalo ze; nga ku bo kuliko omusajja ayambadde linena nga yeesibye ebyokuwandiisa ku lukugunyu. Ne bayingira ne bayimirira ku mabbali g’ekyoto eky’ekikomo.

(IJ)Awo ekitiibwa kya Katonda wa Isirayiri ne kiva mu bakerubi mwe kyali, ne kidda ku mulyango gwa yeekaalu. Mukama n’ayita omusajja ayambadde linena nga yeesibye ebyokuwandiisa ku lukugunyu, (IK)n’amugamba nti, “Genda ng’oyitaayita mu kibuga kyonna ekya Yerusaalemi, oteeke akabonero ku byenyi by’abeesisiwadde era abanakuwadde olw’ebintu byonna eby’ekivve ebikolebwa wakati mu kyo.”

(IL)Abalala n’abagamba, nga mpuliriza nti, “Mumugoberere muyiteeyite mu kibuga mutte, nga temusaasira newaakubadde okulaga ekisa. (IM)Mutte abasajja abakadde, abavubuka n’abawala, n’abakyala n’abaana abato, naye temukwata ku aliko akabonero. Mutandikire mu watukuvu wange.” Ne batandikira ku bakadde abaali mu maaso ga yeekaalu.

N’abagamba nti, “Eyeekaalu mugyonoone, mujjuze empya abattibwa, mugende!” Ne bafuluma ne bagenda nga batta mu kibuga kyonna. (IN)Bwe baali nga batta ne bandeka awo nzekka, ne nvuunama wansi, ne nkaaba nga njogera nti, “Ayi Mukama Katonda, olizikiriza ekitundu kya Isirayiri ekyasigalawo kyonna mu busungu bw’ofuse ku Yerusaalemi?”

(IO)N’anziramu nti, “Ekibi ky’ennyumba ya Isirayiri ne Yuda kisusse nnyo; ensi ejjudde okuyiwa omusaayi, n’ekibuga kijjudde obutali bwenkanya. Boogera nti, ‘Mukama yayabulira ensi, era Mukama takyalaba.’ 10 (IP)Kyendiva nema okubatunuulira n’eriiso erisaasira newaakubadde okubalaga ekisa, naye ndileeta akabi ku mitwe gyabwe olw’ebikolwa byabwe ebibi.”

11 Awo omusajja ayambadde linena nga yeesibye ebyokuwandiisa ku lukugunyu n’akomyawo obubaka eri Mukama nti, “Nkoze nga bwe walagidde.”

Ekitiibwa kya Mukama Kiva mu Yeekaalu

10 (IQ)Ne ntunula, laba, ekifaananyi eky’entebe ey’obwakabaka eya safiro nga kiri waggulu w’ekibangirizi w’emitwe gya bakerubi. (IR)Mukama n’agamba omusajja ayambadde linena nti, “Genda wakati wa zinnamuziga wansi wa bakerubi, otoole amanda mu mukono gwo okuva wakati mu bakerubi, ogasaasaanye mu kibuga.” N’ayitawo nga ntunula.

Bakerubi baali bayimiridde ku luuyi olw’Obukiikaddyo obwa yeekaalu; omusajja bwe yayingira ekire ne kijjula mu luggya olw’omunda. (IS)Awo ekitiibwa kya Mukama ne kyambuka okuva waggulu wa bakerubi ne kidda mu mulyango gwa yeekaalu. Ekire ne kijjula mu yeekaalu, n’oluggya ne lujjula okumasamasa okw’ekitiibwa kya Mukama. (IT)N’okuwuuma kw’ebiwaawaatiro bya bakerubi ne kuwulikika wala mu luggya olw’ebweru, ng’eddoboozi lya Mukama ow’Eggye bwe liwulikika ng’ayogedde.

