Beginning
Ya Mukulu wa Bayimbi. Ku ddoboozi, “Tozikiriza.” Zabbuli ya Dawudi.
58 (A)Ddala mwogera eby’amazima oba musirika busirisi?
Abaana b’abantu mubasalira emisango mu bwenkanya?
2 (B)Nedda, mutegeka ebitali bya bwenkanya mu mitima gyammwe;
era bye mukola bireeta obwegugungo mu nsi.
3 Abakola ebibi bakyama nga baakazaalibwa,
bava mu lubuto nga balina ekibi, era bakula boogera bya bulimba.
4 (C)Balina obusagwa ng’obw’omusota;
bali ng’enswera etawulira ezibikira amatu gaayo;
5 n’etawulira na luyimba lwa mukugu
agisendasenda okugikwata.
6 (D)Ayi Katonda, menya amannyo gaabwe;
owangulemu amannyo g’empologoma zino, Ayi Mukama.
7 (E)Leka babule ng’amazzi agakulukuta ne gagenda.
Bwe banaanuula omutego, leka obusaale bwabwe bwe balasa bufufuggale.
8 (F)Babe ng’ekkovu erisaanuukira mu lugendo lwalyo.
Babe ng’omwana azaaliddwa ng’afudde, ataliraba ku njuba!
9 (G)Nga n’entamu tennabuguma,
alibayerawo n’obusungu obungi nga kibuyaga ow’amaanyi ennyo.
10 (H)Omutuukirivu alisanyuka ng’alabye bamuwalanidde eggwanga,
olwo n’ebigere bye ne bisaabaana omusaayi ogw’abakola ebibi.
11 (I)Awo abantu bonna balyogera nti,
“Ddala, abatuukirivu balwanirirwa.
Ddala waliwo Katonda alamula mu bwenkanya ku nsi.”
Ya Mukulu wa Bayimbi. Ku ddoboozi, “Tozikiriza.” Zabbuli ya Dawudi, Sawulo bwe yatuma bakuume enju ya Dawudi bamutte.
59 (J)Ayi Katonda wange, mponya abalabe bange;
onnwanirire, abantu bwe bangolokokerako.
2 (K)Omponye abakola ebitali bya butuukirivu,
era ondokole mu batemu.
3 (L)Laba banneekwekeredde nga banteega okunzita.
Abasajja ab’amaanyi abakambwe banneekobera, Ayi Mukama,
so nga soonoonye wadde okubaako ne kye nsobezza.
4 (M)Sirina kye nsobezza, naye bateekateeka okunnumba.
Tunuulira obuzibu bwange, osituke, onnyambe.
5 (N)Ayi Mukama Katonda ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri,
golokoka obonereze amawanga gonna;
abo bonna abasala enkwe tobasaasira.
6 (O)Bakomawo buli kiro,
nga babolooga ng’embwa,
ne batambulatambula mu kibuga.
7 (P)Laba, bwe bavuma!
Ebigambo biwamatuka mu kamwa kaabwe ng’ebitala,
nga boogera nti, “Ani atuwulira?”
8 (Q)Naye ggwe, Ayi Mukama, obasekerera,
era amawanga ago gonna oganyooma.
9 (R)Ayi Katonda, Amaanyi gange, nnaakwesiganga
era nnaakutenderezanga, kubanga ggwe kigo kyange ekinywevu. 10 Katonda wange anjagala
anankulemberanga,
ne ndyoka neeyagalira ku balabe bange.
11 (S)Tobatta, Ayi Mukama, engabo yaffe,
abantu bange baleme kwerabira;
mu buyinza bwo obungi, baleke batangetange;
n’oluvannyuma obakkakkanyize ddala.
12 (T)Amalala gaabwe n’ebyonoono ebiva mu kamwa kaabwe,
n’ebigambo by’oku mimwa gyabwe
leka byonna bibatege ng’omutego.
Kubanga bakolima era ne boogera eby’obulimba.
13 (U)Bamaleewo n’ekiruyi kyo,
bamalirewo ddala;
amawanga gonna galyoke gategeere
nga Katonda wa Yakobo y’afuga ensi yonna.
