Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Beginning

Read the Bible from start to finish, from Genesis to Revelation.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 21-25

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

21 (A)Ayi Mukama, kabaka ajaguliza mu maanyi go.
    Obuwanguzi bw’omuwadde nga bumuleetedde essanyu lingi!

(B)Omuwadde omutima gwe bye gwetaaga,
    era buli ky’asabye n’akamwa ke tokimummye.
(C)Ddala ddala wamwaniriza n’emikisa gyo egijjudde ebirungi,
    n’omutikkira engule eya zaabu omuka ennyo ku mutwe gwe.
(D)Yakusaba obulamu, era n’obumuwa,
    ennaku ennyingi ez’emirembe n’emirembe.
(E)Obuwanguzi bwe wamuwa bumuleetedde ekitiibwa kinene.
    Omuwadde ekitiibwa n’oyatiikirira.
(F)Ddala omuwadde emikisa gyo egy’olubeerera,
    n’omujjuza essanyu ng’oli naye buli kiseera.
Kubanga kabaka yeesiga Mukama,
    era olw’okwagala okutaggwaawo okw’oyo Ali Waggulu Ennyo,
    kabaka tagenda kunyeenyezebwa.

(G)Omukono gwo guliwamba abalabe bo bonna;
    omukono gwo ogwa ddyo gulikwata abo abakukyawa.
(H)Bw’olirabika, Ayi Mukama,
    olibasiriiza n’omuliro ng’ogw’omu kyoto ekyengeredde.
Mukama, ng’ajjudde obusungu, alibamira bonna,
    era alibamalirawo ddala.
10 (I)Olizikiriza ezzadde lyabwe ku nsi,
    n’abaana baabwe bonna n’obamalawo mu baana b’abantu.
11 (J)Newaakubadde nga bakusalira enkwe,
    ne bateekateeka ebikolwa ebibi, kyokka tewali kye basobola kutuukiriza.
12 (K)Balikyuka ne bakudduka bwe baliraba
    ng’obaleezeemu omutego gwo ogw’obusaale.

13 Ogulumizibwenga, Ayi Mukama, mu maanyi go.
    Tunaayimbanga nga tutendereza obuyinza bwo.

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

22 (L)Katonda wange, Katonda wange, lwaki onjabulidde?
    Lwaki ogaana okunnyamba
    wadde okuwuliriza okwaziirana kwange?
(M)Ayi Katonda wange, emisana nkukoowoola, naye tonnyanukula;
    n’ekiro bwe ntyo, naye siweerako.

(N)Songa ggwe Mutukuvu atudde ku Ntebe,
    era ettendo lya Isirayiri yonna.
Bajjajjaffe baakwesiganga;
    baakwesiga naawe n’obawonya.
(O)Baakukoowoolanga n’obalokola;
    era baakwesiganga ne batajulirira.

(P)Naye nze ndi lusiriŋŋanyi, siri muntu;
    abantu bampisaamu amaaso, n’abalala bannyooma.
(Q)Bonna abandaba banduulira,
    era banvuma nga bwe banyeenyeza omutwe nga bagamba nti,
(R)“Yeesiga Mukama;
    kale amuwonye.
Obanga Mukama amwagala,
    kale nno amulokole!”

(S)Naye ggwe wanziggya mu lubuto lwa mmange,
    era wampa okukwesiga
    ne mu buto bwange bwonna nga nkyayonka.
10 (T)Olwazaalibwa ne nteekebwa mu mikono gyo;
    olwava mu lubuto lwa mmange n’obeera Katonda wange.

11 (U)Tobeera wala nange,
    kubanga emitawaana ginsemberedde,
    ate nga tewali mulala n’omu asobola kunnyamba.

12 (V)Zisseddume nnyingi zinneetoolodde,
    zisseddume enkambwe ez’e Basani[a] zinzingizizza.
13 (W)Banjasamiza akamwa kaabwe
    ng’empologoma bw’ewuluguma ng’etaagulataagula omuyiggo gwayo.
14 (X)Ngiyiddwa ng’amazzi,
    n’amagumba gange gasowose mu nnyingo zaago.
Omutima gwange guli ng’obubaane,
    era gusaanuukidde mu mubiri gwange.
15 (Y)Amaanyi gampweddemu, gakaze ng’oluggyo;
    n’olulimi lwange lukutte waggulu mu kibuno kyange.
    Ondese awo mu nfuufu ng’omufu.

