Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Beginning

Read the Bible from start to finish, from Genesis to Revelation.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 80-85

Ya Mukulu wa Bayimbi. Ku ddoboozi, “Amalanga g’Endagaano.” Zabbuli ya Asafu.

80 (A)Wulira, Ayi Omusumba wa Isirayiri;
    ggwe akulembera Yusufu ng’alunda ekisibo kyo;
ggwe atudde ku ntebe ey’obwakabaka mu bakerubi, twakire.
    (B)Amaanyi go galabike mu Efulayimu,
ne mu Benyamini ne mu Manase,[a]
    ojje otulokole.

(C)Tukomyewo gy’oli, Ayi Katonda,
    otutunuulize amaaso ag’ekisa,
    otulokole.

Ayi Katonda, Mukama ow’Eggye,
    olituusa ddi okusunguwalira okusaba kw’abantu bo?
(D)Wabaliisa emmere ejjudde amaziga;
    n’obanywesa ebikopo by’amaziga musera.
(E)Otufudde eky’okusekererwa mu baliraanwa baffe,
    n’abalabe baffe ne batuduulira.

Tukomyewo gy’oli, Ayi Mukama ow’Eggye,
    otutunuulize amaaso go ag’ekisa,
    tulokolebwe.

(F)Waleeta omuzabbibu ng’oguggya mu Misiri;
    n’ogobamu amawanga agaali mu nsi muno n’ogusimba.
Wagulongooseza ettaka, ne gumera,
    emirandira ne ginywera bulungi, ne gwagaagala mu nsi.
10 Ekisiikirize kyagwo ne kibikka ensozi,
    n’amatabi gaagwo ne gaba ng’emivule egy’amaanyi.
11 (G)Amatabi gaagwo ne gatuuka ku Nnyanja eya Wakati
    n’amatabi g’ennyanja gaayo ne gatuuka ku Mugga Fulaati.

12 (H)Kale wamenyera ki ebisenge byagwo,
    abayitawo bonna ne beenogera ebibala byagwo?
13 (I)Embizzi ez’omu kibira zigwonoona,
    na buli nsolo ey’omu nsiko egulya.
14 (J)Tukyukire, Ayi Katonda ow’Eggye,
    otunuulire ensi ng’osinziira mu ggulu;
olabirire omuzabbibu guno.
15     Gwe wagwesimbira n’omukono gwo ogwa ddyo,
    era ggwe weerondera omwana wo.

16 (K)Bagutemye, ne bagwokya omuliro;
    abakoze ekyo banenye mu bukambwe, obazikirize.
17 Naye muwe amaanyi omusajja oyo gw’oyagala
    era omwana oyo gwe weerondera.
18 Bwe tutyo tuleme okukuvaako, n’okukukuba amabega.
    Otuzzeemu amaanyi, naffe tunaakoowoolanga erinnya lyo.

19 Otukomyewo gy’oli, Ayi Mukama Katonda ow’Eggye,
    otutunuulize amaaso go ag’ekisa,
    tulyoke tulokolebwe.

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Asafu.

81 (L)Mumuyimbire nnyo n’essanyu Katonda amaanyi gaffe;
    muyimuse waggulu amaloboozi gammwe eri Katonda wa Yakobo!
(M)Mutandike okuyimba, mukube ebitaasa
    n’ennanga evuga obulungi ey’enkoba awamu n’entongooli.
Mufuuwe eŋŋombe ng’omwezi gwakaboneka,
    era mugifuuwe nga gwa ggabogabo, ku lunaku olw’embaga yaffe.
Ekyo kye kiragiro eri Isirayiri,
    lye tteeka lya Katonda wa Yakobo.
(N)Yaliteekera Yusufu,
    Katonda bwe yalumba ensi ya Misiri;
    gye nawulirira olulimi olwannema okutegeera.

(O)“Nnamutikkula omugugu okuva ku kibegabega kye;
    n’emikono gye ne ngiwummuza okusitula ebisero.
(P)Mwankoowoola nga muli mu nnaku ne mbadduukirira ne mbawonya,
    nabaanukulira mu kubwatuka mu kire;
    ne mbagezesa ku mazzi ag’e Meriba.
(Q)Muwulire, mmwe abantu bange, nga mbalabula.
    Singa onompuliriza, ggwe Isirayiri!
(R)Temubeeranga na katonda mulala,
    wadde okuvuunamira katonda omulala yenna.
10 (S)Nze Mukama Katonda wo,
    eyakuggya mu nsi y’e Misiri.
    Yasamya akamwa ko, nange nnaakajjuza.