14 Bakomawo nga buwungedde
nga babolooga ng’embwa,
ne batambulatambula mu kibuga.
15 (V)Banoonya emmere buli wantu mu kibuga,
ne bawowoggana bwe batakkuta.
16 (W)Naye nze nnaayimbanga nga ntendereza amaanyi go;
mu makya nnaayimbanga ku kwagala kwo;
kubanga ggwe kigo kyange,
era ggwe kiddukiro kyange mu buzibu bwange.
17 Ggwe, Ayi Katonda, Amaanyi gange, nnaakuyimbiranga nga nkutendereza;
kubanga ggwe kigo kyange, era ggwe Katonda wange, anjagala.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Ku ddoboozi, “Eddanga ery’Endagaano.” Zabbuli ya Dawudi. Yakuyigiriza. Dawudi bwe yalwana n’Abaalamu abaava e Nakalayimu n’abaava e Zoba, Yowaabu n’akomawo n’atta Abayedomu omutwalo gumu mu enkumi bbiri mu Kiwonvu eky’Omunnyo.
60 (X)Otusudde, Ayi Katonda, otumazeemu amaanyi,
otunyiigidde. Tukwegayiridde otuzze gy’oli.
2 (Y)Ensi ogiyuuguumizza n’ogyasaayasa;
tukwegayirira enjatika ozizibe, kubanga ekankana.
3 (Z)Obadde mukambwe nnyo eri abantu bo;
tuli nga b’owadde omwenge omungi ne gututagaza.
4 Naye abo abakutya obawanikidde ebbendera okuba akabonero akabakuŋŋaanya awamu,
era akatiisa abalabe baabwe.
5 (AA)Otulokole era otuyambe n’omukono gwo ogwa ddyo,
abakwagala baleme kutuukibwako kabi konna.
6 (AB)Katonda ayogedde ng’asinziira mu kifo kye ekitukuvu, n’agamba nti,
“Mu buwanguzi, ndisala mu Sekemu,
era n’ekiwonvu kya Sukkosi ndikigabanyagabanyaamu.
7 (AC)Ensi ya Gireyaadi yange, n’eya Manase nayo yange.
Efulayimu ye nkufiira ey’oku mutwe gwange;
ate Yuda gwe muggo gwange ogw’okufuga.
8 (AD)Mowaabu kye kinaabirwamu kyange,
ate Edomu gye nkasuka engatto yange:
ne ku Bafirisuuti ndeekaana mu buwanguzi.”
9 Ani anantuusa ku kibuga ekigumu ekinywevu?
Ani anankulembera okunnyingiza mu Edomu?
10 (AE)Si ggwe Ayi Katonda, atusudde,
atakyatabaala na magye gaffe?
11 (AF)Tudduukirire, nga tulwanyisa abalabe baffe,
kubanga obuyambi bw’abantu temuli nsa.
12 (AG)Bwe tunaabeeranga ne Katonda, tunaabanga bawanguzi,
kubanga ye y’anaalinnyiriranga abalabe baffe wansi w’ebigere bye.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Ebivuga eby’enkoba. Zabbuli ya Dawudi.
61 (AH)Wulira okukaaba kwange, Ayi Katonda;
wulira okusaba kwange.
2 (AI)Nkukoowoola okuva ku nkomerero y’ensi,
omutima gwange nga gugenda gunafuwa.
Onkulembere ontuuse ku lwazi olunsinga obuwanvu mwe nnyinza okwekweka.
3 (AJ)Kubanga gw’oli kiddukiro kyange.
Oli kigo eky’amaanyi mwe neekweka omulabe.
4 (AK)Nnaabeeranga mu weema yo ennaku zonna;
ndyoke nkuumirwenga mu biwaawaatiro byo.
5 (AL)Kubanga ggwe, Ayi Katonda, owulidde obweyamo bwange:
ompadde omugabo awamu n’abo abatya erinnya lyo.
6 (AM)Oyongere ku nnaku z’obulamu bwa kabaka;
emyaka gye gimutuuse mu mirembe mingi,
7 (AN)alyoke abeerenga mu maaso ga Katonda ennaku zonna.
Okwagala kwo n’obwesigwa bwo bimukuumenga.
