Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Beginning

Read the Bible from start to finish, from Genesis to Revelation.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Yobu 1-4

Yobu n’eby’Amaka ge byonna

(A)Waaliwo omusajja mu nsi ya Uzzi[a] erinnya lye Yobu; yali muntu ataliiko kya kunenyezebwa, nga wa mazima, eyeewalanga ekibi, era ng’atya Katonda. (B)Yalina abaana aboobulenzi musanvu n’aboobuwala basatu. (C)Mu byobugagga ebingi ennyo bye yalina; mwe mwali endiga kasanvu, eŋŋamira enkumi ssatu, emigogo gy’ente ezirima ebikumi bitaano, endogoyi enkazi ebikumi bitaano, n’abaddu bangi nnyo nnyini; yali mwatiikirivu okusinga abantu abalala bonna mu nsi z’ebuvanjuba.

Batabani be baakwatanga embaga z’amazaalibwa gaabwe buli omu mu mpalo ng’ennaku zaabwe bwe zaali ziddiriŋŋananga mu maka ga buli omu; era baayitanga bannyinaabwe bonsatule okubajagulizaangako. (D)Ennaku z’embaga bwe zaggwangako, Yobu yabatumyanga n’abatukuza;[b] yakeeranga mu makya n’abaweerangayo ebiweebwayo ebyokebwa ng’omuwendo gwabwe bwe gwali ng’alowooza nti, “Oboolyawo ng’abaana bange bayonoonye ne bavvoola Katonda mu mitima gyabwe.” Kino yakikolanga bulijjo.

Setaani Agezesa Yobu

(E)Olunaku lumu, bamalayika ne bajja mu maaso ga Mukama, ne Setaani naye n’ajjiramu. (F)Mukama n’abuuza Setaani nti, “Ova wa?”

Setaani n’addamu Mukama nti, “Nva kutalaaga nsi yonna okulaba ebintu nga bwe biri.”

(G)Mukama Katonda n’abuuza Setaani nti, “Weetegerezza omuddu wange Yobu, atalina amufaanana, anzisaamu ekitiibwa, ataliiko kyakunenyezebwa era eyeewala buli ngeri yonna eyinza okukozesa omuntu ebibi?”

(H)Setaani n’addamu Mukama Katonda nti, “Ekitiibwa akussaamu kya bwereere? 10 (I)Tomukozeeko lukomera ye n’ennyumba ye, n’eby’obugagga by’alina? Buli ky’akola okiwadde omukisa; n’eby’obugagga bye byeyongedde nnyo obungi! 11 (J)Kale geza okwate ku by’alina obimuggyeko olabe nga taakwegaane nga n’ensi yonna eraba!” 12 Mukama Katonda n’agamba Setaani nti, “Byonna by’alina biri mu mikono gyo, naye togeza n’okwata ku bulamu bwe.” Oluvannyuma lw’ebyo Setaani n’ava mu maaso ga Mukama.

Yobu afiirwa Abaana be n’eby’Obugagga bwe

13 Awo olunaku lumu, batabani ba Yobu ne bawala be bwe baali banywa omwenge era nga baliira ebyassava mu maka ga mukulu waabwe, 14 omubaka n’ajja eri Yobu n’amugamba nti, “Ente zibadde zirima nga n’endogoyi ziri kumpi nazo, 15 (K)Abaseba[c] ne bazigwako ne bazitwala era n’abaddu bonna ne babatta nze nsigaddewo nzekka okujja okukutegeeza bino.”

16 (L)Oyo aba akyayogera ebyo, laba, omubaka omulala n’atuuka naye n’amugamba nti, “Omuliro gubuubuuse nga guva mu ggulu ne gusaanyaawo endiga zonna n’abasumba baazo, nze nsigaddewo nzekka okukutegeeza bino.”

17 (M)N’oyo aba akyayogera, n’omubaka omulala n’atuuka, n’agamba nti, “Abakaludaaya[d] bazze nga beetegese mu bibinja bisatu, ne bagwa ku ŋŋamira ne bazitwala era ne batta n’abaddu ababadde bazirabirira, era nze nzekka nze nsigaddewo okujja okukumanyisa bino.”

18 Aba akyayogera, laba, n’omulala n’ajja n’amugamba nti, “Batabani bo ne bawala bo babadde baliira era nga banywera omwenge mu nnyumba ya mukulu waabwe, 19 (N)laba, omuyaga ogw’amaanyi guvudde mu ddungu ne gugoyaagoya ennyumba yonna mwe babadde era bonna bafiiriddemu nze mponyeewo nzekka okujja okukubikira.”