16 (Z)Abantu ababi banneetoolodde;
    banneebunguludde ng’embwa ennyingi;
    banfumise ne bawummula ebibatu byange n’ebigere byange.
17 (AA)Amagumba gansowose nnyinza n’okugabala.
    Abalabe bange bantunuulira nga bannyoomoola.
18 (AB)Bagabana engoye zange;
    era ekyambalo kyange bakikubira akalulu.

19 (AC)Naye ggwe, Ayi Mukama, tobeera wala nange.
    Ggwe, Amaanyi gange, yanguwa okunnyamba!
20 (AD)Omponye okuttibwa n’ekitala;
    obulamu bwange obw’omuwendo butaase mu maanyi g’embwa!
21 Nzigya mu kamwa k’empologoma,
    omponye amayembe g’embogo enkambwe.

22 (AE)Nnaategezanga ku linnya lyo mu booluganda;
    nnaakutenderezanga mu kibiina ky’abantu.
23 (AF)Mmwe abatya Mukama, mumutenderezenga.
    Abaana ba Yakobo mwenna mumugulumizenga;
    era mumussengamu ekitiibwa nga mumutya, mmwe abaana ba Isirayiri mwenna.
24 (AG)Kubanga tanyooma kwaziirana
    kw’abo abali mu nnaku,
era tabeekweka,
    wabula abaanukula bwe bamukoowoola.

25 (AH)Mu ggwe mwe muva ettendo lyange mu kibiina ekinene, ne nkutendereza olw’ebyo by’onkoledde.
    Obweyamo bwange nnaabutuukirizanga mu maaso gaabo abakutya.
26 (AI)Abaavu banaalyanga ne bakkuta,
    abo abanoonya Mukama banaamutenderezanga.
    Emitima gyabwe ginaajaguzanga emirembe gyonna.

27 (AJ)Ensi zonna zirijjukira
    ne zikyukira Mukama,
ebika byonna eby’amawanga gonna
    birimuvuunamira.
28 (AK)Kubanga obwakabaka bwonna bwa Mukama,
    era y’afuga amawanga gonna.

29 (AL)Abagagga bonna ab’omu nsi balirya embaga, ne bamusinza.
    Bonna abagenda mu nfuufu, balimufukaamirira,
    abatakyali balamu.
30 (AM)Ezadde lyabwe lirimuweereza;
    abaliddawo balibuulirwa ekigambo kya Mukama.
31 (AN)N’abo abatannazaalibwa
    balibuulirwa obutuukirivu bwe nti,
    “Ekyo yakikoze.”

Zabbuli ya Dawudi.

23 (AO)Mukama ye Musumba wange, seetaagenga.
    (AP)Angalamiza ne mpummulira mu ddundiro ly’omuddo omuto.
Antwala awali amazzi amateefu.
    (AQ)Akomyawo emmeeme yange.
Annuŋŋamya okukola eby’obutuukirivu
    olw’erinnya lye.
(AR)Newaakubadde nga ntambulira mu kiwonvu eky’ekisiikirize eky’olumbe, siritya kabi konna;
    kubanga ggwe oli nange.
Oluga lwo n’omuggo gwo
    bye binsanyusa.

(AS)Onsosootolera emmere
    abalabe bange nga balaba;
onsiize amafuta ku mutwe,[b]
    ekikompe kyange kiyiwa.
Ddala ddala obulungi n’okwagala okutaggwaawo binaagendanga nange
    ennaku zonna ez’obulamu bwange;
nange nnaabeeranga mu nnyumba ya Mukama,
    ennaku zonna.

Zabbuli ya Dawudi.

24 (AT)Ensi ya Mukama n’ebigirimu byonna,
    n’ensi zonna n’abo abazibeeramu.
Kubanga yasimba emisingi gyayo mu nnyanja,
    n’agizimba ku mazzi amangi.

(AU)Alyambuka ku lusozi lwa Mukama ye afaanana atya?
    Era wa ngeri ki aliyingira n’ayimirira mu nnyumba ye entukuvu?
(AV)Oyo alina omutima omulongoofu, nga n’emikono gye mirongoofu;
    atasinza bakatonda abalala,
    era atalayirira bwereere.