8 (AO)Ndyoke nnyimbenga nga ntendereza erinnya lyo ennaku zonna,
nga ntuukiriza obweyamo bwange buli lunaku.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Ya Yedusuni. Zabbuli ya Dawudi.
62 (AP)Emmeeme yange ewummulira mu Katonda yekka;
oyo obulokozi bwange mwe buva.
2 (AQ)Ye yekka, lwe lwazi lwange era bwe bulokozi bwange;
ye kye kigo kyange siinyeenyezebwenga n’akatono.
3 (AR)Mulituusa ddi nga mulumba omuntu,
mmwe mwenna okwagala okumusuula wansi
ng’ekisenge ekyewunzise era ng’olukomera oluyuuguuma?
4 (AS)Bateesa okumuggya
mu kifo kye ekinywevu,
basanyukira eby’obulimba.
Basaba omukisa n’emimwa gyabwe
so nga munda bakolima.
5 Emmeeme yange ewummulire mu Katonda yekka;
kubanga mu ye mwe muli essuubi lyange.
6 Ye yekka lwe lwazi lwange era bwe bulokozi bwange,
ye kye kigo kyange, siinyeenyezebwenga.
7 (AT)Okulokolebwa kwange n’ekitiibwa kyange biri mu Katonda yekka;
ye lwe lwazi lwange olw’amaanyi era kye kiddukiro kyange.
8 (AU)Mumwesigenga bulijjo mmwe abantu,
mumutegeezenga byonna ebiri mu mitima gyammwe,
kubanga Katonda kye kiddukiro kyaffe.
9 (AV)Abaana b’abantu mukka bukka,
abazaalibwa mu bugagga bulimba bwereere;
ne bwe bageraageranyizibwa ku minzaani,
n’omukka gubasinga okuzitowa.
10 (AW)Temwesigamanga ku bujoozi
wadde ku bintu ebibbe.
Temuyitirira okwewaanirawaanira mu bugagga bwammwe ne bwe bweyongeranga,
era temubumalirangako mwoyo gwammwe.
11 Katonda ayogedde ekintu kimu,
kyokka nze nziggyemu ebintu bibiri nti:
Katonda, oli w’amaanyi,
12 (AX)era ggwe, Ayi Mukama, ojjudde okwagala.
Ddala olisasula buli muntu
ng’ebikolwa bye bwe biri.
Zabbuli ya Dawudi, bwe yali mu ddungu lya Yuda.
63 (AY)Ayi Katonda, oli Katonda wange,
nkunoonya n’omutima gwange gwonna;
emmeeme yange ekwetaaga,
omubiri gwange gwonna gukuyaayaanira,
nga nnina ennyonta ng’ali
mu nsi enkalu omutali mazzi.
2 (AZ)Nkulabye ng’oli mu kifo kyo ekitukuvu,
ne ndaba amaanyi go n’ekitiibwa kyo.
3 (BA)Kubanga okwagala kwo okutaggwaawo kusinga obulamu;
akamwa kange kanaakutenderezanga.
4 (BB)Bwe ntyo nnaakutenderezanga obulamu bwange bwonna;
nnaayimusanga emikono gyange mu linnya lyo.
5 (BC)Emmeeme yange enekkutanga ebyassava n’obugagga;
nnaayimbanga nga nkutendereza n’emimwa egy’essanyu.
6 (BD)Nkujjukira nga ndi ku kitanda kyange,
era nkufumiitirizaako mu ssaawa ez’ekiro.
7 (BE)Olw’okuba ng’oli mubeezi wange,
nnyimba nga ndi mu kisiikirize ky’ebiwaawaatiro byo.
8 (BF)Emmeeme yange yeekwata ku ggwe;
omukono gwo ogwa ddyo gumpanirira.
9 (BG)Naye abo abannoonya okunzita balizikirizibwa,
baliserengeta emagombe.
10 Balisaanawo n’ekitala;
ne bafuuka emmere y’ebibe.
11 (BH)Naye ye kabaka anaajagulizanga mu Katonda;
bonna abalayira mu linnya lya Katonda banaatenderezanga Katonda,
naye akamwa k’abalimba kalisirisibwa.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
64 (BI)Ayi Katonda, owulire eddoboozi lyange, ery’okwemulugunya kwange;
okuume obulamu bwange eri okutiisibwatiisibwa omulabe.