20 (O)Yobu olwawulira bino byonna, n’agolokoka n’ayuza ebyambalo bye n’amwa omutwe gwe, n’avuunama n’asinza: 21 (P)n’agamba nti,

“Nazaalibwa sirina kantu
    era bwe ntyo bwe ndiddayo.
Mukama ye yawa era Mukama y’aggyeewo,
    erinnya lya Mukama Katonda lyebazibwe.”

22 (Q)Mu bino byonna Yobu teyayonoona kubanga teyeemulugunyiza Katonda.

Obulamu bwa Yobu Bukwatibwako

(R)Ku lunaku olulala bamalayika ne bajja okukiika mu maaso ga Mukama Katonda, ne Setaani naye n’ajjiramu. Mukama Katonda n’abuuza Setaani nti, “Ova wa?” Setaani n’amuddamu nti, “Nva kutalaaga ensi yonna.”

(S)Mukama Katonda n’agamba Setaani nti, “Olowoozezza ku muddu wange Yobu? Talina kyakunenyezebwa, mwesimbu, atya Katonda era eyeewala ekibi bw’atyo talina amufaanana. Anywezezza obutuukirivu bwe newaakubadde nga wansokasoka mmuzikirize awatali nsonga.”

Setaani n’amuddamu nti, “Eddiba olw’eddiba, omuntu kyaliva awaayo byonna by’alina olw’okuwonya obulamu bwe; (T)naye golola omukono gwo okwate ku magumba ge n’omubiri gwe olabe oba taakwegaane.”

(U)Mukama Katonda n’amugamba nti, “Weewaawo, ali mu mukono gwo, kyokka mulekere obulamu bwe.”

(V)Awo Setaani n’ava awali Mukama Katonda, n’alwaza Yobu amayute amazibu okuva ku mutwe, okutuukira ddala ku bigere. (W)Yobu n’atandika okweyaguzanga oluggyo ng’eno bw’atudde mu vvu.

Kyokka mukyala we n’amugamba nti, “Okyagugubidde ku butuukirivu bwo? Weegaane Katonda ofe!”

10 (X)Naye ye n’amuddamu nti, “Oyogera ng’omu ku bakazi abatategeera bwe bandyogedde! Tunaafunanga birungi byereere mu mukono gwa Katonda?”

Mu bino byonna Yobu teyayonoona na kamwa ke.

Mikwano gya Yobu Abasatu

11 (Y)Awo mikwano gya Yobu abasatu; Erifaazi[e] Omutemani, Birudaadi Omusuki, ne Zofali Omunaamasi bwe baawulira emitawaana egyali gituuse ku mukwano gwabwe, ne bajja buli omu okuva ewuwe ne basisinkana nga bwe baali bateesezza, bagende bamusaasire bamuzzeemu amaanyi. 12 (Z)Tebaamutegeererawo nga bakyali wala, olw’embeera gye yalimu; ne bayimusa amaloboozi gaabwe ne bakuba ebiwoobe ne bayuza ebyambalo byabwe ne bayiwa enfuufu ku mitwe gyabwe. 13 (AA)Awo ne batuula naye we yali atudde okumala ennaku musanvu emisana n’ekiro nga tewali anyega, olw’obulumi obungi Yobu bwe yalimu.

Yobu Akolimira Olunaku kwe Yazaalirwa

Oluvannyuma lw’ebyo, Yobu n’ayasamya akamwa ke n’akolimira olunaku kwe yazaalirwa. N’agamba nti,

(AB)“Olunaku kwe nazaalirwa luzikirire,
    n’ekiro lwe kyalangirirwa nti omwana mulenzi.
Olunaku olwo lubuutikirwe ekizikiza,
    omusana guleme okulwakako,
    Katonda aleme okulufaako.
(AC)Ekizikiza n’ekisiikirize eky’okufa birujjule,
    ekire kirutuuleko,
    ekizikiza kikankanye ekitangaala kyalwo.
(AD)Ekizikiza ekikutte be zigizigi kirunyage,
    luleme okubalirwa awamu n’ennaku eziri mu mwaka,
    wadde okuyingizibwa mu ezo eziri mu mwezi.
Yee, lubeere lugumba,
    waleme okuba eddoboozi lyonna ery’essanyu eririwulirwako.
(AE)Abo abakolimira ennyanja n’ennaku balukolimire,
    n’abo abamanyi okuzuukusa agasolo galukwata mu nnyanja, balukolimire.
(AF)Emmunyeenye ez’omu matulutulu gaalwo zibe ekizikiza,
    lulindirire ekitangaala kirubulwe,
    luleme okulaba ebikowe by’oku nkya.
10 Kubanga terwaggala nzigi za lubuto lwa mmange,
    nneme okulaba obuyinike.