Mukama bwe yalagira omusajja ayambadde linena nti, “Toola omuliro okuva mu zinnamuziga, wakati mu bakerubi,” omusajja n’ayingira n’ayimirira ku mabbali ga nnamuziga emu. Awo omu ku bakerubi n’agolola omukono gwe eri omuliro ogwali wakati wa bakerubi, n’addira ogumu ku gwo, n’aguteeka mu ngalo ez’omusajja ayambadde linena, eyagutwala n’afuluma. (IU)Wansi w’ebiwaawaatiro bya bakerubi waalabika ng’awaali emikono gy’omuntu.

(IV)Ne ndaba zinnamuziga nnya ku mabbali ga bakerubi buli nnamuziga ng’eriraanye kerubi, zinnamuziga nga ziyakaayakana ng’ejjinja erya berulo. 10 Mu ndabika nga zifaanagana, nnamuziga emu ng’eri ng’etudde mu ginnaayo. 11 Mu kuseeseetuka, zaaseeseetukanga mu njuyi nnya bakerubi gye baatunulanga, era zinnamuziga z’omu maaso gye zaayiringitiranga, n’endala zonna gye zaayiringitiranga. 12 (IW)Omubiri gwabwe gwonna, n’emigongo gyabwe, n’emikono gyabwe, n’ebiwaawaatiro byabwe, ne zinnamuziga, nga zijjudde amaaso enjuuyi zonna. 13 Ne mpulira zinnamuziga nga ziyitibwa “ezeetooloola eziwulukuka.” 14 (IX)Buli emu ku zo yalina obwenyi buna: obwenyi obw’olubereberye bwali bwa kerubi, obwokubiri nga bwa musajja, obwokusatu nga bwa mpologoma, obwokuna nga bwa mpungu.

15 (IY)Awo bakerubi ne basituka. Bye biramu bye nalaba ku mabbali g’omugga Kebali. 16 Bakerubi bwe baaseeseetukanga, zinnamuziga ezaali ku mabbali ne ziseeseetukira wamu nabo; bakerubi bwe baayanjuluzanga ebiwaawaatiro byabwe okusituka okuva ku ttaka, zinnamuziga nazo tezaavanga ku lusegere. 17 (IZ)Bakerubi bwe baayimiriranga, nazo ne ziyimirira; bakerubi bwe baasitukanga, nnamuziga ne zisitukira wamu nabo, kubanga omwoyo ow’ebiramu yali mu zo.

18 (JA)Awo ekitiibwa kya Mukama ne kiva ku mulyango gwa yeekaalu ne kiyimirira waggulu wa bakerubi. 19 (JB)Ne ndaba bakerubi nga bayanjuluza ebiwaawaatiro byabwe, ne basituka okuva ku ttaka, ne zinnamuziga nazo ne zigendera ku mabbali gaabwe. Ne bayimirira awayingirirwa ku luggi olw’ebuvanjuba olwa yeekaalu ya Mukama, n’ekitiibwa kya Katonda owa Isirayiri nga kiri waggulu waabwe.

20 (JC)Era ebyo bye biramu bye nalaba wansi wa Katonda wa Isirayiri ku mugga Kebali, olwo ne ntegeera nga bakerubi. 21 (JD)Buli omu yalina obwenyi buna n’ebiwaawaatiro bina, ne wansi w’ebiwaawaatiro byabwe nga waliyo ebyali ng’emikono gy’omuntu. 22 Obwenyi bwabwe bwanfaananira nga buli bwe nalaba ku mugga Kebali. Buli omu n’atambula n’agenda mu maaso.

Abakulembeze ba Isirayiri Basalirwa Omusango

11 (JE)Awo Omwoyo n’ansitula n’antwala ku luggi olw’ebuvanjuba olw’ennyumba ya Mukama. Ku mulyango awo waaliwo abasajja amakumi abiri mu bataano wakati mu bo nga mwe muli Yaazaniya mutabani wa Azuli ne Peratiya mutabani wa Benaya, abakulembeze b’abantu. Mukama n’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, bano be basajja abeekobaana okukola ebitali bya butuukirivu era abawabya ekibuga kino. (JF)Boogera nti, ‘Ekiseera tekituuse tuzimbe amayumba? Ekibuga kino ye ntamu, ffe nnyama.’ (JG)Kyonoova obawa obunnabbi; era yogera ggwe omwana w’omuntu.”

