Amosi 8:2
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
2 (A)Mukama n’ambuuza nti, “Amosi, kiki ky’olaba?”
Ne muddamu nti, “Ndaba ekisero ky’ebibala ebyengedde.”
Mukama n’alyoka aŋŋamba nti, “Ekiseera eky’okubonereza abaana ba Isirayiri kituuse. Siribasonyiwa nate.
Read full chapter
Amosi 8:10
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
10 (A)Embaga zammwe ez’eddini ndizifuula mikolo gya kukungubaga
era okuyimba kwammwe kwonna kulifuuka kukaaba.
Mwenna nzija kubatuusa ku kwambala ebibukutu
n’emitwe gyammwe mugimwe.
Olunaku olwo ndilufuula ng’olw’okukungubagira omwana owoobulenzi omu yekka,
era n’enkomerero yaabyo ekaayire ddala.
Okubikkulirwa 7:1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
144,000 bateekebwako Obubonero obw’Envumbo
7 (A)Oluvannyuma lw’ebyo, ne ndaba bamalayika bana nga bayimiridde ku njuyi ennya ez’ensi, nga bakutte empewo ennya ez’ensi zireme okukunta, waleme kubaawo mpewo ekunta ku nsi, wadde ku nnyanja wadde ku muti gwonna.
Read full chapter
Okubikkulirwa 20:8
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
8 (A)Alifuluma okulimbalimba Googi ne Magoogi, ge mawanga ag’omu nsonda ennya ez’ensi, era alikuŋŋaanya abantu ne baba eggye ery’okulwana eritasoboka na kubalika nga liri ng’omusenyu ogw’oku lubalama lw’ennyanja.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.