11 (T)“Naye abantu bange tebampuliriza;
    Isirayiri teyaŋŋondera.
12 (U)Nange ne mbawaayo eri obujeemu bw’omutima gwabwe,
    okugoberera ebyo bye baagala.

13 (V)“Singa abantu bange bampuliriza;
    singa Isirayiri agondera ebiragiro byange,
14 (W)mangwago nandirwanyisizza abalabe baabwe,
    ne mbawangula.
15 Abo abakyawa Mukama ne beegonza gy’ali;
    ekibonerezo kyabwe kya mirembe gyonna.
16 (X)Naye ggwe, Isirayiri, nandikuliisizza eŋŋaano esingira ddala obulungi,
    ne nkukkusa omubisi gw’enjuki nga guva mu lwazi.”

Zabbuli ya Asafu.

82 (Y)Katonda akubiriza olukiiko lwe olukulu olw’omu ggulu,
    ng’alamula bakatonda.

(Z)Mulituusa ddi okusala emisango n’obukuusa,
    nga musalira abanafu?
(AA)Abanafu n’abatalina bakitaabwe mubalamulenga mu bwenkanya;
    abaavu n’abanyigirizibwa mubayambenga mu bwenkanya.
Mulwanirire abatalina maanyi n’abali mu kwetaaga, mubawonye;
    mubanunule nga mubaggya mu mikono gy’ababi.

(AB)Tebalina kye bamanyi, era tebategeera.
    Batambulira mu kizikiza;
    emisingi gy’ensi gyonna ginyeenyezebwa.

(AC)Njogedde nti, Muli bakatonda,
    era mwenna muli baana b’oyo Ali Waggulu Ennyo.
(AD)“Naye mugenda kufa ng’abantu obuntu;
    muliggwaawo ng’abafuzi abalala bonna bwe baggwaawo.”

(AE)Ogolokoke, Ayi Katonda, olamule ensi;
    kubanga amawanga gonna gago.

Oluyimba. Zabbuli ya Asafu.

83 (AF)Ayi Katonda, tosirika busirisi n’etebaayo kanyego.
    Tosirika, Ayi Katonda, n’otobaako ky’okola.
(AG)Wuliriza oluyoogaano oluva mu balabe bo;
    abo abaagala okukulwanyisa bali mu keetalo.
(AH)Bateesa n’obujagujagu okulumba abantu bo;
    basalira enkwe abo b’oyagala ennyo.
(AI)Bagamba nti, “Mujje eggwanga lyabwe tulizikirize,
    n’erinnya lya Isirayiri lireme okujjukirwanga emirembe gyonna!”

(AJ)Basala olukwe n’omwoyo gumu;
    beegasse wamu bakulwanyise.
(AK)Abantu b’omu weema za Edomu, n’ez’Abayisimayiri,
    n’eza Mowaabu, n’Abakagale;
(AL)Gebali ne Amoni, ne Amaleki,
    n’Abafirisuuti n’abantu b’omu Ttuulo.
(AM)Era ne Asiriya yeegasse nabo,
    okuyamba bazzukulu ba Lutti.

(AN)Bakoleko nga bwe wakola Midiyaani,
    era nga bwe wakola Sisera ne Yabini[b] ku mugga Kisoni,
10 (AO)abaazikiririra mu Endoli
    ne bafuuka ng’obusa ku ttaka.
11 (AP)Abakungu baabwe bafuule nga Olebu ne Zeebu,[c]
    n’abalangira baabwe bonna bafuuke nga Zeba ne Zalumunna,
12 (AQ)abaagamba nti, “Ka tutwale
    amalundiro ga Katonda, tugeefunire.”

13 (AR)Ayi Katonda wange, bafuumuule ng’enfuufu,
    obasaasaanye ng’ebisusunku mu mbuyaga.
14 (AS)Ng’omuliro bwe gwokya ekibira;
    n’ennimi z’omuliro ne zikoleeza ensozi,
15 (AT)naawe bw’otyo bw’oba obawondera n’omuyaga gwo,
    obatiise ne kibuyaga wo ow’amaanyi.
16 (AU)Baswaze nnyo,
    balyoke banoonyenga erinnya lyo, Ayi Mukama.