2 (BJ)Onkweke mpone enkwe z’abakola ebibi,
onzigye mu kibinja ky’aboonoonyi, abaleekaana
3 (BK)abawagala ennimi zaabwe ng’ebitala,
ne balasa ebigambo byabwe ng’obusaale obutta.
4 (BL)Beekweka ne bateega oyo atalina musango bamulase;
amangwago ne bamulasa nga tebatya.
5 (BM)Bawagiragana mu kigendererwa kyabwe ekibi
ne bateesa okutega emitego mu kyama;
ne boogera nti, “Ani asobola okutulaba?”
6 Beekobaana okukola ebitali bya bwenkanya, ne boogera nti,
“Tukoze enteekateeka empitirivu.”
Ddala ddala ebirowoozo by’omuntu n’omutima gwe byekusifu.
7 Naye Katonda alibalasa n’obusaale bwe;
alibafumita, mangwago ne bagwa ku ttaka.
8 (BN)Ebyo bye boogera biribaddira,
ne bibazikiriza,
ababalaba ne babanyeenyeza emitwe.
9 (BO)Olwo abantu bonna ne batya,
ne bategeeza abalala omulimu gwa Katonda,
ne bafumiitiriza ku ebyo by’akoze.
10 (BP)Omutuukirivu ajagulizenga mu Mukama,
era yeekwekenga mu ye.
Abo bonna abalina omutima omulongoofu bamutenderezenga!
Ya Mukulu wa Bayimbi. Oluyimba, Zabbuli ya Dawudi.
65 (BQ)Osaanira okutenderezebwanga, Ayi Katonda, ali mu Sayuuni;
tunaatuukiririzanga obweyamo bwaffe gy’oli.
2 (BR)Ayi ggwe awulira okusaba kw’abantu bo,
abantu bonna banajjanga gy’oli olw’ebibi byabwe.
3 (BS)Ebibi byaffe bwe byatusukkirira,
n’otutangiririra.
4 (BT)Alina omukisa oyo gw’olonda
n’omusembeza okumpi naawe, abeerenga mu mpya zo.
Tunaamalibwanga ebirungi eby’omu nnyumba yo;
eby’omu Yeekaalu yo entukuvu.
5 (BU)Otwanukula n’ebikolwa byo eby’obutuukirivu eby’entiisa n’otulokola,
Ayi Katonda ow’obulokozi bwaffe;
ggwe ssuubi ly’abo abali mu nsi yonna n’abo bonna
abali ewala mu nnyanja zonna,
6 (BV)ggwe, eyakola ensozi n’obuyinza bwo,
n’ozinyweza n’amaanyi go,
7 (BW)ggwe, asirisa okusiikuuka kw’ennyanja,
n’okkakkanya okwetabula kw’amayengo gaayo,
era ggw’okkakkanya okwegugunga kw’amawanga.
8 Abo bonna ababeera ewala balaba ne batya ebyewuunyo byo;
ne bakuyimbira ennyimba ez’essanyu
okuva ku makya okutuusa akawungeezi.
9 (BX)Ensi ogirabirira n’ogifukirira
n’egimuka nnyo.
Emigga gya Katonda gijjudde amazzi,
okuwa abantu emmere ey’empeke,
kubanga bw’otyo bwe wakiteekateeka.
10 Otonnyesa enkuba mu nnimiro,
n’ojjuza ebitaba byamu;
n’ogonza ettaka,
ebibala by’omu nsi n’obiwa omukisa.
11 Ofundikira omwaka n’amakungula amangi,
ebigaali ne bigenda nga byetisse ebibala nga bikubyeko.
12 (BY)Ebifo awali omuddo mu ddungu bijjula amazzi,
n’obusozi ne bulabika bulungi nga bweyagala.
13 (BZ)Amalundiro gajjula ebisibo,
n’ebiwonvu ne bijjula emmere ey’empeke.
Ensi yonna eyimba mu ddoboozi ery’omwanguka ng’ejjudde essanyu.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.