Beginning
Yobu Ayanukula
21 Awo Yobu n’addamu n’ayogera nti,
2 “Muwulirize n’obwegendereza ebigambo byange,
era kino kibazzeemu amaanyi.
3 (A)Mungumiikirizeeko nga njogera,
oluvannyuma museke.
4 (B)“Okwemulugunya kwange nkw’olekezza muntu?
Lwaki okugumiikiriza tekunzigwako?
5 (C)Muntunuulire mwewuunye,
mujja kukwata ne ku mumwa.
6 Bwe ndowooza ku kino, nfuna entiisa;
omubiri gwange ne gukankana.
7 (D)Lwaki abakozi b’ebibi bawangaala,
ne bakaddiwa ne beeyongera n’amaanyi?
8 (E)Balaba abaana baabwe bwe banywezebbwa,
ezzadde lyabwe nga balaba.
9 (F)Amaka gaabwe gaba n’emirembe nga temuli kutya;
omuggo gwa Katonda tegubabeerako.
10 (G)Ennume zaabwe teziremererwa,
ente zaabwe enkazi zizaala awatali kusowola mwana gwazo.
11 Abaana baabwe bagendera wamu nga kisibo;
obuto ne bubeera mu kuzina.
12 (H)Bayimbira ku bitaasa n’ennanga,
ne basanyukira eddoboozi ly’omulere.
13 (I)Emyaka gyabwe gyonna babeera bulungi,
mangwago ne bakka mu ntaana.
14 (J)Kyokka bagamba Katonda nti, ‘Tulekere emirembe gyaffe!
Tetwegomba kumanya makubo go.
15 (K)Ayinzabyonna ye ani tulyoke tumuweereze?
Kiki kye tuganyulwa bwe tumusaba?’
16 Naye obugagga bwabwe tebuli mu mikono gyabwe,
noolwekyo amagezi g’abakozi b’ebibi ganneewunyisa.
17 (L)“Ettaala y’abakozi b’ebibi yo, ezikira emirundi emeka?
Ennaku ebajjira emirundi emeka?
Katonda abatuusaako obulumi, ng’abasunguwalidde.
18 (M)Bali ng’ebisasiro ebitwaalibwa empewo;
ng’ebisusunku embuyaga bye zitwala.
19 (N)Katonda abonereza abaana olw’ekibi kya bakitaabwe.
Asasule omuntu yennyini oyo alyoke ategeere!
20 (O)Leka amaaso ge ye yennyini galabe okuzikirira;
leka anywe ku kiruyi kya Ayinzabyonna.
21 (P)Kubanga aba afaayo ki ku maka g’aba alese,
nga emyezi gye egyamutegekerwa giweddeko?
22 (Q)“Eriyo ayinza okuyigiriza Katonda amagezi,
kubanga asalira omusango n’abo abasinga okuba aba waggulu?
23 Omusajja omu afiira w’abeerera ow’amaanyi,
nga munywevu ddala ali mu mirembe gye,
24 (R)omubiri gwe nga guliisiddwa bulungi,
amagumba ge nga gajjudde obusomyo.
25 Omusajja omulala n’afa ng’alina obulumi ku mutima,
nga teyafuna kintu kyonna kirungi.
26 (S)Ne beebaka kye kimu mu ttaka,
envunyu ne zibabikka bombi.
27 “Mmanyi bulungi ddala kye mulowooza,
enkwe ze mwagala okunsalira.
28 (T)Mugamba nti, ‘Kaakano eruwa ennyumba y’omusajja ow’amaanyi,
eweema abasajja abakozi b’ebibi mwe baabeeranga?’
29 Temwebuuzanga ku abo abatambula eŋŋendo?
Temukkiriza bye babagamba,
30 (U)nti omusajja omukozi w’ebibi awona ku lunaku olw’emitawaana,
era awona ku lunaku olw’ekiruyi?
31 Ani avumirira ebikolwa bye maaso ku maaso,
ani amusasula ebyo by’akoze?
32 Atwalibwa ku ntaana,
era amalaalo ge gakuumibwa.
33 (V)Ettaka eriri mu lusenyi limuwoomera,
abantu bonna bamugoberera,
n’abalala abatamanyiddwa muwendo ne bamukulembera.
34 (W)“Kaakano musobola mutya okuŋŋumya n’ebitaliimu?
Tewali kisigaddeyo ku bye mwanzizeemu wabula obulimba!”
Erifaazi Addamu
22 Awo Erifaazi Omutemani n’addamu n’ayogera nti,
2 (X)“Omuntu ayinza okugasa Katonda?
Wadde oyo ow’amagezi ayinza okumuyamba?
3 Ayinzabyonna yandifunye kwesiima ki singa wali mutuukirivu?
Yandiganyuddwa ki singa amakubo go gaali magolokofu?
4 (Y)“Akukangavvula lwa kumutya
era kyava akuvunaana?
5 (Z)Okwonoona kwo si kunene nnyo?
Ebibi byo si bingi nnyo?
6 (AA)Kubanga waggya ku muganda wo emisingo awatali nsonga;
waggya engoye ku bantu, n’obaleka bwereere.
7 (AB)Tewawa bakoowu mazzi,
abaagala wabamma emmere,
8 (AC)wadde nga wali musajja wa maanyi, eyalina ettaka,
omusajja ow’ekitiibwa, era nga byonna ggwe nnyini byo.