Oyo Mukama anaamuwanga omukisa,
    n’obutuukirivu okuva eri Katonda ow’obulokozi bwe.
(AW)Ogwo gwe mulembe gw’abo abakunoonya,
    Ayi Katonda wa Yakobo.

(AX)Mweggulewo, mmwe bawankaaki!
    Muggulwewo, mmwe enzigi ez’edda,
    Kabaka ow’ekitiibwa ayingire.
(AY)Kabaka ow’ekitiibwa ye ani?
    Ye Mukama ow’amaanyi era ow’obuyinza,
    omuwanguzi mu ntalo.
Mweggulewo, mmwe bawankaaki,
    muggulwewo mmwe enzigi ez’edda!
    Kabaka ow’ekitiibwa ayingire.
10 Kabaka ow’ekitiibwa oyo ye ani?
    Mukama Ayinzabyonna;
    oyo ye Kabaka ow’ekitiibwa.

Zabbuli ya Dawudi.

25 (AZ)Eri ggwe, Ayi Mukama,
    gye ndeeta okusaba kwange.

(BA)Neesiga ggwe, Ayi Mukama, tondeka kuswala mu maaso g’abalabe bange. Tobaganya kumpangula.
(BB)Ddala ddala abakwesiga tebaajulirirenga,
    naye ab’enkwe baliswazibwa.

(BC)Njigiriza nga bwe nnaakolanga, Ayi Mukama,
    ondage amakubo go mwe nnaatambuliranga.
Onjigirizenga okunywerera ku mazima go, era onkulemberenga mu byonna;
    kubanga ggwe Katonda, ow’obulokozi bwange
    era essuubi lyange liri mu ggwe olunaku lwonna.
(BD)Jjukira, Ayi Mukama, okusaasira kwo okunene, n’okwagala kwo okungi,
    kubanga byava dda.
(BE)Tojjukira bibi byange
    n’obujeemu bwange eby’omu buvubuka bwange.
Onzijukire, Ayi Mukama,
    ng’okwagala kwo gye ndi bwe kuli, kubanga oli mulungi.

(BF)Mukama mulungi, era wa mazima,
    noolwekyo ayigiriza aboonoonyi ekkubo lye.
(BG)Abawombeefu abaluŋŋamya mu kkubo ettuufu
    n’abayigiriza ekkubo lye.
10 (BH)Amakubo ga Mukama gonna gajjudde okwagala n’amazima
    eri abo abagondera endagaano ye n’ebiragiro bye.
11 (BI)Olw’erinnya lyo, Ayi Mukama,
    onsonyiwe ebibi byange, kubanga bingi.

12 (BJ)Omuntu wa ngeri ki atya Katonda?
    Oyo gw’anaayigirizanga okukwata ekkubo lye yamulondera.
13 (BK)Obulamu bwe bunajjuzibwanga emikisa gya Katonda,
    era bazzukulu be ensi eriba yaabwe.
14 (BL)Mikwano gya Mukama be bo abamugondera;
    anaababikkuliranga ekyama eky’endagaano ye.
15 (BM)Ntunuulira Mukama buli kiseera,
    kubanga yekka y’anzigya mu kabi.

16 (BN)Nkyukira, Ayi Mukama, onkwatirwe ekisa,
    kubanga nsigadde bw’omu, era ndi munafu.
17 (BO)Obuyinike bweyongedde mu mutima gwange;
    mponya okweraliikirira kwange.
18 (BP)Tunuulira ennaku endiko, weetegereze obulumi bwange;
    onzigyeko ebibi byange byonna.
19 (BQ)Laba abalabe bange nga bwe beeyongedde obungi
    n’okunkyawa kwe bankyawamu!

20 (BR)Labiriranga obulamu bwange, obamponye;
    tondekanga mu buswavu,
    kubanga ggwe kiddukiro kyange.
21 (BS)Amazima n’obulongoofu bindabirirenga,
    essubi lyange liri mu ggwe.

22 (BT)Nunula Isirayiri, Ayi Katonda,
    omuwonye emitawaana gye gyonna.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.