17 (AV)Bajjule ensonyi n’okutya,
    bazikirire nga baswadde nnyo.
18 (AW)Balyoke bategeere nti, Ggwe wekka, Ayi Mukama, ggw’oyitibwa YAKUWA,
    gw’obeera waggulu ennyo ng’ofuga ensi yonna.

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Batabani ba Koola.

84 (AX)Eweema zo nga nnungi,
    Ayi Mukama ow’Eggye!
(AY)Omwoyo gwange guyaayaana,
    gwagala na kuzirika,
olw’empya za Mukama,
    omutima gwange n’omubiri gwange bikoowoola Katonda omulamu.
(AZ)Weewaawo,
    ne nkazaluggya yeekoledde ekisu,
    n’akataayi ennyumba mwe binaakulizanga abaana baabyo
awo okumpi n’Ebyoto byo,
    Ayi Mukama Ayinzabyonna, Kabaka wange, era Katonda wange.
Balina omukisa ababeera mu nnyumba yo,
    banaakutenderezanga.

(BA)Alina omukisa omuntu eyeesiga amaanyi go,
    era assaayo omwoyo okutambulira mu makubo go.
(BB)Bayita mu kiwonvu Baka,
    ne bakifuula ekifo ky’ensulo;
    n’enkuba ya ddumbi n’ejjuza ebidiba byakyo.
(BC)Bagenda beeyongera amaanyi,
    okutuusa lwe batuuka mu maaso ga Katonda mu Sayuuni.

Wulira okusaba kwange, Ayi Mukama Katonda ow’Eggye;
    mpuliriza, Ayi Katonda wa Yakobo.
(BD)Ayi Katonda, Engabo yaffe,
    tunuulira kabaka wo n’okusaasira oyo gwe wafukako amafuta.

10 (BE)Okumala olunaku olumu mu mpya zo,
    kisinga okubeera emyaka olukumi mu bifo ebirala.
Njagala okuba omuggazi mu nnyumba ya Katonda wange,
    okusinga okubeeranga mu weema z’abakola ebibi.
11 (BF)Kubanga Mukama Katonda ye njuba yaffe era ye ngabo yaffe;
    atuwa emikisa gye awamu n’ekitiibwa;
tewaliiwo kirungi na kimu ky’ataawa
    abo abatambulira mu makubo ge nga tebaliiko kyakunenyezebwa.

12 (BG)Ayi Mukama ow’Eggye
    alina omukisa omuntu akwesiga.

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Batabani ba Koola.

85 (BH)Ensi yo ogikoledde ebyekisa Ayi Mukama;
    Yakobo omuddizza ebibye.
(BI)Abantu bo obasonyiye ebyonoono byabwe,
    n’ebibi byabwe byonna n’obibikkako.
(BJ)Ekiruyi kyo kyonna okirese,
    n’oleka n’obusungu bwo obubuubuuka.

(BK)Tukomyewo gy’oli, Ayi Katonda w’obulokozi bwaffe,
    oleke okutusunguwalira.
(BL)Onootusunguwaliranga emirembe gyonna?
    Onootunyiigiranga emirembe n’emirembe?
(BM)Tolituzaamu ndasi,
    abantu bo basanyukirenga mu ggwe?
Tulage okwagala kwo okutaggwaawo Ayi Katonda,
    era otuwe obulokozi bwo.

(BN)Nnaawulirizanga Mukama Katonda by’agamba;
    asuubiza abantu be, be batukuvu be, okubawa emirembe;
    naye tebaddayo mu byonoono byabwe.
(BO)Ddala ddala obulokozi bwe busemberera abo abamutya,
    ensi yaffe n’eryoka ejjula ekitiibwa kye.

10 (BP)Okwagala n’obwesigwa bisisinkanye;
    obutuukirivu n’emirembe binywegeraganye.
11 (BQ)Obwesigwa bulose mu nsi,
    n’obutukuvu ne butunuulira ensi nga businzira mu ggulu.
12 (BR)Ddala ddala Katonda anaatuwanga ebirungi,
    n’ensi yaffe eneebalanga ebibala bingi.
13 Obutuukirivu bunaamukulemberanga,
    era bunaateekateekanga ekkubo mw’anaayitanga.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.