(JH)Awo Omwoyo wa Mukama n’anzikako, n’aŋŋamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Bwe mutyo bwe mwogera, ggwe ennyumba ya Isirayiri, naye mmanyi ebirowoozo byammwe. (JI)Musse abantu bangi mu kibuga kino, ne mujjuza enguudo zaakyo abafu.

(JJ)Mukama Katonda kyava ayogera nti, Emirambo gye musuddemu ye nnyama, n’ekibuga kino ye ntamu, naye ndikibagobamu. (JK)Mutya ekitala, era ekitala kye ndibaleetako, bw’ayogera Mukama Katonda. (JL)Ndibagoba mu kibuga, ne mbawaayo mu mukono gwa bannamawanga ne bababonereza. 10 (JM)Muligwa n’ekitala, era ndibasalira omusango ku nsalo ya Isirayiri, ne mumanya nga nze Mukama. 11 (JN)Ekibuga kino tekiriba ntamu yammwe, era nammwe temuliba nnyama yaakyo. Ndibasalira omusango ku nsalo ya Isirayiri. 12 (JO)Mulitegeera nga nze Mukama, kubanga temugoberedde biragiro byange newaakubadde amateeka gange, naye mukoze ng’amawanga amalala agabeetoolodde bwe gakola.”

13 (JP)Awo bwe nnali nkyayogera ebyobunnabbi, Peratiya mutabani wa Benaya n’afa. Ne ngwa bugazi wansi ne nkaaba n’eddoboozi ddene, nga njogera nti, “Ayi Mukama Katonda, olimalirawo ddala ekitundu kya Isirayiri ekyasigalawo?”

14 Ekigambo kya Mukama ne kinzijira n’aŋŋamba nti, 15 (JQ)“Omwana w’omuntu, baganda bo, baganda bo ab’enda yo n’ennyumba yonna eya Isirayiri, beebo abantu ab’omu Yerusaalemi be baayogerako nti, ‘Bali wala ne Mukama, era ensi eno yatuweebwa okuba omugabo gwaffe.’ ”

Abayisirayiri Basuubizibwa Okuddayo

16 (JR)“Kyonoova oyogera nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Newaakubadde nga nabasindika mu mawanga ne mbasaasaanya mu nsi nnyingi, naye mbalabiriridde mu nsi gye baagenda.’ 17 (JS)Era kyonoova oyogera nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti: ndibakuŋŋaanya okuva mu mawanga ne mbaggya mu nsi gye mwasaasaanyizibwa, ne mbaddiza ensi ya Isirayiri.’

18 (JT)“Bwe balikomawo, baliggyamu ebitali bya butuukirivu byonna n’eby’emizizo ebirimu byonna. 19 (JU)Ndibawa omutima gumu ne mbateekamu omwoyo omuggya; ndibaggyamu omutima ogw’ejjinja, ne mbawa omutima ogw’ennyama. 20 (JV)Oluvannyuma baligoberera ebiragiro byange, ne bagenderera okukuuma amateeka gange, era baliba bantu bange, nange ndiba Katonda waabwe. 21 (JW)Naye abo abanaagoberera ebitali bya butuukirivu n’eby’emizizo, ndibaleetako ebyo bye baakola ku mitwe gyabwe, bw’ayogera Mukama Katonda.”

22 (JX)Awo bakerubi, ne zinnamuziga nga ziri ku mabbali gaabwe ne bayimusa ebiwaawaatiro byabwe, ng’ekitiibwa kya Katonda wa Isirayiri kibali waggulu. 23 (JY)Ekitiibwa kya Mukama ne kiva wakati mu kibuga ne kiyimirira waggulu w’olusozi oluli ku luuyi olw’ebuvanjuba w’ekibuga. 24 (JZ)Omwoyo n’ansitula mu kwolesebwa okw’Omwoyo wa Katonda n’antwala mu Bukaludaaya eri abaawaŋŋangusibwa. 25 (KA)Awo okwolesebwa kwe nafuna ne nkuvaako, ne ntegeeza abaawaŋŋangusibwa byonna Mukama bye yali andaze.