9 (AD)Weegobako bannamwandu bagende nga toliiko ky’obawadde;
abatalina bakitaabwe n’obamalamu amaanyi.
10 Emitego kyegivudde gikwetooloola.
Lwaki entiisa ey’amangu ekujjira?
11 (AE)Lwaki enzikiza ekutte nnyo tosobola kulaba,
era lwaki amataba gakubikkako?
12 (AF)“Katonda tali waggulu mu ggulu?
Era laba, emmunyeenye ezisingayo okuba waggulu, nga bwe ziri ewala!
13 (AG)Ate n’ogamba nti, ‘Katonda amanyi ki?
Ayinza okulamulira mu kizikiza?
14 (AH)Ebire ebikutte bimubikkako, n’aba ng’atatulaba
bw’aba atambula mu bifo by’omu ggulu.’
15 Onoosigala mu kkubo ery’edda
abasajja abakozi b’ebibi lye baakwata?
16 (AI)Baatwalibwa ng’ekiseera kyabwe tekinnatuuka,
emisingi gyabwe gyatwalibwa amataba.
17 (AJ)Be bagamba Katonda nti, ‘Tulekere emirembe!
Ayinzabyonna ayinza kutukola ki?’
18 (AK)Ate nga ye, ye yajjuza ennyumba zaabwe ebintu ebirungi,
noolwekyo neewuunya nnyo amagezi g’abakozi b’ebibi.
19 (AL)Abatuukirivu balaba okuzikirira kwabwe ne bajaguza;
abataliiko musango babasekerera nga bagamba nti,
20 (AM)‘Ddala abalabe baffe bazikiridde,
era omuliro gulidde obugagga bwabwe.’
21 (AN)“Gonderanga Katonda ofunenga emirembe;
mu ngeri eno ebirungi lwe binajjanga gy’oli.
22 Kkiriza ebiragiro ebiva mu kamwa ke
era oteeke ebigambo bye mu mutima gwo.
23 (AO)Bw’onodda eri oyo Ayinzabyonna, onodda buggya,
bwonooteeka ebibi ewala ne weema yo,
24 (AP)n’oteeka n’amayinja go ag’omuwendo mu ttaka,
zaabu yo eya Ofiri ku njazi z’omu mugga,
25 (AQ)awo Ayinzabyonna anaabeeranga zaabu yo,
era ffeeza esingayo obulungi.
26 (AR)Ddala ddala olisanyukira mu oyo Ayinzabyonna
era oyimuse amaaso go eri Katonda.
27 (AS)Olimusaba, alikuwulira,
era olituukiriza obweyamo bwo.
28 Ky’olisalawo kirikolebwa,
era ekitangaala kirimulisa amakubo go.
29 (AT)Abantu abalala bwe balisuulibwa n’ogamba nti, ‘Bayimuse!’
Olwo alirokola abagudde.
30 (AU)Alinunula n’oyo aliko omusango,
alinunulwa olw’obulongoofu bw’emikono gyo.”
Yobu Ayanukula
23 Awo Yobu n’addamu nti,
2 (AV)“N’okutuusa leero okwemulugunya kwange kubalagala,
omukono gwe gunzitoowerera wadde mbadde mu kusinda.
3 Singa nnali mmanyi aw’okumusanga
nandisobodde okulaga gy’abeera!
4 (AW)Nanditutte empoza yange gy’ali,
akamwa kange nga nkajjuzizza ensonga zange.
5 Nanditegedde kye yandinzizeemu,
ne neetegereza kye yandiŋŋambye.
6 (AX)Yandimpakanyizza n’amaanyi mangi?
Nedda, teyandinteeseko musango.
7 (AY)Eyo omuntu omutuukirivu asobola okutwalayo ensonga ye,
era nandisumuluddwa omulamuzi wange emirembe n’emirembe.
8 “Bwe ŋŋenda ebuvanjuba, nga taliiyo;
ne bwe ŋŋenda ebugwanjuba, simusangayo.
9 (AZ)Bw’aba akola mu bukiikakkono simulaba,
bw’adda mu bukiikaddyo, simulabako.
10 (BA)Naye amanyi amakubo mwe mpita,
bw’anaamala okungezesa, nzija kuvaamu nga zaabu.
11 (BB)Ebigere byange bimugoberedde;
ntambulidde mu makubo ge nga sikyamakyama.
12 (BC)Saava ku biragiro by’akamwa ke.
Nayagala ebigambo by’akamwa ke okusinga emmere yange gyendya bulijjo.
13 (BD)“Naye yeemalirira, ani ayinza okumuwakanya?
Akola kyonna ekimusanyusa.
14 (BE)Weewaawo ajja kutuukiriza by’asazzeewo okunjolekeza,
era bingi byategese by’akyaleeta.
15 Kyenva mba n’entiisa nga ndi mu maaso ge;
bwe ndowooza ku bino byonna, ne mmutya.
16 (BF)Katonda anafuyizza nnyo omutima gwange,
Ayinzabyonna antiisizza nnyo.
17 (BG)Naye ekizikiza tekinsirisizza,
ekizikiza ekikutte ennyo ekibisse amaaso gange.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.