11 (AG)“Lwaki saafa nga nzalibwa,
    oba ne nfa nga nva mu lubuto lwa mmange?
12 (AH)Lwaki amaviivi ganzikiriza okugatuulako
    era n’amabeere okugayonka?
13 (AI)Kaakano nandibadde ngalamidde nga neesirikidde,
    nandibadde neebase nga neewummulidde,
14 (AJ)wamu ne bakabaka n’abakungu ab’ensi,
    abezimbira embiri kaakano amatongo,
15 (AK)oba n’abalangira abaalina zaabu,
    abajjuzanga ffeeza mu nnyumba zaabwe.
16 (AL)Oba lwaki saaziikibwa ng’omwana azaaliddwa ng’afudde,
    atalabye ku kitangaala?
17 (AM)Eyo ababi gye batatawaanyizibwa,
    era n’abakooye gye bawummulira.
18 (AN)Abasibe gye bawummulira awamu,
    gye batawulirira kiragiro ky’oyo abaduumira.
19 Abakopi n’abakungu gye babeera;
    abaddu gye batatuntuzibwa bakama baabwe.

20 (AO)“Lwaki omuyinike aweebwa ekitangaala,
    ne kimulisiza oyo alumwa mu mwoyo,
21 (AP)era lwaki yeegomba okufa naye ne kutajja,
    n’akunoonya okusinga obugagga obuziikiddwa,
22 abajaguza ekisukkiridde,
    ne basanyuka ng’atuuse ku ntaana?
23 (AQ)Lwaki okuwa ekitangaala oyo,
    atayinza kulaba kkubo,
    Katonda gw’akomedde?
24 (AR)Kubanga nkaaba mu kifo ky’okulya,
    n’okusinda kwange kufukumuka ng’amazzi.
25 (AS)Ekintu kye nantiiranga ddala
    era kye nakyawa kye kyantukako.
26 (AT)Siwummudde wadde okusiriikirira wadde okuba n’emirembe,
    wabula buzibu bwereere bwe bunzijidde.”

Erifaazi Ayogera

Awo Erifaazi Omutemani n’ayanukula ng’agamba nti,

(AU)“Omuntu bw’anaayogera naawe onoonyiiga?
    Naye ani ayinza okusirika obusirisi?
(AV)Laba, wayigiriza bangi,
    emikono eminafu wagizzaamu amaanyi.
(AW)Ebigambo byo byanyweza abaali bagwa,
    era ng’ozzaamu amaanyi amaviivi agaali gakankana.
(AX)Naye kaakano kikutuuseeko, oweddemu amaanyi;
    kikutte ku ggwe n’oggwaawo!
(AY)Okutya Katonda wo si bwe bwesige bwo,
    n’obwesimbu bwo si ly’essuubi lyo?

(AZ)“Kaakano lowooza; ani ataliiko musango eyali azikiridde?
    Oba wa abatuukirivu gye baali bamaliddwawo?
(BA)Okusinziira ku kyendabye; abo abateekateeka okukola ebibi era ne basiga ebitali bya butuukirivu,
    bakungula bizibu.
(BB)Bazikirizibwa omukka Katonda gw’assa,
    bamalibwawo obusungu bwe.
10 (BC)Okuwuluguma kw’empologoma, n’eddoboozi ly’empologoma enkambwe,
    n’amannyo g’empologoma ento gamenyeka.
11 (BD)Empologoma ey’amaanyi ezikirira olw’okubulwa omuyiggo,
    n’obwana bw’empologoma busaasaana.

12 (BE)“Nategeezebwa ekigambo eky’ekyama,
    ne nkitegera okutu.
13 (BF)Wakati mu birowoozo n’okwolesebwa kw’ekiro
    ng’otulo otungi tukutte omuntu,
14 (BG)okutya n’okukankana byankwata ne bireetera amagumba gange okunyegenya.
15 Omwoyo gw’ayita mu maaso gange,
    obwoya bw’oku mubiri gwange ne buyimirira.
16 Ne buyimirira butengerera,
    naye saasobola kwetegereza ndabika yaabwo,
n’ekifaananyi kyali mu maaso gange, ne wabaawo akasiriikiriro,
    ne ndyoka mpulira eddoboozi nga ligamba nti,
17 (BH)‘Omuntu afa ayinza okuba omutuukirivu okusinga Katonda?
    Omuntu ayinza okuba omulongoofu okusinga Omutonzi we?
18 (BI)Obanga abaddu be tabeesiga,
    nga bamalayika be abalanga ensobi
19 (BJ)kale kiriba kitya,
    abo abasula mu z’ebbumba ezirina emisingi egiri mu nfuufu,
    ababetentebwa n’okusinga ekiwojjolo?
20 (BK)Bamalibwawo wakati w’amakya n’akawungeezi,
    bazikirira emirembe n’emirembe awatali abafaako.
21 (BL)Omuguwa gwa weema yaabwe gusimbulwa munda,
    ne bafa ng’abasirusiru.’ ”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.