12 Ekigambo kya Mukama ne kinzijira ng’agamba nti, (KB)“Omwana w’omuntu obeera mu bantu abajeemu. Balina amaaso okulaba, naye tebalaba, balina n’amatu okuwulira naye tebawulira, kubanga bantu bajeemu.

(KC)“Noolwekyo omwana w’omuntu, sibako ebibyo ogende mu buwaŋŋanguse, ate kikole misana, nga balaba ogende mu kifo ekirala. Oboolyawo balitegeera, newaakubadde nga nnyumba njeemu. (KD)Fulumya ebibyo by’otwala mu buwaŋŋanguse emisana, nga balaba. Ate akawungeezi, ofulume nga balaba, ogende ng’abo abagenda mu buwaŋŋanguse. Botola ekituli mu bbugwe oyiseemu ebibyo, nga balaba. (KE)Biteeke ku kibegabega kyo nga balaba, obifulumye obudde nga buwungeera. Bikka ku maaso oleme okulaba ensi, kubanga nkufudde akabonero eri ennyumba ya Isirayiri.”

(KF)Ne nkola nga bwe ndagiddwa. Emisana, ne nfulumya ebintu byange nga neetegese okugenda mu buwaŋŋanguse. Akawungeezi ne nkuba ekituli mu bbugwe n’engalo zange, ne nfulumya ebyange nga mbitadde ku kibegabega kyange nga balaba, obudde nga buwungedde, enjuba ng’ebuliddeyo.

Ku makya, ekigambo kya Mukama ne kinzijira ng’agamba nti, (KG)“Omwana w’omuntu, ennyumba ya Isirayiri enjeemu teyakubuuza nti, ‘Okola ki ekyo?’

10 “Bagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, obubaka buno bukwata ku mufuzi ali mu Yerusaalemi, n’abantu ba Isirayiri bonna abaliyo.’ 11 (KH)Bagambe nti, ‘Ndi kabonero gye muli.’

“Nga bwe nkoze, nabo bwe balikibakola. Baliwaŋŋangusibwa ne batwalibwa nga bawambe.

12 (KI)“Omufuzi ali mu bo aliteeka ebintu bye ku kibegabega kye agende ng’obudde buwungedde, enjuba ng’ebuliddeyo, balibotola ekituli mu bbugwe ayitemu agende. Alibikka amaaso ge, aleme kulaba nsi. 13 (KJ)Ndimwanjuliriza ekitimba kyange, akwatibwe mu mutego gwange. Ndimutwala e Babulooni, mu nsi ey’Abakaludaaya, naye taligiraba, era eyo gy’alifiira. 14 (KK)Ndisaasaanyiza eri empewo zonna, bonna abamwetoolodde, abakozi be n’eggye lye lyonna era ndibawondera n’ekitala ekisowoddwa.

15 “Balimanya nga nze Mukama bwe ndibasaasaanya mu mawanga, ne mbabunya mu nsi. 16 (KL)Kyokka ndirekawo batono ku bo abaliwona ekitala, n’abaliwona enjala n’abaliwona kawumpuli, balyoke bejjuse olw’ebikolwa byabwe eby’emizizo, nga bali eyo mu mawanga. Olwo balitegeera nga nze Mukama.”

17 Ekigambo kya Mukama ne kinzijira ng’agamba nti, 18 (KM)“Omwana w’omuntu, lya emmere yo ng’okankana, era nnywa amazzi go ng’ojugumira.” 19 (KN)Tegeeza abantu ab’omu nsi nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ku abo ababeera mu Yerusaalemi ne mu nsi ya Isirayiri nti, Balirya emmere yaabwe nga beeraliikirira, banywe n’amazzi gaabwe nga batya, kubanga ensi yaabwe erinyagibwa mu buli kintu ekirimu, olw’obukambwe bw’abo bonna ababeera eyo. 20 (KO)Ebibuga ebituulwamu birizikirizibwa, n’ensi n’efuuka amatongo, mulyoke mumanye nga nze Mukama.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.